LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr22 Noovemba lup. 1-11
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2022
  • Subheadings
  • NOOVEMBA 7-13
  • NOOVEMBA 14-20
  • NOOVEMBA 21-27
  • NOOVEMBA 28–DDESEMBA 4
  • DDESEMBA 5-11
  • DDESEMBA 12-18
  • DDESEMBA 19-25
  • DDESEMBA 26–JJANWALI 1
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2022
mwbr22 Noovemba lup. 1-11

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

NOOVEMBA 7-13

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 5-6

“Abali Naffe Bangi Okusinga Abali Nabo”

it-1-E lup. 716 ¶4

Erisa

Isirayiri Enunulibwa Okuva mu Mukono gwa Busuuli. Mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Yekolaamu owa Isirayiri, Busuuli eteekateeka okulumba Isirayiri ng’Abayisirayiri tebategedde. Emirundi egisukka mu gumu, enteekateeka za Kabaka Beni-kadadi II zonna zigwa butaka, kubanga nnabbi Erisa abuulira Kabaka Yekolaamu byonna Busuuli by’eteekateeka okukola. Mu kusooka, Beni-kadadi alowooza nti waliwo omuntu mu bantu be amulyamu olukwe. Naye oluvannyuma bw’ategeera awava obuzibu, asindika abasirikale e Dosani ne bakyetooloola nga balina embalaasi n’amagaali ag’olutalo, basobole okukwata nnabbi Erisa. (EKIFAANANYI, Omuzingo 1, lup. 950) Omuweereza wa Erisa atya nnyo, naye Erisa asaba Katonda azibule amaaso g’omuweereza oyo asobole okulaba, “era laba! ekitundu eky’ensozi kyali kijjudde embalaasi n’amagaali ag’omuliro, nga byetoolodde Erisa.” Ng’eggye lya Busuuli ligenda lisembera, Erisa asaba Yakuwa akole ekyamagero, era amugamba nti, “Nkwegayiridde, ziba amaaso g’abantu bano.” Erisa agamba Abasuuli nti, “Mungoberere,” naye teyalina kubakwata ku mukono. Ekitegeeza nti amaaso gaabwe gennyini si ge gaali gazibye, wabula ebirowoozo byabwe bye byali bikyusiddwa, nga tebasobola kutegeera Erisa gwe baali bazze okukwata era nga tebamanyi gye yali abatwala.​—2Sk 6:8-19.

w13 8/15 lup. 30 ¶2

Erisa Yalaba Amagaali ag’Omuliro​—Naawe Ogalaba?

Wadde nga yali yeetooloddwa abalabe e Dosani, Erisa yasigala nga mukkakkamu. Lwaki? Kubanga yalina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Naffe twetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. N’olwekyo, ka bulijjo tusabe Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okwoleka okukkiriza n’engeri endala eziri mu kibala ky’omwoyo.​—Luk. 11:13; Bag. 5:22, 23.

it-1-E lup. 343 ¶1

Okuziba Amaaso

Erisa bwe yasaba Yakuwa nti azibe amaaso g’abasirikale ba Busuuli, kirabika amaaso gaabwe gennyini si ge gaaziba, wabula ebirowoozo byabwe bye byakyusibwa ne baba nga baali tebasobola kutegeera kifo kye baalimu. Singa amaaso gaabwe gennyini ge gaaziba, kyandibadde kyetaagisa okubakwata ku mikono okubatwala gye baali balaga. Mu kifo ky’ekyo, Erisa yabagamba nti: “Lino si lye kkubo, era kino si kye kibuga kye mujjiridde. Mungoberere.” Bw’aba ayogera ku nsonga eyo, William James mu kitabo kye ekiyitibwa Principles of Psychology (1981, Omuzingo 1, lup. 59) agamba nti: ‘Obulwadde bw’obwongo obusinga okuba obw’obulabe bwebwo obuleetera omuntu okuziba amaaso ag’okutegeera. Tekitegeeza nti omuntu aba tasobola kulaba bintu; aba asobola okubiraba, wabula nga tasobola kubitegeera. Kiyinza okunnyonnyolwa ng’omuntu obutaba na busobozi bwa kukwataganya ekyo ky’alaba ne kye kitegeeza.’ Kirabika obuzibe bw’amaaso ago ag’okutegeera Yakuwa bwe yaggya ku basirikale ba Busuuli nga batuuse e Samaliya. (2Sk 6:18-20) Ate era, obwo bwe buzibe bw’amaaso Yakuwa bwe yatuusa ku basajja b’omu Sodomu. Bayibuli eraga nti mu kifo ky’okunakuwala olw’okuba baali tebakyasobola kulaba, beeyongera okugezaako okunoonya omulyango gw’ennyumba ya Lutti.​—Lub 19:11.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 10/1 lup. 19 ¶2

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri

5:15, 16​—Lwaki Erisa yagaana ekirabo Naamani kye yamuwa? Erisa yagaana ekirabo ekyo kubanga yali amanyi nti Yakuwa ye yali amusobozesezza okuwonya Naamani mu ngeri ey’ekyamagero. Yali tasobola kukozesa nkizo Katonda gye yali amuwadde okusobola okwefunira eby’obugagga. Bwe kityo, n’Abakristaayo ab’amazima leero tebaweereza Yakuwa lwa kwagala kwefunira bintu. Bakolera ku kubuulirira kwa Yesu okugamba nti: “Mwaweebwa buwa, nammwe muwenga buwa.”​—Matayo 10:8.

