ESSOMO 4
Okwanjula Ebyawandiikibwa
Matayo 22:41-45
MU BUFUNZE: Leetera abawuliriza okwesunga ekyawandiikibwa ky’ogenda okusoma.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Manya ensonga lwaki ogenda kusoma ekyawandiikibwa. Yanjula buli kyawandiikibwa mu ngeri eneeyamba abakuwuliriza okulaba ensonga gy’oyagala okuggyayo mu kyawandiikibwa ekyo.
Laga nti by’ogenda okusoma biva mu Bayibuli. Bw’oba oyogera eri abantu abakkiririza mu Katonda, yogera ku Bayibuli “ng’Ekigambo kya Katonda,” basobole okukiraba nti amagezi agagirimu ge gasingayo obulungi.
Baleetere okwesunga ekyawandiikibwa. Buuza ekibuuzo ekiddibwamu mu kyawandiikibwa ky’ogenda okusoma, nokolayo ekizibu ekyawandiikibwa ekyo kye kisobola okugonjoola, oba laga omusingi oguli mu kyawandiikibwa ekyo.