Bulijjo Yakuwa by’Akola Biba Bituufu
“[Yakuwa] mutuukirivu mu makubo ge gonna.”—ZABBULI 145:17.
1. Wandiyisiddwa otya singa omuntu akwogerako ebyakalebule, era kino kituyigiriza ki?
WALIWO omuntu yenna eyali akwogeddeko ebyakalebule, oboolyawo n’avumirira ebikolwa byo awamu n’ebiruubirirwa byo, kyokka nga talina bukakafu kw’asinziira kuba na ndowooza eyo? Bwe kiba bwe kityo, oteekwa okuba nga wanyiiga nnyo—era wali mutuufu okunyiiga. Kino kirina kye kituyigiriza: obutamala googera kintu kye tutalinaako bukakafu.
2, 3. Kiki abamu kye bakola bwe kituuka ku nsonga Baibuli zeetawaako kalonda yenna eyeetaagisa okusobola okuddamu buli kibuuzo, naye yo Baibuli eyogera ki ku Yakuwa?
2 Kiba kirungi okujjukira ensonga eyo buli lwe tuba twogera ku ebyo Yakuwa Katonda bye yakola. Lwaki? Kubanga waliwo ebintu ebimu mu Baibuli mu kusooka ebiyinza okulabika ng’ebitategeerekeka. Ebintu ebyo biyinza okuba nga bikwata ku ngeri Katonda gye yasalamu emisango mu biseera eby’edda oba engeri abasinza be gye beeyisaamu, naye nga Baibuli tewa kalonda yenna eyeetaagisa akwata ku nsonga ezo. Eky’ennaku, abamu beekwasa ebintu ng’ebyo ne batuuka n’okubuusabuusa obanga Katonda mutuukirivu era mwenkanya. Kyokka, yo Baibuli etutegeeza nti ‘Yakuwa mutuukirivu mu makubo ge gonna.’ (Zabbuli 145:17) Ate era Ekigambo kye kitukakasa nti ‘takola kibi.’ (Yobu 34:12; Zabbuli 37:28) Kati olwo, teeberezaamu engeri gy’awuliramu ng’abantu bamwogeddeko ebyakalebule!
3 Ka twekenneenye ensonga ttaano lwaki twandikkiriza ekyo Yakuwa ky’aba asazeewo. Bwe tunaamala okuzitegeera obulungi, tujja kwekenneenya ebintu ebirala bibiri okuva mu Baibuli ebizibuwalira abamu okutegeera.
Lwaki Twandikkirizza Okusalawo kwa Yakuwa?
4. Lwaki twandibadde beetoowaze nga twekenneenya ekyo Katonda ky’aba asazeewo? Waayo ekyokulabirako.
4 Ensonga esooka eri nti, Yakuwa aba amanyi buli ekiba kizingirwamu, naye ffe tuba tetumanyi. Bwe kityo, twandibadde beetoowaze nga tutegedde ekyo Katonda ky’aba asazeewo. Ng’ekyokulabirako: Kiteeberezemu ng’omulamuzi amanyiddwa olw’okulamula obulungi alina gw’asalidde omusango. Wanditutte otya omuntu avumirira ensala y’omulamuzi oyo kyokka nga tamanyi byonna ebizingirwamu wadde amateeka ageesigamiziddwako okusala omusango ogwo? Kiba kya busiru singa omuntu avumirira ekikoleddwa nga tamanyi byonna bizingirwamu. (Engero 18:13) Ng’ate kyandibadde kya busiru nnyo n’okusingawo singa abantu obuntu bavumirira “Omulamuzi w’ensi zonna”!—Olubereberye 18:25.
5. Kiki kye tulina okujjukira bwe tusoma ku misango Katonda gye yasalira abantu abamu aboogerwako mu Baibuli?
5 Ensonga ey’okubiri lwaki twandikkirizza ekyo Katonda ky’aba asazeewo eri nti, obutafaananako bantu, Katonda amanyi ebiri mu mutima gw’omuntu. (1 Samwiri 16:7) Baibuli egamba: “Nze Mukama nkebera omutima, nkema emmeeme, okuwa buli muntu ng’amakubo ge bwe gali, ng’ebibala bwe biri eby’ebikolwa bye.” (Yeremiya 17:10) Bwe kityo, bwe tusoma ku misango Katonda gye yasalira abantu abamu aboogerwako mu Baibuli, tukijjukirenga nti olw’okuba Katonda asobola okumanya ekiri mu mutima, yamanya ebirowoozo by’abantu abo n’ebiruubirirwa byabwe wadde nga tebyawandiikibwa mu Kigambo kye.—1 Ebyomumirembe 28:9.
