LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr19 Jjanwali lup. 1-7
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2019
  • Subheadings
  • JJANWALI 7-13
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2019
mwbr19 Jjanwali lup. 1-7

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

JJANWALI 7-13

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 21-22

“Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

bt-E lup. 177-178 ¶15-16

“Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

Pawulo bwe yali abeera ne Firipo, omugenyi omulala ow’ekitiibwa ayitibwa Agabo yabakyalira. Abo abaali bakuŋŋaanidde owa Firipo baali bamanyi Agabo nga nnabbi; yali yalagula ku njala ey’amaanyi eyaliwo mu kiseera kya Kulawudiyo. (Bik. 11:27, 28) Oboolyawo beebuuza nti: ‘Lwaki Agabo azze? Bubaka ki bw’aleese?’ Agabo yakwata olukoba lwa Pawulo—nga luno lwali ng’omusibi ogwali gusobola okuteekebwamu ssente n’ebintu ebirala era nga gwasibibwanga mu kiwato. Agabo yaddira olukoba olwo n’alwesiba ebigere n’emikono. Oluvannyuma n’ayogera ebigambo bino ebinakuwaza: “Omwoyo omutukuvu gugamba nti, ‘Nnannyini lukoba luno Abayudaaya bajja kumusiba bwe bati mu Yerusaalemi bamuweeyo mu mikono gy’ab’amawanga.’”—Bik. 21:11.

Obunnabbi obwo bwalaga nti Pawulo yandigenze e Yerusaalemi. Ate era bwalaga nti Abayudaaya bandimuwaddeyo “mu mikono gy’ab’amawanga.” Obunnabbi obwo bwakwata nnyo ku abo abaaliwo. Lukka agamba nti: “Bwe twawulira ekyo, ffe n’abalala abaaliwo ne twegayirira Pawulo aleme kugenda Yerusaalemi. Pawulo n’agamba nti: “Lwaki mukaaba okunafuya omutima gwange? Nze ndi mwetegefu okusibibwa era n’okufiira mu Yerusaalemi olw’erinnya lya Mukama waffe Yesu.’”—Bik. 21:12, 13.

bt-E lup. 178 ¶17

“Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

Lowooza ku mbeera eyaliwo. Ab’oluganda, nga mw’otwalidde ne Lukka, beegayirira Pawulo obutagenda Yerusaalemi, era abamu bakaaba n’okukaaba. Okwagala ab’oluganda kwe baalaga Pawulo kwamukwatako nnyo n’atuuka n’okugamba nti baali ‘banafuya omutima gwe,’ oba ng’ekyusa ezimu bwe zigamba nti ‘baali bamenya omutima gwe.’ Kyokka asigala mumalirivu, era nga bwe kyali ng’asisinkanye ab’oluganda ab’e Ttuulo, takkiriza kwegayirira kw’ab’oluganda oba amaziga kumulemesa kugenda. Mu kifo ky’ekyo, abannyonnyola ensonga lwaki alina okugenda. Nga yayoleka obuvumu n’obumalirivu obw’amaanyi! Okufanaanako Yesu, Pawulo yali mumalirivu okugenda e Yerusaalemi. (Beb. 12:2) Pawulo yali taluubirira kufa ng’omujulizi, naye singa kyabaawo, yandigitutte ng’enkizo okufa ng’omugoberezi wa Kristo Yesu.

bt-E lup. 178 ¶18

“Yakuwa ky’Ayagala Kye Kiba Kikolebwa”

Ab’oluganda baakola ki? Baamuwa ekitiibwa. Tusoma nti: “Bwe twalemererwa okukyusa endowooza ye, ne tubivaako ne tugamba nti: “Yakuwa ky’ayagala kye kiba kikolebwa.’” (Bik. 21:14) Abo abaagezaako okugaana Pawulo okugenda e Yerusaalemi tebaalemera ku ndowooza yaabwe. Baawuliriza Pawulo, ne baleka Yakuwa ky’ayagala kye kiba kikolebwa, wadde ng’ekyo tekyali kyangu. Pawulo yali asazeewo okukola ekintu ekyandimuviiriddeko okuttibwa. Kyandibadde kyangu eri Pawulo singa mikwano gye tebaagezaako kumulemesa.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

bt-E lup. 184-185 ¶10-12

“Muwulirize nga Mbannyonnyola”

