Weetwale Okuba owa Wansi
“Buli eyeetwala okuba owa wansi mu mmwe ye mukulu.”—LUK. 9:48.
1, 2. Kiki Yesu kye yagamba abatume be, era lwaki yabagamba ebigambo ebyo?
MU MWAKA gwa 32 E.E., Yesu n’abatume be bwe baali mu bitundu by’e Ggaliraaya, abamu ku batume baatandika okukaayana ku ani ku bo eyali asinga obukulu. Omuwandiisi w’Enjiri Lukka agamba nti: “Ba[a]tandika okukaayana bokka na bokka ani ku bo asinga obukulu. Yesu bwe yamanya kye balowooza mu mitima gyabwe, n’ayita omwana omuto n’amusembeza w’ali, n’abagamba nti: ‘Buli asembeza omwana ono omuto ku lw’erinnya lyange, nange aba ansembezza, na buli ansembeza aba asembezza oyo eyantuma. Kubanga buli eyeetwala okuba owa wansi mu mmwe ye mukulu.’” (Luk. 9:46-48) Yesu yayoleka obugumiikiriza ng’ayamba abatume be okukiraba nti baali beetaaga okuba abeetoowaze.
2 Abayudaaya abaaliwo mu kyasa ekyasooka baali beetwala okuba aba wansi ku balala? Nedda. Abayudaaya abasinga obungi beetwalanga okuba aba waggulu ku balala. Ekitabo ekiyitibwa Theological Dictionary of the New Testament kigamba nti: “Abayudaaya baakitwalanga nga kikulu nnyo okumanya ani eyabanga alina okuweebwa ekitiibwa ekisukulumye ku ky’abalala, era baafangayo nnyo okulaba nti buli muntu aweebwa ekitiibwa ekimugwanira.” Yesu yali ayagala abatume be babe ba njawulo ku bantu abaaliwo mu kiseera ekyo.
3. (a) Kitegeeza ki okwetwala okuba owa wansi, era lwaki ebiseera ebimu ekyo tekiba kyangu? (b) Bibuuzo ki ebigenda okuddibwamu mu kitundu kino?
3 Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “okuba owa wansi” kitegeeza okumanya obusobozi bwo we bukoma, okuba omwetoowaze, obuteegulumiza, oba obuteetwala kuba wa kitalo. Yesu yagamba abatume be nti baali beetaaga okuba abeetoowaze ng’abaana abato. Ne leero, Abakristaayo ab’amazima basaanidde okuba abeetoowaze. Naye ebiseera ebimu kiyinza obutatwanguyira kuba beetoowaze. Olw’okuba tetutuukiridde, ebiseera ebisinga twagala nnyo okuba aba waggulu ku balala. Ate era omwoyo gw’ensi guyinza okutuleetera okwerowoozaako ffekka, okwagala okuvuganya n’abalala, oba okwagala okuba n’obuyinza ku balala. Kiki ekinaatuyamba okwetwala okuba aba wansi? Mu ngeri ki ‘oyo eyeetwala okuba owa wansi gy’aba omukulu’? Mbeera ki mwe twetaagira ennyo okwoleka obwetoowaze?
“OBUGAGGA BWA KATONDA N’AMAGEZI GE N’OKUMANYA!”
4, 5. Kiki ekinaatuyamba okuba abeetoowaze? Waayo ekyokulabirako.
4 Ekimu ku bintu ebinaatuyamba okuba abeetoowaze kwe kukijjukiranga nti Yakuwa wa waggulu nnyo okutusinga. “Amagezi ge teganoonyezeka.” (Is. 40:28) Bwe yali ayogera ku Yakuwa, Pawulo yagamba nti: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nga tenoonyezeka, n’amakubo ge nga tegazuulika!” (Bar. 11:33) Wadde ng’abantu abaliwo leero bamanyi ebintu bingi okusinga abo abaaliwo mu kiseera Pawulo we yawandiikira ebigambo ebyo emyaka nga 2,000 emabega, ebigambo ebyo bikyali bituufu nnyo. Ka tube nga tumanyi ebintu bingi, okukijjukiranga nti tukyalina ebintu bingi nnyo bye tulina okuyiga ebikwata ku Yakuwa, ku mirimu gye, ne ku makubo ge, kyandituleetedde okuba abeetoowaze.
