LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 11/1/05 lup. 8-11
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • OLUKALALA LW’AMANNYA OLUKULU ENNYO
  • (1 Ebyomumirembe 1:1–9:44)
  • DAWUDI ATANDIKA OKUFUGA
  • (1 Ebyomumirembe 10:1–29:30)
  • Weereza Yakuwa ‘n’Essanyu’
  • Weesige Omwoyo gwa Katonda ng’Oyolekaganye n’Enkyukakyuka Ezibaawo mu Bulamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Samwiri eky’Okubiri
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 11/1/05 lup. 8-11

Ekigambo kya Yakuwa Kiramu

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka

WAAKAYITA emyaka nga 77 kasookedde Abayudaaya baddayo ku butaka nga bava mu buwaŋŋanguse e Babulooni. Yeekaalu Zerubbaberi ow’Essaza gye yaddamu okuzimba, kati ewezezza emyaka 55. Ekintu ekisingira ddala obukulu ekyakomyawo Abayudaaya ku butaka, kwe kuzzaawo okusinza okw’amazima mu Yerusaalemi. Kyokka, abantu baddiridde nnyo mu kusinza Yakuwa. Beetaaga okuzzibwamu amaanyi, era obubaka bwe baali beetaaga bwebwo bwennyini obuli mu kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka.

Ng’oggyeko ennyiriri z’obuzaale, ebintu ebyogerwako mu kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka byaliwo mu bbanga lya myaka 40, okuva ku kufa kwa Kabaka Sawulo okutuuka ku kufa kwa Kabaka Dawudi. Kigambibwa nti kabona Ezera yawandiika ekitabo kino mu 460 B.C.E. Ekitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka kya muganyulo kubanga kitubuulira ku ngeri gye baasinzangamu mu yeekaalu, n’olunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya. Olw’okuba kye kimu ku bitabo ebiri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa, obubaka obukirimu busobola okunyweza okukkiriza kwaffe era butuyamba okutegeera obulungi ebiri mu Baibuli.​—Abaebbulaniya 4:12.

OLUKALALA LW’AMANNYA OLUKULU ENNYO

(1 Ebyomumirembe 1:1–9:44)

Waliwo ensonga ssatu lwaki enkalala z’amannya Ezera ze yawandiika zaali nkulu nnyo: zaabayambanga okumanya abo abali mu lunyiriri lwa bakabona, zaayambanga abantu okumanya ebika byabwe, n’okukuuma olunyiriri lw’obuzaale bwa Masiya. Ate era, ziraga olunyiriri lw’obuzaale bw’Abayudaaya okuviira ddala ku muntu eyasooka. Ziraga nti waaliwo emirembe kkumi okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa n’emirembe emirala kkumi okuva ku Nuuwa okutuuka ku Ibulayimu. Ekitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka bwe kimala okuwa olukalala lw’abaana ba Isimaeri, abaana ba Ibulayimu be yazaala mu Ketula, n’abaana ba Esawu, kiddako okwogera ku lunyiriri lw’abaana ba Isiraeri 12.​—1 Ebyomumirembe 2:1.

Ezera yayogera nnyo ku bazzukulu ba Yuda kubanga mwe mwava olunyiriri lwa Kabaka Dawudi. Yalaga nti waaliwo emirembe 14 okuva ku Ibulayimu okutuuka Dawudi, n’emirembe emirala 14 okuva ku Dawudi okutuuka ku mwaka Abaisiraeri lwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni. (1 Ebyomumirembe 1:27, 34; 2:1-15; 3:1-17; Matayo 1:17) Oluvannyuma lw’ekyo, Ezera awa olukalala lw’ebika ebyali ebuvanjuba bwa Yoludaani n’azzaako abo abaali mu lunyiriri lwa Leevi. (1 Ebyomumirembe 5:1-24; 6:1) Mu nkomerero, Ezera amenya agamu ku mannya g’abo abaali mu bika ebirala ebyali ebuvanjuba bw’Omugga Yoludaani, n’abo abaali mu kika kya Benyamini. (1 Ebyomumirembe 8:1) Ate era, awa n’amannya g’abo abaasooka okutuuka e Yerusaalemi nga bavudde mu buwaŋŋanguse e Babulooni. ​—1 Ebyomumirembe 9:1-16.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