Wadde kiri kityo, Pawulo yalaga nti assa ekitiibwa mu ndowooza y’abo abaali bakkiririza mu bulombolombo bw’Abayudaaya, gamba ng’obutakola mirimu ku Ssabbiiti, oba obutalya bika bya mmere ebimu. (Bar. 14:1-6) Era teyabateerawo mateeka ku kukomolebwa. Mu butuufu, Pawulo yagamba Timoseewo okukomolebwa, Abayudaaya baleme kubuusabuusa Timoseewo kubanga taata we yali Muyonaani. (Bik. 16:3) Buli muntu yalina okwesalirawo okukomolebwa oba obutakomolebwa. Pawulo yagamba Abaggalatiya nti: “Okukomolebwa oba obutakomolebwa si kikulu; ekikulu kwe kukkiriza okuba kukolera ku kwagala.” (Bag. 5:6) Kyokka, omuntu okukomolebwa okulaga nti ali wansi w’amateeka oba ng’alowooza nti bw’akomolebwa ajja kusiimibwa Yakuwa, kiraga nti talina kukkiriza.

N’olwekyo, wadde ng’ebyamwogerwako tebyali bituufu, Abayudaaya abakkiriza baali batwaliriziddwa ebigambo ebyo. N’olw’ensonga eyo, abakadde baawa Pawulo obulagirizi buno: “Tulina abasajja bana abaakola obweyamo. Twala abasajja abo weetukulize wamu nabo era obasasulire ebyetaagibwa, balyoke bamweko enviiri zaabwe. Olwo nno buli muntu ajja kumanya nti bye baakwogerako si bituufu, era nti weeyisa bulungi era nti okwata Amateeka.”—Bik. 21:23, 24.

Pawulo yali asobola okugamba nti obuzibu tebwali ku ebyo ebyali bimwogerwako, wabula bwali ku Bayudaaya abakkiriza abaali bakyakwata butiribiri Amateeka ga Musa. Naye yali mwetegefu okutuukana n’embeera kasita aba nga tamenye misingi gya Katonda. Emabegako yali yagamba nti: “Eri abo abali wansi w’amateeka nnafuuka ng’ali wansi w’amateeka nsobole okufuna abo abali wansi w’amateeka.” (1 Kol. 9:20) Ku mulundi guno, Pawulo yakola ekyo abakadde b’omu Yerusaalemi kye baamugamba n’afuuka ‘ng’ali wansi w’amateeka.’ Mu kukola bw’atyo, yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okukolagana obulungi n’abakadde mu kifo ky’okukalambira ku ndowooza yaffe.—Beb. 13:17.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 22:16

weenaazeeko ebibi byo olw’okukoowoola erinnya lye: Oba “wenaazeeko ebibi byo era okoowoole erinnya lye.” Amazzi omuntu mw’annyikibwa ng’abatizibwa si ge gamunaazaako ebibi, wabula kukoowoola linnya lya Yesu. Ekyo kizingiramu okukkiririza mu Yesu n’okwoleka okukkiriza okwo okuyitira mu bikolwa.—Bik 10:43; Yak 2:14, 18.

