OLUYIMBA 96
Ekitabo kya Katonda—Kya Bugagga
1. Waliwo ekitabo ekireeta
Eri bonna essuubi n’essanyu.
Kirimu obubaka obw’amaanyi;
Buzibula ’maaso; bwa bulamu.
Ekitabo ekyo ye Bayibuli.
Katonda yaluŋŋamya ’bantu be
Abamwagala ne bakiwandiika.
Yabawa amaanyi g’omwoyo gwe.
2. Baawandiika ebintu ebituufu;
Obutonde ’ngeri gye bwajjawo.
Boogera ne ku muntu eyasooka
Ng’olusuku bwe lwamuggibwako.
Boogera ne ku malayika omu
Oyo eyasoomooza Katonda.
Kyavaako ekibi n’ennaku nnyingi,
Naye Yakuwa anaabikomya.
3. Leero tuli mu kiseera kya ssanyu;
Mukama waffe Kristo afuga.
Tubuulira ’bantu ku Bwakabaka
Bwa Katonda ne bye bunaakola.
Ekitabo kya Katonda makula;
Tuganyulwa nnyo bwe tukisoma.
Kiwa ’bantu emirembe gya nsusso;
Ka kisomebwenga buli muntu.
(Laba ne 2 Tim. 3:16; 2 Peet. 1:21.)