LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 6/1 lup. 3-5
  • Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BANNASSAAYANSI BYE BATASOBOLA KUKOLA
  • Ssaayansi by’Atasobola Kukola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Bannassaayansi Bye Batasobola Kutubuulira
    Zuukuka!—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 6/1 lup. 3-5
Ebimu ku bintu bannassaayansi bye bakoze: emmotoka, GPS, satellite, ennyonyi, ebyuma ebikuba ebifaananyi by’obwongo

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | SSAAYANSI ADIBIZZA BAYIBULI?

Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu

Enkuluze emu egamba nti, ssaayansi kwe “kunoonyereza n’okwetegereza ebintu eby’omu butonde ng’oyitira mu kugezesa n’okupima ebintu ebitali bimu.” Okukola ebintu bino guba mulimu gwa maanyi nnyo. Bannassaayansi bamala emyezi mingi oluusi n’emyaka mingi nga banoonyereza ku bintu ebiri mu butonde. Ebiseera ebimu okufuba kwabwe kugwa butaka, naye emirundi egisinga abantu baganyulwa mu ebyo ebiba bizuuliddwa. Lowooza ku byokulabirako bino.

Kampuni emu mu Bulaaya yakola akasengejja nga kasobola okusengejja amazzi ne bwe gaba makyafu gatya, ne kiba nti omuntu ne bw’aganywa tayinza kukwatibwa bulwadde. Obusengejja ng’obwo bukozesebwa mu bifo awaba wagudde obutyabaga gamba nga musisi eyayita mu Haiti mu mwaka gwa 2010.

Mu bwengula waliyo ebyuma ebiyitibwa satellites ebiyamba okuzuula wa wennyini ebintu we biri ku nsi oba mu bwengula, nga bikozesa enkola eyitibwa Global Positioning System (GPS). Enkola eno yategekebwa kukozesebwa magye, naye era eyamba abavuzi b’emmotoka, abavuzi b’ennyonyi, abavuzi b’emmeeri, n’abantu abatambula eŋŋendo empanvu ennyo okumanya we balina okuyita. Tetwandibadde na nkola ya GPS singa bannassaayansi tebaagiyiiya.

Okozesa essimu ey’omu ngalo, kompyuta, oba Intaneeti? Olaba enkulaakulana eriwo mu by’obujjanjabi? Otera okutambulira mu nnyonyi? Bwe kiba bwe kityo, naawe oli omu ku bantu abaganyulwa mu birungi ebivudde mu ssaayansi. Mu butuufu ssaayansi atuganyudde mu ngeri nnyingi.

BANNASSAAYANSI BYE BATASOBOLA KUKOLA

Olw’okuba bannassaayansi baagala okukola ebintu ebirala bingi, beeyongedde okunoonyereza ku ebyo ebiri mu butonde. Bannassaayansi abanoonyereza ku maanyi ga Nukiriya baagala okunoonyereza ku maanyi agali mu kantu akasingayo obutono mu butonde akayitibwa atomu, ate abo abanoonyereza ku bwengula baagala nnyo okumanya emyaka obutonde gye bumaze. Gye bakoma okunoonyereza ku bintu ebiri ewala ennyo era ebitalabika, gye bakoma okulowooza nti singa Katonda ayogerwako mu Bayibuli gy’ali, bandimuzudde.

Bannassaayansi abamu abatutumufu n’abafirosoofo bakkiriziganya n’omuwandiisi omu ayitibwa Amir D. Aczel eyagamba nti, “ssaayansi awakanya nti Katonda gy’ali.” Ng’ekyokulabirako, munnassaayansi omu omututumufu yagamba nti, “olw’okuba tewali bukakafu bulaga nti waliyo Katonda abeesaawo obutonde bwonna, tewali kubuusabuusa nti katonda taliiyo.” Abalala bagamba nti ebikolwa bya Katonda ayogerwako mu Bayibuli bya “bufuusa” oba nti “bukodyo obuzibu okutegeera.”a