1:18​​—Ani yali kitaawe wa Seera​—​Kayinaani oba Alupakusaadi? (Lukka 3:35, 36) Alupakusaadi ye yali kitaawe wa Seera. (Olubereberye 10:24; 11:12) Kirabika awateekebwa erinnya “Kayinaani” mu Lukka 3:36 wandibaddewo “Abakaludaaya.” N’olwekyo okusinziira ku byawandiikibwa ebyasooka, olunyiriri olwo lwandisomye nti “omwana wa Alupakusaadi Omukaludaaya.” Ate era kiyinza n’okuba nti omuntu ayitibwa Kayinaani, erinnya lye eddala ye Alupakusaadi. Kye tulina okujjukira kiri nti, ebigambo “mwana wa Kayinaani” tebisangibwa mu mizingo egimu egy’edda.​—Lukka 3:36.

2:15​​—Dawudi ye yali mutabani wa Yese ow’omusanvu? Nedda. Yese yalina abaana ab’obulenzi munaana, era nga Dawudi ye muggulanda. (1 Samwiri 16:10, 11; 17:12) Kirabika omu ku baana ba Yese yafa nga tazaddeyo mwana. Olw’okuba erinnya lye teryandibadde na mugaso mu nnyiriri za buzaale, Ezera teyamubala.

3:17​​—Lwaki Lukka 3:27 luyita Seyalutyeri mutabani wa Neeri ng’ate yali mutabani wa Yekoniya? Yekoniya ye yali kitaawe wa Seyalutyeri. Kirabika Neeri yali awadde Siyalutyeri muwala we. N’olwekyo Lukka yamuyita mutabani wa Neeri ng’era bwe yayita Yusufu mutabani wa Eri ng’ate Eri yali taata wa Malyamu.​—Lukka 3:23.

3:17-19​​—Luganda ki olwaliwo wakati wa Zerubbaberi, Pedaya ne Seyalutyeri? Zerubbaberi yali mutabani wa Pedaya ate nga Seyalutyeri ba luganda ne Pedaya. Kyokka, Baibuli bw’eba eyogera ku Zerubbaberi oluusi emuyita mutabani wa Seyalutyeri. (Matayo 1:12; Lukka 3:27) Kino kiri bwe kityo kubanga Pedaya ayinza okuba yafa nga Zerubbaberi akyali muto Seyalutyeri n’amukuza. Ate kiyinza n’okuba nti Seyalutyeri yafa nga talina mwana, Pedaya n’awasa mukazi we bw’atyo Zerubbaberi n’afuuka mutabani wa Seyalutyeri omubereberye.​—Ekyamateeka 25:5-10.

5:1, 2​​—Yusufu okuweebwa ekifo ky’omwana omubereberye kyali kitegeeza ki? Kyali kitegeeza nti Yusufu yali agenda kufuna emigabo ebiri ku by’obusika bwa kitaawe. (Ekyamateeka 21:17) Bwe kityo, yafuuka kitaawe w’ebika ebibiri ​—ekika kya Efulayimu n’ekya Manase. Abaana ba Isiraeri abalala buli omu yavaamu ekika kimu kyokka.

Bye Tuyigamu:

1:1–9:44. Ennyiriri z’obuzaale bw’abantu bukakafu obulaga nti okusinza okw’amazima tekwesigamiziddwa ku nfumo bufumo wabula kwesigamye ku bintu ebyaliwo ddala.

4:9, 10. Yakuwa yaddamu okusaba kwa Yabezi n’amuyamba obutatuukibwako kabi ng’agaziya ensalo ye, ekitundu kye kisobole okubaamu abantu bangi abatya Katonda. Naffe twetaaga okusaba Katonda asobozese abantu bangi okujja mu kusinza okw’amazima nga naffe bwe tunyiikirira omulimu gw’okufuula abayigirizwa.

5:10, 18-22. Mu biseera bya Kabaka Sawulo, ebika ebyali ebuvanjuba bwa Yoludaani byawangula Abakaguli wadde nga baali babasinga obungi emirundi ebiri n’okusingawo. Kino kyali bwe kityo kubanga abalwanyi baabwe beesiga Yakuwa era ne bamusaba abayambe. Naffe ka tubeere bakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba mu lutalo lwaffe olw’eby’omwoyo nga tumeggana n’abo abatusinga obungi.​—Abaefeso 6:10-17.

9:26, 27. Abaleevi abaggalanga enzigi baalina obuvunaanyizibwa bwa maanyi. Baali baweereddwa ebisumuluzo ebiggulawo enzigi z’ebisenge ebitukuvu mu yeekaalu. Buli lunaku baggulangawo enzigi ezo era baalinga beesigwa mu kukola omulimu ogwo. Naffe tukwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abantu mu bitundu byaffe n’okubayamba okwegatta ku basinza ba Yakuwa. Tetwandibadde beesigwa mu kukola omulimu ogwo ng’Abaleevi bwe baakolanga omulimu gwabwe?

DAWUDI ATANDIKA OKUFUGA

(1 Ebyomumirembe 10:1–29:30)

Essuula zino zitandika nga ziraga engeri Kabaka Sawulo ne batabani be abasatu gye baafiira mu lutalo olwaliwo wakati w’Abafirisuuti n’Abaisiraeri, ku Lusozi Girubowa. Oluvannyuma Dawudi mutabani wa Yese afuulibwa kabaka w’ekika kya Yuda. Abasajja okuva mu bika byonna bajja e Kebbulooni, ne bamufuula kabaka wa Isiraeri yonna. (1 Ebyomumirembe 1:1-3) Mu kaseera mpa we kaaga awamba Yerusaalemi. Bwe wayita ekiseera, Abaisiraeri batwala essanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi nga ‘boogerera waggulu n’eddoboozi ery’enŋombe n’amakondeere n’ebisaala nga bakuba nnyo entongooli n’ennanga.’​—1 Ebyomumirembe 15:28.

Dawudi afuna ekirowoozo ky’okuzimbira Katonda ow’amazima ennyumba. Yakuwa amugamba nti Sulemaani y’ajja okugimuzimbira era akola endagaano ne Dawudi y’Obwakabaka. Dawudi bw’agenda okulumba abalabe ba Isiraeri, Yakuwa amuyamba okubawangula. Abala abantu nga takkiriziddwa era kiviirako abantu 70,000 okuttibwa. Nga malayika amaze okumugamba okuzimbira Yakuwa ekyoto, Dawudi agula ekibanja ku Olunaani Omuyebusi. Atandika ‘okutegeka ebinaakozesebwa bingi’ mu kuzimbira Yakuwa ennyumba ‘ey’ekitiibwa ennyo.’ (1 Ebyomumirembe 22:5) Dawudi ateekateeka emirimu gy’Abaleevi era girambikiddwa bulungi mu kitabo kino n’okusinga awalala wonna mu Byawandiikibwa. Kabaka awamu n’abantu bawaayo ebintu ebinaayamba mu kuzimba yeekaalu. Nga wayise emyaka 40, Dawudi afa ‘ng’awangadde era ng’alina obugagga n’ekitiibwa, Sulemaani mutabani we n’afuga mu kifo kye.’​—1 Ebyomumirembe 29:28.

Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:

11:11​​—Lwaki olunyiriri luno lulaga nti abo abattibwa baali 300 ng’ate 2 Samwiri 23:8 awoogera ku kintu kye kimu walaga nti 800 be battibwa? Omukulu w’abalwanyi ba Dawudi abasatu yali Yasobeyamu, oba Yose-bubasu-sebesi. Abalwanyi abalala ababiri ye Ereazaali ne Samma. (2 Samwiri 23:8-11) Kirabika ebyawandiikibwa bino byombi byogera ku bantu ba njawulo Yose-bubasu-sebesi be yatta era eno ye nsonga lwaki biwa emiwendo gya njawulo.

11:20, 21​​—Abisaayi naye yali omu ku basajja ba Dawudi abasatu ab’amaanyi ennyo? Abisaayi teyali omu ku basajja ba Dawudi abasatu ab’amaanyi ennyo. Kyokka, okusinziira ku 2 Samwiri 23:18, 19 ye yali omukulu w’abalwanyi 30 era bonna yali abasinga amaanyi. Abisaayi yayatiikirira nnyo ng’abasajja abo abasatu ab’amaanyi kubanga alina ekikolwa eky’obuzira kye yakola ekyali kifaananako n’ekya Yasobeyamu.

12:8​​—Mu ngeri ki ‘amaaso’ g’abalwanyi Abagaadi gye ‘gaali nga ag’empologoma’? Abasajja bano abazira baali ne Dawudi mu ddungu. Olw’okuba enviiri n’ebirevu byabwe byali bikuze nnyo kyabaleetera okulabika ng’empologoma.

13:5​​—“Akagga k’e Misiri” ke kaluwa? Abamu balowooza nti kano kaali kagga akava ku Mugga Nile. Kyokka ‘akagga k’e Misiri’​—kyali kiwonvu ekiri ku nsalo y’Ensi Ensuubize mu bukiika ddyo.​—Okubala 34:2, 5; Olubereberye 15:18.

16:30​​—Ebigambo “mukankane” mu maaso ga Yakuwa birina makulu ki? Wano ekigambo “mukankane” kikozeseddwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza okutya Yakuwa n’okumuwa ekitiibwa ng’oyo asingiridde.

16:1, 37-40; 21:29, 30; 22:19​​—Nteekateeka ki ey’okusinza eyaliwo mu Isiraeri okuva mu kiseera Essanduuko y’Endagaano lwe yatwalibwa mu Yerusaalemi okutuuka mu kiseera yeekaalu lwe yazimbibwa? Dawudi we yaleetera Essanduuko y’Endagaano e Yerusaalemi n’agiteeka mu weema gye yali akoze, Essanduuko eyo yali emaze emyaka mingi nga teri mu weema ey’okusisinkaniramu. Ng’emaze okuleetebwa e Yerusaalemi yasigala mu weema eyo. Yo weema ey’okusisinkaniramu yali mu Gibyoni, Kabona Omukulu Zaddooki ne baganda be gye baaweeranga ssaddaaka ezaalagirwa mu Mateeka. Beeyongera okuweera eyo ssaddaaka okutuusa yeekaalu lwe yamalirizibwa okuzimbibwa mu Yerusaalemi. Olwo weema ey’okusisinkaniramu n’eryoka eggibwa e Gibyoni n’etwalibwa e Yerusaalemi era Essanduuko y’Endagaano n’eteekebwa mu Wasinga Obutukuvu mu yeekaalu.​—1 Bassekabaka 8:4, 6.

Bye Tuyigamu:

13:11. Mu kifo ky’okunyiiga n’okunenya Yakuwa ng’okufuba kwaffe kugudde butaka, tuteekwa okusooka okwetegereza obulungi ensonga n’okulaba ekitulemesezza okutuuka ku kye tubadde twagala. Awatali kubuusabuusa ekyo kyennyini Dawudi kye yakola. Ensobi gye yakola erina kye yamuyigiriza era oluvannyuma yatuusa bulungi Essanduuko e Yerusaalemi bwe yagoberera amateeka agaamuweebwa.a

14:10, 13-16; 22:17-19. Tusaanidde okusaba Yakuwa n’okunoonya obulagirizi bwe nga tetunnakola kintu kyonna ekiyinza okukwata ku mbeera yaffe ey’eby’omwoyo.

16:23-29. Okusinza Yakuwa kulina okuteekebwa ekifo ekisooka mu bulamu bwaffe.

18:3. Yakuwa atuukiriza ebisuubizo bye. Ng’ayitira mu Dawudi, Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo kye eky’okuwa ezzadde lya Ibulayimu ensi ya Kanani, “okuva ku mugga gw’e Misiri okutuuka ku mugga omunene, omugga Fulaati.”​—Olubereberye 15:18; 1 Ebyomumirembe 13:5.

21:13-15. Yakuwa bwe yagamba malayika okulekera awo okuzikiriza, kyalaga nti Awulira bubi ng’abantu Be babonaabona. Mu butuufu ‘alina okusaasira kungi nnyo.’b

22:5, 9; 29:3-5, 14-16. Wadde Dawudi si ye yaweebwa omulimu gw’okuzimba yeekaalu ya Yakuwa, yalina omwoyo gw’okugaba. Lwaki? Kubanga yali akimanyi nti byonna bye yalina Yakuwa ye yali abimuwadde. Naffe endowooza ng’eyo ye yanditukubirizza okuba n’omwoyo gw’okugaba.

24:7-18. Malayika wa Yakuwa lwe yalabikira Zaakaliya n’amugamba nti ajja kuzaala Yokaana Omubatiza, bakabona baali bakyagoberera enkola eyateekebwawo Dawudi ey’okukolera mu mpalo nga bagabanyiziddwamu ebibinja 24 eby’enjawulo. Ng’omu ku abo abaali mu ‘mu kibinja kya Abiya,’ Zaakaliya yali aweereza mu luwalo lwe mu yeekaalu. (Lukka 1:5, 8, 9) Abantu aboogerwako abaali mu kusinza okw’amazima, baaliwo ddala. Tufuna emikisa mingi bwe tukolaganira awamu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ bwe kituuka ku nteekateeka ennungi ey’okusinza Yakuwa mu kiseera kino.​—Matayo 24:45.

Weereza Yakuwa ‘n’Essanyu’

Ekitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka tekiriimu nnyiriri za buzaale zokka. Kitubuulira ebyaliwo nga Dawudi atwala essanduuko y’endagaano mu Yerusaalemi, obuwanguzi bwe yatuukako mu ntalo, enteekateeka ez’okuzimba yeekaalu, n’emirimu gya bakabona Abaleevi. Byonna Ezera bye yawandiika mu kitabo ky’Ebyomumirembe Ekisooka biteekwa okuba nga byaganyula nnyo Abaisiraeri era ne bibayamba okuddamu okunyiikirira okusinza kwa Yakuwa okwabeeranga mu yeekaalu.

Nga Dawudi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu kuteeka okusinza Yakuwa mu kifo ekisooka! Mu kifo ky’okukola ebibye ku bubwe, Dawudi yayagalanga nnyo okukola Katonda by’ayagala. Naffe tukubirizibwa okugoberera okubuulirira kwe okw’okuweereza Yakuwa “n’omutima ogutuukiridde n’emmeeme esanyuka.”​—1 Ebyomumirembe 28:9.

[Obugambo obuli wansi]

a Soma Watchtower aka Maayi 15, 2005, empapula 16-19 olabe eby’okuyiga ebirala ebiri mu ekyo Dawudi kye yakola bwe yagezaako okutwala Essanduuko y’Endagaano mu Yerusaalemi.

b Soma Watchtower aka Maayi 15, 2005, empapula 16-19 olabe eby’okuyiga ebiri mu ekyo Dawudi kye yakola eky’okubala abantu nga takkiriziddwa.

[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 8-11]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

4026 B.C.E. Adamu Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa

(emyaka 1,056)

emyaka 130 ⇩

Seezi

105 ⇩

Enosi

90 ⇩

Kenani

70 ⇩

Makalaileri

65 ⇩

Yaledi

162 ⇩

Enoka

65 ⇩

Mesuseera

187 ⇩

Lameka

182 ⇩

2970 B.C.E. Nuuwa 2970 B.C.E. NUUWA azaalibwa

Okuva ku Nuuwa

okutuuka ku Ibulayimu

Emyaka 502 ⇩ (emyaka 952)

Seemu

AMATABA 2370 B.C.E.

100 ⇩

Alupakusaadi

35 ⇩

Seera

30 ⇩

Eberi

34 ⇩

Peregi

30 ⇩

Leewo

32 ⇩

Serugi

30 ⇩

Nakoli

29 ⇩

Teera

130 ⇩

2018 B.C.E. Ibulayimu 2018 B.C.E. IBULAYIMU azaalibwa

Okuva ku Ibulayimu okutuuka ku Dawudi:

emyaka 100 emirembe 14 (emyaka 911)

Isaac

60 ⇩

Yakobo

c.88 ⇩

Yuda

⇩

Pereezi

⇩

Kezulooni

⇩

Laamu

⇩

Aminadaabu

⇩

Nakusoni

⇩

Salumooni

⇩

Bowaazi

⇩

Obedi

⇩

Yese

⇩

1107 B.C.E. DAWUDI azaalibwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share