JJANWALI 14-20

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 23-24

“Avunaanibwa Okuba Omuntu ow’Omutawaana era Aleetera Abalala Okujeemera Gavumenti”

bt-E lup. 191 ¶5-6

Ebigambo ebizzaamu amaanyi bye baagamba Pawulo byatuukira mu kiseera kituufu. Ku lunaku olwaddako, abasajja Abayudaaya abasukka 40 ‘baakola okukwe ne balayira nti bakolimirwe singa balya ekintu kyonna nga tebannatta Pawulo.’ Ekyo kiraga engeri Abayudaaya abo gye baali abamalirivu okutta Pawulo. Singa olukwe lwabwe lwagwa butaka, baagamba nti bandikolimiddwa. (Bik. 23:12-15) Nga bakolera wamu ne bakabona abakulu n’abakadde, baakola olukwe okukomyawo Pawulo eri olukiiko olukulu olw’Abayudaaya beefuula ng’abalina kye baagala okweyongera okukakasa. Naye baali bateeze Pawulo mu kkubo bamutte.

Kyokka mutabani wa mwannyina wa Pawulo yategeera olukwe olwo era n’abuulira Pawulo. Pawulo yagamba omuvubuka oyo agende abuulire omuduumizi w’amagye g’Abaruumi eyali ayitibbwa Kulawudiyo Lusiya. (Bik. 23:16-22) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa ayagala nnyo abavubuka abalinga omuvubuka ono Bayibuli gw’etatubuulira linnya lye, abooleka obuvumu ne bayamba abawereeza ba Katonda era abakola kyonna kye basobola okuwagira Obwakabaka.

bt-E lup. 192 ¶10

“Beera Mugumu!”

Mu Kayisaliya, Pawulo ‘yakuumirwa mu lubiri lwa Kerode’ okutuusa ng’abamuvunaana bazze okuva e Yerusaalemi. (Bik. 23:35) Waayitawo ennaku taano ne bajja—Ananiya Kabona Asinga Obukulu, munnamateeka ayitibwa Terutuulo, n’abamu ku bakadde. Terutuulo yasooka kutendereza Ferikisi olw’ebyo bye yali akolera Abayudaaya, oboolyawo ng’ayagala kusiimibwa mu maaso ge. Oluvannyuma Terutuulo yatuuka ku nsonga n’agamba nti Pawulo yali musajja ‘wa mutawaana, aleetera Abayudaaya mu nsi yonna okujeemera gavumenti, era akulembera akabiina k’Abannazaaleesi. Era nti yagezaako okutyoboola yeekaalu, ne bamukwata.’ Awo Abayudaaya abalala “ne bamwegattako ne balumiriza nti ebintu ebyo bituufu.” (Bik. 24:5, 6, 9) Okuleetera abantu okujeemera gavumenti, okukulembera akabiina ak’omutawaana, n’okutyoboola yeekaalu, gyali misango gya maanyi nga gisobola okuviirako omuntu okusalirwa ogw’okufa.

bt-E lup. 193-194 ¶13-14

“Beera Mugumu!”

Pawulo yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa singa tukwalibwa mu maaso g’ab’obuyinza olw’ebyo bye tukkiririzaamu, olw’okutuwayiriza nti tuleetera abantu okujeemera gavumenti, oba nti tuli mu ‘kabiina ak’omutawaana.’ Pawulo teyawaana gavana nga Terutuulo bwe yakola ng’ayagala okusiimibwa. Pawulo yasigala mukkakkamu era yamuwa ekitiibwa. Mu ngeri ey’amagezi, yeewozaako ng’akozesa ebigambo ebitegeerekeka obulungi era ebituufu. Pawulo yagamba nti “Abayudaaya abamu abaava mu ssaza ly’e Asiya” abaali bamuvunaana okutyoboola yeekaalu tebaaliwo era nti okusinziira ku mateeka baalina okubaawo n’awulira bye baali bamuvunaana.—Bik. 24:18, 19.

