LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwbr23 Ssebutemba lup. 1-15
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu “Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu “Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe”
  • Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2023
  • Subheadings
  • SSEBUTEMBA 4-10
  • SSEBUTEMBA 11-17
  • SSEBUTEMBA 18-24
  • SSEBUTEMBA 25–OKITOBBA 1
  • OKITOBBA 2-8
  • OKITOBBA 9-15
  • OKITOBBA 16-22
  • OKITOBBA 23-29
  • OKITOBBA 30– NOOVEMBA 5
Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—2023
mwbr23 Ssebutemba lup. 1-15

Eby’Okunoonyereza Ebiri mu Katabo k’Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe

© 2023 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania

SSEBUTEMBA 4-10

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 1-2

“Fuba Okuba Omwetoowaze nga Eseza”

w17.01 lup. 25 ¶11

Okwoleka Obwetoowaze ne mu Mbeera Enzibu

11 Kiyinza okutuzibuwalira okwoleka obwetoowaze singa batutendereza oba batuwaana ekisukkiridde. Eseza baamutenderezanga era baamuwaananga nnyo olw’obulungi bwe. Y’omu ku bawala abaali basingayo okulabika obulungi mu bwakabaka bwa Buperusi. Okumala omwaka mulamba, baamukolako mu ngeri ey’enjawulo awamu n’abawala abalala abaali bagenda okutwalibwa mu maaso ga kabaka alondemu anaaba nnaabakyala. Kabaka yalonda Eseza okuba nnaabakyala. Naye ekyo tekyaleetera Eseza kufuna malala. Eseza yasigala nga mwetoowaze, nga wa kisa, era ng’assa ekitiibwa mu balala.—Es. 2:​9, 12, 15, 17.

ia lup. 130 ¶15

Yalwanirira Abantu ba Katonda

15 Ekiseera bwe kyatuuka Eseza okutwalibwa eri kabaka, yaweebwa eddembe okusaba kyonna kye yali awulira nti akyetaaga, oboolyawo okumuyamba okwongera okulabika obulungi. Kyokka Eseza yasaba ebyo byokka Kegayi bye yamugamba asabe. (Es. 2:15) Oboolyawo yakitegeera nti obulungi bwokka si bwe bwandisikirizza kabaka. Abantu abasinga mu lubiri olwo tebaali beetoowaze era Eseza ayinza okuba yakiraba nti obwetoowaze bwali bwa muwendo nnyo okusinga endabika ennungi.

w17.01 lup. 25 ¶12

Okwoleka Obwetoowaze ne mu Mbeera Enzibu

12 Bwe tuba abeetoowaze, tujja kwambala era tujja kwekolako mu ngeri eraga nti twewa ekitiibwa era nti tuwa n’abalala ekitiibwa. Mu kifo ky’okwewaana n’okweragira ku balala, tufuba okwoleka “omwoyo omuteefu era omuwombeefu.” (Soma 1 Peetero 3:​3, 4; Yer. 9:​23, 24) Emirundi mingi ebyo ebiri mu mitima gyaffe byeyolekera mu ebyo bye twogera ne bye tukola. Ng’ekyokulabirako, tuyinza okugezaako okulaga abalala nti tuli ba waggulu olw’emirimu gye tukola, bye tumanyi, oba olw’okuba tutera okukolagana n’ab’oluganda abatwala obukulembeze mu kibiina. Oba tuyinza okugamba abalala nti waliwo ekintu ekikulu kye twakola mu maanyi gaffe, kyokka ng’ate waliwo abaatuyambako okukikola. Naye Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eyo. Yesu yali asobola okuleetera abalala okumugulumiza olw’amagezi ge yalina. Naye mu kifo ky’ekyo, Yesu bye yayogeranga yabiggyanga mu Kigambo kya Katonda. Yali tayagala bantu kumugulumiza, wabula yali ayagala bagulumize Kitaawe.—Yok. 8:28.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w22.11 lup. 31 ¶3-6

Obadde Okimanyi?

Bannabyafaayo baazuula ekiwandiiko ekyali kyogera ku musajja ayitibwa Marduka (Moluddekaayi mu Luganda). Omusajja oyo yali mukungu era oboolyawo yali akola ng’omuwanika mu Susani. Omuwandiisi omu ayitibwa Arthur Ungnad, omukugu mu kunoonyereza ku byafaayo eby’edda yagamba nti “ng’oggyeeko Bayibuli, ekiwandiiko ekyo kyokka kye kyali kyogera ku Moluddekaayi” mu kiseera ekyo.

Okuva mu kiseera Ungnad lwe yawandiika ebigambo ebyo, abeekenneenya bangi bavvuunudde ebiwandiiko nkumi na nkumi eby’Abaperusi ab’edda. Ebimu ku byo bye biwandiiko ebyali ku bipande eby’amayinja ebyazuulibwa okumpi n’awaali ekibuga Persepolis eky’edda, era nga byazuulibwa okumpi ne we baaterekanga ssente. Ebipande ebyo eby’amayinja byakolebwa mu kiseera kya Kabaka Zakisiisi I. Ebigambo ebyali ku bipande ebyo byali mu lulimi olwakozesebwanga mu kiseera ekyo, era byaliko amannya agawerako agasangibwa ne mu kitabo kya Eseza.

Ebimu ku bipande eby’amayinja ebyazuulibwa e Persepolis byaliko erinnya Marduka, eyakolanga ng’omuwandiisi mu lubiri lw’e Susani mu kiseera ky’obufuzi bwa Zakisiisi I. Ekimu ku bipande ebyo kyayogera ku Marduka ng’eyali omuvvuunuzi. Ekyo kikwatagana n’ebyo Bayibuli by’eyogera ku Moluddekaayi. Yali mukungu mu lubiri lwa Kabaka Akaswero (Zakisiisi I) era Bayibuli eraga nti yali amanyi waakiri ennimi bbiri. Moluddekaayi yateranga okutuula ku mulyango gwa kabaka mu lubiri lw’e Susani. (Eseza 2:​19, 21; 3:3) Ekifo ekyo kyali kinene ddala, era abakungu b’omu lubiri we baakoleranga emirimu gyabwe.

Waliwo bingi ebikwata ku Marduka ayogerwako mu bipande by’amayinja ebyazuulibwa ebifaanagana n’ebyo ebikwata ku Moluddekaayi ayogerwako mu Bayibuli. Baaliwo mu kiseera kye kimu, mu kitundu kye kimu, era bombi baali bakungu nga bakolera mu kifo kye kimu. Okufaanagana okwo kwonna kulaga nti ebyo abanoonyereza ku bintu eby’edda bye baazuula biyinza okuba nga bikwata ku Moluddekaayi ayogerwako mu kitabo kya Eseza.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w20.11 lup. 13-14 ¶3-7

YAMUYAMBA NG’AKOZESA YESU NE BAMALAYIKA

3 Pawulo yali yeetaaga okuyambibwa. Awo nga mu mwaka gwa 56 E.E., bwe yali mu Yerusaalemi, abantu baamusikaasikanya ne bamufulumya mu yeekaalu era ne bagezaako okumutta. Enkeera Pawulo bwe yaleetebwa mu maaso g’Olukiiko Olukulu, abalabe be kaabula kata bamugajambule. (Bik. 21:​30-32; 22:30; 23:​6-10) Mu kiseera ekyo Pawulo ayinza okuba nga yeebuuza nti, ‘Embeera eno nnaagigumira kutuusa ddi?’

4 Buyambi ki Pawulo bwe yafuna? Ekiro nga Pawulo amaze okukwatibwa, “Mukama waffe,” Yesu yayimirira kumpi naye n’amugamba nti: “Beera mugumu! Nga bw’obadde ompaako obujulirwa mu Yerusaalemi, bw’otyo bw’oteekwa okumpaako obujulirwa mu Rooma.” (Bik. 23:11) Ebigambo ebyo nga biteekwa okuba nga byazzaamu nnyo Pawulo amaanyi. Yesu yasiima Pawulo olw’obujulirwa bwe yali awadde mu Yerusaalemi, era yamusuubiza nti yali ajja kutuuka mirembe e Rooma yeeyongera okuwa obujulirwa. Oluvannyuma lwa Yesu okumugamba ebigambo ebyo, Pawulo ateekwa okuba nga yawulira nga talina kutya kwonna ng’alinga omwana ali mu mikono gya kitaawe.