6, 7. (a) Yakuwa alaze atya nti anywerera ku mitindo gye egy’obwenkanya n’obutuukirivu ne bwe kiba nga kimwetaagisa okwefiiriza ennyo? (b) Kiki kye twandijjukidde singa tusoma ekintu kyonna mu Baibuli ekituleetera okubuusabuusa obanga Katonda kye yakola kyali kya bwenkanya oba kituufu?
6 Ensonga ey’okusatu lwaki twandikkirizza ekyo Yakuwa ky’aba asazeewo eri nti: Anywerera ku mitindo gye egy’obutuukirivu ne bwe kiba nga kimwetaagisa okwefiiriza ennyo. Lowooza ku kino: Yakuwa bwe yawaayo Omwana we okununula abantu abawulize okuva mu kibi n’okufa, yanywerera ku mitindo gye egy’obwenkanya n’obutuukirivu. (Abaruumi 5:18, 19) Kyokka, bwe yalaba Omwana we omwagalwa ng’abonaabona era n’afiira ku muti ogw’okubonyaabonya, yanakuwala nnyo. Kino kituyigiriza ki ku Katonda? Baibuli eyogera bw’eti ku ‘kinunulo Yesu Kristo kye yasasula’: ‘Kyasasulwa okulaga obutuukirivu bwa Katonda.’ (Abaruumi 3:24-26) Enkyusa endala evvuunula bw’eti Abaruumi 3:25: “Kino kyalaga nti bulijjo Katonda by’akola biba bituufu era bya bwenkanya.” (New Century Version) Yee, ekyo Yakuwa kye yakola okusobola okuwaayo ekinunulo kyayoleka nti bulijjo by’akola ‘bituufu era bya bwenkanya.’
7 N’olwekyo, singa tusoma ku kintu kyonna mu Baibuli ekireetera abamu okubuusabuusa obanga Katonda kye yakola kyali kya bwenkanya oba kituufu, twandijjukidde nti: Olw’okuba Yakuwa anywerera ku mitindo gye egy’obwenkanya n’obutuukirivu, yaleka Omwana we okufa. Kati olwo, ayinza okusuula omuguluka emitindo gye bwe kituuka ku nsonga endala? Amazima gali nti Yakuwa tasobola kusuula muguluka mitindo gye egy’obutuukirivu n’obwenkanya. N’olwekyo, tulina ensonga kwe tusinziira okuba abakakafu nti bulijjo akola ebintu eby’obutuukirivu era eby’obwenkanya.—Yobu 37:23.
8. Lwaki tekiba kya magezi abantu okulowooza nti Yakuwa tayoleka bwenkanya na butuukirivu?
8 Ensonga ey’okuna lwaki twandikkiriza ekyo Yakuwa ky’aba asazeewo eri nti: yatonda omuntu mu kifaananyi Kye. (Olubereberye 1:27) N’olwekyo, abantu balina engeri za Katonda, gamba ng’obwenkanya n’obutuukirivu. Kyokka, olw’okuba tulina engeri ezo, tekiba kya magezi okugamba nti Yakuwa tazirina. Bwe tuba n’ensonga gye tutageera bulungi mu Baibuli, tulina okukijjukira nti olw’okuba twasikira ekibi, tetuyinza kutegeera mu bujjuvu ebikwata ku bwenkanya n’ekituufu. Yakuwa Katonda, oyo eyatutondera mu kifaananyi kye, ayoleka obutuukirivu n’obwenkanya mu ngeri etuukiridde. (Ekyamateeka 32:4) Nga kiba kikyamu nnyo okulowooza nti abantu be basinga Katonda okwoleka obwenkanya n’obutuukirivu!—Abaruumi 3:4, 5; 9:14.
9, 10. Lwaki Yakuwa tateekeddwa kwennyonnyolako eri abantu olw’ekintu kyonna ky’aba akoze?