N’ekisinga obukulu, Pawulo teyatya kubabuulira bikwata ku ebyo bye yali akkiririzaamu. Pawulo yayoleka obuvumu n’ababuulira ebikwata ku kuzuukira, kyokka ng’ensonga eyo ye yali ereseewo akacankalano mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya. (Bik. 23:6-10) Bwe yali yeewozaako yagumizza essuubi ly’okuzuukira. Lwaki? Kubanga Pawulo yali awa obujulirwa ku Yesu ne ku kuzuukira kwe, ekintu abo abaali bamuziyiza kye baali batakkiriza. (Bik. 26:6-8, 22, 23) Mu butuufu ensonga eyali evuddeko obuzibu yali ekwata ku kukkiririza mu Yesu ne mu kuzuukira kwe.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 23:6

ndi Mufalisaayo: Abamu ku abo abaaliwo baali bamanyi Pawulo. (Bik 22:5) Pawulo bwe yeeyita omwana w’Abafalisaayo bayinza okuba nga baakitegeera nti naye Mufalisaayo. Tebaakitwala nti Pawulo yali abalimba kubanga Abafalisaayo abaali mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya baali bakimanyi nti Pawulo yafuuka Omukristaayo omunyiikivu. Naye mu lunyiriri luno, Pawulo okugamba nti yali Mufalisaayo kiyinza okutegeerwa mu ngeri endala; Pawulo yeeyita Mufalisaayo so si Musaddukaayo olw’okuba yali akkiririza mu kuzuukira ng’Abafalisaayo. Mu ku kukola bw’atyo, yayogera ku kintu Abafalisaayo abaaliwo nabo kye baali bakkiririzaamu. Oboolyawo yali asuubira nti okuleeta ensonga eyo kyandireetedde abamu ku abo abaali mu lukiiko olukulu olw’Abayudaaya okukkiriziganya naye, era bwe kityo bwe kyali. (Bik 23:7-9) Ebigambo bya Pawulo ebiri wano mu Bik 23:6 bikwatagana n’ebyo bye yayogera nga yeewozaako mu maaso ga Kabaka Agulipa. (Bik 26:5) Era bwe yali mu Rooma ng’awandiikira Abakristaayo b’omu Firipi, Pawulo yaddamu n’ayogera ku ky’okuba Omufalisaayo. (Baf 3:5) N’Abafalisaayo abalala abafuuka Abakristaayo boogerwako mu ngeri y’emu mu Bik 15:5.—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 15:5.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 24:24

Dulusira: Ono yali muwala wa Kerode ayogerwako mu Bik 12:1, kwe kugamba, Kerode Agulipa I. Ye yali muwala we ow’okusatu era asembayo obuto. Yazaalibwa awo nga mu mwaka gwa 38 E.E., era yali mwannyina wa Agulipa II ne Berenike. (Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 25:13 ne Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu, “Kerode.”) Gavana Ferikisi ye yali omwami we ow’okubiri. Yasooka kufumbirwa kabaka wa Busuuli ayitibwa Kabaka Azizus ow’e Emesa naye ne bagattululwa n’afumbirwa Ferikisi mu mwaka gwa 54 E.E., nga wa myaka nga 16 egy’obukulu. Ayinza okuba nga yaliwo nga Pawulo ayogera eri Ferikisi ku bikwata “ku butuukirivu, okwefuga, n’okusala omusango okulibaawo.” (Bik 24:25) Ferikisi bwe yawaayo obwagavana eri Fesuto, yaleka Pawulo nga musibe olw’okwagala “okuganja eri Abayudaaya,” era abamu balowooza nti ekyo yakikola okusanyusa mukyala we eyali akyali omuto, era eyali Omuyudaaya.—Bik 24:27.

JJANWALI 21-27

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 25-26

“Pawulo Ajulira Kayisaali era Oluvannyuma Abuulira Kabaka Agulipa”

bt-E lup. 198 ¶6

“Njulira Kayisaali!”

