LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 6/1 lup. 6-7
  • Ssaayansi by’Atasobola Kukola

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ssaayansi by’Atasobola Kukola
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Engeri Ssaayansi gy’Atuganyulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 6/1 lup. 6-7
Munnassaayansi mu kifo gye bakolera okunoonyereza

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | SSAAYANSI ADIBIZZA BAYIBULI?

Ssaayansi by’Atasobola Kukola

Gye buvuddeko, ebitabo ebinnyonnyola endowooza z’abo abatakkiririza mu Katonda byeyongedde obungi. Abantu bangi abettanira ebitabo ebyo baba bawakana nnyo. Ku nsonga eno, munnassaayansi ayitibwa David Eagleman yawandiika nti: “Abantu abamu abasoma ebitabo ebyo . . . bafuna endowooza nti bannassaayansi bamanyi buli kimu.” Agattako nti: “Kyokka bannassaayansi abalungi baagala nnyo okukubaganya ebirowoozo era bwe bakola okunoonyereza, bavumbula ebintu ebipya era bye babadde tebasuubira.”

Munnassaayansi ng’akozesa ekyuma ekiraba ebiri ewala mu bwengula

Okumala emyaka mingi, bannassaayansi abakugu basobodde okuzuula ebintu bingi ebyewuunyisa ebikwata ku butonde ebyali byalema abalala. Kyokka, abamu bakoze ensobi mu kunoonyereza kwabwe. Ng’ekyokulabirako, Isaac Newton y’omu ku bannassaayansi abakugu ennyo abaali babaddewo. Yalaga engeri amaanyi agasika ebintu nga gabizza eri binnaabyo gye gayambamu zisseŋŋendo, emmunyeenye, n’ebibinja by’emmunyeenye okutambula obulungi mu bwengula. Ye yatandikawo okubala okuyitibwa calculus okukozesebwa mu kutambula kw’ennyonyi n’ebizungirizi, mu ssaayansi wa nukiriya, ne mu kukola kompyuta. Ate era, Newton yasoma ssaayansi akwata ku kunoonyereza obanga zzaabu asobola okufunibwa mu byuma ebitali bimu.

Emyaka egisukka mu 1,500 nga Newton tannabaawo, omusajja Omuyonaani ayitibwa Ptolemy yeekenneenya ebiri ku ggulu ng’akozesa maaso ge gokka. Yalaba engeri emmunyeenye gye zitambulamu ekiro ate era yali mukugu mu kukuba mmaapu. Naye yali akkiriza nti ensi ge makkati g’obutonde bwonna. Munnassaayansi ayitibwa Carl Sagan yawandiika bw’ati ku Ptolemy: “Eky’okuba nti endowooza ye egamba nti ensi ge makkati g’obutonde bwonna yakkirizibwa okumala emyaka 1,500, kiraga nti omuntu ne bw’aba omugezi ennyo, endowooza ye eyinza okuba enkyamu.”

Munnassaayansi ng’asoma Bayibuli

Ne leero bannassaayansi boolekagana n’okusoomoozebwa kwe kumu. Balisobola okunnyonnyola ebintu byonna ebikwata ku butonde? Wadde nga kirungi okumanya ebintu ebirungi ssaayansi by’akoze, kikulu okukijjukira nti waliwo ebintu ssaayansi by’atasobola kukola. Munnassaayansi ayitibwa Paul Davies yagamba nti: “Tekisoboka kunnyonnyola bintu byonna ebikwata ku butonde ne bitegeerekeka bulungi awatali kukontana.” Ebigambo ebyo biraga nti abantu tebasobola kutegeera mu bujjuvu ebikwata ku butonde. N’olwekyo, si kya magezi kukkiriza nti ssaayansi asobola okunnyonnyola buli kimu ekikwata ku butonde.

Bayibuli eyogera bw’eti ku bintu ebyewuunyisa ebiri mu butonde: “Laba, gano ge mabbali gokka ag’amakubo [ga Katonda]: n’akagambo ke tumuwulirako nga katono!” (Yobu 26:14) Wakyaliyo ebintu bingi abantu bye batamanyi era nga tebalina busobozi bwa kubitegeera. Ebigambo omutume Pawulo bye yawandiika emyaka 2,000 emabega, bikyali bituufu: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nga tenoonyezeka, n’amakubo ge nga tegazuulika!”​—Abaruumi 11:33.

Mu butuufu Bayibuli etuwa amagezi amalungi ssaayansi g’atasobola kutuwa

Obulagirizi Ssaayansi bw’Atasobola Kutuwa

Wadde nga ssaayansi atuyamba okutegeera ebikwata ku butonde, Bayibuli erimu amagezi n’obulagirizi obusobola okutuyamba okukolagana obulungi n’abalala era n’okubeera n’obulamu obw’essanyu era obumatiza. Lowooza ku byokulabirako bino.

  • Akabonero k’omukono akategeeza nti koma awo

    Okuziyiza Obumenyi bw’Amateeka

    Obulamu butwale nga bwa muwendo

    “Tottanga.”​—Okuva 20:13.

    “Buli akyawa muganda we aba mussi.”​—1 Yokaana 3:15.

    Noonya emirembe era ogikuume

    “Va mu bubi, okolenga obulungi; Noonyanga emirembe, ogigobererenga.”​—Zabbuli 34:14.

    “Ekibala eky’obutuukirivu, ensigo yaakyo esigibwa mu mbeera ez’emirembe ku lw’abo abaleeta emirembe.”​—Yakobo 3:18.

    Weewale ebikolwa eby’obukambwe

    “Yakuwa yeetegereza omutuukirivu n’omubi; akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe.”​—Zabbuli 11:5, NW.

    “Tokwatirwanga buggya omusajja [akola eby’obukambwe], So teweerobozanga makubo ge gonna. Kubanga omukyamu wa muzizo eri Mukama.”​—Engero 3:31, 32.

  • Amaka

    Essanyu mu Maka

    Gondera bazadde bo

    “Abaana, mugonderenga bazadde bammwe mu Mukama waffe kubanga kino kya butuukirivu: ‘Kitaawo ne nnyoko obassangamu ekitiibwa’; kye kiragiro ekisooka ekiriko ekisuubizo ekigamba nti: ‘Osobole okubeera obulungi era owangaalenga ku nsi.’ ”​—Abeefeso 6:1-3.

    Yigiriza bulungi abaana bo

    “Temunyiizanga baana bammwe, naye mubakuze mu kukangavvula kwa Yakuwa era mubateekemu endowooza ye.”​—Abeefeso 6:4.

    “Temunyiizanga baana bammwe, baleme okuggwaamu amaanyi.”​—Abakkolosaayi 3:21.

    Yagala munno mu bufumbo era musseemu ekitiibwa

    “Buli omu ku mmwe ayagale mukazi we nga bwe yeeyagala, omukazi naye asseemu nnyo bbaawe ekitiibwa.”​—Abeefeso 5:33.

  • Amaka

    Okukuuma obutonde bw’ensi

    Bayibuli eyogera bw’eti ku abo abaayonoona ensi mu biseera by’Abaisiraeri: “Ensi eyonooneddwa abagibeeramu, . . . era abo abagibeeramu baliko omusango.” (Isaaya 24:5, 6, NW ) Katonda ajja kuvunaana abo aboonoona obutonde. Ajja ‘kuzikiriza abo aboonoona ensi.’ (Okubikkulirwa 11:18) Tajja kubattira ku liiso.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share