9 Ensonga ey’okutaano lwaki twandikkiriza ekyo Yakuwa ky’aba asazeewo eri nti ye ‘Ali Waggulu Nnyo ng’afuga ensi yonna.’ (Zabbuli 83:18) N’olw’ensonga eyo, tateekeddwa kwennyonnyolako eri abantu olw’ekintu kyonna ky’aba akoze. Ye Mubumbi Omukulu, era ffe tulinga ebibya by’akoze by’ayinza okukozesa nga bw’aba ayagadde. (Abaruumi 9:19-21) Ffe baani—emirimu gy’emikono gye—okuvumirira ekyo ky’aba asazeewo okukola? Yobu bwe yalemererwa okutegeera engeri Katonda gy’akolaganamu n’abantu, Yakuwa yamutereeza ng’agamba nti: “N’okujjulula onojjulula omusango gwe nsala? Ggwe ononsalira nze omusango obeere n’obutuukirivu?” Oluvannyuma Yobu yeenenya bwe yakitegeera nti bye yayogera tebyali bya magezi. (Yobu 40:8; 42:6) Kikafuuwe ffe okugamba nti Katonda akola ensobi!
10 N’olwekyo, tulina ensonga ennungi kwe tusinziira okukkiriza nti bulijjo Yakuwa by’akola biba bituufu. Nga tumaze okutegeera engeri Yakuwa gy’akolamu ebintu, ka twetegereze ebintu bibiri okuva mu Baibuli ebizibuwalidde abamu okutegeera. Ekisooka kikwata ku ekyo omu ku basinza ba Katonda kye yakola, ate ekirala kikwata ku musango Katonda gwe yasala.
Lwaki Lutti Yasalawo Okuwaayo Bawala Be eri Ekibinja ky’Abantu Abaali Baswakidde?
11, 12. (a) Nnyonnyola ekyaliwo Katonda bwe yatuma bamalayika babiri mu Sodomu. (b) Ebyo ebyaliwo biviiriddeko abamu kwebuuza bibuuzo ki?
11 Mu Olubereberye essuula 19 tusoma ku ekyo ekyaliwo nga Katonda atumye bamalayika babiri mu Sodomu. Lutti yeegayirira abagenyi abo okusula ewuwe. Kyokka, mu kiro ekyo, ekibinja ky’abasajja kyazingiza ennyumba ye ne bamulagira okufulumya abagenyi abo ebweru babakoleko eby’obugwenyufu. Lutti yagezaako okuwooyawooya ekibinja ky’abantu abo naye nga buteerere. Ng’anoonya engeri y’okuwonyaamu abagenyi be, Lutti yagamba ekibinja ky’abasajja abo nti: “Mbeegayiridde, baganda bange, temukola bubi obwenkanidde wano. Laba nno, nnina abaana abawala babiri, abatamanyanga musajja; ka mbafulumye abo gye muli, mbeegayiridde, nammwe mubakole nga bwe kiri ekirungi mu maaso gammwe: naye abasajja abo temubakola kigambo; kubanga batuuse wansi w’ekisiikirize eky’akasolya kange.” Naye ekibinja ky’abasajja abo tebaamuwuliriza era baali babulako katono okumenya oluggi lwe nga baagala okuyingira. Mu nkomerero, bamalayika abo baaziba amaaso g’ekibinja ky’abasajja abo abaali baswakidde.—Olubereberye 19:1-11.
12 Tekyewuunyisa nti ebyo ebyaliwo biviiriddeko abantu abamu okubaako bye beebuuza. Gamba nga: ‘Lwaki Lutti yagezaako okuwonya abagenyi be ng’awaayo bawala be eri ekibinja ky’abasajja abaali abagwenyufu? Kye yakola tekyali kikyamu era nga kyoleka obutiitiizi?’ Nga tulowooza ku nsonga eyo, lwaki Katonda yaluŋŋamya Peetero okuyita Lutti ‘omusajja omutuukirivu’? Lutti kye yakola kyasanyusa Katonda? (2 Peetero 2:7, 8) Ka twekenneenye ensonga eno naffe tuleme kugitegeera mu bukyamu.
13, 14. (a) Kiki kye tusaanidde okujjukira bwe tusoma mu Baibuli ku ebyo Lutti bye yakola? (b) Kiki ekiraga nti Lutti kye yakola tekyali kya butiitiizi?