Fesuto okwagala okuwaayo Pawulo eri Abayudaaya, kyali kigenda kuteeka obulamu bwa Pawulo mu kabi. N’olwekyo, Pawulo yakozesa eddembe lye yalina ng’omutuuze wa Rooma. Yagamba Fesuto nti: “Nnyimiridde mu maaso g’entebe ya Kayisaali ey’okusalirako emisango we nteekeddwa okuwozesebwa. Sirina kibi kye nkoze Bayudaaya nga naawe bw’okizudde. . . . Njulira Kayisaali!” Omuntu bwe yajuliranga Kayisaali kyabanga tekisobola kusazibwamu. Ekyo Fesuto yakiraga bulungi bwe yagamba nti: “Ojulidde Kayisaali, era ewa Kayisaali gy’ojja okugenda.” (Bik. 25:10-12) Pawulo bwe yajulira eri omuntu alina obuyinza obusingako, yateerawo Abakristaayo ab’amazima eky’okulabirako. Abatuyigganya bwe bagezaako ‘okutuleetera emitawaana nga beeyambisa amateeka,’ tukozesa amateeka agaliwo okulwanirira amawulire amalungi.—Zab 94:20.

bt-E lup. 198-201 ¶10-16

“Njulira Kayisaali!”

Pawulo yawa Kabaka Agulipa ekitiibwa n’amwebaza okumuwa akakisa okwewozaako mu maaso ge, era n’akiraga nti kabaka yali amanyi bulungi obulombolombo bw’Abayudaaya n’enkaayana zaabwe. Oluvannyuma Pawulo yayogera ku bulamu bwe yalimu emabega n’agamba nti: “Nnali mu kibiina ky’eddiini ekisinga okukwata enjigiriza z’eddiini yaffe, nnali Mufalisaayo.” (Bik. 26:5) Okufaananako Abafalisaayo abalala, Pawulo yali asuubira okujja kwa Masiya. Naye olw’okuba kati Mukristaayo, ayogera n’obuvumu nti Yesu Kristo y’oyo gwe baali balindirira. Pawulo yali awozesebwa olw’ekintu ye n’abo abaali bamuvunaana kye baali bakkiririzaamu, nga kwe kutuukirizibwa kw’ekisuubizo Katonda kye yasuubiza bajjajjaabe. Ekyo kyaleetera Agulipa okwagala okumanya ebyo Pawulo bye yali agenda okuzzaako.

Ng’ayogera ku ngeri gye yayigganyaamu Abakristaayo, Pawulo yagamba nti: “Nze kennyini nnalowoozanga nti nnali nteekeddwa okukola ebintu bingi ebiziyiza ekibiina ekiyitibwa erinnya lya Yesu Omunnazaaleesi. . . . Olw’okuba nnabasunguwalira nnyo, nnabayigganyanga ne mu bibuga ebirala.” (Bik. 26:9-11) Pawulo yali tasavuwaza. Abantu bangi baali bamanyi engeri gye yayigganyaamu Abakristaayo. (Bag. 1:13, 23) Agulipa ayinza okuba nga yeebuuza nti: ‘Kiki ekyaleetera omusajja ng’ono okukyuka?’

Ebigambo Pawulo bye yaddako okwogera bituwa eky’okuddamu. Yagamba nti: “Lwali lumu, nga ŋŋenda e Ddamasiko era nga nfunye obuyinza n’ebiragiro okuva eri bakabona abakulu, Ai Kabaka, nga ndi mu kkubo mu ssaawa ez’omu ttuntu, ekitangaala okuva mu ggulu ekisinga eky’enjuba ne kyaka okunneetooloola awamu n’abo be nnali ntambula nabo. Ffenna bwe twali tugudde wansi, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba mu Lwebbulaniya nti: ‘Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya? Okusamba emiwunda kirumya ggwe.’ Ne mbuuza nti, ‘Ggwe ani Mukama wange?’ Mukama waffe n’aŋŋamba nti: ‘Nze Yesu, gw’oyigganya.’”—Bik. 26:12-15.

Ekyo nga tekinnabaawo, Pawulo yali ‘ng’asamba emiwunda.’ Ng’ensolo bw’eyinza okwerumya yokka ng’esamba ekyuma ekisongovu ekiri ku muwunda, Pawulo bwe yaziyizanga ekigendererwa kya Katonda yali yeerumya yekka mu by’omwoyo. Yesu bwe yalabikira Pawulo mu kkubo erigenda e Ddamasiko, yayamba omusajja oyo eyali omwesimbu naye ng’abuzaabuziddwa, okukyusa endowooza ye.—Yok. 16:1, 2.

