OLUYIMBA 98
Ebyawandiikibwa—Byaluŋŋamizibwa Katonda
Printed Edition
1. Ekigambo kya Katonda
Kituw’e kitangaala.
Bwe tuba tukigondedde
Kitufuula ab’eddembe.
2. Katonda ye yakituwa,
Tumanye by’atwetaaza.
Kiteerez’e bintu byonna
Era kitukangavvula.
3. ’Byawandiikibwa biraga
Nti Katonda ’twagala.
Bwe tufub’o kubisoma
Tuba tetujja kuwaba.
(Laba ne Zab. 119:105; Nge. 4:13.)