13 Okusookera ddala, tulina okukijjukira nti mu kifo ky’okusiima oba okuvumirira ebyo Lutti bye yakola, Baibuli etubuulira bubuulizi ebyo ebyaliwo. Ate era tetubuulira ekyo Lutti kye yali alowooza oba ekyamuleetera okukola bw’atyo. Bw’alikomawo okuyitira mu ‘kuzuukira kw’abatuukirivu,’ oboolyawo alitubuulira ebisingawo.—Ebikolwa 24:15.
14 Lutti teyali mutiitiizi n’akamu. Yeesanga bwesanzi ng’ayolekaganye n’embeera enzibu. Mu kugamba nti abagenyi baali bazze ‘wansi w’ekisiikirize’ ky’akasolya ke, Lutti yalaga nti avunaanyizibwa okubakuuma baleme kutuukibwako kabi. Naye kino tekyandibadde kyangu. Munnabyafaayo ayitibwa Josephus agamba nti abantu b’omu Sodomu “baayisanga bubi nnyo abasajja era nga tebawa Katonda kitiibwa . . . Baalinga tebaagala bagenyi era abasajja abo beenyigiranga mu kulya ebisiyaga.” Wadde kyali kityo, Lutti teyatya kibinja ky’abasajja abo abaali ababi ennyo. Wabula, yafuluma ebweru n’ayogera n’abasajja abo abaali baswakidde. Yatuuka ‘n’okuggalawo oluggi.’—Olubereberye 19:6.
15. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Lutti bye yakola, yabikola lwa kukkiriza?
15 ‘Wadde kiri kityo,’ omuntu ayinza okubuuza, ‘lwaki Lutti yasalawo okuwaayo bawala be eri ekibinja ky’abasajja abo?’ Mu kifo ky’okugamba nti kye yakola tekyali kituufu, lwaki tetufumiitiriza ku ebyo ebiyinza okuba nga bye byamuviirako okukola bw’atyo? Okusooka, kyandiba nga okukkiriza kwe kwaviirako Lutti okukola bw’atyo. Mu ngeri ki? Kya lwatu, Lutti yali amanyi bulungi engeri Yakuwa gye yakuumamu Saala, muka Ibulayimu, kojja we. Kijjukire nti olw’okuba Saala yali alabika bulungi nnyo, Ibulayimu yagamba Saala amuyite mwannyina, si kuba ng’abantu bamutta ne beddiza Saala.a Olw’okumuyita mwannyina, Saala yatwalibwa mu maka ga Falaawo. Kyokka, Yakuwa yayingira mu nsonga, n’aziyiza Falaawo okwetaba ne Saala. (Olubereberye 12:11-20) Kyandiba nti ne Lutti yalina okukkiriza nti bawala be nabo bandikuumiddwa mu ngeri y’emu. Mu butuufu, ng’akozesa bamalayika be, Yakuwa yayingira mu nsonga era abawala bano tebaakolebwako kabi.
16, 17. (a) Mu ngeri ki Lutti gye yagezaako okwesisiwaza oba okubuzaabuza abasajja b’omu Sodomu? (b) Ka kibe ki Lutti kye yalowooza, tuli bakakafu ku ki?
16 Lowooza ku kintu ekirala ekiyinza okuba nga kye kyamuviirako okukola bw’atyo. Lutti ayinza okuba yali agezaako okwesisiwaza abasajja abo oba okubabuzaabuza. Ayinza okuba yali mukakafu nti abasajja abo tebajja kwegomba bawala be okuva abantu b’omu Sodomu bwe baali abalyi b’ebisiyaga. (Yuda 7) Okugatta ku ekyo, abawala bano baali boogerezebwa abasajja abamu ab’omu kibuga ekyo, n’olwekyo ab’eŋŋanda z’abasajja abo, mikwano gyabwe oba abo abaasuubulanga nabo bandiba nga baali mu kibinja ekyo ekyajja ewa Lutti. (Olubereberye 19:14) Lutti yandiba nga yasuubira nti olw’okuba waaliwo aboogereza bawala be, abamu ku basajja abaali mu kibinja ekyo bandigaanye abalala okubaako ekikyamu kye bakola bawala be. N’olwekyo, ekibinja ky’abantu bwe kyandibadde nga tekikkiriziganya tewandibaddewo kabi kandibatuuseeko.b
17 Ka kibeera ki Lutti kye yalowooza, oba nga yalina biruubirirwa ki, tuli bakakafu nti: Okuva bwe kiri nti bulijjo Yakuwa ky’akola kiba kituufu, yalina ensonga ennungi lwaki yatwala Lutti okuba ‘omusajja omutuukirivu.’ Ate era, okusinziira ku bikolwa by’ekibinja ky’abasajja b’omu Sodomu, tuyinza okugamba nti Yakuwa teyali mwenkanya okuzikiriza abatuuze b’omu kibuga ekyo abaali ababi ennyo?—Olubereberye 19:23-25.