Mu butuufu, Pawulo yakola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwe. Bwe yali ayogera ne Agulipa yagamba nti: “Saajeemera bubaka bwe nnafuna okuyitira mu kwolesebwa okwava mu ggulu, naye nnasookera ku b’omu Ddamasiko oluvannyuma ne ŋŋenda mu Yerusaalemi, ne mu kitundu kyonna eky’e Buyudaaya, ne mu b’amawanga nga mbagamba beenenye badde eri Katonda, nga bakola ebikolwa ebiraga nti beenenyezza.” (Bik. 26:19, 20) Okumala emyaka mingi, Pawulo yali akola omulimu Yesu Kristo gwe yamuwa ku lunaku lwe yamulabikira. Biki ebyavaamu? Abo abaawuliriza amawulire amalungi Pawulo ge yababuulira, beenenya ne baleka ebikolwa byabwe ebibi ne badda eri Katonda. Abantu abo baatandika okweyisa obulungi era ne batandika okugondera amateeka.

Kyokka ebintu ebyo ebirungi tebyakwata ku Bayudaaya abaali bayigganya Pawulo. Pawulo yagamba nti: “Abayudaaya kyebaava bankwatira mu yeekaalu ne bagezaako okunzita. Naye olw’okuba nfunye obuyambi okuva eri Katonda, n’okutuusa leero nkyawa abantu ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa obujulirwa.”—Bik. 26:21, 22.

Okufaananako Pawulo, tusaanidde ‘okuba abeetegefu okuddamu buli muntu atubuuza ebikwata’ ku nzikiriza zaffe. (1 Peet. 3:15) Bwe tuba twogera n’abalamuzi oba n’abafuzi ku bikwata ku nzikiriza zaffe, tusaanidde okukoppa engeri Pawulo gye yayogera ne Agulipa era ne Fesuto. Bwe tubabuulira engeri amazima agali mu Bayibuli gye gakyusizzaamu obulamu bwaffe awamu n’obw’abo be tubuulira, era nga tukikola mu ngeri ebaweesa ekitiibwa, bayinza okukwatibwako.

bt-E lup. 202 ¶18

“Njulira Kayisaali!”

Naye Pawulo yaddamu gavana nti: “Sigudde ddalu ow’Ekitiibwa Fesuto, naye njogera ebigambo eby’amazima era eby’amagezi. Mazima ddala, kabaka gwe njogera naye awatali kutya amanyi bulungi nnyo ebintu bino . . . Kabaka Agulipa, okkiririza mu Bannabbi? Nkimanyi nti obakkiririzaamu.” Agulipa n’agamba Pawulo nti: “Mu kaseera katono wandinsendasenda ne nfuuka Omukristaayo.” (Bik. 26:25-28) Ka kibe nti Agulipa ebigambo ebyo yabyogera mu bwesimbu oba nedda, biraga nti ebyo Pawulo bye yayogera byamukwatako nnyo.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 26:14

Okusamba emiwunda: Omuwunda gwali muggo ogwabangako ekyuma ekisongovu ogwakozesebwanga okusindiikiriza ensolo etambule. (Bal 3:31) Ebigambo “okusamba emiwunda” lugero olusangibwa mu bitabo by’Oluyonaani. Lwava ku nte eyagaananga okutambula n’essamba omuwunda ne yeerumya yokka. Sawulo yeeyisanga mu ngeri y’emu nga tannafuuka Mukristaayo. Pawulo bwe yayigganya abagoberezi ba Yesu, abaalina obuyambi bwa Yakuwa Katonda, yali ateeka obulamu bwe mu kabi. (Geraageranya Bik 5:38, 39; 1Ti 1:13, 14.) Mu Mub 12:11, “emiwunda” gyogerwako mu ngeri ya kabonero okutegeeza ebigambo omuntu ow’amagezi by’ayogera ebireetera oyo amuwuliriza okukolera ku ebyo by’amugambye.