NOOVEMBA 14-20

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 7-8

“Yakuwa Yasobozesa Ekyali Kitasuubirwa Okubaawo”

it-1-E lup. 716-717

Erisa

Kyokka oluvannyuma, Kabaka Beni-kadadi II yasindika eggye ne lizingiza Samaliya era ne likyetooloola. Embeera yali nzibu nnyo mu kibuga ne kiba nti lumu Kabaka Yekolaamu baamugamba nti waliwo omukazi eyatuuka n’okulya omwana we. Kabaka Yekolaamu “omwana w’omutemu,” eyali ow’omu lulyo lwa Akabu yeerayirira okutta nnabbi Erisa. Naye ekyo tekyatuukirira. Yekolaamu bwe yatuuka ku nnyumba ya Erisa, ng’ali wamu n’oyo gwe yali atumye okumutta, yagamba Erisa nti yali takyalina ssuubi lyonna nti Yakuwa asobola okubayamba. Kyokka Erisa yakakasa kabaka nti olunaku oluddako waali wagenda kubaawo emmere nnyingi. Omubaka kabaka gwe yali atumye okutta Erisa yawakanya ekyo Erisa kye yali agambye, era Erisa n’amugamba nti: “Ojja kubiraba n’amaaso go, naye tojja kubiryako.” Yakuwa yaleetera Abasuuli okuwulira omusinde ogw’amaanyi ne balowooza nti eggye ly’amawanga agaali geegasse awamu lye lyali libalumbye, era ne badduka ne baleka ebintu byonna mu lusiisira n’emmere nnyingi. Kabaka bwe yawulira nti Abasuuli badduse ne balekawo olusiisira nga lwereere, yateeka omubaka we ku mulyango gwa Samaliya okugukuuma, era abantu abayala abaali badduka okugenda okufuna emmere mu lusiisira ne bamulinnyirira n’afa. Emmere yagiraba naye teyagiryako.​—2Sk 6:24–7:20.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 195 ¶7

Ettaala

Bakabaka Abaava mu Lunyiriri lwa Dawudi. Yakuwa Katonda yalonda Dawudi okufuga Isirayiri, era Dawudi yakiraga nti yali mufuzi wa magezi, n’abakulembera bulungi ng’agoberera obulagirizi bwa Katonda. Eyo ye nsonga lwaki yayitibwa “ettaala ya Isirayiri.” (2Sa 21:17) Mu ndagaano ey’obwakabaka gye yakola ne Dawudi, Yakuwa yasuubiza Dawudi nti: “Entebe yo ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe.” (2Sa 7:11-16) Mu ngeri y’emu, olunyiriri lwa bakabaka okuva ku Sulemaani mutabani wa Dawudi, lwali ‘ng’ettaala’ eri Isirayiri.​—1Sk 11:36; 15:4; 2Sk 8:19; 2By 21:7.

NOOVEMBA 21-27

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 9-10

“Yayoleka Obuvumu, Obumalirivu, n’Obunyiikivu”

w11 11/15 lup. 3 ¶2

Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

Katonda we yaweera Yeeku omulimu ogw’okukola, eggwanga lya Isirayiri lyali mu mbeera mbi. Mu kiseera ekyo, Yezebeeri, nnamwandu wa Akabu era maama wa Kabaka Yokolaamu eyali afuga mu kiseera ekyo, yali aleetedde abantu bangi okukola ebikolwa ebibi. Yaleetera abantu okusinza Bbaali mu kifo ky’okusinza Yakuwa, yatta bannabbi ba Katonda, era yaleetera abantu okwenyigira mu ‘bwenzi n’obulogo.’ (2 Bassek. 9:22; 1 Bassek. 18:4, 13) Yakuwa yasalawo okusaanyaawo ab’ennyumba ya Akabu, nga mw’otwalidde Yekolaamu ne Yezebeeri. Yeeku ye yali agenda okuwoma omutwe mu kukola ekyo.

w11 11/15 lup. 4 ¶2-3

Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

Oluvannyuma lw’okugaana okubaako ky’anyega ababaka ababiri abaali batumiddwa gy’ali, Yeeku yasisinkana Kabaka Yekolaamu ne mukwano gwe Akaziya, kabaka wa Yuda, buli omu ng’ali mu ggaali lye. Yekolaamu bwe yamubuuza nti: “Ozze lwa mirembe Yeeku?” Yeeku yamuddamu nti: “Mirembe ki nga wakyaliwo obwenzi bwa nnyoko Yezebeeri n’obulogo bwe obungi?” Bwe yamuddamu bw’atyo, Yekolaamu yakyusa eggaali lye adduke. Amangu ago Yeeku yakwata omutego gwe, n’alasa Yekolaamu akasaale ne kamuyita mu mutima, n’agwa n’afiira mu ggaali lye. Wadde nga Akaziya yasobola okutoloka, Yeeku yamuwondera n’alagira abasajja be okumutta.​—2 Bassek. 9:22-24, 27.

