LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • 2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Yekolaamu, kabaka wa Yuda (1-11)

      • Eriya aweereza obubaka mu bbaluwa (12-15)

      • Yekolaamu afa bubi (16-20)

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:1

Marginal References

  • +1Sk 22:50

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:3

Marginal References

  • +2By 11:5, 23
  • +2Sk 8:16

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:4

Marginal References

  • +Bal 9:5, 6

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:5

Marginal References

  • +2Sk 8:17-19

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:6

Marginal References

  • +1Sk 14:7, 9; Kos 4:1
  • +2By 22:2; Nek 13:26

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:7

Marginal References

  • +2Sa 23:5; Zb 89:20, 28; Yer 33:20, 21
  • +2Sa 7:12, 16; 1Sk 11:36; Zb 132:11

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:8

Marginal References

  • +Lub 27:40
  • +1Sk 22:47; 2Sk 8:20-22

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:10

Marginal References

  • +Yos 21:13; 2Sk 19:8
  • +2By 15:2; Yer 2:13

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:11

Marginal References

  • +Ma 12:2

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:12

Marginal References

  • +2Sk 2:1, 11
  • +2By 17:3
  • +1Sk 15:11; 2By 14:2, 5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:13

Marginal References

  • +1Sk 16:25, 33
  • +Kuv 34:15; Yer 3:8
  • +2Sk 9:22
  • +2By 21:4

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:16

Footnotes

  • *

    Obut., “n’asiikuula omwoyo gw’Abafirisuuti.”

Marginal References

  • +Yos 13:1, 2; 2Sa 8:1
  • +2By 17:11
  • +1Sk 11:14; 2By 33:11; Is 10:5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:17

Footnotes

  • *

    Oba, “lubiri.”

  • *

    Era ayitibwa Akaziya.

Marginal References

  • +1Sk 14:25, 26
  • +2By 22:1

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:18

Marginal References

  • +Bik 12:21-23

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:19

Marginal References

  • +2By 16:13, 14; Yer 34:4, 5

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:20

Marginal References

  • +1Sk 2:10
  • +2By 24:24, 25; 28:27

General

2 Byom. 21:11Sk 22:50
2 Byom. 21:32By 11:5, 23
2 Byom. 21:32Sk 8:16
2 Byom. 21:4Bal 9:5, 6
2 Byom. 21:52Sk 8:17-19
2 Byom. 21:61Sk 14:7, 9; Kos 4:1
2 Byom. 21:62By 22:2; Nek 13:26
2 Byom. 21:72Sa 23:5; Zb 89:20, 28; Yer 33:20, 21
2 Byom. 21:72Sa 7:12, 16; 1Sk 11:36; Zb 132:11
2 Byom. 21:8Lub 27:40
2 Byom. 21:81Sk 22:47; 2Sk 8:20-22
2 Byom. 21:10Yos 21:13; 2Sk 19:8
2 Byom. 21:102By 15:2; Yer 2:13
2 Byom. 21:11Ma 12:2
2 Byom. 21:122Sk 2:1, 11
2 Byom. 21:122By 17:3
2 Byom. 21:121Sk 15:11; 2By 14:2, 5
2 Byom. 21:131Sk 16:25, 33
2 Byom. 21:13Kuv 34:15; Yer 3:8
2 Byom. 21:132Sk 9:22
2 Byom. 21:132By 21:4
2 Byom. 21:16Yos 13:1, 2; 2Sa 8:1
2 Byom. 21:162By 17:11
2 Byom. 21:161Sk 11:14; 2By 33:11; Is 10:5
2 Byom. 21:171Sk 14:25, 26
2 Byom. 21:172By 22:1
2 Byom. 21:18Bik 12:21-23
2 Byom. 21:192By 16:13, 14; Yer 34:4, 5
2 Byom. 21:201Sk 2:10
2 Byom. 21:202By 24:24, 25; 28:27
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri 21:1-20

2 Ebyomumirembe Eky’Okubiri

21 Awo Yekosafaati n’agalamizibwa wamu ne bajjajjaabe era n’aziikibwa ne bajjajjaabe mu Kibuga kya Dawudi; Yekolaamu mutabani we n’amusikira ku bwakabaka.+ 2 Yalina baganda be bano batabani ba Yekosafaati: Azaliya, Yekyeri, Zekkaliya, Azaliya, Mikayiri, ne Sefatiya. Abo bonna baali batabani ba Yekosafaati kabaka wa Isirayiri. 3 Kitaabwe yabawa ebirabo bingi: ffeeza, zzaabu, n’ebintu eby’omuwendo awamu n’ebibuga mu Yuda ebyaliko bbugwe;+ naye obwakabaka yabuwa Yekolaamu+ kubanga ye yali omwana omubereberye.