nwt awannyonnyolerwa ebigambo ebimu

Omuwunda. Omuggo omuwanvu ogwabangako ekyuma ekisongovu abalimi gwe baakozesanga okusindiikiriza ensolo etambule. Omuwunda gugeraageranyizibwa ku bigambo by’omuntu ow’amagezi ebireetera omuntu okukolera ku kubuulirira kw’amuwadde. Ebigambo “okusamba emiwunda” biva ku kuba nti ente yasambanga omuwunda nga teyagala kutambula ne yeerumya.—Bik 26:14; Bal 3:31.

w03 12/1 lup. 15 ¶14

Yamba Abalala Okukkiriza Obubaka bw’Obwakabaka

Pawulo yali amanyi nti Agulipa yali Muyudaaya mu bigambo bugambo. Ng’ayogera ku ebyo Agulipa bye yali amanyi ku ddiini y’Ekiyudaaya, Pawulo yagamba nti mu kubuulira kwe yali ‘talina kirala kyonna ky’ayogera okuggyako ebyo Bannabbi ne Musa bye baayogera nti byali bya kubaawo’ ebikwata ku kufa n’okuzuukira kwa Masiya. (Ebikolwa 26:22, 23) Ng’ayogera butereevu ne Agulipa, Pawulo yabuuza nti: “Kabaka Agulipa, okkiririza mu Bannabbi?” Awo Agulipa yasoberwa. Aba kugamba nti yali takkiririza mu bannabbi, erinnya lye ng’Omuyudaaya omukkiriza lyandibadde lyonooneka. Naye, aba kukkiriziganya ne Pawulo, yandibadde yeetadde mu kabi ak’okuyitibwa Omukristaayo. Mu ngeri ey’amagezi Pawulo yaddamu ekibuuzo ekyo n’agamba nti: “Nkimanyi nti obakkiririzaamu.” Agulipa yaddamu atya? Yagamba nti: ‘Mu kaseera katono wandinsendasenda ne nfuuka Omukristaayo.’ (Ebikolwa 26:27, 28) Wadde nga Agulipa teyafuuka Mukristaayo, awatali kubuusabuusa, obubaka bwa Pawulo bwatuuka ku mutima gwe.—Abebbulaniya 4:12.

JJANWALI 28–FEBWALI 3

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EBIKOLWA 27-28

“Pawulo Asaabala Okugenda e Rooma”

bt-E lup. 208 ¶15

“Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”

Kirabika Pawulo yabuulira abo abaali naye mu kyombo ku bikwata ku ‘kisuubizo kya Katonda.’ (Bik. 26:6; Bak. 1:5) Kati ng’ekyombo kinaatera okumenyekamenyeka, Pawulo asobola okubakakasa nti baali bajja kuwonawo. Yabagamba nti: “Katonda gwe nsinza era gwe mpeereza, yatumye malayika we ekiro . . . n’aŋŋamba nti, ‘Totya Pawulo. Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali, era laba! Katonda ajja kuwonyaawo obulamu bw’abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’” Pawulo yabakubiriza nti: “Mugume, kubanga nnina obwesige mu Katonda nti kijja kuba nga bwe kyaŋŋambiddwa. Naye ekyombo kijja kumenyekeramenyekera okumpi n’ekizinga ekimu.”—Bik. 27:23-26.

bt-E lup. 209 ¶18

“Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”

Abo abaawonawo beesanga ku kizinga ekiyitibwa Maluta, ekiri ebukiikaddyo wa Sicily. (Laba akasanduuko “Maluta—Kyali Kisangibwa Wa?”) Abantu b’oku kizinga ekyo baabalaga “ekisa ekitalojjeka.” (Bik. 28:2) Baakumira abantu abo be baali batamanyi omuliro basobole okubuguma kubanga baali batobye era nga batintima. Omuliro ogwo gwabayamba okubuguma wadde ng’obudde bwali bunnyogovu nnyo era ng’enkuba etonnya. Ate era kyaviirako ekyamagero okukolebwa.