Omuntu omulala ow’ennyumba ya Akabu eyaddako okuttibwa yali Nnaabakyala Yezebeeri. Yeeku yamuyita oyo “eyakolimirwa.” Yeeku bwe yatuuka mu Yezuleeri, yalaba Yezebeeri ng’alingiza mu ddirisa. Yeeku yalagira abakungu b’omu lubiri okusuula Yezebeeri wansi nga bamuyisa mu ddirisa. Oluvannyuma, Yeeku yakozesa embalaasi ze okulinnyirira Yezebeeri eyali aleetedde Isirayiri yonna okukola ebintu ebibi. Oluvannyuma, Yeeku yatta abantu abalala bangi ab’ennyumba ya Akabu.​—2 Bassek. 9:30-34; 10:1-14.

w11 11/15 lup. 5 ¶3-4

Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

Kyo kituufu nti Yeeku yayiwa omusaayi mungi. Naye Ebyawandiikibwa bimwogerako ng’omusajja eyali omuvumu eyanunula Isirayiri okuva mu mukono gwa Yezebeeri n’ennyumba ya Akabu. Omufuzi wa Isirayiri yenna okusobola okukola ekyo Yeeku kye yakola, yalina okuba omuvumu, omumalirivu, era omunyiikivu. Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo ebiri mu Bayibuli egamba nti: “Tegwali mulimu mwangu naye gwakolebwa ddala nga bwe gwali gulina okukolebwa. Singa oyo eyali agukola teyali muvumu, teyandisobodde kumalawo kusinza Bbaali mu Isirayiri.”

Tewali kubuusabuusa kwonna nti n’Abakristaayo leero beetaaga okwoleka engeri ng’eza Yeeku. Ng’ekyokulabirako, twandyeyisizza tutya singa tukemebwa okukola ekintu Yakuwa ky’akyawa? Tusaanidde okubaako kye tukolawo mu bwangu, okuba abavumu, era abanyiikivu nga tuziyiza ekikemo ekyo. Bwe kituuka ku kusinza okw’amazima, naffe tusaanidde okuba n’obuggya olwa Yakuwa.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w11 11/15 lup. 5 ¶6-7

Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

Yeeku ayinza okuba nga yalowooza nti olw’okuba obwakabaka bwa Isirayiri bwali bwetongodde ku bwa Yuda, kyali kyetaagisa buli bwakabaka okusinza mu ngeri ey’enjawulo. Bwe kityo, okufaananako bakabaka ba Isirayiri abaasooka, Yeeku yagezaako okulaba nti obwakabaka obwo busigala nga bweyawudde ng’alekawo okusinza ennyana. Naye kino kyalaga nti yali talina kukkiriza mu Yakuwa, eyali amufudde kabaka.

Yakuwa yasiima Yeeku olw’okuba ‘yakola ebyo ebyali ebirungi mu maaso ga Katonda.’ Wadde kyali kityo, Yeeku “teyatambulira mu Mateeka ga Yakuwa Katonda wa Isirayiri n’omutima gwe gwonna.” (2 Bassek. 10:30, 31) Bw’olowooza ku bintu ebirungi byonna Yeeku bye yali akoze, kino kiyinza okukwewuunyisa era kiyinza n’okukunakuwaza. Naye kirina kye kituyigiriza. Enkolagana yaffe ne Yakuwa tulina okugitwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Buli lunaku, tusaanidde okukulaakulanya obwesigwa bwaffe eri Katonda nga twesomesa Ekigambo kye, nga tukifumiitirizaako, era nga tumusaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe. N’olwekyo, ka tube beegendereza, tuleme kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kutambulira mu mateeka ga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​—1 Kol. 10:12.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w13 5/15 lup. 8-9 ¶3-6

‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi?’

3 Isaaya 9:7 walaga nti Omwana wa Katonda yandibadde Kabaka era nti yandikoledde abantu ebintu ebirungi bingi. Era walaga nti “obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye” bwe bwandisobozesezza ekyo okubaawo. Ebigamba ebyo biraga nti Kitaffe ow’omu ggulu ayagala nnyo okuyamba abantu okulokolebwa. Tusaanidde okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu olw’okuba Yakuwa Katonda naye munyiikivu. Ng’abantu abakolera awamu ne Katonda, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, Nfuba okubuulira amawulire amalungi n’obunyiikivu?​—1 Kol. 3:9.

4 Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Wadde nga yayolekagana n’okuyigganyizibwa okw’amaanyi, yasigala nga munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira okutuukira ddala okufa. (Yok. 18:36, 37) Kyokka bwe yali anaatera okuttibwa, Yesu yayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira.

5 Mu mwaka gwa 32 E.E., Yesu yagera olugero olukwata ku musajja eyalina omutiini ogwasimbibwa mu nnimiro ye ey’emizabbibu naye ne gumala emyaka esatu nga tegussaako bibala. Omusajja oyo bwe yalagira oyo eyali alabirira ennimiro okutema omuti ogwo, oyo eyali alabirira ennimiro yamusaba agira agulekawo era amukkirize okuguteekako ebigimusa. (Soma Lukka 13:6-9.) Yesu we yagerera olugero olwo, waaliwo abantu batono nnyo abaali bafuuse abayigirizwa be. Naye ng’olugero olwo bwe lulaga, Yesu yakozesa ekiseera ekitono kye yali asigazza ku nsi okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. Yabuulira n’obunyiikivu mu Buyudaaya ne mu Pereya okumala emyezi nga mukaaga. Ng’ebula ennaku ntono Yesu attibwe, Yesu yanakuwala olw’abantu abaawulira obubaka bwe naye ne batabaako kye bakolawo.​—Mat. 13:15; Luk. 19:41.