5 Okukimanya nti waliwo ebintu bingi bye tutamanyi ebikwata ku makubo ga Katonda kyayamba Leoa okwetwala okuba owa wansi. Bwe yali akyali muvubuka, Leo yali ayagala nnyo emisomo gya ssaayansi. Olw’okuba yali ayagala okumanya ebikwata ku bwengula, yasalawo okugenda ku yunivasite okubisoma. Naye yakiraba nti ssaayansi tasobola kuyamba bantu kutegeera bintu byonna ebikwata ku bwengula. Bw’atyo yasalawo okusoma eby’amateeka. Leo yafuuka munnamateeka era oluvannyuma lw’ekiseera yafuuka omulamuzi. Nga wayise ekiseera, Leo ne mukyala we baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa, era baakulaakulana ne babatizibwa. Wadde nga Leo yali muyivu nnyo, kiki ekyamuyamba okwetwala ng’owa wansi? Agamba nti: “Nnakitegeera nti ne bwe tuba nga tumanyi ebintu bingi ebikwata ku Yakuwa ne ku bwengula, waliwo ebintu bingi nnyo bye tutamanyi.”
6, 7. (a) Yakuwa atuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze? (b) Obwetoowaze bwa Katonda bufuula butya omuntu ‘omukulu’?
6 Ekintu ekirala ekisobola okutuyamba okuba abeetoowaze kwe kukijjukira nti ne Yakuwa mwetoowaze. Lowooza ku kino. Bayibuli egamba nti: “Tukolera wamu ne Katonda.” (1 Kol. 3:9) Wadde nga Yakuwa ye Muyinza w’Ebintu Byonna, atuwadde enkizo ey’okubuulira nga tukozesa Ekigambo kye, Bayibuli. Wadde nga Yakuwa y’akuza ensigo ze tusimba era ne tufukirira, atuwadde enkizo okukolera awamu naye. (1 Kol. 3:6, 7) Mu kukola bw’atyo, Katonda atuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze. Mu butuufu, ekyo ffenna kyanditukubirizza okwetwala okuba aba wansi.
7 Eky’okuba nti Yakuwa mwetoowaze kyakwata nnyo ku Dawudi. Yayimbira Yakuwa ng’agamba nti: ‘Olimpa engabo yo ey’obulokozi, era obwetoowaze bwo bunfuula mukulu.’ (2 Sam. 22:36, NW) Dawudi yali akimanyi nti ebintu byonna bye yakola mu Isiraeri, yasobola okubikola olw’okuba Yakuwa yeetoowaza n’amuyamba. (Zab. 113:5-7) Ate kiri kitya eri ffe? Naffe tusaanidde okukimanya nti engeri ennungi ze tulina, obusobozi bwe tulina, n’enkizo ze tulina byonna Yakuwa ye yabituwa. (1 Kol. 4:7) Omuntu eyeetwala okuba owa wansi aba “mukulu” mu ngeri nti aba wa muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. (Luk. 9:48) Kati ka tulabe ensonga lwaki kiri bwe kityo.
OYO ‘EYEETWALA OKUBA OWA WANSI YE MUKULU’
8. Lwaki twetaaga okuba abeetoowaze?
8 Abantu abeetoowaze baba basanyufu okuba mu kibiina kya Yakuwa era bawagira enteekateeka z’ekibiina. Lowooza ku Petra, omuvubuka eyakulira mu maka Amakristaayo. Olw’okuba yali ayagala okukola ebintu nga ye bw’ayagala, yasalawo okweyawula ku kibiina. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera, yaddamu okujja mu nkuŋŋaana. Kati musanyufu nnyo okuba mu kibiina kya Yakuwa era afuba okuwagira enteekateeka z’ekibiina zonna. Kiki ekyayamba Petra okukyusa endowooza ye? Agamba nti: ‘Okusobola okuba mu kibiina kya Yakuwa, kyali kineetaagisa okuba omwetoowaze.’