5 Bizibu ki ebirala Pawulo bye yayolekagana nabyo? Nga wayise emyaka ng’ebiri oluvannyuma lw’ebyo ebyaliwo mu Yerusaalemi, Pawulo bwe yali mu kyombo ekyali kigenda e Yitale, omuyaga ogw’amaanyi gwajja ku nnyanja ne kiba nti bonna abaali mu kyombo baalowooza nti baali bagenda kufa. Naye Pawulo ye teyatya. Lwaki? Yagamba abo be yali nabo mu kyombo nti: “Katonda gwe nsinza era gwe mpeereza, yatumye malayika we ekiro n’ayimirira okumpi nange, n’aŋŋamba nti, ‘Totya Pawulo. Oteekwa okuyimirira mu maaso ga Kayisaali, era laba! Katonda ajja kuwonyaawo obulamu bw’abo bonna b’oli nabo mu kyombo.’” Yakuwa yakozesa malayika okukakasa Pawulo ekintu kye kimu kye yali yamukakasa okuyitira mu Yesu. Era Pawulo yatuuka e Rooma nga Yakuwa bwe yali amusuubizza.—Bik. 27:​20-25; 28:16.

6 Buyambi ki bwe tufuna? Naffe Yesu atuyamba nga bwe yayamba Pawulo. Ng’ekyokulabirako, Yesu yasuubiza abagoberezi be bonna nti: “Ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu.” (Mat. 28:20) Ebigambo bya Yesu ebyo bituzzaamu nnyo amaanyi. Lwaki? Kubanga ebiseera ebimu twolekagana n’ebizibu ebitali byangu kugumira. Ng’ekyokulabirako, bwe tufiirwa omuntu waffe, obulumi bwe tufuna buyinza obutamala nnaku bunaku wabula myaka. Abalala boolekagana n’ebizibu ebijjawo olw’obukadde. Ate abalala oluusi wabaawo ennaku lwe bawulira nga bennyamidde nnyo. Wadde nga twolekagana n’ebizibu ng’ebyo, tweyongera okugumiikiriza kubanga tukimanyi nti Yesu ali naffe “ennaku zonna” nga mw’otwalidde n’ennaku ezisingayo okuba embi mu bulamu bwaffe.—Mat. 11:​28-30.

7 Ekigambo kya Katonda kitukakasa nti Yakuwa atuyamba okuyitira mu bamalayika. (Beb. 1:​7, 14) Ng’ekyokulabirako, bamalayika batuyamba era batuwa obulagirizi nga tukola omulimu gw’okubuulira “amawulire amalungi ag’Obwakabaka” eri abantu aba “buli ggwanga n’ekika n’olulimi.”—Mat. 24:​13, 14; soma Okubikkulirwa 14:6.

SSEBUTEMBA 11-17

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 3-5

“Yamba Abalala Okukozesa Obusobozi Bwabwe mu Bujjuvu”

it-2-E lup. 431 ¶7

Moluddekaayi

Agaana okuvunnamira Kamani. Oluvannyuma, Kabaka Akaswero yalonda Kamani Omwagagi okuba nga y’amuddirira mu buyinza, era yalagira abo abaabeeranga ku mulyango gwa kabaka okumuvunnamiranga. Kyokka ye Moluddekaayi yagaana okuvunnamira Kamani ng’awa ensonga nti ye yali Muyudaaya. (Es. 3:​1-4) Okuba nti y’eyo ensonga Moluddekaayi gye yawa, kyalaga nti ng’Omuyudaaya eyali yeewaddeyo eri Katonda we, okuvunnamira Kamani kyandikosezza enkolagana ye ne Yakuwa. Yakiraba nti okuvunnamira Kamani kyali kisingawo ku kuvunnamira obuvunnamizi omuntu nga bwe kyakolwanga mu Isirayiri eri abantu ab’ebitiibwa. (2Sam. 14:4; 18:28; 1Bassek. 1:16) Kyokka waliwo ensonga lwaki Moluddekaayi teyavunnamira Kamani. Kamani ayinza okuba nga yali Mwamaleki, ate nga Yakuwa yali yagamba nti ajja kulwana n’Abamaleki “emirembe n’emirembe.” (Kuv. 17:16; laba KAMANI.) N’olwekyo ensonga z’eby’obufuzi si ze zaalemesa Moluddekaayi okuvunnamira Kamani, wabula yali ayagala kukuuma bwesigwa bwe eri Yakuwa.

it-2-E lup. 431 ¶9

Moluddekaayi

Yakozesebwa Okununula Isirayiri. Etteeka ery’okusaanyaawo Abayudaaya bonna mu masaza Kabaka Akaswero ge yali afuga bwe lyayisibwa, Moluddekaayi yali akitwala nti oboolyawo Eseza yafuulibwa nnaabakyala asobole okununula Abayudaaya. Yayamba Eseza okukiraba nti yalina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi era n’amugamba agende eri kabaka amusabe akwatirwe Abayudaaya ekisa. Wadde ng’ekyo kyali kiteeka obulamu bwe mu kabi, Eseza yakkiriza okukola ekyo Moluddekaayi kye yamugamba.—Es 4:7–5:2.

ia lup. 133 ¶22-23

Yalwanirira Abantu ba Katonda

22 Eseza ateekwa okuba nga yatekemuka bwe yafuna obubaka obwo. Kino kyali kigezo kya maanyi nnyo gy’ali, era ebyo bye yaddamu Moluddekaayi biraga nti yali atidde nnyo. Yamujjukiza etteeka lya kabaka. Etteeka eryo lyali ligamba nti omuntu yenna eyandigenze eri kabaka nga tayitiddwa yalinanga okuttibwa okuggyako nga kabaka amuwanikidde omuggo gwe. Eseza teyalina nsonga yonna kwe yandisinzidde kulowooza nti ye kabaka yandimuwanikidde omuggo gwe, nnaddala bwe yalowooza ku kyatuuka ku Vasuti bwe yajeemera ekiragiro kya kabaka. Yagamba Moluddekaayi nti kabaka yali amaze ennaku 30 nga tamuyitanga kugenda gy’ali. Olw’okuba kabaka yali amusuuliridde bw’atyo, ayinza okuba nga yalowooza nti oboolyawo yali takyamwagala.—Es. 4:​9-11.

23 Moluddekaayi yaddamu Eseza mu ngeri eyali esobola okunyweza okukkiriza kwe. Yamukakasa nti bw’atandibaddeko ky’akolawo, okulokolebwa kw’Abayudaaya kwandivudde awalala. Naye ye Eseza yandisuubidde okuwonawo nga batandise okutta Abayudaaya? Moluddekaayi yakyoleka bulungi nti yalina obwesige bwa maanyi nti Yakuwa yali tayinza kuleka bantu be kusaanyizibwawo, era nti yali ajja kutuukiriza ebisuubizo bye. (Yos. 23:14) Moluddekaayi yagamba Eseza nti: “Ani amanyi obanga eno ye nsonga lwaki wafuuka nnaabakyala?” (Es. 4:​12-14) Mazima ddala Moluddekaayi yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi ennyo. Yassa obwesige bwe bwonna mu Yakuwa, Katonda we. Naffe tussa obwesige bwaffe mu Yakuwa?—Nge. 3:​5, 6.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

kr-E lup. 160 ¶14

Okulwanirira Eddembe ly’Okusinza

14 Okufaananako Eseza ne Moluddekaayi, abantu ba Yakuwa leero balwanirira eddembe lyabwe ery’okusinza, basobole okusinza Yakuwa mu ngeri gy’asiima. (Es. 4:​13-16) Naawe osobola okubaako ne ky’okolawo? Yee. Osobola okusabiranga bakkiriza banno mu kiseera kino ababonaabona olw’okusibibwako emisango n’okuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Essaala ng’ezo zisobola okuyamba bakkiriza bannaffe abali mu mbeera enzibu era abayigganyizibwa. (Soma Yakobo 5:16.) Yakuwa addamu essaala ng’ezo? Obuwanguzi bwe tutuuseeko mu mbuga z’amateeka bulaga nti aziddamu!—Beb. 13:​18, 19.