6 Okuva bwe kiri nti enkomerero eneetera okutuuka, naffe twetaaga okwongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira. (Soma Danyeri 2:41-45.) Tulina enkizo ya maanyi okuba nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa. Ffe bantu bokka ku nsi abasobola okuyamba abantu abalala okumanya engeri ebizibu ebiri mu nsi gye bijja okugonjoolwamu. Omuwandiisi w’amawulire omu yagamba nti: ‘Tewali muntu yenna asobola kunnyonnyola nsonga lwaki n’abantu abalungi babonaabona.’ Naye Bayibuli eraga ensonga lwaki abantu bonna babonaabona, era buvunaanyizibwa bwaffe okuyamba abantu okutegeera ekyo Bayibuli ky’eyigiriza. Tusaanidde ‘okwaka n’omwoyo’ nga tukola omulimu Katonda gwe yatuwa. (Bar. 12:11) Bwe tubuulira n’obunyiikivu, Yakuwa ajja kutuwa emikisa era tujja kusobola okuyamba abalala okumumanya n’okumwagala.

NOOVEMBA 28–DDESEMBA 4

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 11-12

“Omukazi Omubi era Eyali Ayagala Ennyo Ebitiibwa Abonerezebwa”

it-1-E lup. 209

Asaliya

Okufaananako maama we Yezebeeri, Asaliya yaleetera omwami we Yekolaamu okukola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa mu myaka omunaana gye yamala ng’afuga. (1Sk 21:25; 2By 21:4-6) Era okufaananako maama we Yezebeeri, Asaliya yatta abantu abatalina musango. Kabaka Akaziya eyali omubi bwe yafa oluvannyuma lw’okufugira omwaka gumu gwokka, Asaliya yatta abaana ba kabaka bonna, okuggyako Yekowaasi, kabona asinga obukulu ne mukyala we gwe baali bakwese. Mukyala wa kabona asinga obukulu yali ssenga wa Yekowaasi. Oluvannyuma Asaliya yeefuula Nnaabakyala era n’afugira emyaka mukaaga, okuva awo nga mu 905-899 E.E.T. (2By 22:11, 12) Batabani be babba ebintu ebitukuvu mu nnyumba ya Yakuwa ne babiwaayo eri Bbaali.​—2By 24:7.

it-1-E lup. 209

Asaliya

Yekowaasi bwe yaweza emyaka musanvu, Yekoyaada kabona asinga obukulu yamuggya gye baali bamukwese n’amuleeta ku yeekaalu n’amufuula kabaka. Asaliya bwe yawulira abantu abaali bajaganya, yagendayo mangu alabe ekyali kibaddewo. Bwe yatuuka n’alaba ekyali kigenda mu maaso, yaleekaana nti, “Luno lukwe! Luno lukwe!” Yekoyaada kabona asinga obukulu yalagira aggibwe ku yeekaalu atwalibwa attirwe ku mulyango embalaasi we zaali ziyingirira mu lubiri lwa kabaka. Era kirabika ye yasembayo ku b’ennyumba ya Akabu abaali ababi ennyo. (2Sk 11:1-20; 2By 22:1–23:21) Bwe kityo, ‘tewali kigambo kya Yakuwa kyonna Yakuwa kye yayogera ku nnyumba ya Akabu ekitaatuukirira’!​—2Sk 10:10, 11; 1Sk 21:20-24.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 1265-1266

Yekowaasi

Oluvannyuma, ekiseera kyonna Yekoyaada kabona asinga obukulu kye yamala nga mulamu, nga y’alinga taata wa Yekowaasi era nga ye muwabuzi we, Yekowaasi yakola ebisanyusa Yakuwa. Yekowaasi bwe yaweza emyaka 21, yawasa abakazi babiri, ng’omu ku bo yali ayitibwa Yekoyadaani. Baamuzaalira abaana ab’obulenzi n’ab’obuwala. Mu ngeri eyo, olunyiriri lwa Dawudi omwava Masiya olwali lubulako akatono okusaanawo, lwanywezebwa.​—2Sk 12:1-3; 2By 24:1-3; 25:1.

DDESEMBA 5-11

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 13-15

“Okuba Omunyiikivu Kivaamu Emikisa Mingi”

w10 4/15 lup. 26 ¶11

Ogoberera Kristo mu Bujjuvu?

11 Okusobola okutegeera obulungi obukulu bw’okuba abanyiikivu mu buweereza bwaffe eri Katonda, lowooza ku ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Kabaka Yowaasi owa Isirayiri. Olw’okutya nti Abasuuli baali bayinza okuwangula Abayisirayiri, Yowaasi yagenda eri nnabbi Erisa ng’akaaba. Nnabbi oyo yamulagira okulasa akasaale ng’akayisa mu ddirisa akoolekeze Busuuli, ekyayoleka nti Yakuwa yandibasobozesezza okuwangula eggwanga eryo. Kino kirina okuba nga kyazzaamu nnyo kabaka oyo amaanyi. Oluvannyuma Erisa yagamba Yowaasi okulasa obusaale bwe ku ttaka. Yowaasi yalasa ku ttaka emirundi essatu gyokka. Kino kyanyiiza nnyo Erisa, kubanga okulasa obusaale ku ttaka emirundi etaano oba mukaaga kyanditegeezezza ‘okukuba Abasuuli okutuusa lwe wandibamaliddewo ddala.’ Kati Yowaasi yandiwangudde Abasuuli emirundi esatu gyokka. Olw’okuba Yowaasi teyayoleka bunyiikivu, n’obuwanguzi bwe bwali butono. (2 Bassek. 13:14-19) Kino kituyigiriza ki? Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi singa tukola omulimu gwe n’obunyiikivu era n’omutima gwaffe gwonna.