9. Omuntu omwetoowaze atwala atya emmere ey’eby’omwoyo, era lwaki ekyo kimufuula okuba ow’omuwendo mu maaso ga Yakuwa?
9 Omuntu omwetoowaze aba asiima ebintu Yakuwa by’atuwa, nga mw’otwalidde n’emmere ey’eby’omwoyo. Omuntu ng’oyo afuba okusoma Bayibuli ne magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Okufaananako abaweereza ba Yakuwa bangi abeesigwa, omuntu omwetoowaze afuba okusoma buli kitabo ekifulumizibwa nga tannaba kukitereka mu tterekero lye ery’ebitabo. Bwe tulaga nti tusiima ebitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa nga tubisoma era ne tukolera ku ebyo bye tusoma, kijja kutuyamba okukulaakulana mu by’omwoyo era Yakuwa ajja kweyongera okutukozesa mu buweereza bwe.—Beb. 5:13, 14.
10. Tuyinza tutya okwoleka obwetoowaze mu kibiina?
10 Waliwo engeri endala omuntu eyeetwala okuba owa wansi gy’aba ‘omukulu’ oba gy’aba ow’omuwendo mu maaso ga Yakuwa. Ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi birimu abakadde abaalondebwa omwoyo omutukuvu. Abakadde bakola enteekateeka ezikwata ku nkuŋŋaana z’ekibiina, omulimu gw’okubuulira, n’okukyalira ab’oluganda. Bwe twoleka obwetoowaze ne tuwagira enteekateeka ezo, kiyamba ab’oluganda mu kibiina okuba abasanyufu, okuba mu mirembe, n’okuba obumu. (Soma Abebbulaniya 13:7, 17.) Bw’oba ng’oli mukadde oba muweereza mu kibiina, okiraga nti osiima enkizo eyo Yakuwa gy’akuwadde?
11, 12. Kiki ekinaatuyamba okuba ab’omuwendo mu kibiina kya Yakuwa, era lwaki ekyo kikulu nnyo?
11 Omuntu eyeetwala okuba owa wansi aba “mukulu,” oba aba wa muwendo nnyo mu kibiina kya Yakuwa, kubanga obwetoowaze bumufuula omuntu omulungi era ow’omugaso. Yesu yakubiriza abayigirizwa be okwetwala okuba aba wansi olw’okuba abamu ku bo baali batandise okutwalirizibwa endowooza z’abantu abaaliwo mu kiseera ekyo. Lukka 9:46 wagamba nti: “Ba[a]tandika okukaayana bokka na bokka ani ku bo asinga obukulu.” Kyandiba nti naffe ebiseera ebimu tulowooza nti mu ngeri emu oba endala tuli ba waggulu ku bakkiriza bannaffe oba ku bantu abalala? Tusaanidde okuba ab’enjawulo ku bantu abatamanyi Yakuwa, abalina amalala era abeerowoozaako bokka. Singa twoleka obwetoowaze era ne tukulembeza ebyo Yakuwa by’ayagala, baganda baffe ne bannyinaffe bajja kuwuliranga bulungi nga bali naffe.
12 Bwe tutegeera ensonga lwaki Yesu yakubiriza abayigirizwa be okwetwala okuba aba wansi, kijja kutukubiriza okwoleka obwetoowaze mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe. Kati ka tulabe embeera ssatu mwe twetaagira okwoleka obwetoowaze.
FUBA OKWETWALA NG’OWA WANSI
13, 14. Omwami n’omukyala buli omu ayinza atya okwetwala okuba owa wansi, era ekyo kiyamba kitya obufumbo bwabwe?
13 Mu bufumbo. Abantu abasinga obungi leero beerowoozaako bokka. Kyokka omuntu eyeetwala okuba owa wansi akolera ku bigambo Pawulo bye yawandiikira Abakristaayo abaali mu Rooma. Yabagamba nti: “Tuluubirire ebintu ebireeta emirembe era ebituleetera okuzimbagana.” (Bar. 14:19) Omuntu eyeetwala okuba owa wansi afuba okuba mu mirembe n’abantu bonna, nga mw’otwalidde ne munne mu bufumbo.