Naye ekibuuzo kiri nti: Bannassaayansi bayize ebikwata ku butonde bwonna balyoke bawunzike nga bwe bagamba? Nedda. Wadde nga waliwo enkulaakulana ya maanyi mu bya ssaayansi, bannassaayansi bagamba nti waliwo ebintu bingi bye batannamanya ne bye batayinza kumanya. Ng’ayogera ku kutegeera obulungi obutonde, munnassaayansi ayitibwa Steven Weinberg yagamba nti: “Tetusobola kutegeera bintu byonna.” Kakensa omu ow’eby’obwengula mu Bungereza ayitibwa Martin Rees yawandiika nti: “Wayinza okubaayo ebintu ng’abantu ne bwe bakola batya tebalibitegeera.” Ekituufu kiri nti ebintu ebisinga obungi mu butonde, ka kabeere katoffaali akasingayo obutono oba obwaguuga bw’obwengula, bannassaayansi tebannabitegeera. Lowooza ku byokulabirako bino:

  • DNA

    Bannassaayansi tebategeera mu bujjuvu ngeri obutoffaali obuli mu mubiri gye bukolamu. Ng’ekyokulabirako, engeri obutoffaali gye bukozesaamu amaanyi g’omubiri, engeri gye bukolamu ebiriisa ebyetaagibwa mu mubiri ebiyitibwa proteins, n’engeri gye bweyawulamu temanyiddwa mu bujjuvu.

  • Omwana ng’asuula akapiira wansi

    Amaanyi agasika ebintu nga gabizza wansi (gravity) ga mugaso gye tuli buli kiseera. Kyokka bannassaayansi tebamanyi ngeri gye gakolamu. Tebamanyidde ddala bulungi engeri amaanyi ago gye gakusika ne gakuzza wansi bw’obuuka oba engeri gye gayambamu omwezi obutawaba kuva mu kkubo lyagwo nga gwetooloola ensi.

  • Obwengula

    Bannassaayansi abanoonyereza ku ngeri ensi gye yakulamu bagamba nti ebyuma byabwe tebisobola kulaba kumpi ebintu 95 ku buli 100 ebiri mu butonde. Olw’okuba ebintu ebyo tebiyinza kulabibwa, era tebiyinza kumanyibwa.

Waliwo ebintu ebirala bingi ebiwuniikiriza ne bannassaayansi. Lwaki kikulu okumanya ekyo? Omuwandiisi omu omututumufu agamba nti: “Ebintu bye tutamanyi bingi nnyo okusinga ebyo bye tumanyi. Ebyo bannassaayansi bye bakola byandituleetedde kwongera kubinoonyerezaako.”

N’olwekyo, bw’oba ng’olowooza nti ssaayansi anaatera okudibya Bayibuli kiviireko abantu obutakkiririza mu Katonda, lowooza ku nsonga eno: Bwe kiba nti bannassaayansi abagezi ennyo era abakozesa ebyuma eby’omulembe bategedde kitono nnyo ku butonde, kyandibadde kya magezi okubuusabuusa ebintu bannassaayansi bye bakyalemereddwa okutegeera obulungi? Ekitabo ekiyitibwa Encyclopedia Britannica bwe kiba kiwa ebyafaayo ku kunoonyereza ebiri mu bwengula, kifundikira nga kigamba nti: “Wadde nga kati wayise emyaka nga 4,000 nga bannassaayansi banoonyereza ku biri mu bwengula, ne leero bannassaayansi tebannategeerera ddala ebyo ebiri mu bwengula ng’Abababulooni bwe baali.”

Abajulirwa ba Yakuwa bakimanyi nti buli muntu alina eddembe okwesalirawo ky’alina okukkiririzaamu. Tufuba nnyo okukolera ku musingi guno oguli mu Bayibuli: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” (Abafiripi 4:5) Eyo ye nsonga lwaki tukukubiriza okwekenneenya engeri ssaayansi ne Bayibuli gye bikwataganamu.

a Abantu abamu tebakkiririza mu Bayibuli olw’enjigiriza z’amadiini ag’obulimba, gamba ng’enjigiriza egamba nti ensi eri mu makkati g’obwengula oba eyo egamba nti ensi yatondebwa mu nnaku mukaaga ez’essaawa 24.​—Laba akasanduuko, “Bayibuli Ekwatagana n’Ebyo Ssaayansi by’Azudde.”