w13 11/1 lup. 11 ¶5-6

“Awa Empeera Abo Abafuba Okumunoonya”

Baani Katonda b’awa empeera? Pawulo agamba nti: “Abo abafuba okumunoonya.” Ekitabo ekimu ekinnyonnyola amakulu g’ebigambo ebiri mu Bayibuli kigamba nti ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “abafuba okumunoonya” tekitegeeza “kugenda kunoonya” Katonda, wabula kitegeeza “okumusinza.” Ekitabo ekirala kigamba nti ekigambo ekyo kirina amakulu ag’okukola ekintu n’obunyiikivu. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awa empeera abo abamukkiririzaamu era abamusinza n’omutima gwabwe gwonna.​—Matayo 22:37.

Mpeera ki Yakuwa gy’ajja okuwa abaweereza be abeesigwa? Abasuubiza nti mu biseera eby’omu maaso ajja kubawa ekirabo ssemalabo, nga bwe bulamu obutaggwaawo mu Lusuku lwe wano ku nsi. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Ekyo kiraga nti mugabi era atwagala nnyo. Ne mu kiseera kino, abo abafuba okunoonya Yakuwa bafuna emikisa mingi. Omwoyo omutukuvu, n’amagezi agali mu Kigambo kya Katonda bibayamba okuba mu bulamu obw’amakulu.​—Zabbuli 144:15; Matayo 5:3.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w05 10/1 lup. 21 ¶4

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri

13:20, 21​—Ekyamagero kino kiraga nti kituufu okusinza ebisigalira by’abo abayitibwa abatuukirivu? N’akatono. Bayibuli terina weeragira nti amagumba ga Erisa gaasinzibwanga. Amaanyi ga Katonda ge gaasobozesa ekyamagero ekyo okubaawo ng’era bwe gaasobozesanga Erisa okukola ebyamagero ng’akyali mulamu.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

km 8/03 lup. 1

Omulimu Oguzzaamu Amaanyi

1 Obubaka obuli mu Bayibuli buzzaamu amaanyi abo bonna ababukkiriza era ne babukolerako mu bulamu bwabwe. (Zab. 19:7, 8) Bubayamba okwekutula ku njigiriza ez’obulimba n’emize emibi, era bubawa essuubi ekkakafu ery’ebiseera eby’omu maaso. Naye nno, abo abafuna amawulire amalungi si be bokka abaganyulwa. Abo ababuulira abalala amazima agazzaamu amaanyi okuva mu Bayibuli, nabo bennyini bazzibwamu amaanyi.​—Nge. 11:25.

2 Obuweereza Buzzaamu Amaanyi: Yesu yagamba nti abo abakkiriza okwetikka ekikoligo ky’okubeera abayigirizwa be, ekizingiramu omulimu gw’okubuulira n’okufuula abayigirizwa, ‘balifuna ekiwummulo mu bulamu bwabwe.’ (Mat. 11:29) Ye kennyini omulimu gw’okubuulira gwamuzzangamu amaanyi. Gwali ng’eky’okulya gy’ali. (Yok. 4:34) Bwe yasindika abayigirizwa 70 okubuulira, baasanyuka bwe baalaba engeri Yakuwa gye yali awagiramu omulimu gwabwe.​—Luk. 10:17.

3 Mu ngeri y’emu, Abakristaayo bangi leero bazzibwamu amaanyi bwe beenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Omulimu gw’okubuulira guzzaamu amaanyi kubanga gunsobozesezza okuba n’obulamu obw’amakulu. Ebizibu byange mbyerabira bwe nneenyigira mu kubuulira.” Omubuulizi omulala omunyiikivu yagamba: “Omulimu gw’okubuulira . . . gunzijukiza buli lunaku nti Yakuwa wa ddala era gumpa emirembe n’essanyu eritayinza kufunibwa mu ngeri ndala yonna.” Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo ‘ey’okukolera awamu ne Katonda’!​—1 Kol. 3:9.

4 Ekikoligo kya Yesu Si Kizibu: Wadde ng’Abakristaayo tukubirizibwa ‘okufubanga,’ Yesu tatugamba kukola ebyo ebisukka ku busobozi bwaffe. (Luk. 13:24) Mu butuufu, atukubiriza ‘okwetikkira awamu naye ekikoligo kye.’ (Mat. 11:29) Abo aboolekaganye n’embeera enzibu, basobola okuba abakakafu nti obuweereza bwabwe obuviira ddala ku mutima, wadde butono butya, busiimibwa Katonda.​—Mak. 14:6-8; Bak. 3:23.

5 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okuweereza Katonda asiima kyonna kye tukola ku lw’erinnya lye! (Beb. 6:10) Ka tufube bulijjo okumuwa ekisingirayo ddala obulungi.