Lwaki Yakuwa Yatta Uzza?
18. (a) Kiki ekyaliwo Dawudi bwe yagezaako okutwala Essanduuko mu Yerusaalemi? (b) Ebyo ebyaliwo bireetawo bibuuzo ki?
18 Ekintu ekirala ekiyinza okuzibuwalira abamu okutegeera ky’ekyo akyaliwo nga Dawudi agezaako okutwala essanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi. Essanduuko eyo yateekebwa ku ggaali, eryakulemberwa Uzza ne muganda we. Baibuli egamba: “Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, Uzza n’agolola omukono gwe ku ssanduuko ya Katonda n’agikwatako; kubanga ente yeesittala. Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Uzza; Katonda n’amukubira eyo olw’ekyonoono kye; n’afiira awo awali ssanduuko ya Katonda.” Oluvannyuma lw’emyezi mitono, Essanduuko yatwalibwa mu Yerusaalemi ng’Abaleevi Abakokasi bagisitulidde ku bibegabega byabwe nga Katonda bwe yali alagidde. (2 Samwiri 6:6, 7; Okubala 4:15; 7:9; 1 Ebyomumirembe 15:1-14) Abamu bayinza okwebuuza: ‘Lwaki Yakuwa yasunguwala nnyo bw’atyo? Uzza yali agezaako okuwanirira Essanduuko ereme kuggwa.’ Okusobola okutegeera obulungi ensonga eno, ka twekenneenye ebirala ebizingirwamu ebinaatuyamba okugitegeera obulungi.
19. Lwaki Yakuwa tasobola kukola bitali bya bwenkanya?
19 Tulina okukijjukira nti Yakuwa tasobola kukola bitali bya bwenkanya. (Yobu 34:10) Singa akola ebitali bya bwenkanya, kiba kyoleka nti talina kwagala ate nga tukimanyi okuva mu kusoma Baibuli nti “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Okugatta ku ekyo, Ebyawandiikibwa bigamba nti “obutuukirivu n’omusango bye binyweza entebe [ya Katonda].” (Zabbuli 89:14) Kati olwo Yakuwa ayinza okukola ebitali bya bwenkanya? Singa akola ebitali bya bwenkanya, yandibadde asuula omuguluka emisingi gye.
20. Nsonga ki eziraga nti Uzza yandiba nga yali amanyi amateeka agakwata ku Ssanduuko?
20 Kijjukire nti Uzza yali amanyi bulungi Amateeka. Essanduuko eyo yali ekiikirira okubeerawo kwa Yakuwa. Amateeka gaali gakyoleka bulungi nti yalina kukwatibwako abo bokka abakkiriziddwa, era ne galabula nti omuntu yenna eyandigikutteko nga takkiriziddwa yandittiddwa. (Okubala 4:18-20; 7:89) N’olwekyo, okuggya essanduuko eyo entukuvu mu kifo ekimu okugizza mu kirala, bwali buvunaanyizibwa bwa maanyi. Uzza yali Muleevi (wadde nga teyali kabona), n’olwekyo ateekwa okuba nga yali amanyi bulungi Amateeka. Ng’oggyeko ekyo, Essanduuko eyo yali emaze emyaka egiwerako ng’ekuumirwa mu nnyumba ya kitaawe. (1 Samwiri 6:20–7:1) Yamalayo emyaka 70, okutuusa Dawudi lwe yasalawo okugiggyayo. N’olw’ensonga eyo, Uzza yali amanyi bulungi amateeka agakwata ku Ssanduuko okuviira ddala mu buto.