Bayibuli Ekwatagana n’Ebyo Ssaayansi by’Azudde

Bayibuli si kitabo kya ssaayansi. Naye, kirungi bannassaayansi okukimanya nti abawandiisi ba Bayibuli baawandiika ebintu bingi ebikwatagana ne ssaayansi. Lowooza ku byokulabirako bino.

  • Obwengula

    Emyaka ensi n’obwengula gye bimaze

    Bannassaayansi bateebereza nti ensi emaze emyaka obuwumbi nga 4 era nti obwengula bumaze emyaka egiri wakati w’obuwumbi 13 ne 14. Bayibuli teyogera myaka ensi n’obwengula gye bimaze. Tewali Bayibuli w’egambira nti ensi emaze emyaka nkumi na nkumi gyokka. Olunyiriri olusooka mu Bayibuli lugamba nti: “Olubereberye Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Olubereberye 1:1) Ebigambo ebyo biyamba bannassaayansi okunoonyereza ku bintu ebyatondebwa ne basobola okumanya emyaka ensi n’obwengula gye bimaze.

  • Ensozi, ebimera, n’amazzi

    Ensi yakolebwa, abantu bagibeereko

    Olubereberye essuula esooka ekozesa ekigambo ‘olunaku’ ng’eyogera ku mitendera gy’okutonda ensi esobole okubeerako ebitonde eby’enjawulo. Omuntu kye kitonde ekyasembayo okutondebwa. Bayibuli teyogera buwanvu bwa “nnaku” omukaaga Katonda ze yamala ng’atonda. Mu kifo ky’ekyo, ewa bannassaayansi akakisa okunoonyereza ku buwanvu bw’ennaku ezo. Ekituufu kiri nti “ennaku” omukaaga Katonda ze yamala ng’atonda zaali mpanvu okusinga ennaku ez’essaawa 24.

  • Ensi

    Engeri ensi gy’ewaniriddwamu

    Bayibuli egamba nti ensi ewanikiddwa “awatali kigiwanirira.” (Yobu 26:7, NW ) Bayibuli tegamba nti ensi ewaniriddwa enjovu ennene eziyimiridde ku nfudu ng’enfumo ezimu ez’edda bwe zigamba. Mu kifo ky’ekyo, Bayibuli ewa bannassaayansi akakisa okunoonyereza ku nsonga eyo. Nga wayiseewo ekiseera, Nicolaus Copernicus ne Johannes Kepler bannyonnyola engeri zisseŋŋendo gye zeetooloolamu enjuba nga zikozesa amaanyi agatalabika. Isaac Newton naye oluvannyuma yalaga engeri amaanyi ago (gravitation) gye gayambamu ebintu okutambula mu bwengula.

  • Obuwuka obuyitibwa bacteria

    Amagezi agakwata ku by’obuyonjo ne ku kuziyiza endwadde

    Ekitabo ky’Eby’Abaleevi kirimu ebiragiro ebyaweebwa Abaisiraeri ku ngeri y’okwewalamu endwadde ezisaasaana amangu nga mw’otwalidde n’okwawula abalwadde okuva ku balamu. Ate era okusinziira ku Ekyamateeka 23:12, 13, Abaisiraeri baalinanga okugenda ebweru w’ensiisira okweyamba oluvannyuma ne baziika obubi bwabwe mu ttaka. Mu myaka 200 egiyise, bannassaayansi n’abasawo mwe bategeeredde nti kikulu nnyo okukolera ku magezi ago.

Ebintu bino ebiri mu Bayibuli byawandiikibwa ebyasa bingi emabega. Abawandiisi abo baasobola batya okuwandiika ebintu ebituufu bwe bityo ng’ate n’abantu abayivu abaaliwo mu kiseera ekyo baali tebabimanyi? Yakuwa eyaluŋŋamya abaawandiika Bayibuli agamba nti: “Kuba eggulu nga bwe lisinga ensi obugulumivu, amakubo gange bwe gasinga bwe gatyo amakubo gammwe, n’ebirowoozo byange ebirowoozo byammwe.”​—Isaaya 55:9.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share