DDESEMBA 12-18

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 16-17

“Obugumiikiriza bwa Yakuwa Buliko Ekkomo”

it-2-E lup. 908 ¶5

Salumaneseri

Awangula Isirayiri. Kabaka Koseya bwe yali nga y’afuga Isirayiri (c. 758-740 E.E.T.), Salumaneseri V kabaka wa Bwasuli yawamba Palesitayini, era Kabaka Koseya n’afuuka omuweereza we n’amuwanga omusolo ogwa buli mwaka. (2Sk 17:1-3) Kyokka oluvannyuma Koseya yalekera awo okusasula omusolo, era yali akoze olukwe ne Kabaka So owa Misiri. (Laba SO.) Ekyo kyaleetera Salumaneseri okukwata Koseya n’amuteeka mu kkomera era n’azingiza Samaliya okumala emyaka esatu. Oluvannyuma ekibuga ekyo ekyali kyetooloddwa bbugwe omunywevu kyazikirizibwa, era Abayisirayiri ne batwalibwa mu buwambe.​—2Sk 17:4-6; 18:9-12; geraageranya Kos 7:11; Ezk 23:4-10.

it-1-E lup. 414-415

Obuwambe

Ensonga eyaviirako abantu b’omu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi obw’ebukiikakkono n’ab’omu bwakabaka bwa Yuda obw’ebika ebibiri obw’ebukiikaddyo okutwalibwa mu buwambe, yali y’emu: okuva ku kusinza okw’amazima ne basinza bakatonda ab’obulimba. (Ma 28:15, 62-68; 2Sk 17:7-18; 21:10-15) Yakuwa yeeyongera okusindika bannabbi be enfunda n’enfunda okulabula abantu b’omu bwakabaka obwo bwombi, naye tebaawuliriza. (2Sk 17:13) Tewali kabaka n’omu mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi eyasobola okuggirawo ddala okusinza okw’obulimba okwatandikibwawo Yerobowaamu, eyali kabaka w’obwakabaka obwo eyasooka. Ate bo abantu b’omu bwakabaka bwa Yuda obw’ebukiikaddyo tebaawuliriza kulabula Yakuwa kwe yabawanga, era wadde ng’abantu b’omu bwakabaka bwa Isirayiri baali batwaliddwa mu buwambe, abantu b’omu bwakabaka bwa Yuda tebaafunamu kya kuyiga. (Yer 3:6-10) Oluvannyuma, abantu b’omu bwakabaka bwombi baatwalibwa mu buwambe emirundi egisukka mu gumu.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 847

Omusamaliya

Ekigambo “Abasamaliya” kyasooka okukozesebwa mu Byawandiikibwa oluvannyuma lw’okuwangulwa kw’obwakabaka obw’ebika ekkumi obw’e Samaliya mu 740 E.E.T. Kyakozesebwanga okutegeeza abantu abaali babeera mu bwakabaka obw’ebukiikakkono, ng’obwakabaka obwo tebunnawangulwa, okubaawula ku bantu abalala abaggibwa mu bitundu ebirala eby’Obwakabaka bwa Bwasuli ne baleetebwa e Samaliya. (2Sk 17:29) Kirabika Abaasuli tebaagoba Bayisirayiri bonna kubamala mu Samaliya, kubanga 2 Ebyomumirembe 34:6-9 (geraageranya 2Sk 23:19, 20) walaga nti mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Yosiya, waaliwo Abayisirayiri abaali bakyali mu Samaliya. Oluvannyuma lw’ekiseera, ekigambo “Abasamaliya” kyakozesebwanga ku bazzukulu b’Abayisirayiri abaali babeera mu Samaliya n’ab’abagwira Abaasuli be baaleeta mu Samaliya. N’olwekyo, kirabika abamu ku bo baali baana Abayisirayiri be baazaala oluvannyuma lw’okufumbiriganwa n’abagwira abo. Nga wayiseewo ekiseera, ekigambo “Abasamaliya” kyakwataganyizibwanga na bya ddiini mu kifo ky’amawanga oba eby’obufuzi. Omuntu eyayitibwanga “Omusamaliya” yalinga oyo eyabanga mu kabiina k’eddini akaali mu bitundu ebyali biriraanye Sekemu ne Samaliya era akaalina enzikiriza ezimu ezaali zaawukanira ddala n’ez’eddiini y’Ekiyudaaya.​—Yok 4:9.

DDESEMBA 19-25

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 18-19

“Engeri Abo Abatuziyiza Gye Bagezaako Okutumalamu Amaanyi”

w05 10/1 lup. 21 ¶6

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Bassekabaka eky’Okubiri

18:19-21, 25​—Keezeekiya yali yeesiga Misiri? Nedda. Labusake okwogera bw’atyo n’okugamba nti ‘Yakuwa ye yali amukkirizza’ okulumba Yuda tebyali bituufu. Kabaka Keezeekiya yali yeesiga Yakuwa yekka.

w10 7/15 lup. 13 ¶3

“Totya; Nze Nnaakuyambanga”

Labusake yagezaako okukozesa olukujjukujju okusobola okuleetera abantu ba Katonda okubuusabuusa. Yagamba nti: “[Yakuwa] si ye nnannyini bifo ebigulumivu n’ebyoto Keezeekiya bye yaggyawo? . . . Yakuwa kennyini ye yaŋŋamba nti, ‘Genda olumbe ensi eyo ogizikirize.’” (2 Bassek. 18:22, 25) Mu kwogera atyo, Labusake yakiraga nti Yakuwa teyandirwaniridde bantu be olw’okuba baali bamunyiizizza. Naye ekyo tekyali kituufu. Yakuwa yali asiima Keezeekiya awamu n’Abayudaaya abaali bazzeemu okumusinza mu ngeri entuufu.​—2 Bassek. 18:3-7.

w13 11/15 lup. 19 ¶14

Abasumba Omusanvu, n’Abantu Omunaana ab’Ekitiibwa​—Be Baani Leero?