SSEBUTEMBA 18-24

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 6-8

“Kye Tuyigira ku Kwogera Ebigambo Ebituukirawo mu Kiseera Ekituufu”

ia lup. 140 ¶15-16

Yayoleka Amagezi n’Obuvumu, era Teyeefaako Yekka

15 Olw’okuba Eseza yali mugumiikiriza n’alinda olunaku lumu ne lusooka luyitawo alyoke ategeeze kabaka ensonga ze, kyawa Kamani ekiseera okukola ekintu ekyamuzaalira emitawaana. Olowooza tekiyinzika kuba nti Yakuwa ye yaleetera kabaka okubulwa otulo? (Nge. 21:1) Tekyewuunyisa Bayibuli bw’etukubiriza ‘okulindiriranga.’ (Soma Mikka 7:7.) Bwe twesiga Katonda ne tumulindirira atuyambe, ajja kuddamu okusaba kwaffe mu ngeri gye tutasuubira.

Yayogera n’Obuvumu

16 Eseza yali tasobola kulwawo nnyo nga tannabuulira kabaka nsonga ze; yalina okuzimubuulira ku kijjulo eky’okubiri. Naye yanditandise atya? Bwe baali ku kijjulo, kabaka kennyini yamuwa entandikwa, n’amubuuza kye yali ayagala okusaba. (Es. 7:2) “Ekiseera eky’okwogereramu” kyali kituuse.

ia lup. 140 ¶17

Yayoleka Amagezi n’Obuvumu, era Teyeefaako Yekka

17 Eseza ayinza okuba nga yasaba Katonda we mu mutima gwe nga tannayogera bigambo bino: “Bwe mba nga nsiimibwa mu maaso go, Ai kabaka, era bwe kiba nga kirungi mu maaso ga kabaka, nkusaba owonye obulamu bwange era nkusaba abantu bange baleme kuttibwa.” (Es. 7:3) Weetegereze nti Eseza yaleka kabaka asalewo obanga kye yali amusaba kyali kirungi oba kibi. Nga Eseza yali wa njawulo nnyo ku Vasuti, muka kabaka eyasooka, eyaweebuula bba! (Es. 1:​10-12) Ate era weetegereze nti Eseza teyanenya kabaka olw’okwesiga ebigambo bya Kamani. Wabula, yeegayirira bwegayirizi kabaka amuwonye okuttibwa.

ia lup. 141 ¶18-19

Yayoleka Amagezi n’Obuvumu, era Teyeefaako Yekka

18 Ekyo Eseza kye yasaba kiteekwa okuba nga kyewuunyisa nnyo kabaka. Muntu ki oyo eyali yeetantadde okutuusa akabi ku mukyala we? Eseza yagattako nti: “Nze n’abantu bange tutundiddwa tusaanyizibwewo, tuttibwe, era tuzikirizibwe. Singa tubadde tutundiddwa kufuuka baddu na bazaana, nnandisirise. Naye akabi kano tekandikkiriziddwa kubaawo kubanga kagenda kufiiriza kabaka.” (Es. 7:4) Weetegereze nti Eseza yategeeza kabaka ebintu byonna bwe byali, era n’ayongerako nti yandibadde asirika singa baali bagenda kubatunda butunzi mu buddu. Naye olw’okuba okutta abantu b’eggwanga lye bonna kyali kigenda kukosa nnyo ne kabaka, yali tasobola kusirika.

19 Ebyo bye tusoma ku Eseza bituyigiriza engeri gye tusaanidde okwogeramu nga twagala omuntu akkirize kye tumugamba. Bw’obaako ekintu ekikuluma ky’oyagala okubuulira omwagalwa wo oba omuntu ali mu buyinza, kiba kirungi n’omubuulira ebintu byonna mu bujjuvu era mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa, ate era kiba kirungi okulaga obugumiikiriza.—Nge. 16:​21, 23.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 3/1 lup. 7 ¶1

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Eseza

7:4—Mu ngeri ki okuzikirizibwa kw’Abayudaaya gye ‘kwandifiiriza kabaka’? Mu ngeri ey’amagezi Eseza ategeeza kabaka nti yandifunye ssente ezisukka mu bitundu bya feeza 10,000 Kamani ze yali asuubizza okumuwa singa Abayudaaya batundibwa ng’abaddu mu kifo ky’okuttibwa. Ate era singa Abayudaaya battibwa ne nnaabakyala yali wa kuttibwa.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w22.01 lup. 10-11 ¶8-10

Yigiriza Bulungi nga Yakobo—Yigiriza mu Ngeri Ennyangu

8 Yakobo teyalina buyigirize bwa waggulu. Tewali kubuusabuusa nti abakulembeze b’eddiini ab’omu kiseera kye naye baali bamutwala nga bwe baali batwala abatume, Peetero ne Yokaana, kwe kugamba, baali bamutwala ‘ng’ataali muyigirize era omuntu owa bulijjo.’ (Bik. 4:13) Naye Yakobo yayiga okuba omuyigiriza omulungi. Kino tukiraba bwe tusoma ekitabo ekiyitibwa erinnya lye. Okufaananako Yakobo, naffe tuyinza okuba nga tetwafuna buyigirize bwa waggulu. Wadde kiri kityo, omwoyo gwa Yakuwa awamu n’okutendekebwa kwe tufuna mu kibiina kye, bisobola okutufuula abayigiriza abalungi. Ka tulabe ekyokulabirako Yakobo kye yassaawo mu kuyigiriza, era tulabe n’ebyo bye tuyinza okumuyigirako.

9 Yakobo teyakozesanga bigambo bizibu era yannyonnyolanga ebintu mu ngeri ennyangu. Ekyo kyasobozesa be yali abuulira okumanya kye baalina okukola, n’engeri gye baalina okukikolamu. Ng’ekyokulabirako, weetegereze engeri ennyangu gye yalagamu nti Abakristaayo balina okuba abeetegefu okuyisibwa obubi era n’obutasiba kiruyi. Yagamba nti: “Tubayita basanyufu abo abaagumiikiriza. Mwawulira ku bugumiikiriza bwa Yobu era mwalaba Yakuwa bye yamukolera oluvannyuma, era ne mukiraba nti Yakuwa alina okwagala kungi era musaasizi.” (Yak. 5:11) Weetegereze nti Yakobo yakozesa Ebyawandiikibwa ng’ayigiriza bakkiriza banne. Yakozesa Ekigambo kya Katonda okuyamba bakkiriza banne okukiraba nti bulijjo Yakuwa awa empeera abo abasigala nga beesigwa gy’ali nga Yobu. Yakobo bwe yali ayigiriza bakkiriza banne ensonga eyo, yakozesa ebigambo ebyangu era yannyonnyola mu ngeri ennyangu. Mu kukola bw’atyo, yabayamba okussa ebirowoozo byabwe ku Yakuwa so si ku ye.

10 Kye tuyiga: Yigiriza mu ngeri ennyangu era kozesa Ekigambo kya Katonda. Ekigendererwa kyaffe si kya kuleetera bantu kukiraba nti tumanyi ebintu bingi, wabula kya kubaleetera kukiraba nti Yakuwa amanyi ebintu bingi, era nti abafaako nnyo. (Bar. 11:33) Tusobola okutuuka ku kigendererwa ekyo nga bulijjo bye twogera tubyesigamya ku Kigambo kya Katonda. Ng’ekyokulabirako, mu kifo ky’okugamba abayizi baffe ekyo kye twandikoze singa ffe twali bo, tusaanidde okubayamba okufumiitiriza ku bantu aboogerwako mu Bayibuli n’okumanya endowooza ya Yakuwa. Bwe tukola bwe tutyo, kijja kubayamba okukolera ku ebyo bye bayiga olw’okuba baagala okusanyusa Yakuwa, so si ffe.