4 Yekolaamu bwe yamala okukkalira ku ntebe y’obwakabaka bwa kitaawe, ne yeenyweza ng’atta n’ekitala baganda be bonna+ n’abamu ku baami ba Isirayiri. 5 Yekolaamu yalina emyaka 32 we yafuukira kabaka, era yafugira emyaka munaana mu Yerusaalemi.+ 6 Yatambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri+ ng’ab’ennyumba ya Akabu bwe baakola, olw’okuba yali awasizza muwala wa Akabu,+ era yakolanga ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa. 7 Naye Yakuwa teyayagala kuzikiriza nnyumba ya Dawudi, olw’endagaano gye yakola ne Dawudi,+ okuva bwe kiri nti yali asuubizza nti ye n’abaana be bandibaddenga n’ettaala eyaka bulijjo.+

8 Mu kiseera kya Yekolaamu, Edomu yajeemera Yuda+ ne yeeteerawo kabaka waayo.+ 9 Awo Yekolaamu n’abakulu b’amagye ge ne basala ensalo n’amagaali ge gonna. Bwe bwatuuka ekiro n’asituka n’alwanyisa Abeedomu abaali bamuzingizza era nga bazingizza n’abakulu b’amagaali, n’abawangula. 10 Naye Edomu yeeyongera okujeemera Yuda n’okutuusa leero. Era mu kiseera ekyo Libuna+ nayo yajeemera Yekolaamu olw’okuba yali alese Yakuwa Katonda wa bajjajjaabe.+ 11 Era yazimba ebifo ebigulumivu+ ku nsozi ez’omu Yuda, aleetere abantu b’omu Yerusaalemi okwenda mu by’omwoyo, era yawabya Yuda.

12 Awo n’afuna ebbaluwa okuva eri nnabbi Eriya+ ng’egamba nti: “Bw’ati Yakuwa Katonda wa Dawudi jjajjaawo bw’agamba, ‘Totambulidde mu makubo ga Yekosafaati+ kitaawo oba aga Asa+ kabaka wa Yuda. 13 Naye otambulira mu kkubo lya bakabaka ba Isirayiri+ n’oleetera Yuda n’abantu b’omu Yerusaalemi okwenda mu by’omwoyo+ ng’ennyumba ya Akabu bw’eyenda,+ era watta ne baganda bo,+ ab’ennyumba ya kitaawo abaali abalungi okukusinga. 14 N’olwekyo Yakuwa agenda kuleeta akabi ku bantu bo, ku baana bo, ku bakazi bo, ne ku bintu byo byonna. 15 Ojja kufuna endwadde nnyingi, nga mwe muli n’obulwadde bw’omu byenda, okutuusa ebyenda byo lwe birifuluma olw’obulwadde obunaakulumanga buli lunaku.’”

16 Awo Yakuwa n’ateeka mu Bafirisuuti*+ ne mu Bawalabu+ abaali baliraanye Abeesiyopiya omwoyo ogw’okulwanyisa+ Yekolaamu. 17 Ne balumba Yuda ne bayingira n’eryanyi, era baatwala ebintu byonna ebyali mu nnyumba* ya kabaka,+ awamu n’abaana be ne bakazi be; omwana yekka gwe baamulekera yali Yekoyakazi,*+ eyali asembayo obuto. 18 Ebyo bwe byaggwa, Yakuwa n’amulwaza obulwadde mu byenda obwali butasobola kuwona.+ 19 Oluvannyuma lw’emyaka ebiri, ebyenda bye byafuluma olw’obulwadde obwali bumuluma, era n’afa ng’alumizibwa nnyo olw’obulwadde obwo. Abantu be tebaamukumira muliro okulaga nti bamuwa ekitiibwa nga bwe baagukumira bajjajjaabe.+ 20 Yatandika okufuga ng’alina emyaka 32, era yafugira mu Yerusaalemi emyaka munaana. Bwe yafa tewali n’omu gwe kyaluma. Ne bamuziika mu Kibuga kya Dawudi,+ naye tebaamuziika gye baazikanga bakabaka.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share