14 Kabaka wa Bwasuli n’eggye lye baasiisira mu Lakisi. Ng’ali eyo, yasindika ababaka basatu okulagira abantu b’omu Yerusaalemi okwewaayo mu mikono gye. Omwogezi we omukulu eyali ayitibwa Labusake, yakozesa obukodyo obutali bumu. Ng’ayogera mu Lwebbulaniya, yakubiriza abantu okuva ku kabaka waabwe beeweeyo mu mikono gya kabaka wa Bwasuli, ng’abasuubiza okubatwala mu nsi gye bandibeeredde mu bulamu obulungi, kyokka ng’ekyo tekyali kituufu. (Soma 2 Bassekabaka 18:31, 32.) Era Labusake yagamba abantu nti nga bakatonda b’amawanga amalala bwe bataasobola kuyamba bantu baabwe, ne Yakuwa teyandisobodde kununula Bayudaaya mu mikono gy’Abasuuli. Abantu baayoleka amagezi ne batayanukula Labusake. Leero, abaweereza ba Yakuwa bakoppa ekyokulabirako kyabwe.​—Soma 2 Bassekabaka 18:35, 36.

yb74-E lup. 177 ¶1

Ekitundu 2​—Bugirimaani

Ekitongole ky’abasirikale ekya SS kyatulugunyanga nnyo Abajulirwa ba Yakuwa nga kyagala basse omukono ku kiwandiiko ekiraga nti beegaanye eddiini yaabwe. Kyokka abo abekkiriranyanga ne bassa omukono ku kiwandiiko ekyo, baatulugunyizibwanga nnyo n’okusinga bwe baatulugunyizibwanga mu kusooka. Ow’Oluganda Karl Kirscht yagamba nti: “Mu nkambi y’abasibe, Abajulirwa ba Yakuwa be baasinganga okupikirizibwa okussa omukono ku kiwandiiko. Kyalowoozebwanga nti ekyo kyandibaleetedde okussa omukono ku kiwandiiko ekyo. Baabagambanga enfunda n’enfunda okukissaako omukono. Abamu baakissangako emikono, naye ebiseera ebisinga baalinanga okulinda ebbanga erisukka mu mwaka mulamba ne balyoka bateebwa. Mu kiseera ekyo nga tebannateebwa, abasirikale ba SS baabavumanga era baabatulugunyanga nga bwe babayita bannanfuusi era abatiitiizi. Ate era, baabawalirizanga okukumba nga bayita mu maaso g’ab’oluganda nga tebannaba kubata kuva mu nkambi.”

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-1-E lup. 155 ¶4

Okuyiikuula n’Okunoonyereza ku Bintu eby’Edda

Ng’ekyokulabirako, Bayibuli egamba nti Kabaka Sennakeribu owa Bwasuli yattibwa batabani be babiri, Adulammereki ne Salezeeri, era mutabani we omulala eyali ayitibwa Esalu-kaddoni ye yamuddira mu bigere. (2Sk 19:36, 37) Kyokka, ekitabo ekimu eky’ebyafaayo by’Abababulooni kigamba nti ng’ennaku z’omwezi 20 mu mwezi gwa Tebesi, Sennakeribu yattibwa mutabani we eyali amujeemedde. Era Berosaasi, munnaddiini eyaliwo mu kyasa eky’okusatu E.E.T., ne kabaka wa Babulooni eyali ayitibwa Nabonidasi, eyaliwo mu kyasa eky’omukaaga E.E.T., bombi baagamba nti omu ku batabani ba Sennakeribu ye yamutta. Kyokka okusinziira ku biwandiiko ebyazuulibwa gye buvuddeko awo, Esalu-kaddoni mutabani wa Sennakeribu eyamuddira mu bigere yagamba nti baganda be (abasukka mu omu) baajeemera kitaabwe ne bamutta era oluvannyuma ne badduka. Ng’ayogera ku nsonga eyo, Philip Biberfeld, mu kitabo ekiyitibwa Universal Jewish History (1948, Omuzingo I, lup. 27), agamba nti: “Ekitabo ky’ebyafaayo by’Abababulooni, Berosaasi, ne Nabonidasi, bonna baali bakyamu; Bayibuli by’eyogera bye bituufu. Kyakakasibwa nti ebyo ebiri mu kiwandiiko kya Esalu-kaddoni ekyazuulibwa, ebikwata ku kintu ekyo ekyaliwo mu byafaayo by’Abababulooni bituufu okusinga ebyo ebyali mu biwandiiko by’Abababulooni bennyini. Mu butuufu, ekyo kya mugaso nnyo mu kutuyamba okweyongera okwekenneenya ebyo ebiri mu biwandiiko eby’edda ebirimu ebintu ebikontana n’ebyo ebiri mu Bayibuli.”