bt-E lup. 210 ¶21

“Tewali n’Omu ku Mmwe Ajja Kufiirwa Bulamu Bwe”

Nnannyini kizinga ekyo omugagga eyali ayitibwa Pubuliyo yali abeera mu kitundu ekyo. Ayinza okuba nga yali mukungu Omuruumi eyali atwala ekizinga kya Maluta. Lukka amwogerako “ng’omukulu w’ekizinga,” ebigambo byennyini ebyasangibwa ku bipande bibiri ebyazuulibwa ku kizinga ky’e Maluta. Yalabirira Pawulo ne banne okumala ennaku ssatu. Kyokka taata wa Pubuliyo yali mulwadde nnyo. Lukka atubuulira obulwadde bwennyini obwali bumuluma. Yawandiika nti taata wa Pubuliyo “yali yeebase nga mulwadde omusujja n’ekiddukano ky’omusaayi.” Pawulo yasabira omulwadde n’amusaako emikono n’awona. Ekyamagero ekyo kyakwata nnyo ku bantu b’omu kitundu ekyo ne baleeta abalwadde baabwe bawonyezebwe, era ne baleetera Pawulo n’abo be yali nabo ebirabo.—Bik. 28:7-10.

bt-E lup. 213 ¶10

“Okuwa Obujulirwa mu Bujjuvu”

Bwe baatuuka e Rooma, ‘Pawulo yakkirizibwa okubeera yekka n’omusirikale eyali amukuuma.’ (Bik. 28:16) Omusibe eyabanga takuumiddwa nnyo yasibibwanga olujegere era ne lusibibwa ku musirikale eyabanga amukuuma. Wadde kyali kityo, Pawulo yali mubuulizi w’Obwakabaka, era olujegere terwamulemesa kubuulira. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okuwummulako ennaku ssatu, yayita abakulu b’Ababayudaaya abaali mu Rooma asobole okubeeyanjulira n’okubawa obujulira.

Okusima eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 27:9

ekisiibo ky’Olunaku olw’Okutangirira: Obut., “ekisiibo.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “ekisiibo” kitegeeza ekisiibo kyokka ekyalagirwa mu Mateeka ga Musa, kwe kugamba, ekisiibo ekikwataganyizibwa n’Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi, olwabangawo omulundi gumu buli mwaka, era oluyitibwa Yom Kippur (Mu Lwebbulaniya, yohm hak·kip·pu·rimʹ, “olunaku lw’ebibikka”). (Lev 16:29-31; 23:26-32; Kbl 29:7; laba Awannyonnyolerwa Ebigambo Ebimu, “Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi.”) Ekigambo ‘okwebonyaabonya,’ ekikwataganizibwa n’Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi, okutwalira awamu kitegeeza okwerumya mu ngeri ezitali zimu, omuli n’okusiiba. (Lev 16:29, obugambo obuli wansi) Ekigambo “ekisiibo” ekikozesebwa mu Bik 27:9 kiraga nti engeri esinga obukulu ey’okwerumya ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi kwali kusiiba. Olunaku olw’Okutangirirako Ebibi lwabangawo ku nkomerero ya Ssebutemba oba ku ntandikwa ya Okitobba.

nwtsty awannyonnyolerwa ebiri mu Bik 28:11

Abaana ba Zewu: Okusinziira ku nfumo z’Abayonaani n’Abaruumi, “Abaana ba Zewu” (Mu Luyonaani, Di·oʹskou·roi) baali Kesuta ne Poluki, abalongo era ng’abaana ba katonda ayitibwa Zewu (Jupiter) be yazaala mu Naabakyala w’e Sparta ayitibwa Leda. Kyali kitwalibwa nti be baakuumanga abalunnyanja, era be baabawonyanga nga bafunye ekizibu ku nnyanja. Kalonda ono akwata ku kabonero akaali ku kyombo bukakafu obulala obulaga nti eyabiwandiika yabyerabirako n’agage.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share