SSEBUTEMBA 25–OKITOBBA 1

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | ESEZA 9-10

“Yakozesa Bulungi Obuyinza Bwe Yalina”

it-2-E lup. 432 ¶2

Moluddekaayi

Moluddekaayi yadda mu kifo kya Kamani, n’aba nga y’addirira kabaka mu buyinza, era kabaka yamuwa empeta ye eramba gye baakozesanga okussa akabonero ku biwandiiko. Eseza yassaawo Moluddekaayi okukulira ennyumba ya Kamani, kabaka gye yali awadde Eseza. Oluvannyuma Moluddekaayi yakozesa obuyinza kabaka bwe yali amuwadde okuyisa ekiragiro, Abayudaaya beerwaneko. Obwo bwali buwanguzi eri Abayudaaya era baasanyuka nnyo. Bangi mu masaza ga Buperusi beegatta ku Bayudaaya, era Adali 13, we lwatuukira ekiragiro ekyo kissibwe mu nkola, Abayudaaya baali beetegese. Ab’obuyinza baawagira Abayudaaya olw’okuba baali batya Moluddekaayi olw’ekifo ekya waggulu kye yalimu. Okulwanyisa abalabe mu Susani kwayingira ne mu lunaku olulala. Abalabe b’Abayudaaya abasukka mu 75,000 mu masaza ga Buperusi baazikirizibwa nga mw’otwalidde ne batabani ba Kamani ekkumi. (Es 8:1–9:18) Ng’awagirwa Eseza, Moluddekaayi yassaawo ekiragiro, olunaku olwa 14 ne 15 olw’omwezi gwa Adali, nga ze ‘nnaku za Pulimu,’ abantu bajaganyenga, balyenga ebijjulo, bawerezeganyenga ebirabo era bagabirenga n’abaavu. Abayudaaya bakkiriza ekiragiro ekyo, era bo ne bazzukulu baabwe awamu n’abantu abalala abandibegasseeko baali ba kukuza nnaku ezo. Abayudaaya beeyongera okussa ekitiibwa mu Moluddekaayi, era yeeyongera okubakolera ebirungi.—Es 9:​19-22, 27-32; 10:​2, 3.

it-2-E lup. 716 ¶5

Pulimu

Ekigendererwa. Abantu abamu bagamba nti omukolo gwa Pulimu ogukuzibwa Abayudaaya mu kiseera kino tegukuzibwa nga mukolo gwa ddiini, olw’okuba emirundi egimu bagattamu ebintu ebitalina kakwate na ddiini. Wadde kiri kityo, eyo si ye ngeri Abayudaaya mu biseera eby’edda gye baakuzangamu omukolo ogwo. Moluddekaayi ne Eseza bonna baali baweereza ba Yakuwa Katonda, era omukolo gwa Pulimu gwatandikibwawo okuwa Yakuwa ekitiibwa. Yakuwa Katonda ye yasobozesa Abayudaaya okutuuka ku buwanguzi, kubanga ebyo byonna ebyaliwo, byabaawo olw’okuba Moluddekaayi yanywerera ku kusinza Yakuwa Katonda yekka. Kamani ayinza okuba yali Mwamaleki, ate ng’eggwanga ly’Abameleki Yakuwa yali yalikolimira era yali yagamba nti lyali lya kuzikirizibwa. Moluddekaayi yagondera ekiragiro kya Katonda n’agaana okuvunnamira Kamani. (Es 3:​2, 5; Kuv 17:​14-16) Ebigambo Moluddekaayi bye yagamba Eseza (Es 4:14) byalaga nti yali yeesize Yakuwa okununula Abayudaaya. Ate era Eseza okusooka okusiiba nga tannagenda mu maaso ga kabaka, n’okusaba kabaka ne Kamani okujja ku kijjulo kye yali ateeseteese, kyalaga nti yali yeesize Yakuwa.—Es 4:16.

cl lup. 101-102 ¶12-13

“Mukoppe Katonda” mu Ngeri Gye Mukozesaamu Obuyinza

12 Yakuwa ataddewo abakadde okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. (Abebbulaniya 13:17) Abakadde basaanidde okukozesa obuyinza Katonda bw’abawadde okuyamba bakkiriza bannaabwe mu by’omwoyo. Ekifo abakadde kye balina kyandibaleetedde okukajjala ku bakkiriza bannaabwe? Nedda. Basaanidde okuba abeetoowaze, n’okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku kifo kye balina mu kibiina. (1 Peetero 5:​2, 3) Bayibuli ekubiriza abakadde ‘okulabiriranga ekibiina kya Katonda kye yagula n’omusaayi gw’Omwana we.’ (Ebikolwa 20:28) Ebigambo ebyo biraga ensonga lwaki kikulu nnyo bonna mu kibiina okuyisibwa mu ngeri ey’ekisa.

13 Lowooza ku kyokulabirako kino. Mukwano gwo ow’oku lusegere akusabye okulabirira ekintu kye eky’omuwendo. Okimanyi nti ekintu ekyo yakigula ssente nnyingi. Ekintu ekyo tewandikirabiridde bulungi? Mu ngeri y’emu Katonda awadde abakadde obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekintu eky’omuwendo ennyo, kwe kugamba, ekibiina kye. Abo abali mu kibiina kya Yakuwa bageraageranyizibwa ku ndiga. (Yokaana 21:​16, 17) Endiga za Yakuwa za muwendo nnyo gy’ali. Yazigula n’omusaayi gw’Omwana we era omuwendo ogwo gwe yasasula munene nnyo. N’olwekyo, abakadde abeetoowaze bwe bajjukiranga ensonga eyo kijja kubayamba okuyisa endiga za Yakuwa mu ngeri ey’ekisa.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w06 3/1 lup. 7 ¶4

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Eseza

9:​10, 15, 16—Wadde ng’etteeka lyali libakkiriza, lwaki Abayudaaya tebaatwala munyago? Eky’okugaana okutwala omunyago kyalaga nti ekigendererwa kyabwe kyali kya kuwonya bulamu so si kufuna bya bugagga.

OKITOBBA 2-8

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 1-3

“Weeyongere Okukiraga Nti Oyagala Nnyo Yakuwa”

w18.02 lup. 6 ¶16-17

Ba n’Okukkiriza era Ba Muwulize nga Nuuwa, Danyeri, ne Yobu

16 Ebizibu Yobu bye yayolekagana nabyo. Yobu yaliko mu mbeera ennungi ennyo n’enzibu ennyo. Bwe yali tannafuna kugezesebwa, “ye yali asinga ekitiibwa mu bantu bonna ab’Ebuvanjuba.” (Yob. 1:3) Yali mugagga nnyo, nga mumanyifu, era ng’assibwamu nnyo ekitiibwa. (Yob. 29:​7-16) Wadde kyali kityo, Yobu teyeetwala kuba wa kitalo era teyatandika kulowooza nti teyeetaaga Katonda. Mu butuufu, Yakuwa yayita Yobu ‘omuweereza we,’ era yagamba nti Yobu yali ‘musajja mwesigwa era mugolokofu, atya Katonda, era eyeewala ebibi.’—Yob. 1:8.

17 Kyokka mu kaseera katono, obulamu bwa Yobu bwakyuka. Yobu yafuuka mwavu lunkupe era ne yennyamira nnyo. Tukimanyi nti Sitaani ye yaleetera Yobu ebizibu ebyo bwe yawaayiriza Yobu nti yali asinza Katonda olw’okubaako bye yeefunira. (Soma Yobu 1:​9, 10.) Yakuwa teyabuusa maaso nsonga eyo. Bwe kityo, yawa Yobu akakisa okukiraga nti yali mwesigwa gy’ali, n’okukiraga nti yali asinza Katonda olw’okuba yali amwagala.

w19.02 lup. 5 ¶10

Kuuma Obugolokofu Bwo!