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w20.11 lup. 15 ¶14

Ba Mugumu​—Yakuwa Ye Muyambi Wo

14 Kiki kye tusobola okukola? Tusobola okusabira “bakabaka, n’abo bonna abali mu bifo ebya waggulu” bwe baba nga balina bye bagenda okusalawo ebikwata ku bulamu bwaffe obw’Ekristaayo n’obuweereza bwaffe. (1 Tim. 2:1, 2; Nek. 1:11) Ng’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka bwe baakola, naffe tunyiikirira okusabira baganda baffe ne bannyinaffe abali mu kkomera. (Soma Ebikolwa 12:5; Beb. 13:3) Ate era tusobola okusabira abakuumi b’amakomera baganda baffe ne bannyinaffe gye basibiddwa. Tusobola okusaba Yakuwa akwate ku mitima gy’abakuumi abo babe nga Yuliyo, basobole okuyisa bakkiriza bannaffe abali mu kkomera mu ngeri ey’ekisa.​—Laba awannyonnyolerwa ebiri mu Ebikolwa 27:3.

DDESEMBA 26–JJANWALI 1

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 BASSEKABAKA 20-21

“Okusaba Kwaleetera Yakuwa Okubaako ky’Akolawo”

ip-1-E lup. 394 ¶23

Kabaka Aweebwa Omukisa olw’Okwoleka Okukkiriza

23 Mu kiseera Sennakeribu lw’asooka okuteekateeka okulumba Yuda, Kabaka Keezeekiya alwala nnyo. Nnabbi Isaaya amugamba nti yali agenda kufa. (Isaaya 38:1) Keezeekiya teyeeraliikirira kya kuba nti agenda kufa kyokka, wabula yeeraliikirira n’ebikwata ku biseera by’abantu be eby’omu maaso. Keezeekiya bw’afa, ani anaakulembera abantu mu lutalo? Abaasuli bateekateeka okulumba Yerusaalemi ne Yuda. Kabaka oyo eyalina emyaka 39 awulira ng’atidde nnyo. Ate mu kiseera ekyo teyalina mwana eyandimuddidde mu bigere. Keezeekiya asaba Yakuwa era amwegayirira amulage ekisa amuwonye.​—Isaaya 38:2, 3.

w17.03 lup. 21 ¶16

Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!

16 Oluvannyuma Keezeekiya yalwala n’abulako katono okufa. Yasaba Yakuwa ajjukire engeri gye yali atambulidde mu maaso ge n’obwesigwa. (Soma 2 Bassekabaka 20:1-3.) Tukimanyi nti Ebyawandiikibwa biraga nti mu kiseera kino Katonda takyawonya bantu mu ngeri ya kyamagero oba okwongezaayo ekiseera ky’obulamu bwabwe. Wadde kiri kityo, okufaananako Keezeekiya, buli omu ku ffe asobola okusaba Yakuwa n’amugamba nti: “Ntambulidde mu maaso go n’obwesigwa era n’omutima gwange gwonna.” Okkiriza nti Yakuwa asobola okukulabirira ne bw’oba ng’oli mulwadde?​—Zab. 41:3.

g01-E 7/22 lup. 13 ¶4

Okusaba Kuyinza Kunnyamba Kutya?

Mu biseera we baawandiikira Bayibuli, abasajja n’abakazi abamu abaali batya Katonda baasaba essaala zaabwe ne ziddibwamu butereevu, era ezimu zaddibwamu mu ngeri ey’ekyamagero. Ng’ekyokulabirako, Kabaka Keezeekiya bwe yamanya nti obulwadde obwali bumuluma bwali tebugenda kuwona, yeegayirira Katonda amuwonye. Katonda yamuddamu nti: “Mpulidde essaala yo era ndabye amaziga go. Ŋŋenda kukuwonya.” (2 Bassekabaka 20:1-6) Waliwo abasajja n’abakazi abalala abaali batya Katonda abaasaba, essaala zaabwe ne ziddibwamu.​—1 Samwiri 1:1-20; Danyeri 10:2-12; Ebikolwa 4:24-31; 10:1-7.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

it-2-E lup. 240 ¶1

Bbirigi

Bbirigi eyinza okukozesebwa okuzimba obulungi ennyumba n’eba ntereevu, oba okugipima okulaba obanga esaana okumenyebwa oba okulekebwawo. Yakuwa yagamba nti yandipimye Yerusaalemi ekyali kimujeemedde, ng’akozesa ‘omuguwa gwe yapimisa Samaliya, era ng’akozesa bbirigi gye yakozesa ku nnyumba ya Akabu.’ Katonda yapima Samaliya n’ennyumba ya Akabu n’abasanga ng’empisa zaabwe nnyonoonefu, oba nga bakyamye, ekyamuviirako okubazikiriza. Mu ngeri y’emu, Katonda yandisalidde Yerusaalemi n’abafuzi baakyo omusango n’ayanika ebikolwa byabwe ebibi, era n’azikiriza ekibuga ekyo. Ekyo kyennyini kye kyabaawo mu 607 E.E.T. (2Sk 21:10-13; 10:11) Okuyitira mu nnabbi Isaaya, Yakuwa yabuulira abafuzi ba Yerusaalemi abaali ababi ku kabi akaali kaboolekedde era n’abagamba nti: “Obwenkanya ndibufuula omuguwa ogupima n’obutuukirivu ndibufuula ekikozesebwa okupima obutereevu bw’ekintu.” Katonda yandikozesezza omutindo gwe ogw’obwenkanya n’ogw’obutuukirivu okwawulawo abaweereza be abeesigwa n’abawonyaawo era n’azikiriza ababi.​—Is 28:14-19.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share