OLUYIMBA 142
Okunywereza Ddala Essuubi Lyaffe
Printed Edition
1. ’Bantu baludde nga bali mu nzikiza.
Batawaana ng’abagoba empewo.
Kyeraze lwatu nti boonoonyi bonna;
Alokola banne taliiwo.
(CHORUS)
’Bwakabaka bwa Katonda bujja.
Omwana we ajja kutununula.
Ebintu ebibi binaavaawo;
’Ssuubi lino ffe lye tunywereddeko.
2. Luli kumpi olunaku lwa Katonda,
Bakome okugamba nti ‘Ng’aludde!’
Anaalokol’e bitonde ’bisinda.
Ka tumutendereze ffenna.
(CHORUS)
’Bwakabaka bwa Katonda bujja.
Omwana we ajja kutununula.
Ebintu ebibi binaavaawo;
’Ssuubi lino ffe lye tunywereddeko.
(Laba ne Zab. 27:14; Mub. 1:14; Yow. 2:1; Kaab. 1:2, 3; Bar. 8:22.)