21. Ku bikwata ku Uzza, lwaki kikulu okukijjukira nti Yakuwa alaba ekiri mu mutima?
21 Nga bwe kyayogeddwako emabega, Yakuwa asobola okumanya ekiri mu mutima gw’omuntu. Okuva bwe kiri nti ekyo Uzza kye yakola Baibuli ekiyita “ekyonoono,” Yakuwa ateekwa okuba ng’alina ekiruubirirwa ekikyamu kye yamulabamu ekitaayogerwako mu nnyiriri ezo. Kyandiba nti Uzza yali muntu eyeetulinkiriza, ng’akola ekyo ky’atasaanidde kukola? (Engero 11:2) Kyandiba nti okukulembera mu lujjudde Essanduuko eyo amaka ge gye gaali gakuumidde mu kyama, kye kyamuleetera okuwulira nti wa kitalo nnyo? (Engero 8:13) Kyandiba nti Uzza teyalina kukkiriza nti Yakuwa asobola okuwanirira Essanduuko eyo entukuvu eyali ekiikirira okubeerawo Kwe? Ka kibe ki ekyaliwo, tusobola okuba abakakafu nti ekyo Yakuwa kye yakola kyali kituufu. Ateekwa okuba ng’alina kye yalaba mu mutima gwa Uzza ekyamuleetera okumusalira omusango embagirawo.—Engero 21:2.
Kye Tusinziirako Okuba n’Obwesige
22. Amagezi ga Yakuwa geeyolekera gatya mu kuba nti Ekigambo kye tekiwa kalonda yenna ku nsonga ezimu?
22 Amagezi ga Yakuwa agatenkanika geeyolekera mu kuba nti oluusi Ekigambo kye tekiwa kalonda yenna ku buli nsonga. Mu ngeri eyo Yakuwa atuwa akakisa okulaga nti tumwesiga. Okusinziira ku bye twekenneenyezza, tekyeyoleka bulungi nti tulina ensonga ennywevu kwe tusinziira okukkiriza ekyo Yakuwa ky’aba asazeewo? Yee, bwe tusoma Ekigambo kya Katonda nga tulina endowooza ennuŋŋamu, tuyiga bingi ebikwata ku Yakuwa ne kitusobozesa okuba abamativu nti bulijjo akola ebintu eby’obwenkanya era ebituufu. N’olwekyo, singa wabaawo ekintu kyonna mu Baibuli ekireetawo ekibuuzo kye tutayinza kuddamu amangu ago, ka tubeere n’obwesige nti Yakuwa kye yakola kyali kituufu.
23. Bukakafu ki bwe tulina ku bikwata ku ebyo Yakuwa by’anaakola mu biseera eby’omu maaso?
23 Mu ngeri y’emu, tuyinza okuba n’obwesige mu ebyo Yakuwa by’anaakola mu biseera eby’omu maaso. N’olwekyo, tuyinza okuba abakakafu nti bw’anaasala omusango mu kibonyoobonyo ekinene, tayinza ‘kuzikiriza batuukirivu wamu n’ababi.’ (Olubereberye 18:23) Olw’okuba ayagala obutuukirivu n’obwenkanya tajja kukola bw’atyo. Era tusobola okuba abakakafu nti mu nsi empya, ajja kukola ku byetaago byaffe mu ngeri esingayo okuba ennungi.—Zabbuli 145:16.
[Obugambo obuli wansi]
a Ibulayimu yalina ensonga kw’asinziira okutya, kubanga emizingo egy’edda gyogera ku Falaawo eyatta omusajja n’atwala mukazi we.
b Okumanya ebisingawo, laba Watchtower aka Ddesemba 1, 1979, olupapula 31.
Ojjukira?
• Lwaki twandikkirizza ekyo Yakuwa ky’aba asazeewo?
• Kiki ekiyinza okutuyamba obutasalawo mu ngeri nkyamu ku bikwata ku Lutti okuwaayo bawala be eri abasajja abaali baswakidde?
• Biki ebiyinza okutuyamba okutegeera lwaki Yakuwa yazikiriza Uzza?
• Bukakafu ki bwe tulina ku bikwata ku ebyo Yakuwa by’anaakola mu biseera eby’omu maaso?