10 Okubuusabuusa Sitaani kwe yalina ku bugolokofu bwa Yobu kukukwatako kutya? Naawe Sitaani akwogerako ekintu kye kimu kye yayogera ku Yobu. Agamba nti Yakuwa tomwagala kuva ku mutima gwo, nti ojja kulekera awo okumuweereza okusobola okutaasa obulamu bwo, era nti obugolokofu bw’oyoleka si bwa nnamaddala! (Yob. 2:​4, 5; Kub. 12:10) Ekyo kikuleetera kuwulira otya? Kiteekwa okuba nga kikuluma. Kyokka kikulu okukijjukira nti Yakuwa akwesiga ne kiba nti akkiriza Sitaani okugezesa obugolokofu bwo. Yakuwa mukakafu nti osobola okukuuma obugolokofu bwo, naawe n’okiraga nti Sitaani mulimba. Era Yakuwa asuubiza okukuyamba osobole okusigala ng’oli mugolokofu. (Beb. 13:6) Nga nkizo ya maanyi Omufuzi w’obutonde bwonna okutussaamu obwesige! Olaba ensonga lwaki kikulu nnyo okuba abagolokofu? Okuba abagolokofu kitusobozesa okulaga nti Sitaani bye yayogera bya bulimba, era kitusobozesa okutukuza erinnya lya Kitaffe eddungi n’okuwagira obufuzi bwe. Biki bye tuyinza okukola okusobola okukuuma obugolokofu bwaffe?

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w21.04 lup. 11 ¶9

Bye Tuyigira ku Bigambo bya Yesu Ebyasembayo

9 Kiki Yesu kye yayogera? Yesu bwe yali anaatera okukutuka yagamba nti: “Katonda wange, Katonda wange, lwaki onjabulidde?” (Mat. 27:46) Bayibuli tetubuulira nsonga lwaki Yesu yayogera ebigambo ebyo. Naye lowooza ku ekyo ebigambo ebyo kye bitulaga. Ekisooka, mu kwogera ebigambo ebyo, Yesu yali atuukiriza obunnabbi obuli mu Zabbuli 22:1. Ate era ebigambo ebyo byakyoleka bulungi nti Yakuwa yali tatadde “lukomera” ku Mwana we kumukuuma. (Yob. 1:10) Yesu yali akimanyi nti Kitaawe yali amulekedde ddala mu mikono gy’abalabe be asobole okugezesebwa mu bujjuvu ku kigero omuntu yenna ky’atagezesebwangako. Ate era ebigambo ebyo biraga nti Yesu yali talina musango gwe yali azizza ogwali gumugwanyiza okufa.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w22.01 lup. 11-12 ¶11-14

Yigiriza Bulungi nga Yakobo—Yogera ku Bizibu Ebiriwo Naye Beera Mwetoowaze.

11 Yakobo yayogeranga ku kizibu ekyabangawo. Bwe tusoma ebbaluwa ya Yakobo tukiraba nti yali amanyi bulungi obuzibu Bakristaayo banne bwe baalina, era yabawa obulagirizi ku ngeri gye baali bayinza okuvvuunukamu obuzibu obwo. Ng’ekyokulabirako, abamu ku bo baali balwawo okukolera ku bye baali bayiga. (Yak. 1:22) Abalala baalimu obusosoze, nga baagala abagagga okusinga abaavu. (Yak. 2:​1-3) Ate abalala baali bazibuwalirwa okufuga olulimi lwabwe. (Yak. 3:​8-10) Abakristaayo abo baalina obuzibu obw’amaanyi, naye Yakobo yalina essuubi nti baali bajja kukyusaamu. Yababuulirira mu ngeri ey’ekisa era etuukira ddala ku nsonga, era n’akubiriza abo abaali beetaaga obuyambi okusaba abakadde okubayamba okukola enkyukakyuka.—Soma Yakobo 5:​13-15.

12 Kye tuyiga: Yogera ku kizibu, naye beera n’endowooza ennungi ku balala. Bangi ku abo be tuyigiriza Bayibuli bayinza obutanguyirwa kukolera ku ebyo bye bayiga. (Yak. 4:​1-4) Kiyinza okubatwalira ekiseera okweggyamu engeri embi, n’okukulaakulanya engeri ng’eza Kristo. Okufaananako Yakobo tusaanidde okubuulira abayizi baffe we beetaaga okulongoosaamu. Era tusaanidde okusigala nga tulina endowooza ennungi, nga tuli bakakafu nti abantu abawombeefu Yakuwa ajja kubaleeta gy’ali, era nti ajja kubawa amaanyi ge beetaaga okusobola okukola enkyukakyuka mu bulamu bwabwe.—Yak. 4:10.

13 Yakobo yali teyeetwala nti wa kitalo. Yakobo yali takitwala nti olw’amaka ge yakuliramu oba olw’enkizo ze yalina, yali wa kitalo oba nti yali wa waggulu ku bakkiriza banne. Bwe yali ayogera ku bakkiriza banne yabayita ‘baganda be abaagalwa.’ (Yak. 1:​16, 19; 2:5) Teyagezaako kuleetera balala kulowooza nti ye atuukiridde. Mu kifo ky’ekyo, naye kennyini yeetwaliramu bwe yagamba nti: “Emirundi mingi ffenna tusobya.”—Soma Yakobo 3:2.

14 Kye tuyiga: Kijjukire nti ffenna tuli boonoonyi. Tetusaanidde kulowooza nti ffe tuli ba waggulu ku abo be tuyigiriza. Bwe tuleetera omuyizi waffe okulowooza nti ffe tetulina nsobi yonna gye tukola, ayinza okuggwaamu amaanyi ng’alowooza nti ye tasobola kutuukiriza ebyo Katonda by’amwetaagisa. Naye bwe tuba abeesimbu ne tubuulira omuyizi waffe nti oluusi tekitubeeredde kyangu kukolera ku Byawandiikibwa, era ne tumunnyonnyola engeri Yakuwa gy’atuyambyemu okukola enkyukakyuka, tujja kumuyamba okukiraba nti naye asobola okuweereza Yakuwa.

OKITOBBA 9-15

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 4-5

“Weewale Ebigambo eby’Obulimba”

it-1-E lup. 713 ¶11

Erifaazi

2. Yali omu ku mikwano gya Yobu abasatu. (Yob. 2:11) Yali Mutemani era kirabika yali yava mu mutabani wa Esawu omubereberye, ekiraga nti yalina oluganda ku Ibulayimu ne Yobu. Erifaazi ne bazzukulu be baali beenyumiririza mu magezi ge baalina. (Yer. 49:7) Ku mikwano gya Yobu abasatu abajja okumubudaabuda Erifaazi ayinza okuba ye yali abasinga ekitiibwa, era ayinza okuba ye yali abasinga obukulu. Ku mirundi esatu gye baayogera, Erifaazi ye yabasookanga okwogera era bye yayogera byali bingi okusinga ebyabwe.

w05-E 9/15 lup. 26 ¶2

Ziyiza Endowooza Enkyamu!

Ng’ayogera ku kwolesebwa kwe yafuna, Erifaazi yagamba nti: “Waliwo ekyampita mu maaso; obwoya obw’oku mubiri gwange ne buyimuka. Kyayimirira, naye saategeera nfaanana yaakyo; mu maaso gange waaliwo ekintu; waaliwo akasiriikiriro, oluvannyuma ne mpulira eddoboozi.” (Yob. 4:​15, 16) Kitonde ki ekyayogera ne Erifaazi? Ebigambo Erifaazi bye yaddako okwogera byalaga nti ekitonde ekyo teyali omu ku bamalayika ba Katonda abatuukirivu. (Yob. 4:​17, 18) Yali omu ku bamalayika abajeemu. Singa tekyali kityo, Yakuwa teyandinenyezza Erifaazi ne banne ababiri olw’okwogera eby’obulimba. (Yob. 42:7) Kya lwatu dayimooni ye yaleetera Erifaazi okwogera ebigambo ebyo. Bye yayogera byalaga nti teyalina ndowooza ya Katonda.

w10 2/15 lup. 19 ¶5-6

Weewale Obulimba bwa Sitaani

Sitaani yakozesa Erifaazi, omu ku mikwano gya Yobu abasatu abaali bazze okumulaba, okulaga nti abantu tebalina busobozi kunywerera ku Katonda. Ng’ayogera ku bantu ‘ng’abasula mu nnyumba ez’ettaka,’ yagamba Yobu nti: ‘baava mu nfuufu, bazikirizibwa mangu ng’ekiwojjolo. Bazikirizibwa okuva ku makya okutuuka akawungeezi; basaanawo emirembe gyonna, ne wataba n’omu akissaako omwoyo.’—Yob. 4:​19, 20.

Kituufu nti Ebyawandiikibwa bitugeraageranya ku “bibya eby’ebbumba”—ensuwa ez’ebbumba ezisobola okwatika amangu. (2 Kol. 4:7) Tuli banafu olw’okuba twasikira ekibi n’obutali butuukirivu. (Bar. 5:12) Awatali buyambi bwa Yakuwa, tetusobola kuziyiza Sitaani. Wadde nga tuli banafu, tuli ba muwendo mu maaso ga Katonda. (Is. 43:4) Yakuwa awa omwoyo gwe omutukuvu abo abamusaba. (Luk. 11:13) Omwoyo gwe gusobola okutuwa “amaanyi agasinga ku ga bulijjo,” ne gatuyamba okugumira ekizibu kyonna Sitaani ky’atuleetera. (2 Kol. 4:7; Baf. 4:13) Bwe tufuba okuziyiza Omulyolyomi, ‘nga tuli banywevu mu kukkiriza,’ Katonda ajja kutunyweza era atufuule ba maanyi. (1 Peet. 5:​8-10) N’olwekyo, tetusaanidde kutya Sitaani Omulyolyomi.

mrt-E lup. 32 ¶13-17

Weekuume Amawulire ag’Obulimba

● Manya amawulire gye gavudde n’ebigalimu

Bayibuli ky’egamba: “Mwekenneenyenga ebintu byonna.”—1 Abassessalonika 5:21.

Nga tonnakkiriza bubaka oba nga tonnabaako gw’obusindikira, sooka okakase oba nga ddala butuufu ne bwe kiba nti abantu baagala nnyo okubuwuliriza, oba nga bwogerwako nnyo mu mawulire. Ekyo oyinza kukikola otya?

Kakasa nti ensibuko y’obubaka yeesigika. Ebitongole by’amawulire n’ebitongole ebirala bwe biba byogera ku nsonga biyinza okukweka oba okusavuwaza ebintu ebimu olw’ensonga za bizineesi oba ez’eby’obufuzi. Geraageranya ebyo by’olaba mu mawulire n’ebikwata ku mawulire ago okuva mu nsonda endala. Olumu abantu bayinza okusindika obubaka obukyamu mu butanwa ne busaasaana. N’olwekyo, tomala geesiga bubaka bwonna okuggyako ng’otegedde ensibuko yaabwo.

Kakasa nti ebigalimu byakabaawo era nti bituufu. Tunula ku nnaku z’omwezi era laba ebirimu oba ddala bituufu era nti biwa obukakafu ku nsonga ezoogerwako. Weegendereze bwe kiba nti ensonga ennene eyogeddwako mu bumpimpi, oba ng’abafulumizza amawulire ago balina ekigendererwa eky’okuleetera abantu okubaako engeri gye bakwatibwako.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w03 6/1 lup. 20 ¶5-6

Sigala ng’Oli Munywevu Owangule Embiro z’Obulamu

Okuba mu luganda olw’ensi yonna olw’abaweereza ba Yakuwa kitugumya nnyo. Nga nkizo ya maanyi nnyo okuba mu luganda olwo olw’abantu ba Katonda abalagaŋŋana okwagala! (1 Peetero 2:17) Naffe tusobola okubaako kye tukolawo okunyweza bakkiriza bannaffe.

Lowooza ku ebyo Yobu omusajja omwesigwa bye yakolanga. Erifaazi yamugamba nti: “Ebigambo byo byayimusanga abo abaabanga bagwa; era wagumyanga abo abaabanga n’amaviivi amanafu.” (Yobu 4:4) Tukola tutya mu nsonga eno? Ffenna tulina obuvunaanyizibwa okuyamba baganda baffe ne bannyinnaffe mu by’omwoyo basobole okugumiikiriza nga baweereza Yakuwa. Tusaanidde okussa mu nkola ebigambo bino: “Munyweze emikono eminafu, mugumye amaviivi agakankana.” (Isaaya 35:3) N’olwekyo, lwaki tokifuula kiruubirirwa kyo okugumya n’okuzzaamu amaanyi Omukristaayo omu oba babiri buli lwe musisinkana? (Abebbulaniya 10:​24, 25) Bw’obeebaza olw’okunywerera ku Yakuwa kiyinza okubayamba okusigala nga banywevu mu kukkiriza.

OKITOBBA 16-22

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 6-7

“Bw’Oba Owulira ng’Ebizibu Bikuyitiriddeko”

w06 4/1 lup. 30 ¶10

Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Yobu

7:1; 14:14—Ebigambo ‘Obulamu obw’okukuluusana?’ oba ‘ennaku ezigerekeddwa’ birina makulu ki? Ebizibu Yobu bye yayolekagana nabyo byali bya maanyi nnyo, kwe kugamba, yali ng’ali mu ‘bulamu bwa kukuluusana.’ (Yobu 10:17) Okuva bwe kiri nti tewali agenda magombe nga yeeyagalidde, ekiseera omuntu ky’amala e magombe nga tannazuukizibwa, Yobu yakigeraageranya ku nnaku ezigerekeddwa.

w20.12 lup. 16 ¶1

“Yakuwa . . . Alokola Abo Abaweddemu Amaanyi”

OLUUSI tuyinza okulowooza ku ky’okuba nti obulamu bumpi era nti ennaku zaffe ‘zijjudde ebizibu.’ (Yob. 14:1) N’olwekyo tekyewuunyisa nti ebiseera ebimu tuwulira nga tuweddemu amaanyi. Waliwo abaweereza ba Yakuwa abawerako mu biseera eby’edda abaawulira bwe batyo. Abamu baatuuka n’okwagala okufa. (1 Bassek. 19:​2-4; Yob. 3:​1-3, 11; 7:​15, 16) Naye Yakuwa Katonda gwe beesiga yababudaabuda era n’abazzaamu amaanyi. Ebibakwatako byawandiikibwa bisobole okutubudaabuda n’okutuyigiriza.—Bar. 15:4.

g-E 1/12 lup. 16-17

Bw’Oba Owulira nga Weetamiddwa Obulamu

Wadde oyinza okuwulira nti embeera ekuzitooweredde, toli wekka. Kumpi buli omu alina ekizibu ky’ayolekagana nakyo. Bayibuli egamba nti: “Ebitonde byonna bisindira wamu era birumwa.” (Bar. 8:22) Wadde nga mu kiseera kino oyinza okuwulira nti ekizibu ky’oyolekagana nakyo tekisobola kuggwaawo, ebintu bitera okukyuka oluvannyuma lw’ekiseera. Naye biki ebiyinza okukuyamba mu kiseera ng’oyolekagana n’ekizibu?

Yogerako ne mukwano gwo gwe weesiga. Bayibuli egamba nti: “Ow’omukwano owa nnamaddala alaga okwagala ekiseera kyonna, era afuuka muganda wo mu biro eby’okulaba ennaku.” (Nge. 17:17) Yobu omusajja omutuukirivu ayogerwako mu Bayibuli, bwe yafuna ebizibu yabuulirako abalala engeri gye yali awuliramu. Ebizibu bwe byamuleetera okuwulira nga ‘yeetamiddwa obulamu,’ yagamba nti: “Nja kwemulugunya. Era nja kwogera wadde nga ndi mu nnaku ya maanyi!” (Yob. 10:1) Bw’obuulirako abalala ekizibu ky’oyolekagana nakyo, ekyo kiyinza okukukkakkanya era kiyinza okukuleetera okutunuulira ekizibu ekyo mu ngeri endala.

Weyabize Yakuwa mu kusaba. Abamu balowooza nti okusaba kuyamba buyambi omuntu okwewulira obulungi, naye ekyo Bayibuli si ky’egamba. Zabbuli 65:2 walaga nti Yakuwa “awulira okusaba,” ne 1 Peetero 5:7 walaga nti Katonda ‘atufaako.’ Enfunda n’enfunda Bayibuli eraga nti kikulu okwesiga Katonda. Lowooza ku byawandiikibwa bino:

“Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.”—ENGERO 3:​5, 6.