14 Lowooza ku nsonga y’okwesanyusaamu. Omwami ne mukyala we bayinza okuba nga banyumirwa eby’okwesanyusaamu bya njawulo. Omwami ayinza okuba ng’ayagala nnyo okubeera awaka ng’asoma bitabo ate nga ye mukyala we ayagala nnyo okugenda okukyalira mikwano gye. Singa omwami ayoleka obwetoowaze n’aba nga tafaayo ku ebyo byokka ye by’ayagala naye ng’afaayo ne ku ebyo mukyala we by’ayagala, mukyala we kijja kumwanguyira okumussaamu ekitiibwa. Ku luuyi olulala, singa omukyala ayoleka obwetoowaze n’aba nga tafaayo ku ebyo byokka ye by’ayagala naye ng’afaayo ne ku ebyo omwami we by’ayagala, omwami we ajja kumwagala nnyo. Omwami n’omukyala buli omu bw’ayoleka obwetoowaze, ekyo kiyamba obufumbo bwabwe okunywera.—Soma Abafiripi 2:1-4.
15, 16. Tuyinza tutya okukolera ku bigambo ebiri mu Mikka 7:7?
15 Mu kibiina. Abantu abasinga obungi mu nsi si bagumiikiriza. Bwe baabaako ekintu kye baagala, baba baagala bakifunirewo. Naye bwe twetwala okuba aba wansi, kijja kutuyamba okulindirira Yakuwa. (Soma Mikka 7:7.) Bwe tuba abeetoowaze ne tulindirira Yakuwa, tujja kufuna emikisa, tujja kuwulira emirembe mu mutima, era tujja kuba basanyufu. N’olwekyo, okufaananako Mikka tusaanidde okuba abagumiikiriza era tusaanidde okulindirira Yakuwa.
16 Bw’onoolindirira Yakuwa ojja kuganyulwa nnyo. (Zab. 42:5) Oyinza okuba ng’oyagala kufuuka mukadde osobole okwongera okuyamba ekibiina. (1 Tim. 3:1-7) Kya lwatu nti kiba kikwetaagisa okukkiriza omwoyo omutukuvu okukukulembera ng’ofuba okukulaakulanya engeri omukadde z’ateekwa okuba nazo. Naye watya singa owulira nti oluddewo okufuuka omukadde? Omuntu eyeetwala okuba owa wansi, alindirira Yakuwa okutuusa lw’amuwa obuvunaanyizibwa obusingawo mu kibiina, era yeeyongera okuweereza Yakuwa nga musanyufu.
17, 18. (a) Kiki ekibaawo singa tusonyiwagana? (b) Tuyinza tutya okukolera ku magezi agali mu Engero 6:1-5?
17 Ng’okolagana n’abalala. Abantu abasinga obungi bakisanga nga kizibu okwetonda. Naye olw’okuba abaweereza ba Katonda beetwala okuba aba wansi, kibanguyira okukkiriza ensobi zaabwe n’okwetonda. Ate era baba beetegefu okusonyiwa abalala. Ekibiina bwe kibaamu abantu ab’amalala kitera okubaamu enjawukana, naye abo abakirimu bwe baba abeetegefu okusonyiwagana ekyo kiyamba ekibiina okubaamu emirembe.
18 Oluusi kiyinza okutwetaagisa okwoleka obwetoowaze nga twetondera omuntu gwe twasuubiza ekintu naye ne tulemererwa okukituukiriza. Wadde ng’omuntu oyo, mu ngeri emu oba endala, naye ayinza okuba ng’avunaanyizibwa olw’ekyo ekiba kibaddewo, tusaanidde okwoleka obwetoowaze ng’essira tulissa ku nsobi yaffe, ne tugikkiriza, era ne twetonda.—Soma Engero 6:1-5.
19. Lwaki tusaanidde okwetwala okuba aba wansi?
19 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Ebyawandiikibwa bitukubiriza okwetwala okuba aba wansi! Wadde ng’oluusi tekiba kyangu kwoleka bwetoowaze, okulowooza ku ky’okuba nti Yakuwa Omuyinza w’Ebintu Byonna mwetoowaze, kyanditukubirizza okuba abeetoowaze. Bwe twetwala okuba aba wansi, tuba ba muwendo nnyo mu maaso ga Yakuwa. N’olwekyo, ka buli omu ku ffe afube okwetwala okuba owa wansi.
a Amannya gakyusiddwa.