Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki ekireetera ‘ebyegombebwa amawanga gonna’ okujja mu ‘nnyumba’ ey’okusinza okw’amazima?—Kaggayi 2:7.
Ng’ayitira mu nnabbi Kaggayi, Yakuwa yagamba nti: “Ndikankanya amawanga gonna, n’ebyo eby’egombebwa amawanga gonna birijja, era ndijjuza ennyumba eno ekitiibwa, bw’ayogera Mukama w’eggye.” (Kaggayi 2:7) Okukankanya “amawanga gonna” kye kireetedde “ebyegombebwa” amawanga gonna, kwe kugamba, abantu abeesimbu okukkiriza amazima? Eky’okuddamu kiri nti nedda.
Weetegereza ekikankanya amawanga era n’ebyo ebivaamu. Baibuli egamba nti ‘amawanga gagugumuka, n’abantu baalowooza ekintu ekitaliimu nsa.’ (Zabbuli 2:1) ‘Ekintu ekitaliimu nsa’ kye ‘balowooza,’ kwe kweyongera okufuga. Kye basinga okutya kwe kuggibwa mu buyinza.
Omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda obwassibwawo ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna, gwe guleetera amawanga okutya. Kino kiri bwe kityo kubanga Obwakabaka bwa Katonda obukulemberwa Yesu Kristo bugenda ‘kumenyamenya era buzikirize obwakabaka bw’abantu.’ (Danyeri 2:44) Obubaka obwo bwe tubuulira obuzingiramu omusango Katonda gw’asaze bukankanya amawanga. (Isaaya 61:2) Omulimu gw’okubuulira gye gukoma okukolebwa, n’amawanga gye gakoma okukankanyizibwa. Kati olwo biki ebinaava mu kukankanya okwogerwako mu Kaggayi 2:7?
Kaggayi 2:6 wasoma bwe wati: “Bw’ati bw’ayogera Mukama w’eggye, nti Ekyasigaddeyo omulundi gumu, ekiseera kitono, nkankanye eggulu n’ensi n’ennyanja n’olukalu.” Omutume Pawulo bwe yali ajuliza olunyiriri luno yagamba nti: “Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n’eggulu. N’ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw’ebyo ebikankanyizibwa, ng’ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa [Obwakabaka] biryoke bibeerewo.” (Abaebbulaniya 12:26, 27) Mazima ddala, enteekateeka y’ebintu eno yonna egenda kuzikirizibwa waddewo ensi empya eya Katonda.
Abantu abeesimbu bajja mu kusinza okw’amazima si lwa kuba amawanga gakankanyizibwa. Ekibaleetera okujja eri Yakuwa n’okumusinza era kye kireetera amawanga okukankanyizibwa, kwe kugamba, okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka mu nsi yonna. Okulangirira “enjiri ey’emirembe n’emirembe” kye kireetera abantu abeesimbu okusinza Katonda ow’amazima.—Okubikkulirwa 14:6, 7.
Obubaka bw’Obwakabaka bukwata ku musango Yakuwa gw’asalidde abantu ne ku kulokolebwa. (Isaaya 61:1, 2) Amawulire g’Obwakabaka bwe gabuulirwa mu nsi yonna gatuukiriza ebintu bibiri: okukankanya amawanga n’okuleeta ebintu eby’egombwebwa amawanga bitendereze Yakuwa.