LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g17 Na. 5 lup. 3-7
  • By’Oyinza Okukola nga Waguddewo Akatyabaga

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • By’Oyinza Okukola nga Waguddewo Akatyabaga
  • Zuukuka!—2017
  • Subheadings
  • Similar Material
  • NGA TEKANNAGWAWO​—WEETEEKETEEKE
  • NGA KAGWAWO​—BAAKO KY’OKOLAWO MU BWANGU
  • OLUVANNYUMA LW’OKUGWAWO​—WEEKUUME
  • Weetegekedde Akatyabaga?
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
  • Weeteeseteese?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Sigala nga Weetegese mu Nnaku Ezisembayo ‘ez’Ennaku ez’Enkomerero’
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Yamba Abalala Okugumiikiriza mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Zuukuka!—2017
g17 Na. 5 lup. 3-7
Abasajja nga bazikiza omuliro

OMUTWE OGULI KUNGULU

By’oyinza Okukola Nga Waguddewo Akatyabaga

“Nnawulira okubwatuka okw’amaanyi era kaabula kata ngwe wansi. Omuka gwatandika okubuna buli wamu era ofiisi yaffe eyali ku mwaliiro ogwa waggulu yakwata omuliro.”​—Joshua.

Musisi . . . omuyaga . . . abatujju . . . abaana baakubiddwa amasasi ku ssomero. Egyo gye gimu ku mitwe egitera okulabikira ku mpapula z’amawulire. Kyokka waliwo enjawulo ya maanyi wakati w’okusoma ku katyabaga n’okukosebwa akatyabaga. Biki by’oyinza okukola ng’akatyabaga tekannagwawo, nga kagwawo, era n’oluvannyuma lw’okugwawo ebiyinza okukuyamba okutaasa obulamu bwo?

NGA TEKANNAGWAWO​—WEETEEKETEEKE

TEWALI atasobola kugwibwako katyabaga. N’olwekyo, okusobola okuwonawo, kikulu okweteekateeka. Naye biki by’oyinza okukola okweteekateeka?

  • Teekateeka ebirowoozo byo. Kikkirize nti obutyabaga bugwawo era nti ggwe n’ab’omu maka go musobola okugwibwako akatyabaga. Bw’olinda akatyabaga kamale okugwawo olyoke weeteeketeeke oba mu buzibu bwa maanyi.

  • Manya ebikwata ku butyabaga obuyinza okugwa mu kitundu mw’obeera. Manya wa w’oyinza okuddukira. Fuba okumanya obanga ennyumba gy’osulamu n’ekifo mw’eri tebisobola kukuviirako kukosebwa katyabaga. Ggyawo ebintu ebiyinza okuviirako omuliro okukwata. Ssa mu nnyumba yo obuuma obukulabula ng’omuliro gugenda okukwata, era okyuse amanda gaabwo waakiri omulundi gumu oba n’okusingawo buli mwaka.

  • Terekawo ebintu by’onootandikirako. Amasannyalaze, amazzi, ssimu, n’entambula, bisobola okugootaana ng’akatyabaga kaguddewo. Bw’oba olina emmotoka, fuba okulaba nti ebaamu amafuta waakiri agatuuka mu makkati ga ttanka. Era bulijjo fuba okulaba ng’obaawo n’emmere, amazzi, n’ensawo erimu eby’okukozesa.—Laba akasanduuko akalina omutwe “Olina Bye Weetaaga?”

    Ab’omu maka nga bategeka ebintu bye bayinza okukozesa ng’akatyabaga kaguddewo

    Okweeteekateeka kikulu nnyo kubanga kisobola okukuyamba okuwonawo

  • Beera n’ennamba z’essimu eza mikwano gyo, abali okumpi n’ewala.

  • Mulowooze era mwegezeemu ku ngeri gye musobola okuddukamu akatyabaga. Mumanye awangu aw’okufulumira ennyumba yammwe. Era mulowooze ku ngeri abaana bammwe gye bayinza okweyongera mu maaso n’emisomo gyabwe. Musaleewo wa we musobola okusisinkanira nga waguddewo akatyabaga. Liyinza okuba essomero oba ekifo ekirala kyonna ekiri okumpi oba ewala ne we mubeera. Ab’obuyinza bakubiriza abantu okwegezaamu engeri gye basobola okusisinkana mu bifo ebyo.

  • Lowooza ku ngeri gy’oyinza okuyambamu abalala, gamba nga bannamukadde oba abaliko obulemu.

NGA KAGWAWO​—BAAKO KY’OKOLAWO MU BWANGU

Joshua, ayogeddwako ku ntandikwa, agamba nti: “Omuliro bwe gwakwata ekizimbe kye twalimu, abantu abasinga obungi badda mu kwekunya. Abamu badda mu kuggyako kompyuta oba okusena amazzi. