Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe
© 2023 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
MAAYI 1-7
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 17-19
“Tunuulira Abalala nga Yakuwa bw’Abatunuulira”
Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?
7 Kati ate ka tulowooze ku Yekosafaati mutabani wa Asa. Yekosafaati yayoleka engeri ennungi ezitali zimu. Yeesiganga Yakuwa era yakola ebintu ebirungi bingi. Wadde kyali kityo, ebiseera ebimu Yekosafaati yasalangawo mu ngeri eteri ya magezi. Ng’ekyokulabirako, yakola enteekateeka mutabani we n’awasa muwala wa Kabaka Akabu eyali omubi. Ate era Yekosafaati yeegatta ku Akabu okulwanyisa Abasuuli, wadde nga nnabbi Mikaaya yali abalaze nti olutalo olwo terwandivuddemu kalungi. Mu lutalo olwo, Yekosafaati yabulako katono okuttibwa. Oluvannyuma yaddayo e Yerusaalemi. (2 Byom. 18:1-32) Nnabbi Yeeku yamubuuza nti: “Ababi b’osaanidde okuyamba, era abo abakyawa Yakuwa b’osaanidde okwagala?”—Soma 2 Ebyomumirembe 19:1-3.
Fumiitiriza ku Kwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka
8 Yakuwa ayagala tukimanye nti atwagala nnyo era nti tatunoonyamu nsobi. Atunoonyaamu birungi. (2 Byom. 16:9) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Kabaka Yekosafaati owa Yuda. Lumu, Yekosafaati yakola ekintu ekitaali kya magezi bwe yakkiriza okugenda ne Kabaka Akabu okulwanyisa Abasuuli basobole okuwamba Lamosugireyaadi. Wadde nga bannabbi ab’obulimba 400 baagamba Akabu nti yali agenda kuwangula, nnabbi wa Yakuwa Mikaaya yamugamba nti yali tagenda kuwangula. Akabu yafiira mu lutalo era ne Yekosafaati yawonera watono okuttibwa. Bwe yaddayo mu Yerusaalemi, Yekosafaati yanenyezebwa olw’okukolagana ne Akabu, kabaka eyali omubi. Wadde kyali kityo, Yeeku, mutabani wa Kanani omulabi, yagamba Yekosafaati nti: “Mu ggwe mulabise ebirungi.”—2 Byom. 18:4, 5, 18-22, 33, 34; 19:1-3.
9 Bwe yali yaakatandika okufuga nga kabaka, Yekosafaati yalagira abalangira, Abaleevi, ne bakabona okugenda mu bibuga byonna ebya Yuda bayigirize abantu be Amateeka ga Yakuwa. Ekyo kyavaamu ebirungi bingi kubanga kyaleetera n’abantu ab’amawanga agaali geetooloddewo okutandika okutya Yakuwa. (2 Byom. 17:3-10) Wadde nga Yekosafaati yakola ekintu ekitaali kya magezi, Yakuwa yali ajjukira ebirungi bye yali akoze. Ekyo kituyamba okukiraba nti wadde ng’oluusi tukola ensobi, Yakuwa ajja kutulaga okwagala kwe okutajjulukuka singa tufuba okukola ebimusanyusa.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Weereza Yakuwa n’Omutima Gwo Gwonna!
10 Yekosafaati mutabani wa Asa “yatambulira mu kkubo lya Asa kitaawe.” (2 Byom. 20:31, 32) Mu ngeri ki? Okufaananako kitaawe, Yekosafaati yakubiriza abantu okunoonya Yakuwa. Yatuma abasajja mu bibuga bya Yuda okuyigiriza abantu nga bakozesa “ekitabo ky’Amateeka ga Yakuwa.” (2 Byom. 17:7-10) Yagenda ne mu bwakabaka bwa Isirayiri obw’ebika ekkumi mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi, ‘okukomyawo abantu eri Yakuwa.’ (2 Byom. 19:4) Yekosafaati ‘yanoonya Yakuwa n’omutima gwe gwonna.’—2 Byom. 22:9.
11 Ffenna tusobola okwenyigira mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Yakuwa gw’akola leero. Buli mwezi ofuba okuyigiriza abantu Ekigambo kya Katonda, basobole okutandika okuweereza Yakuwa? Bw’ofuba okukola bw’otyo Yakuwa ajja kukuwa emikisa osobole okufuna b’oyigiriza Bayibuli. Olina ekiruubirirwa ekyo era osaba Yakuwa akuyambe okukituukako? Oli mwetegefu okuyigiriza abantu Bayibuli ne bwe kiba nti ekyo kikwetaagisa okwefiiriza ebiseera ebimu eby’okuwummula? Nga Yekosafaati bwe yagenda mu kitundu kya Efulayimu okuyamba abantu okudda eri Yakuwa, naffe tusobola okunoonya abo abaggwaamu amaanyi mu by’omwoyo. Ate era abakadde mu kibiina basobola okufuba okukyalira n’okuyamba abantu abaagobebwa mu kibiina abali mu kitundu kyabwe abayinza okuba nga baalekayo ebikolwa byabwe ebibi.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Sigala ng’Olina Endowooza Ennuŋŋamu ku Buweereza Bwo
11 Abantu abamu tebaagala kuwuliriza bubaka bwaffe. Tebalaba bwetaavu bwa kumanya Katonda oba ebyo ebiri mu Bayibuli. Tebakkiririza mu Katonda olw’okuba balaba nti mu nsi mulimu okubonaabona kungi. Tebaagala kumanya ebyo ebiri mu Bayibuli kubanga balaba obunnanfuusi bw’abakulembeze b’amadiini abeetwala okuba nti bakkiririza mu Bayibuli. Ate abalala beemalidde ku mirimu gyabwe, ku maka gaabwe, oba ku bizibu byabwe, ne kiba nti tebasobola kulaba ngeri Bayibuli gy’esobola kubayambamu. Tuyinza tutya okusigala nga tuli basanyufu, abo be tubuulira bwe baba ng’obubaka bwaffe tebabutwala nga bukulu?
12 Laga nti ofaayo ku bantu. Abantu bangi mu kusooka abaali bataagala kuwuliriza bubaka bwaffe oluvannyuma baabuwuliriza bwe baakiraba nti omubuulizi yali abafaako. (Soma Abafiripi 2:4.) Ng’ekyokulabirako, David eyayogeddwako waggulu agamba nti, “Omuntu bw’agamba nti tayagala kuwuliriza, Bayibuli zaffe oba ebitabo byaffe tubizzaayo mu nsawo ne tumugamba nti: ‘Twandyagadde okumanya ensonga lwaki toyagala kumanya biri mu Bayibuli.’” Omuntu bw’aba afaayo ku bantu, ekyo abantu bakiraba. Bayinza okwerabira ebyo bye tuba twogedde nabo, naye kiba kizibu okwerabira engeri gye tuba tubayisizzaamu. Abantu ne bwe batatukkiriza kwogera nabo, tuyinza okukiraga mu nneeyisa yaffe ne ku ndabika yaffe ey’oku maaso nti tubafaako.
13 Bwe tutuukanya obubaka bwaffe n’ebyetaago by’abantu be tuba tubuulira, tuba tukiraga nti tubafaako. Ng’ekyokulabirako, waliwo ekiraga nti mu maka mulimu abaana? Abazadde bayinza okwagala okuwulira amagezi Bayibuli g’ewa agakwata ku kukuza abaana, oba engeri y’okuba n’essanyu mu maka. Ku luggi kuliko kkufulu nnyingi? Tuyinza okusalawo okwogera ku bumenyi bw’amateeka ne ku kutya okuli mu bantu okwetooloola ensi. Omuntu ayinza okwagala okuwuliriza bwe tumubuulira ekyo ekinaagonjoolera ddala ekizibu ekyo. Buli lw’osanga abantu abaagala okuwuliriza, fuba okubayamba okulaba engeri amagezi agali mu Bayibuli gye gasobola okubayambamu. Katarína, eyayogeddwako waggulu agamba nti, “Ntera okufumiitiriza ku ngeri amazima gye gannyambyemu mu bulamu bwange.” Ekyo kireetera Katarína okwogera nga yeekakasa, era abantu b’aba ayogera nabo bakiraba.
14 Ganyulwa mu buyambi obukuweebwa abalala. Mu kyasa ekyasooka, Pawulo yayigiriza Timoseewo okubuulira n’okuyigiriza era naye n’amukubiriza okukola kye kimu eri abalala. (1 Kol. 4:17) Okufaananako Timoseewo, naffe tusobola okuyigira ku abo abalina obumanyirivu mu kibiina. (Soma Engero 27:17.) Lowooza ku w’oluganda ayitibwa Shawn. Okumala ekiseera yaweereza nga payoniya mu kyalo abantu abasinga obungi gye baali abamativu n’amadiini gaabwe. Yasobola atya okusigala nga musanyufu? Agamba nti, “Buli lwe kyabanga kisoboka nnabangako n’omubuulizi gwe nkola naye. Bwe twabanga tutambula okuva ku nnyumba emu okudda ku ndala, ekiseera ekyo twakikozesanga buli omu okuyamba munne okwongera okutereeza mu ngeri gy’ayigirizaamu. Ng’ekyokulabirako, twayogeranga ku ngeri gye twabanga tukuttemu omuntu gwe twabanga tuva okubuulira. Oluvannyuma twakubaganyanga ebirowoozo ku ngeri endala gye twandikuttemu embeera eyo singa twali tuzzeemu okugisanga.”
15 Saba Yakuwa akuyambe. Buli lw’oba ogenda okubuulira saba Yakuwa akuwe obulagirizi. Awatali buyambi bw’omwoyo omutukuvu tewali n’omu ku ffe yandisobodde kubaako ky’atuukiriza mu mulimu gw’okubuulira. (Zab. 127:1; Luk. 11:13) Bw’oba osaba Yakuwa akuyambe, mutegeereze ddala ekyo ky’oyagala. Ng’ekyokulabirako, musabe akuyambe okuzuula omuntu ayinza okuba n’endowooza ennuŋŋamu era omwetegefu okuwuliriza. Oluvannyuma kolera ku kusaba kwo ng’ofuba okubuulira abo bonna b’osanga.
MAAYI 8-14
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 20-21
“Weesige Yakuwa Katonda Wo”
Okuba Obumu Kijja Kutuyamba Okuwonawo
8 Mu kiseera kya Kabaka Yekosafaati, abantu ba Katonda baalumbibwa “ekibinja ekinene” okuva mu bitundu ebyali bibeetoolodde. (2 Byom. 20:1, 2) Abantu ba Katonda tebaagezaako kulwanyisa balabe baabwe abo mu maanyi gaabwe. Mu kifo ky’ekyo, baasaba Yakuwa abayambe. (Soma 2 Ebyomumirembe 20:3, 4.) Buli Muyisirayiri teyagezaako kwenoonyeza ngeri gye yali ayinza kuwonawo. Bayibuli egamba nti: “Abantu b’omu Yuda bonna baali bayimiridde mu maaso ga Yakuwa, nga bali n’abaana baabwe abato ne bakyala baabwe ne batabani baabwe.” (2 Byom. 20:13) Bonna, abato n’abakulu, beesiga Yakuwa ne bakolera ku bulagirizi bwe yali abawadde, era Yakuwa yabanunula okuva mu mikono gy’abalabe baabwe. (2 Byom. 20:20-27) Ekyokulabirako ekyo kituyamba okulaba engeri abantu ba Katonda gye basaanidde okweyisaamu nga bafunye ebizibu.
Abaakafumbiriganwa—Mukulembeze Okuweereza Yakuwa
7 Yakuwa yayogera ne Yekosafaati ng’ayitira mu Muleevi eyali ayitibwa Yakaziyeeri. Yagamba nti: “Mubeere mu bifo byammwe; muyimirire butengerera mulabe Yakuwa bw’abalokola.” (2 Byom. 20:13-17) Eyo si ye yali engeri eya bulijjo ey’okulwanamu olutalo! Naye obulagirizi obwo bwali tebuvudde eri muntu; bwali buvudde eri Yakuwa. Yekosafaati yeesiga Yakuwa n’akola nga bwe yali amugambye. Ye n’abantu be bwe baagenda okulwanyisa abalabe, teyakulembezaamu balwanyi be abaali abakugu, wabula yakulembezaamu bayimbi abataalina kyakulwanyisa kyonna. Yakuwa yatuukiriza ekyo kye yali asuubizza Yekosafaati; yawangula abalabe be.—2 Byom. 20:18-23.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-1-E lup. 1271 ¶1-2
Yekolaamu
Emu ku nsonga eyaviirako Yekolaamu obutatambulira mu kkubo ery’obutuukirivu nga kitaawe Yekosafaati eri nti, mukyala we ye yali Asaliya eyali akola ebintu ebibi ennyo mu maaso ga Yakuwa. (2Sk 8:18) Ng’oggyeeko okuba nti Yekolaamu yatta baganda be omukaaga n’abamu ku baami ba Yuda, era yaleetera abantu ba Yuda okuva ku Yakuwa ne batandika okusinza bakatonda ab’obulimba. (2By 21:1-6, 11-14) Obufuzi bwe bwonna bwali bujjudde ebizibu, era ebimu ku byo byali biva munda mu bwakabaka bwa Yuda ate ebirala byali biva mu bitundu ebyali byetoolodde obwakabaka obwo. Okusookera ddala, Edomu yajeemera Yuda ate oluvannyuma Libuna nayo n’egijeemera. (2Sk 8:20-22) Nnabbi Eriya yawandiikira Yekolaamu ebbaluwa n’amugamba nti: “Yakuwa agenda kuleeta akabi ku bantu bo, ku baana bo, ku bakazi bo, ne ku bintu byo byonna.” Ate era yamugamba nti: “Ojja kufuna endwadde nnyingi, nga mwe muli n’obulwadde bw’omu byenda, okutuusa ebyenda byo lwe birifuluma olw’obulwadde obunaakulumanga buli lunaku.”—2By 21:12-15.
Ekyo bwe kityo ddala bwe kyali. Yakuwa yaleka Abawalabu n’Abafirisuuti okulumba ensi ya Yuda ne bawamba bakazi ba Yekolaamu n’abaana be. Omwana wa Yekolaamu eyali ayitibwa Yekoyakazi (era ayitibwa Akaziya), eyali asembayo obuto, yekka Katonda gwe yaleka okuwonawo era ng’ekyo yakikola olw’endagaano y’Obwakabaka gye yakola ne Dawudi. Bayibuli egamba nti: “Ebyo bwe byaggwa, Yakuwa n’amulwaza [Yekolaamu] obulwadde mu byenda obwali butasobola kuwona.” Nga wayiseewo emyaka ebiri “ebyenda bye byafuluma” era oluvannyuma n’afa. Obulamu bw’omusajja oyo eyali omubi bwe butyo bwe bwakoma, era “bwe yafa tewali n’omu gwe kyaluma.” Yaziikibwa mu Kibuga kya Dawudi, “naye tebaamuziika gye baazikanga bakabaka.” Akaziya mutabani we ye yatandika okufuga mu kifo kye.—2By 21:7, 16-20; 22:1; 1By 3:10, 11.
MAAYI 15-21
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 22-24
“Yakuwa Awa Omukisa Abo Abooleka Obuvumu”
w09-E 4/1 lup. 24 ¶1-2
Yekowaasi Yava ku Yakuwa olw’Emikwano Emibi
EKISEERA kyali kizibu nnyo mu Yerusaalemi, ekibuga ekyalimu yeekaalu ya Katonda. Kabaka Akaziya yali yaakamala okuttibwa. Ekyo Asaliya, maama wa Akaziya, kye yazzaako okukola kyali kyennyamiza nnyo. Yatta bazzukulu be, abaana ba mutabani we! Omanyi ensonga lwaki yabatta?— Yabatta asobole okufuga nga kabaka mu kifo ky’omu ku bo okuba nga y’afuga.
Kyokka omu ku bazzukulu ba Asaliya eyali ayitibwa Yekowaasi, eyali akyali omuto ennyo yawonyezebwawo, era jjajjaawe teyakimanya. Oyagala okumanya engeri gye yawona okuttibwa?—Yekowaasi yalina ssenga we eyali ayitibwa Yekoseba, era ssenga we oyo yamukweka mu yeekaalu. Yekoseba yali asobola okukweka Yekowaasi mu yeekaalu kubanga bbaawe yali Yekoyaada Kabona eyali Asinga Obukulu. Bwe kityo Yekoseba ne bbaawe Yekoyaada baakuuma bulungi Yekowaasi n’atatuusibwako kabi.
w09-E 4/1 lup. 24 ¶3-5
Yekowaasi Yava ku Yakuwa olw’Emikwano Emibi
Yekowaasi yakwekebwa mu yeekaalu okumala emyaka mukaaga. Ng’ali eyo yayigirizibwa ebikwata ku Yakuwa Katonda n’amateeka ge. Oluvannyuma Yekowaasi bwe yaweza emyaka musanvu, Yekoyaada alina kye yakolawo okumufuula kabaka. Wandyagadde okumanya engeri Yekoyaada gye yakolamu ekyo, n’ekyo ekyatuuka ku jjajja wa Yekowaasi omubi eyali ayitibwa Asaliya?—
Yekoyaada yayita mu kyama abasirikale abaali abakuumi ba bakabaka mu Yerusaalemi, n’abategeeza ku ngeri ye ne mukyala we gye baali bawonyezzaawo omwana wa kabaka Azaliya eyali asembayo obuto. Oluvannyuma Yekoyaada yalaga abakuumi abo Yekowaasi, era nabo ne bakiraba nti ddala ye yali ateekeddwa okufuga nga kabaka. Era baakola enteekateeka okumufuula kabaka.
Yekoyaada yaleeta Yekowaasi n’amufuula kabaka. Abantu baakuba “mu ngalo nga bwe bagamba nti: ‘Kabaka awangaale!’” Abasirikale baayimirira okwetooloola Yekowaasi okumukuuma. Asaliya bwe yawulira amaloboozi g’abantu abaali bajaganya, yajja alabe ekibaddewo. Naye Yekoyaada yalagira abakuumi bamutte, era baamutwala ne bamutta.—2 Bassekabaka 11:1-16.
it-1-E lup. 379 ¶5
Okuziika, Ebifo Ebiziikibwamu
Yekoyaada Kabona Asinga Obukulu yaweebwa ekitiibwa eky’okuziikibwa “mu Kibuga kya Dawudi gye baaziikanga bakabaka.” Ye muntu yekka eyali tava mu lunyiriri lwa bakabaka eyaweebwa ekitiibwa ekyo.—2By 24:15, 16.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
it-2-E lup. 1223 ¶13
Zekkaliya
12 Mutabani wa Yekoyaada Kabona Asinga Obukulu. Oluvannyuma lwa Yekoyaada okufa, Kabaka Yekowaasi yava ku kusinza okw’amazima, n’awuliriza amagezi amabi agaamuweebwa mu kifo ky’okuwuliriza bannabbi ba Yakuwa. Zekkaliya, omwana wa ssenga wa Yekowaasi (2By 22:11), yalabula abantu ku ekyo kye baali bakola. Kyokka mu kifo ky’okwenenya, baamukubira amayinja mu luggya lwa yeekaalu n’afa. Zekkaliya bwe yali afa yagamba nti: “Yakuwa akubonereze olw’ekyo ky’okoze.” Ebigambo ebyo byatuukirira kubanga Bayibuli eraga nti Abasuuli baalumba Yuda ne batta abantu bangi, era ne banyaga ebintu bingi. Ate oluvannyuma abaweereza ba Yekowaasi babiri baamutta “olw’okuyiwa omusaayi gw’abaana ba Yekoyaada kabona.” Septuagint ey’Oluyonaani ne Vulgate ey’Olulatini ziraga nti Yekowaasi yattibwa okusobola okusasulira omusaayi gwa “mutabani” wa Yekoyaada gwe yayiwa. Kyokka ekiwandiiko ky’Abamasoreti n’ekyo ekiyitibwa Peshitta, biraga nti yattibwa okusobola okusasulira omusaayi “gw’abaana” ba Yekoyaada gwe yayiwa, oboolyawo okulaga nti nnabbi Zekkaliya era kabona, mutabani wa Yekoyaada, yali wa muwendo nnyo.—2By 24:17-22, 25.
MAAYI 22-28
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 25-27
“Yakuwa Asobola Okukuwa Ekisingawo Ennyo ku Ekyo”
it-1-E lup. 1266 ¶6
Yekowaasi
Kabaka wa Yuda yapangisa abalwanyi emitwalo kkumi okuva eri Yekowaasi kabaka wa Isirayiri, bamuyambeko okulwanyisa Abeedomu. Kyokka “omusajja wa Katonda ow’amazima” bwe yawabula kabaka wa Yuda, abalwanyi abo baagambibwa okuddayo ewaabwe. Era wadde nga baali bamaze okusasulwa ttalanta za ffeeza kikumi (ddoola 660,600), baanyiiga nnyo oboolyawo olw’okuba baali bagenda kusubwa okugabana ku munyago. Bwe baamala okuddayo mu bukiikakkono baalumba ebibuga eby’omu bwakabaka obw’omu bukiikaddyo, okuva e Samaliya (oboolyawo ng’eno gye baasinziiranga) okutuuka e Besu-kolooni, ne batta abantu era ne banyaga ebintu.—2By 25:6-10, 13.
Tuyinza Tutya ‘Okulega’ ku Bulungi bwa Yakuwa?
16 Baako bye weefiiriza osobole okuweereza Yakuwa mu ngeri esingako. Tekitwetaagisa kwefiiriza byonna bye tulina okusobola okusanyusa Yakuwa. (Mub. 5:19, 20) Kyokka bwe tutakola kisingawo mu buweereza bwaffe eri Yakuwa olw’okuba tetwagala kubaako bye twefiiriza, tuyinza okuba ng’omusajja ayogerwako mu lugero lwa Yesu eyeekuŋŋaanyiza eby’obugagga, naye n’atafaayo kumanya bikwata ku Katonda. (Soma Lukka 12:16-21.) Ow’oluganda Christian, abeera mu Bufalansa agamba nti, “Nnali siwaayo budde bumala kuweereza Yakuwa na kubeerako na ba mu maka gange.” Ye ne mukyala we baasalawo okuweereza nga bapayoniya. Naye okusobola okutuuka ku kiruubirirwa ekyo, baalina okuleka emirimu gye baali bakola. Okusobola okweyimirizaawo, baatandikawo omulimu gw’okuyonja era ne bayiga okuba abamativu n’ekitono kye baali bafuna mu mulimu ogwo. Balina engeri yonna gye baaganyulwamu? Christian agamba nti, “Kati tunyumirwa obuweereza bwaffe, era kitusanyusa nnyo okulaba ng’abayizi baffe aba Bayibuli n’abo be tuddiŋŋana bayiga ebikwata ku Yakuwa.”
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
w07-E 12/15 lup. 10 ¶1-2
Olina Omuntu Akuyamba mu by’Omwoyo?
UZZIYA yafuuka kabaka w’obwakabaka bwa Yuda obw’omu bukiikaddyo ng’alina emyaka 16 gyokka. Yafuga okumala emyaka egisukka mu 50, okuva awo ng’ekyasa ekyomwenda E.E.T kinaatera okugwaako, okutuuka awo ng’ekyasa ekyomunaana E.E.T kyakatandika. Okuviira ddala mu myaka gye egy’obuvubuka, Uzziya “yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa.” Kiki ekyamuyamba okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu? Bayibuli egamba nti: “[Uzziya] yeeyongera okukola ebirungi mu maaso ga Yakuwa, nga Amaziya kitaawe bwe yakola. Uzziya yanoonya Katonda mu kiseera kya Zekkaliya eyamuyigiriza okutya Katonda ow’amazima, era Yakuwa Katonda ow’amazima yamuwa emikisa ekiseera kyonna kye yamala ng’amunoonya.”—2 Ebyomumirembe 26:1, 4, 5.
Tewali kirala kye tumanyi ku Zekkaliya eyali omuwabuzi wa kabaka ng’oggyeeko ebyo bye tusoma mu lunyiriri olwo. Wadde kiri kityo, ng’omuwabuzi eyayigirizanga kabaka “okutya Katonda ow’amazima,” Zekkaliya yayamba nnyo kabaka oyo eyali omuto okukola ekituufu. Ekitabo ekinnyonnyola ebyo ebiri mu Bayibuli ekiyitibwa The Expositor’s Bible kigamba nti Zekkaliya “yali amanyi bulungi ebyawandiikibwa, nga munywevu mu by’omwoyo, era ng’ebyo by’amanyi asobola bulungi okubiyigiriza abalala.” Omwekenneenya wa Bayibuli omu yagamba nti: “Yali amanyi nnyo obunnabbi . . . yali mugezi, yali munyiikivu, yali muntu mulungi; era kirabika alina kinene kye yakola ku Uzziya.”
MAAYI 29–JJUUNI 4
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 28-29
“Osobola Okuweereza Yakuwa Wadde nga Bazadde Bo Tebaakuteerawo Kyakulabirako Kirungi”
Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere
8 Obutafaananako Luusi, Keezeekiya ye yazaalibwa mu ggwanga eryali lyewaayo eri Yakuwa. Naye tekiri nti buli Muyisirayiri yali mwesigwa eri Katonda. Taata wa Keezeekiya, Kabaka Akazi, y’omu ku bantu abataali beesigwa. Omusajja oyo omubi yaleetera abantu mu bwakabaka bwa Yuda okusinza ebifaananyi, n’atuuka n’okujolonga yeekaalu ya Yakuwa eyali mu Yerusaalemi. Keezeekiya yakulira mu mbeera enzibu ennyo kubanga n’abamu ku baganda be battibwa mu ngeri ey’obukambwe, nga bookebwa balamu okubawaayo nga ssaddaaka eri bakatonda ab’obulimba!—2 Bassek. 16:2-4, 10-17; 2 Byom. 28:1-3.
Koppa Mikwano gya Katonda egy’Oku Lusegere
9 Keezeekiya yali asobola okusalawo okunyiigira Katonda n’atamuweereza. Abantu abamu abayise mu mbeera etetuuka na ya Keezeekiya buzibu basazeewo ‘okusunguwalira Yakuwa’ oba okunyiigira ekibiina kye. (Nge. 19:3) Ate abamu balowooza nti olw’okuba embeera mu maka ge baakuliramu teyali nnungi, ekyo kibawa eddembe okweyisa nga bwe baagala oba okukola ensobi ze zimu bazadde baabwe ze baakola. (Ez. 18:2, 3) Naye endowooza ng’ezo ntuufu?
10 Ebyo bye tusoma ku Keezeekiya biraga nti endowooza ng’ezo nkyamu ddala! Tewali nsonga yonna muntu gy’ayinza kwekwasa kunyiigira Yakuwa, kubanga Yakuwa si ye nsibuko y’ebintu ebibi ebituuka ku bantu mu nsi. (Yob. 34:10) Kyo kituufu nti abazadde basobola okuteerawo abaana baabwe ekyokulabirako ekirungi oba ekibi. (Nge. 22:6; Bak. 3:21) Naye ekyo tekitegeeza nti embeera y’omu maka omuntu g’akuliramu y’esalawo engeri gy’anaatambuzaamu obulamu bwe. Buli omu ku ffe Yakuwa yamuwa eddembe okusalawo engeri gy’anaatambuzaamu obulamu bwe. (Ma. 30:19) Keezeekiya yakozesa atya eddembe eryo?
11 Wadde nga Keezeekiya yali mwana w’omu ku bakabaka ba Yuda abaasingayo obubi, y’omu ku bakabaka ba Yuda abaasingayo obulungi. (Soma 2 Bassekabaka 18:5, 6.) Wadde nga kitaawe yamuteerawo ekyokulabirako ekibi ennyo, waliwo abantu abalala be yali asobola okukoppa abateekawo ekyokulabirako ekirungi. Waaliwo Isaaya, Mikka, ne Koseya, abaali baweereza nga bannabbi. Kabaka Keezeekiya ateekwa okuba nga yassangayo nnyo omwoyo ku bigambo by’abasajja abo abeesigwa era n’akolera ku kubuulirira ne ku kuwabula kwe baamuwa. Kino kyamuleetera okufuba okutereeza ebintu ebikyamu kitaawe bye yali akoze. Yalongoosa Yeekaalu, yeegayirira Katonda asonyiwe abantu ebibi byabwe, era n’asaanyaawo ebifaananyi abantu bye baali basinza. (2 Byom. 29:1-11, 18-24; 31:1) Bwe yayolekagana n’okusoomooza okw’amaanyi, gamba nga mu kiseera Sennakeribu kabaka wa Bwasuli bwe yali ateekateeka okulumba Yerusaalemi, Keezeekiya yayoleka obuvumu n’okukkiriza okw’amaanyi. Yeesiga Katonda okumulokola era n’azzaamu abantu be amaanyi. (2 Byom. 32:7, 8) Oluvannyuma Keezeekiya bwe yayoleka amalala, yawuliriza okuwabula okwamuweebwa ne yeetoowaza era ne yeenenya. (2 Byom. 32:24-26) Tukiraba nti Keezeekiya teyakkiriza mbeera enzibu ze yayitamu mu buto okumulemesa okutambuza obulamu bwe mu ngeri esaana. Yali mukwano gwa Yakuwa era yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Nasani Yawagira Okusinza okw’Amazima
Olw’okuba yali muweereza wa Yakuwa omwesigwa, Nasani teyalonzalonza kukkiriza Dawudi kuzimba yeekaalu, eyandifuuse entabiro y’okusinza okw’amazima ku nsi. Kyokka ku mulundi ogwo, ebyo Nasani bye yagamba Dawudi byali bibye so si bya Yakuwa. Naye ku olwo ekiro, Yakuwa yagamba Nasani agambe Dawudi nti si ye yali agenda okumuzimbira yeekaalu. Omu ku batabani ba Dawudi ye yali agenda okugizimba. Wadde kyali kityo, Nasani yagamba Dawudi nti Katonda yali akoze endagaano ne Dawudi, ‘okunyweza entebe y’obwakabaka bwe emirembe n’emirembe.’—2 Sam. 7:4-16.
Ebyo Nasani bye yayogera ebikwata ku kuzimba yeekaalu byali tebikwatagana n’ekyo Yakuwa kye yali ayagala. Kyokka Nasani yayoleka obwetoowaze n’akolera ku ekyo Yakuwa kye yali ayagala. Nga yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi bwe kituuka ku ngeri gye tulina okweyisaamu nga Yakuwa atugolodde! Ebyo Nasani bye yakola oluvannyuma byalaga nti yali akyasiimibwa mu maaso ga Katonda. Era kirabika Yakuwa yaluŋŋamya Nasani awamu ne Gaadi omulabi okuyamba Dawudi okutegeka abasajja 4,000 okuyimba mu yeekaalu.—1 Byom. 23:1-5; 2 Byom. 29:25.
JJUUNI 5-11
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 30-31
“Bwe Tukuŋŋaana Awamu Tuganyulwa”
it-1-E lup. 1103 ¶2
Keezeekiya
Yali Ayagala Nnyo Okusinza okw’Amazima. Keezeekiya yakiraga nti yali ayagala nnyo okusinza okw’amazima amangu ddala nga yaakandika okufuga nga kabaka ng’alina emyaka 25. Ekintu kye yasooka okukola kwe kuddamu okuggulawo yeekaalu n’okugiddaabiriza. Oluvannyuma yayita bakabona n’Abaleevi n’abagamba nti: “Kaakano omutima gwange gwagala okukola endagaano ne Yakuwa Katonda wa Isirayiri.” Endagaano y’Amateeka yali ekyaliwo wadde nga yali eragajjaliddwa, era bwe kityo baakola endagaano ey’okuba abeesigwa eri Yakuwa, mu ngeri eyo ne baba ng’abaali bazzeemu okutongoza endagaano y’amateeka mu Yuda. Keezeekiya yateekateeka obuweereza bw’Abaleevi, era n’azzaawo enteekateeka y’okuyimba n’okukuba ebivuga ku yeekaalu. Omwezi gwali gwa Nisaani, Abayisirayiri gwe baakwatirangamu embaga ey’okuyitako, kyokka yeekaalu teyali nnongoofu era bakabona n’Abaleevi nabo tebaali balongoofu. Olunaku olw’ekkumi n’omukaaga olwa Nisaani we lwatuukira, yeekaalu yali emaze okulongoosebwa era nga n’ebintu byamu bizziddwamu. Oluvannyuma waalina okubaawo okutangirira ebibi bya Isirayiri yonna. Okusookera ddala, abaami baawaayo ssaddaaka, ebiweebwayo olw’ekibi ku lw’obwakabaka, ku lw’ekifo ekitukuvu, ne ku lw’abantu. Oluvannyuma abantu abalala baawaayo ebiweebwayo ebyokebwa nkumi na nkumi.—2By 29:1-36.
it-1-E lup. 1103 ¶3
Keezeekiya
Okuva bwe kiri nti abantu baali tebasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako mu kiseera we yakwatirwanga olw’okuba tebaali balongoofu, Keezeekiya yakolera ku ekyo ekyali kyogerwako mu Mateeka nti omuntu ataabanga mulongoofu yali asobola okukwata Embaga eyo mu mwezi oguddako. Ng’oggyeeko okuyita abantu ba Yuda, yayita n’abantu ba Isirayiri okuva e Beeru-seba okutuuka e Ddaani, ng’abawandiikira mabaluwa. Abo abaatwala amabaluwa ago abantu bangi baabasekerera era baabajerega. Naye abantu abamu okuva mu Aseri, mu Manase, ne mu Zebbulooni, bajja ku mbaga. Era n’abamu okuva mu Efulayimu ne Isakaali nabo bajja. Ng’oggyeeko abo, abantu bangi abataali Bayisirayiri kyokka nga basinza Yakuwa, nabo bajja. Kirabika tekyali kyangu eri abantu b’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi abaali banyweredde ku kusinza okw’amazima okujja okubaawo ku mbaga eyo. Okufaananako ababaka abaatwala amabaluwa, abantu abo baali bagenda kwolekagana n’okuziyizibwa era n’okujeregebwa, kubanga obwakabaka obw’ebika ekkumi bwali bwonoonoose nnyo mu mpisa, nga bwemalidde ku kusinza okw’obulimba, era nga bulumbiddwa Abaasuli.—2By 30:1-20; Kbl 9:10-13.
it-1-E lup. 1103 ¶4-5
Keezeekiya
Oluvannyuma lw’okukwata Embaga ey’Okuyitako, Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse yakwatibwa okumala ennaku endala musanvu, naye olw’okuba baafuna essanyu lingi mu kukwata Embaga eyo, baasalawo okugikwata ennaku endala musanvu. Ne mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Yakuwa yawa abantu be emikisa ne kiba nti “waaliwo essanyu lingi mu Yerusaalemi, kubanga okuva mu nnaku za Sulemaani mutabani wa Dawudi kabaka wa Isirayiri, ekintu ng’ekyo kyali tekibangawo mu Yerusaalemi.”—2By 30:21-27.
Ekyo kye bazzaako okukola kyalaga nti mu kukwata embaga ezo baali tebakwatiddwa bukwatibwa kinyegenyege, wabula baali baagala okuzzaawo okusinza okulongoofu. Bwe baali tebannaddayo waabwe, baasooka kugenda kumenyamenya empagi ezaali zisinzibwa, ebifo ebigulumivu, ebyoto, era ne batemaatema n’ebikondo ebyali bisinzibwa mu Yuda mwonna, mu Benyamini, mu Efulayimu ne mu Manase. (2By 31:1) Keezeekiya yateerawo abantu ekyokulabirako bwe yabetenta omusota ogw’ekikomo Musa gwe yali yakola, kubanga abantu baali batandise okugusinza nga bagunyookerereza omukka gwa ssaddaaka. (2Sk 18:4) Oluvannyuma lw’okukwata embaga ezo, Keezeekiya yakakasa nti okusinza okw’amazima kugenda mu maaso ng’ateekateeka ebibinja bya bakabona era ng’akola n’enteekateeka ez’okuwagira obuweereza bw’oku yeekaalu. Yakubiriza abantu okugondera etteeka erikwata ku kuwaayo ekimu eky’ekkumi, n’okuwaayo ebiweebwayo ebibereberye eri Abaleevi ne bakabona, era abantu baakolera ku ekyo kye yabagamba n’omutima gwabwe gwonna.—2By 31:2-12.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
“Bwe Mumanya Ebintu Bino, Muba Basanyufu Bwe Mubikola”
14 Engeri endala gye tulagamu nti tuli beetoowaze kwe kuwuliriza abalala. Yakobo 1:19 wagamba nti tulina okuba ‘abangu okuwuliriza.’ Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu nsonga eno. (Lub. 18:32; Yos. 10:14) Lowooza ku ekyo kye tuyigira ku ebyo ebiri mu Okuva 32:11-14. (Soma.) Wadde nga Yakuwa yali teyeetaaga Musa kumuwa magezi, yaleka Musa n’ayogera ebyo ebyamuli ku mutima. Kikwanguyira okuwuliriza omuntu gw’omanyi nti oluusi n’oluusi ayoleka endowooza etali nnuŋŋamu era n’okolera ku magezi g’aba akuwadde? Yakuwa awuliriza n’obugumiikiriza abantu abamusaba mu bwesimbu.
15 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Bwe kiba nti Yakuwa ayoleka obwetoowaze n’awuliriza abantu nga bwe yawuliriza Ibulayimu, Laakeeri, Musa, Yoswa, Manowa, Eriya, ne Keezeekiya, nange sandifubye okussa ekitiibwa mu bakkiriza bannange nga mbawuliriza era nga nkolera ku magezi amalungi ge baba bampadde? Waliwo omuntu mu kibiina oba ow’eŋŋanda zange gwe nneetaaga okuwa obudde? Kiki kye ŋŋenda okukolawo?’—Lub. 30:6; Balam. 13:9; 1 Bassek. 17:22; 2 Byom. 30:20.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Tendereza Yakuwa mu Kibiina ng’Obaako by’Oddamu mu Nkuŋŋaana
13 Biki bye tuyinza okukola ebisobola okutuyamba okuddamu mu ngeri ezimba? Ka tulabeyo ebimu ku byo.
14 Weetegekere bulungi buli lukuŋŋaana. Bwe weeteekateeka nga bukyali era n’otegeka bulungi, kijja kukwanguyira okubaako ky’oddamu. (Nge. 21:5) Kya lwatu nti ffenna tulina enteekateeka za njawulo ez’okwetegekera enkuŋŋaana. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe Eloise ow’emyaka 80, atandika okutegeka Omunaala gw’Omukuumi nga wiiki yaakatandika. Agamba nti, “Nnyumirwa nnyo enkuŋŋaana bwe ntegeka nga bukyali.” Mwannyinaffe Joy, akola omulimu ogw’ekiseera kyonna, afissaawo ekiseera ku Lwomukaaga n’ategeka Omunaala. Agamba nti: “Njagala ntuuke mu lukuŋŋaana ng’ebintu nkyabijjukira bulungi.” Ow’oluganda Ike, aweereza ng’omukadde era nga payoniya agamba nti: “Nkirabye nti kinnyamba nnyo bwe nfunayo obudde obutonotono buli lunaku okubaako kye ntegekako okusinga okutegeka omulundi ogumu okumala ekiseera ekiwanvu.”
15 Biki ebizingirwa mu kwetegekera obulungi olukuŋŋaana? Buli lw’oba ogenda okutandika okutegeka, sooka osabe Yakuwa akuwe omwoyo omutukuvu. (Luk. 11:13; 1 Yok. 5:14) Waayo eddakiika ntonotono oyiteeyite mu kitundu ky’ogenda okutegeka. Weetegereze omutwe gw’ekitundu, emitwe emitono, ebifaananyi, n’obusanduuko. Ng’osoma buli katundu, fuba okusoma ebyawandiikibwa bingi nga bw’osobola ebiri mu katundu ako. Fumiitiriza ku ebyo ebyogerwako mu katundu, era osseeyo nnyo omwoyo ku nsonga z’oyagala okwogerako ng’oddamu. Gy’okoma okutegeka obulungi, gy’okoma okuganyulwa era gye kikoma okukubeerera ekyangu okubaako ky’oddamu.—2 Kol. 9:6.
16 Bwe kiba kisoboka, kozesa ebintu ebikozesebwa ku kompyuta ebiri mu lulimi lw’otegeera. Yakuwa, ng’ayitira mu kibiina kye atuwadde ebintu ebitali bimu ebikozesebwa ku kompyuta ebisobola okutuyamba okwetegekera enkuŋŋaana. JW Library® app etusobozesa okuwanula ebitabo ne tubissa ku masimu gaffe oba ku kompyuta zaffe. Olwo nno tuba tusobola okusoma oba okuwuliriza ebintu ebyo ekiseera kyonna mu kifo kyonna. Abamu bakozesa JW Library okwesomesa mu kiseera ky’eky’emisana nga bali ku mulimu oba ku ssomero, oba nga bali ku lugendo. Watchtower Library ne Watchtower ONLINE LIBRARY™ bikifuula kyangu nnyo okunoonyereza ku nsonga ezitali zimu ze tuba twagala okwongera okumanya obulungi.
17 Bwe kiba kisoboka, tegeka eby’okuddamu ebisukka mu kimu. Lwaki? Kubanga si buli lw’owanika omukono nti bajja kukulonda. Abalala bayinza okuwanika omukono mu kiseera kye kimu naawe, era oyo akubiriza ayinza okulonda omu ku bo. Okusobola okumalira olukuŋŋaana mu budde, oyo akubiriza ayinza obutalonda buli awanika okubaako ky’ayogera ku nsonga emu. N’olwekyo tonyiiga oba toggwaamu maanyi bwe batakulonda nga bukyali. Bw’otegeka eby’okuddamu ebiwerako, kyangu okufuna akakisa akalala okubaako ky’oddamu. Ekimu ku ebyo by’oyinza okutegeka okuddamu kwe kusoma ekyawandiikibwa. Naye bw’oba osobola, tegeka n’okubaako ky’oddamu ng’okozesa ebigambo byo.
18 Ddamu mu bufunze. Emirundi egisinga, eby’okuddamu ebisinga okuzzaamu abalala amaanyi biba mu bufunze ate nga byangu okutegeera. N’olwekyo fuba okuddamu mu bumpimpi. Fuba obutasussa butikitiki 30 ng’oddamu. (Nge. 10:19; 15:23) Bwe kiba nti omaze emyaka mingi ng’obaako by’oddamu mu nkuŋŋaana, kikulu nnyo okuddamu mu bumpimpi, kubanga oba oteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Bw’owa eby’okuddamu ebiwanvu ennyo era ebitwala eddakiika ennyingi, oyinza okutiisa abalala okuddamu nga balowooza nti tebasobola kuddamu nga ggwe. Ate era bw’oddamu mu bumpimpi, kisobozesa abantu bangi okubaako kye baddamu. Bw’oba nga ggwe osoose okulondebwa okubaako ky’oddamu, kikulu nnyo okuddamu mu ngeri ennyangu, era otuukire ku nsonga. Weewale okwogera ku buli nsonga eri mu katundu. Ensonga enkulu eri mu katundu bw’eba ng’emaze okwogerwako, oyinza okwogera ku nsonga endala eziri mu katundu.—Laba akasanduuko “Biki Bye Nnyinza Okwogerako nga Nziramu?”
JJUUNI 12-18
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 32-33
“Zzaamu Bakkiriza Banno Amaanyi mu Biseera Ebizibu”
it-1-E lup. 204 ¶5
Bwasuli
Sennakeribu. Sennakeribu, mutabani wa Salugoni II, yalumba obwakabaka bwa Yuda mu mwaka ogw’ekkumi n’ena ogw’obufuzi bwa Keezeekiya (732 E.E.T.). (2Sk 18:13; Is 36:1) Keezeekiya yajeemera obwakabaka bwa Bwasuli obwali bunyigiriza obwakabaka bwa Yuda, olw’ebibi kitaawe Akazi bye yali akoze. (2Sk 18:7) Ekyo kyaviirako Sennakeribu okulumba Yuda, era kigambibwa nti yawamba ebibuga 46 (geraageranya Is 36:1, 2). Ate oluvannyuma ng’asinziira e Lakisi gye yali asiisidde, yalagira Keezeekiya amuwe omusolo gwa ttalanta za zzaabu 30 (ddoola nga 11,560,000) ne ttalanta 300 eza ffeeza (ddoola nga 1,982,000). (2Sk 18:14-16; 2By 32:1; geraageranya Is 8:5-8.) Wadde ng’omusolo ogwo gwasasulibwa, Sennakeribu yasindika omwogezi we agambe Keezeekiya n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi okwewaayo mu mikono gye. (2Sk 18:17–19:34; 2By 32:2-20) Oluvannyuma Yakuwa yazikiriza abasirikale ba Bwasuli 185,000 mu kiro kimu, era bwe kityo kabaka wa Bwasuli oyo ow’amalala yaddayo e Nineeve. (2Sk 19:35, 36) Ng’ali eyo, babiri ku batabani be baakola olukwe ne bamutta, era mutabani we omulala eyali ayitibwa Esalu-kaddoni yatandika okufuga mu kifo kye. (2Sk 19:37; 2By 32:21, 22; Is 37:36-38) Ng’oggyeeko ebikwata ku kuzikirizibwa kw’amaggye ga Bwasuli, ebintu ebyo byogerwako ne ku ebyo ebiri ku mayinja agaawandikibwako ebintu ebikwata ku Sennakeribu ne ku Esalu-kaddoni.—EBIFAANANYI, Omuzingo 1, lup. 957.
Abasumba Omusanvu, n’Abantu Omunaana ab’Ekitiibwa—Be Baani Leero?
12 Yakuwa mwetegefu okutuyamba okuvvuunuka ebizibu bye tutasobola kuvvuunuka mu maanyi gaffe, naye atwetaagisa okubaako kye tukolawo. Keezeekiya yateesa n’abaami be ‘n’abalwanyi be,’ ne basalawo “okuziba enzizi ezaali ebweru w’ekibuga.” Bayibuli egamba nti: “[Keezeekiya] nga mumalirivu, yaddamu n’azimba bbugwe yenna eyali amenyese era n’amuzimbako n’eminaala. N’ebweru wa bbugwe yazimbayo bbugwe omulala, . . . era n’akola eby’okulwanyisa bingi n’engabo.” (2 Byom. 32:3-5) Okusobola okulunda abantu be n’okubakuuma mu kiseera ekyo, Yakuwa yakozesa abasajja ab’amaanyi, omwali Keezeekiya, abaami, ne bannabbi abeesigwa.
Abasumba Omusanvu, n’Abantu Omunaana ab’Ekitiibwa—Be Baani Leero?
13 Ng’oggyeeko okuziba amazzi g’enzizi n’okuzimba bbugwe w’ekibuga, Keezeekiya alina n’ekintu ekirala kye yakola ekyali ekikulu ennyo. Olw’okuba Keezeekiya yali musumba mulungi, yakuŋŋaanya abantu n’abazzaamu amaanyi ng’agamba nti: “Temutya era temutekemuka olwa kabaka wa Bwasuli . . . , kubanga abali naffe bangi okusinga abali naye. Ye yeesiga maanyi ga bantu naye ffe twesiga Yakuwa Katonda waffe okutuyamba era n’okulwana entalo zaffe.” Keezeekiya yajjukiza abantu nti Yakuwa yali ajja kubalwanirira. Ekyo kyabayamba okwesiga Katonda n’okuba abavumu. Keezeekiya, abaami, n’abasajja be ab’amaanyi, awamu ne nnabbi Mikka ne nnabbi Isaaya, baakiraga nti baali basumba balungi, era ekyo Yakuwa yali yakyogerako okuyitira mu nnabbi we.—2 Byom. 32:7, 8; soma Mikka 5:5, 6.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okwenenya mu Bwesimbu Kuzingiramu Ki?
11 Oluvannyuma Yakuwa yaddamu essaala za Manase. Okusinziira ku ssaala Manase ze yasaba, Yakuwa yakiraba nti yali akyuse. Yaddamu essaala za Manase n’amukomyawo mu bwakabaka bwe. Manase yakozesa akakisa ako okulaga nti ddala yali yeenenyezza mu bwesimbu. Yakola ekyo Akabu ky’ataakola. Yakyusa enneeyisa ye. Yalwanyisa okusinza okw’obulimba era n’afuba okuzzaawo okusinza okw’amazima. (Soma 2 Ebyomumirembe 33:15, 16.) Ekyo kyali kyetaagisa obuvumu n’okukkiriza, kubanga okumala emyaka mingi Manase yali ateereddewo ab’omu maka ge, abakungu be, n’abantu bonna ekyokulabirako ekibi. Naye mu myaka egyasembayo egy’obufuzi bwe, Manase yagezaako okutereeza ebimu ku bintu ebibi bye yali akoze. Kirabika ekyokulabirako ekirungi kye yassaawo kye kyakwata ku muzzukulu we Yosiya, eyali kabaka omulungi ennyo.—2 Bassek. 22:1, 2.
12 Kiki kye tuyigira ku Manase? Ng’oggyeko okwetoowaza, alina n’ebirala bye yakola. Yasaba Yakuwa amusaasire era n’akyusa enneeyisa ye. Yafuba nnyo okutereeza ebyali bisobye, era n’anoonya Yakuwa. Ate era yayamba n’abantu abalala okukola kye kimu. Ekyokulabirako kya Manase kizzaamu amaanyi abo ababa bakoze ebibi eby’amaanyi. Kikakasa nti Yakuwa ‘mulungi era nti mwetegefu okusonyiwa.’ (Zab. 86:5) Mazima ddala abo abeenenya mu bwesimbu Yakuwa abasonyiwa.
JJUUNI 19-25
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | 2 EBYOMUMIREMBE 34-36
“Oganyulwa mu Bujjuvu mu Kigambo kya Katonda?”
it-1-E lup. 1157 ¶4
Kuluda
Yosiya bwe yawulira ebyo ebyasomebwa mu “kitabo ky’Amateeka,” Kirukiya kabona asinga obukulu kye yazuula nga baddaabiriza yeekaalu, yatuma ababaka okwebuuza ku Yakuwa. Baagenda eri Kuluda eyabategeeza obubaka okuva eri Yakuwa obwali bulaga nti ebibonerezo byonna ebyali byogeddwako mu “kitabo” byali bigenda kutuuka ku ggwanga eryo eryali lyewagudde. Ate era Kuluda yagattako nti olw’okuba Yosiya yali yeetoowazza mu maaso ga Yakuwa, yali tagenda kulaba kabi akaali kagenda okutuuka ku nsi ya Yuda, wabula nti yali agenda kugalamizibwa wamu ne bajjajjaabe mu mirembe.—2Sk 22:8-20; 2By 34:14-28.
Yagala Nnyo Ennyumba ya Yakuwa!
20 Mu kiseera Kabaka Yosiya we yakolera kaweefube ow’okuzzaawo okusinza okw’amazima, Kabona Omukulu Kirukiya ‘yazuula ekitabo ky’amateeka ga Yakuwa agaaweebwa okuyitira mu Musa.’ Ekitabo ekyo yakikwasa Safani omuwandiisi wa kabaka, naye n’akisomera Kabaka Yosiya. (Soma 2 Ebyomumirembe 34:14-18.) Kiki ekyavaamu? Bayiuli eraga nti amangu ago kabaka yayuza ekyambalo kye olw’ennaku ennyingi, era yalagira basajja be bagende beebuuze ku Yakuwa. Ng’ayitira mu nnabbi omukazi eyali ayitibwa Kuluda, Katonda yalaga nti yali munyiivu olw’ebintu ebimu ebyali bikolebwa mu kusinza mu Yuda. Kyokka Yakuwa yasiima Yosiya olwa kaweefube gwe yakola okumalawo okusinza okw’obulimba, wadde ng’eggwanga lyonna okutwalira awamu yali agenda kulibonereza. (2 Byom. 34:19-28) Kino tukiyigamu ki? Awatali kubuusabuusa, tulina okuba n’endowooza ng’eya Yosiya. Kiba kirungi okukolera amangu ku bulagirizi bwa Yakuwa, tusobole okwewala ebizibu ebiva mu kuleka obwakyewaggula n’obutali bwesigwa okuyingirira okusinza kwaffe. Tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kusanyuka bw’analaba nga twemalidde ku kusinza okw’amazima, nga Yosiya bwe yakola.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Onossaayo Omwoyo ku Bintu Ebyawandiikibwa?
15 Kati ate kiki kye tuyigira ku ebyo bye tusoma ku Kabaka Yosiya eyali omulungi? Lowooza ku ekyo ekyamuviirako okufa. (Soma 2 Ebyomumirembe 35:20-22.) Yosiya yalumba Kabaka Neeko owa Misiri wadde nga kabaka oyo yali agambye Yosiya nti yali tazze kulwanyisa ye. Bayibuli egamba nti ebigambo bya Neeko byali bivudde “mu kamwa ka Katonda.” Kati olwo lwaki Yosiya yamulumba? Ekyo Bayibuli tekitubuulira.
16 Yosiya yanditegedde atya obanga ebigambo bya Neeko byali bivudde eri Yakuwa? Yali asobola okubuuza nnabbi Yeremiya amubuulire. (2 Byom. 35:23, 25) Naye Bayibuli teraga nti ekyo yakikola. Neeko yali tazze kulwanyisa Yerusaalemi, wabula yali agenda Kalukemisi ‘kulwanyisa ggwanga ddala.’ Ate era erinnya lya Katonda lyali terizingirwamu kubanga Neeko yali tasoomooza Yakuwa wadde abantu be. N’olwekyo, tekyali kya magezi Yosiya okulumba Neeko. Ekyo kituyigiriza ki? Bwe twolekagana n’ekizibu, tusaanidde okufuba okumanya ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole mu mbeera eyo.
17 Singa twolekagana n’embeera enzibu, tusaanidde okufumiitiriza ku misingi gya Bayibuli era ne tugikolerako nga tetugudde lubege. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okwebuuza ku bakadde mu kibiina. Tuyinza n’okuba nga tulowoozezza ku ebyo bye tumanyi ku mbeera gye twolekagana nayo era tuyinza n’okuba nga tuginoonyerezzaako mu bitabo byaffe. Naye wayinza okubaawo emisingi gya Bayibuli emirala abakadde gye basobola okutuyamba okufumiitirizaako. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mwannyinaffe akimanyi nti alina okubuulira amawulire amalungi. (Bik. 4:20) Kyokka lumu bw’aba ateekateeka okugenda okubuulira, omwami we atali mukkiriza amugamba nti asigale awaka. Amugamba nti baludde nga tebafuna kadde ka kubeerako wamu, era nti ku olwo yandyagadde asigaleko awaka babeereko wamu. Mwannyinaffe oyo ayinza okufumiitiriza ku byawandiikibwa ebitali bimu gamba ng’ebyo ebitukubiriza okugondera Katonda n’ebyo ebitukubiriza okubuulira. (Mat. 28:19, 20; Bik. 5:29) Naye era aba lina okulowooza ku byawandiikibwa ebigamba abakyala okugondera abaami baabwe, n’ebyo ebitukubiriza obutaba bakakanyavu. (Bef. 5:22-24; Baf. 4:5) Omwami we amugaanidde ddala okuddamu okubuulira, oba amugamba okusigala awaka ku olwo lwokka? Twetaaga obutagwa lubege nga tufuba okukola Katonda by’ayagala.
BUULIRA N’OBUNYIIKIVU
Kozesa Bayibuli ng’Obuulira
7 Tuyinza tutya okukozesa obulungi Ekigambo kya Katonda nga tubuulira? Ekisooka kwe kukozesa buli kakisa ke tufuna okukisomera abantu be tubuulira oba be tuyigiriza Bayibuli. Ekyo ow’oluganda omu yakyogerako bw’ati, “Singa obadde obuulira ne Yakuwa nnyumba ku nnyumba, ggwe wandibadde osinga okwogera oba wandirese Yakuwa n’ayogera?” Kiki ow’oluganda oyo kye yali ategeeza? Bwe tusomera abantu Ekigambo kya Katonda nga tubuulira, tuba tulese Yakuwa okwogera nabo. Bwe tukozesa ekyawandiikibwa ekituukirawo, kikwata ku muntu okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okwogera. (1 Bas. 2:13) Weebuuze, ‘Nkozesa buli kakisa ke nfuna okusomera abantu Bayibuli nga mbuulira?’
8 Naye okusomera obusomezi abantu ebyawandiikibwa nga tubuulira tekimala. Lwaki? Kubanga abantu abasinga obungi bamanyi kitono nnyo ku Bayibuli ate abamu tebalina kye bagimanyiiko. Bwe kityo bwe kyali ne mu kyasa ekyasooka. (Bar. 10:2) N’olwekyo tetusaanidde kulowooza nti omuntu ajja kutegeera ensonga gye twagala ategeere olw’okuba tumusomedde ekyawandiikibwa. Tusaanidde okukkaatiriza ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu mu kyawandiikibwa kye tuba tusomye, oboolyawo nga tuddamu okubisoma era ne tubinnyonnyola. Bwe tukola tutyo kisobola okuleetera Ekigambo kya Katonda okutuuka ku mitima gy’abo be tubuulira.—Soma Lukka 24:32.
9 Ate era tusaanidde okwanjula ebyawandiikibwa mu ngeri ereetera abantu okussa ekitiibwa mu Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okugamba nti, “Ka tulabe Omutonzi waffe ky’ayogera ku nsonga eno.” Bw’oba oyogera n’omuntu ow’enzikiriza etakozesa Bayibuli oyinza okugamba nti, “Ka tulabe Ebyawandiikibwa Ebitukuvu kye bigamba.” Oba bwe tuba tubuulira omuntu atettanira bya ddiini, tuyinza okugamba nti, “Wali owulidde ku lugero luno olw’edda?” Mu butuufu, tusaanidde okusengeka ebigambo byaffe mu ngeri esikiriza abantu aba buli ngeri.—1 Kol. 9:22, 23.
10 Ababuulizi bangi bakirabye nti okukozesa Ekigambo kya Katonda nga babuulira kikwata nnyo ku bantu. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu yaddayo eri omusajja omu eyali amaze emyaka ng’asoma magaziini zaffe. Mu kifo ky’okumuwa obuwi Omunaala gw’Omukuumi, ow’oluganda yasalawo okumusomera ekimu ku byawandiikibwa ebyali mu magazini eyo. Yasoma 2 Abakkolinso 1:3, 4, awagamba nti: “Kitaffe ow’okusaasira era Katonda ow’okubudaabuda kwonna . . . atubudaabuda mu kubonaabona kwaffe kwonna.” Omusajja oyo ebigambo ebyo byamukwatako nnyo n’asaba ow’oluganda addemu okubisoma. Omusajja oyo yagamba nti ye ne mukyala we baali beetaaga nnyo okubudaabudibwa era n’alaga nti ayagala okumanya ebisingawo ebikwata ku Bayibuli. Tewali kubuusabuusa nti Ekigambo kya Katonda kya maanyi bwe tukikozesa nga tubuulira.—Bik. 19:20.
JJUUNI 26–JJULAAYI 2
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 1-3
“Kkiriza Yakuwa Akukozese”
Olaba Ebyo Zekkaliya Bye Yalaba?
WAALIWO essanyu lingi mu Bayudaaya. Yakuwa Katonda yali atadde “ekirowoozo mu mutima gwa Kuulo kabaka wa Buperusi,” okuta Abayisirayiri abaali bamaze emyaka mingi nga bali mu buwambe e Babulooni. Kabaka yalangirira nti Abayudaaya baddeyo mu nsi yaabwe ‘bazzeewo ennyumba ya Yakuwa Katonda wa Isirayiri.’ (Ezer. 1:1, 3) Ekyo nga kyali kirungi nnyo! Abayudaaya baali bagenda kuddamu okusinziza Katonda ow’amazima mu nsi gye yabawa.
Amagaali n’Engule Bitukuuma
2 Zekkaliya yali akimanyi nti Abayudaaya abaali bazzeeyo e Yerusaalemi baalina okukkiriza okw’amaanyi. Beebo Katonda ow’amazima be yateekamu ekirowoozo ne baleka amayumba gaabwe ne bizineesi zaabwe mu Babulooni ne baddayo e Yerusaalemi. (Ezer. 1:2, 3, 5) Baava mu nsi gye baali bamanyidde ne bagenda mu nsi bangi ku bo gye baali batalabangako. Singa omulimu ogw’okuddamu okuzimba yeekaalu tegwali mukulu gye bali, tebanditindizze lugendo olwo olwa mayiro nga 1,000 era olutaali lwangu.
Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Ezera
1:3-6. Mu kiseera kino, waliwo Abajulirwa ba Yakuwa abatasobola kwenyigira mu buweereza bwa kiseera kyonna oba abatasobola kugenda kubuulira mu bitundu awali obwetaavu obusingako. Okufaananako Abayisirayiri abaasigala mu Babulooni, abaweereza ba Yakuwa abo bawagira bannaabwe abasobola okwenyigira mu buweereza obw’engeri eyo, era bafuba okubaako kye bawaayo okusobola okuwagira emirimu gy’Obwakabaka.