LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb22 Jjanwali lup. 11
  • Abavubuka—Mweyabize Bazadde Bammwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abavubuka—Mweyabize Bazadde Bammwe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
  • Similar Material
  • “Kitaawo ne Nnyoko Obassangamu Ekitiibwa”
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Osobola Okubaako ky’Okolawo Okwongera Essanyu mu Maka
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
  • Abazadde—Muyambe Abaana Bammwe Okwagala Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
  • Kozesa Emisingi gya Bayibuli Okuyamba Abaana Bo Okuweereza Yakuwa
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
mwb22 Jjanwali lup. 11

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Abavubuka​—Mweyabize Bazadde Bammwe

Lwaki tosaanidde kutya kubuulira bazadde bo ebikuli ku mutima? (Nge 23:26) Kubanga Yakuwa yabawa obuvunaanyizibwa obw’okukulabirira n’okukuwa obulagirizi. (Zb 127:3, 4) Kibabeerera kizibu okukuyamba singa obakweka ebikweraliikiriza. Ate era oba tojja kuganyulwa mu bumanyirivu bwe balina. Kiba kikyamu okubaako ebintu ebimu by’otobuulira bazadde bo? Tekiba kikyamu singa oba tobakweka ebyo bye balina okumanya.​—Nge 3:32.

Oyinza otya okwogera ne bazadde bo? Gezaako okwogera nabo mu kiseera ekirungi gy’oli, ne gye bali. Ekyo bwe kiba ekizibu, oyinza okuwandiikira omu ku bo ebbaluwa n’omubuulira ebikuli ku mutima. Watya singa baagala mwogere ku kintu ky’otandyagadde kwogerako? Kijjukire nti baagala kukuyamba. Bazadde bo batwale nga mikwano gyo so si ng’abalabe bo. Bw’ofuba okubuulira bazadde bo ebikuli ku mutima, ojja kuganyulwa obulamu bwo bwonna!​—Nge 4:10-12.

MULABE VIDIYO, BWE NNALI OMUTIINI​—NNYINZA KWOGERA NTYA NE BAZADDE BANGE? OLUVANNYUMA MUKUBAGANYE EBIROWOOZO KU BIBUUZO BINO:

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Bwe Nnali Omutiini​—Nnyinza Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?” Omuwala ng’ataddeko obuzindaalo ku matu nga tafaayo ku maama we ky’amugamba.

    Biki Esther ne Partik bye baalaba nti baali beetaaga okukyusaamu?

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Bwe Nnali Omutiini​—Nnyinza Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?” Omuwala ng’alina ekintu ky’alaga maama we ku ssimu.

    Kiki ky’oyigira ku Yesu?

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Bwe Nnali Omutiini​—Nnyinza Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?” Maama ng’ayimirizza mu mirimu gye okuzannyako ne mutabani we.

    Bazadde bo bakiraze batya nti bakufaako?

  • Kiggiddwa mu vidiyo “Bwe Nnali Omutiini​—Nnyinza Kwogera Ntya ne Bazadde Bange?” Omutendesi w’omuzannyo gw’ensero ng’akuba ku lupapula pulaani y’omuzannyo.

    Bazadde bo baagala obe bulungi

    Misingi ki egya Bayibuli egisobola okukuyamba okwogera ne bazadde bo?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share