LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • th essomo 2 lup. 5
  • Okwogera ng’Anyumya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwogera ng’Anyumya
  • Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Similar Material
  • Okwogera n’Ebbugumu
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okwogera mu Ngeri eya Bulijjo
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okwogera nga Weekakasa
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
  • Okwoleka Omukwano n’Ekisa
    Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
See More
Nyiikirira Okusoma n’Okuyigiriza
th essomo 2 lup. 5

ESSOMO 2

Okwogera ng’Anyumya

Ekyawandiikibwa

2 Abakkolinso 2:17

MU BUFUNZE: Yogera mu ngeri eya bulijjo era ng’oli mwesimbu. Ekyo kijja kulaga nti ensonga gy’oyogerako nkulu era nti ofaayo ku bakuwuliriza.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Saba Yakuwa era weeteeketeeke bulungi. Saba Yakuwa akuyambe okussa ebirowoozo byo ku by’ogenda okwogera, so si ku ekyo abakuwuliriza kye bakulowoozaako. Tegeera bulungi ensonga enkulu eziri mu ebyo by’ogenda okwogera. Ensonga ezo ziteeke mu bigambo byo mu kifo ky’okuzikwata obukusu.

    Eky’okukola

    Bw’oba onoosoma mu Bayibuli oba ekitabo ekirala, weegezeemu osobole okusoma nga tosikattira. Bw’oba osoma ebigambo by’omuntu ebyajulizibwa, soma ng’oggyayo enneewulira ye, naye tosavuwaza.

  • Yogera ebiva ku mutima. Lowooza ku nsonga lwaki abanaakuwuliriza beetaaga okuwulira by’ogenda okubabuulira. Ebirowoozo byo bisse ku bo. Bw’onookola bw’otyo, engeri gy’onooyimiriramu, n’engeri gy’onookozesaamu ebitundu byo eby’omubiri n’endabika yo ey’oku maaso bijja kulaga nti oli mwesimbu era nti obafaako.

    Eky’okukola

    Okwogera mu ngeri eya bulijjo tekitegeeza kwogera mu ngeri ya kisaazisaazi. Kozesa ebigambo ebitegeerekeka obulungi, era goberera amateeka agafuga olulimi.

  • Tunuulira abakuwuliriza. Tunuulira abakuwuliriza bwe kiba nga tekibayisa bubi. Bw’oba oyogera eri abantu abangi, tunuulira omuntu omu omu mu kifo ky’okutambuza amaaso buli wamu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share