“Awa abo abamutya bye baagala; awulira okuwanjaga kwabwe n’abanunula.”—ZABBULI 145:19.

“Era buno bwe bwesige bwe tulina mu ye, nti bwe tusaba ekintu kyonna ekituukagana n’ebyo by’ayagala, atuwulira.”—1 YOKAANA 5:14.

“Ababi Yakuwa ababeera wala,naye awulira essaala z’abatuukirivu.”—ENGERO 15:29.

Bw’obuulira Yakuwa ekizibu ky’oyolekagana nakyo, ajja kukuyamba. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etukubiriza ‘okumwesiganga bulijjo, tumubuulire ebituli ku mutima.’—Zabbuli 62:8.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w20.04 lup. 16 ¶10

Wuliriza, Tegeera, era Laga Obusaasizi

10 Tusobola okukoppa Yakuwa nga tufuba okutegeera baganda baffe. Fuba okweyongera okumanya bakkiriza banno. Yogerako nabo ng’enkuŋŋaana tezinnatandika n’oluvannyuma nga ziwedde, buulirako wamu nabo, era bwe kiba kisoboka bayite baliireko wamu naawe ekijjulo. Ekyo bw’okikola oyinza okukizuula nti mwannyinaffe alabika ng’eyeewulira alina ensonyi, ow’oluganda gw’olowooza nti ayagala nnyo ebintu mugabi, ab’omu maka abatera okutuuka ekikeerezi mu nkuŋŋaana bayigganyizibwa. (Yob. 6:29) Kyo kituufu nti tetusaanidde ‘kweyingiza mu nsonga z’abalala.’ (1 Tim. 5:13) Naye kirungi okubaako bye tumanya ku bakkiriza bannaffe n’embeera ze bayitamu ezibaleetera okweyisa nga bwe beeyisa.

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

w22.01 lup. 12-13 ¶15-18

Yigiriza Bulungi nga Yakobo—Kozesa Ebyokulabirako Ebituukirawo.

15 Yakobo yakozesa ebyokulabirako ebyali bituukirawo. Tewali kubuusabuusa nti omwoyo omutukuvu gwe gwamuyamba. Kyokka era ateekwa okuba nga yayiga engeri y’okuyigirizaamu ng’akoppa engeri mukulu we, Yesu, gye yakozesangamu ebyokulabirako. Ebyokulabirako Yakobo bye yakozesa mu bbaluwa ye byangu, era eby’okuyiga ebibirimu bitegeerekeka bulungi.—Soma Yakobo 3:​2-6, 10-12.

16 Eky’okuyiga: Kozesa ebyokulabirako ebituukirawo. Bw’okozesa ebyokulabirako ebituukirawo, kisobozesa omuntu okukuba akafaananyi ku ebyo by’aba awuliriza. Akafaananyi ako kayamba omuntu okujjukira ebintu ebikulu by’ayiga mu Bayibuli. Yesu yali akozesa bulungi nnyo ebyokulabirako, era muganda we Yakobo yamukoppa. Ka tulabeyo ekimu ku byokulabirako Yakobo bye yakozesa, era tulabe ensonga lwaki kyali kirungi nnyo.

17 Soma Yakobo 1:​22-25. Ekyokulabirako Yakobo kye yakozesa ekikwata ku ndabirwamu kirungi nnyo, olw’ensonga eziwerako. Yali alina ensonga gye yali ayagala okuggyayo. Yali ayagala tukimanye nti okusobola okuganyulwa mu Kigambo kya Katonda, tetulina kukoma ku kukisoma busomi, wabula tulina okukolera ku ebyo bye tusoma. Ekyokulabirako eky’omuntu eyeeraba mu ndabirwamu Yakobo kye yakozesa kyangu okutegeera. Kiki kye yali ayagala tuyige? Tekiba kya magezi omuntu okutunula mu ndabirwamu n’alaba ekintu kye yeetaaga okutereeza, kyokka n’atabaako ky’akolawo. Mu ngeri y’emu, tekiba kya magezi kusoma Bayibuli ne tulaba we twetaaga okukyusa mu ngeri zaffe oba mu nneeyisa yaffe, kyokka ne tutabaako kye tukolawo.

18 Bw’oba ng’olina ekyokulabirako ky’oyagala okukozesa, koppa Yakobo ng’okola ebintu bino bisatu: (1) Kakasa nti ekyokulabirako ekyo kiggyayo ensonga gy’oyogerako. (2) Kozesa ekyokulabirako oyo akuwuliriza ky’asobola okutegeera amangu. (3) Kakasa nti eky’okuyiga ekiri mu kyokulabirako ekyo kitegeerekeka bulungi. Bwe kiba nga kikuzibuwalira okufuna ebyokulabirako by’oyinza okukozesa, weeyambise Watch Tower Publications Index. Genda ku mutwe ogugamba nti “Ebyokulabirako,” era wansi waagwo ojja kusangawo ebyokulabirako bingi by’osobola okukozesa. Kyokka kijjukire nti ebyokulabirako biringa omuzindaalo omuntu mw’ayogerera, kwe kugamba, biyambako mu kuggyayo obulungi ensonga. N’olwekyo kozesa ebyokulabirako ku nsonga enkulu zokka z’oyagala okuggyayo. Kya lwatu nti ensonga esinga obukulu lwaki twagala okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu kwe kuyamba abantu bangi nga bwe kisoboka okufuuka ab’omu maka ga Yakuwa, so si okuleetera abalala okututendereza.

OKITOBBA 23-29

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 8-10

“Okwagala kwa Katonda Okutajjulukuka Kutukuuma Okuva eri Obulimba bwa Sitaani”

w15 7/1 lup. 12 ¶3

Ddala Tusobola Okusanyusa Katonda?

Yobu yabonaabona olw’ebizibu eby’amaanyi bye yafuna era ekyo kyalabika ng’ekitali kya bwenkanya. Yafuna endowooza enkyamu nti ne bwe yandisigadde nga mwesigwa eri Katonda oba ne bw’atandikikoze, Katonda yali tamufaako. (Yobu 9:​20-22) Yobu yali yeetwala okuba omutuukirivu ennyo, abalala ne batuuka n’okugamba nti yali yeeyita mutuukirivu okusinga Katonda.—Yobu 32:​1, 2; 35:​1, 2.

w21.11 lup. 6 ¶14

Okwagala kwa Yakuwa Okutajjulukuka Kutuyamba Kutya?

14 Okwagala kwa Katonda okutajjulukuka kutuwa obukuumi mu by’omwoyo. Dawudi yasaba Yakuwa n’amugamba nti: “Oli kifo kyange eky’okwekwekamu; ojja kunkuuma nneme kulaba nnaku. Ojja kunneetoolooza amaloboozi ag’essanyu ag’okulokolebwa. . . . Oyo eyeesiga Yakuwa okwagala kwe okutajjulukuka kumwetooloola.” (Zab. 32:​7, 10) Nga bbugwe w’ekibuga bwe yawanga abantu abaakibeerangamu obukuumi, n’okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka nakwo kutukuuma ne tusobola okusigala nga tulina enkolagana ey’oku lusegere naye ne bwe tuba nga twolekaganye n’ebintu ebiyinza okugyonoona. Ate era okwagala kwa Yakuwa okutajjulukuka kumuleetera okutusembeza gy’ali.—Yer. 31:3.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w10 10/15 lup. 6-7 ¶19-20

“Ani Ategedde Endowooza Ya Yakuwa?”

19 Biki bye tuyize ku ‘ndowooza ya Yakuwa’? Twetaaga okukkiriza Ekigambo kya Katonda okutuyamba okutegeera endowooza ya Yakuwa. Tusaanidde okwewala okunenya Yakuwa nga tusinziira ku mitindo gyaffe n’endowooza yaffe. Yobu yagamba nti: “Katonda si muntu nga nze ndyoke mmwanukule, era mpoze naye.” (Yob. 9:32) Okufaananako Yobu, bwe tutandika okutegeera endowooza ya Yakuwa, tusobola okukkiriziganya n’ebigambo bino: “Naye ebyo bitono nnyo ku ebyo by’akola; bye tumuwulirako bye bitono ddala. Kale ani ayinza okutegeera engeri gy’aleeteramu eggulu okubwatuka n’amaanyi?”—Yob. 26:14.

20 Tusaanidde kukola ki singa tubaako ebintu bye tusoma mu Byawandiikibwa naye ne bituzibuwalira okutegeera, naddala ebyo ebikwata ku ndowooza ya Yakuwa? Singa tulemererwa okutegeera ebintu ebyo wadde nga tufubye okubinoonyerezaako, ekyo twandibadde tukitwala ng’engeri emu obwesige bwaffe mu Yakuwa gye bugezesebwa. Kikulu okukijjukira nti ebintu ebimu bye tusomako mu Byawandiikibwa bituwa akakisa okwoleka okukkiriza kwaffe mu Yakuwa. Tusaanidde okukikkiriza nti tetumanyi byonna by’akola. (Mub. 11:5) Ekyo kijja kutuleetera okukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Pawulo bino: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba! Ensala ye ey’emisango nzibu okutegeerera ddala mu bujjuvu, n’amakubo ge gonna tetusobola kugategeera ne tugamalayo. “Ani asobodde okutegeera Yakuwa by’alowooza, oba ani amuwa amagezi?” Oba, “ani yali asoose okubaako ky’awa Katonda, naye alyoke amusasule?” Kubanga ebintu byonna biva gy’ali, era biriwo kuyitira mu ye, era biriwo ku lulwe. Aweebwe ekitiibwa emirembe gyonna. Amiina.”—Bar. 11:​33-36.

OKITOBBA 30– NOOVEMBA 5

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOBU 11-12

“Ebintu Ebisatu Ebituyamba Okufuna Amagezi n’Okugaganyulwamu”

w09 4/15 lup. 6 ¶17

Yobu Yagulumiza Erinnya lya Yakuwa

17 Kiki ekyayamba Yobu okukuuma obugolokofu bwe? Awatali kubuusabuusa, ateekwa okuba nga yalina enkolagana ennungi ne Yakuwa nga tannafuna bizibu. Wadde nga tewali kiraga nti yali amanyi nti Sitaani yali asoomoozezza Yakuwa, Yobu yali mumalirivu okusigala nga mwesigwa. Yagamba nti: “Okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange!” (Yobu 27:5) Yobu yatuuka atya okufuna enkolagana ennungi ne Katonda? Ateekwa okuba nga bye yayiga ku nkolagana Katonda gye yalina ne Ibulayimu, Isaaka, ne Yakobo, be yalinako oluganda, yabitwala nga bikulu nnyo. Ate era okwetegereza obutonde kiteekwa okuba nga kyayamba Yobu okutegeera ezimu ku ngeri za Yakuwa.—Soma Yobu 12:​7-9, 13, 16.

w21.06 lup. 10-11 ¶10-12

Toli Wekka, Yakuwa Ali Naawe

10 Kola omukwano n’Abakristaayo abeesigwa. Kola omukwano n’abantu mu kibiina b’osobola okubaako ne by’obayigirako. Basobola okuba nga bakulu, oba nga bato ku ggwe era nga baakulira mu mbeera za njawulo. Bayibuli egamba nti, ‘abakadde baba n’amagezi.’ (Yob. 12:12) Abantu abakulu mu myaka nabo balina bingi bye basobola okuyigira ku baweereza ba Yakuwa abato abeesigwa. Dawudi yali muto nnyo ku Yonasaani naye ekyo tekyabalemesa kuba ba mukwano. (1 Sam. 18:1) Dawudi ne Yonasaani buli omu yayamba munne okuweereza Yakuwa wadde nga baali boolekagana n’ebizibu eby’amaanyi. (1 Sam. 23:​16-18) Mwannyinaffe Irina atalina baŋŋanda ze mu mazima agamba nti: “Bakkiriza bannaffe basobola okufuuka bazadde baffe oba baganda baffe. Yakuwa asobola okubakozesa okutuyamba obutawulira kiwuubaalo.”

11 Okukola emikwano emipya kiyinza obutaba kyangu naddala bw’oba ng’olina ensonyi. Mwannyinaffe Ratna, alina ensonyi era eyayiga amazima wadde nga yayigganyizibwa nnyo agamba nti: “Nnali nnina okukikkiriza nti nnali nneetaaga obuyambi bwa bakkiriza bannange.” Kiyinza obutaba kyangu okubuulirako omulala engeri gye weewuliramu, naye bw’okikola, oyo gw’obuuliddeko asobola okufuuka mukwano gwo ow’oku lusegere. Mikwano gyo baba baagala okukuyamba n’okukuzzaamu amaanyi, naye baba beetaaga obabuulire engeri y’okukikolamu.

12 Ekimu ku ebyo ekiyinza okukuyamba okukola emikwano, kwe kubuulirako awamu ne bakkiriza banno. Carol, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Okubuulira awamu ne baganda bange, n’okukolera awamu nabo emirimu emirala egy’ekibiina kinnyambye okufuna emikwano mingi emirungi. Emyaka bwe gizze giyitawo, Yakuwa akozesezza mikwano gyange gino okunnyamba.” Mazima ddala kirungi nnyo okukola omukwano n’Abakristaayo abeesigwa. Yakuwa akozesa emikwano ng’egyo okukuzzaamu amaanyi ng’oyolekagana n’embeera ezimalamu amaanyi, gamba ng’ekiwuubaalo.—Nge. 17:17.

it-2-E lup. 1190 ¶2

Amagezi

Amagezi Agava eri Katonda. Amagezi aga nnamaddala gava eri Yakuwa Katonda, n’olwekyo ye ‘wa magezi yekka.’ (Bar 16:27; Kub 7:12) Okumanya kulina akakwate n’okuba n’obukakafu. Okuva bwe kiri nti Yakuwa ye Mutonzi, era Abaddewo “okuva emirembe gyonna okutuusa emirembe gyonna” (Zb 90:​1, 2), amanyi byonna ebikwata ku nsi n’obwengula, engeri gye byakolebwamu, n’ebibirimu. Amateeka agafuga obutonde, entambula y’ebintu ebitali bimu, n’amateeka abantu ge beesigamako okunoonyereza n’okuvumbula ebintu ebitali bimu, byonna Yakuwa ye yabissaawo. (Yob 38:​34-38; Zb 104:24; Nge 3:19; Yer 10:​12, 13) Emitindo gya Katonda egy’empisa gyesigika, giyamba abantu okusalawo obulungi, n’okufuna essanyu mu bulamu. (Ma 32:​4-6; Laba YAKUWA [Katonda ateekawo emitindo gy’empisa].) Mazima ddala okumanya kwa Yakuwa kusukkulumye. (Is 40:​13, 14) Wadde ng’ayinza okuleka ebintu ebitatuukagana na mitindo gye egy’obutuukirivu okubaawo okumala ekiseera, ajja kubaako ky’akolawo mu biseera eby’omu maaso. Byonna bye yasuubiza ‘ajja kubikola.’—Is 55:​8-11; 46:​9-11.

Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

w08 10/1 lup. 19 ¶5

Okwogera n’Abatiini

▪ ‘Ntegeera amakulu agali mu bye boogera?’ Yobu 12:11 wagamba: “Okutu tekugezesa bigambo ng’olulimi bwe lulega ku mmere?” Kino kye kiseera ‘okutegeera’ mutabani wo oba muwala wo ky’agamba. Abatiini batera okusavuwaza bye boogera. Ng’ekyokulabirako, muwala wo oba mutabani wo ayinza okukugamba nti, “Buli kiseera ontwala nga mwana muto!” oba nti, “Tompuliriza!” Mu kifo ky’okulowooza nti ky’ayogedde tokikola “buli kiseera,” kimanye nti omwana wo ekyo kyennyini si ky’aba ategeeza. Bw’agamba nti, “Buli kiseera ontwala nga mwana muto” ayinza okuba ng’ategeeza nti, “Mpulira nga tonneesiga,” era bw’agamba “Buli kye ŋŋamba tompuliriza,” ayinza okuba ategeeza nti, “Njagala kukubuulira ekindi ku mutima.” Gezaako okutegeera amakulu agali mu by’ayogera.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share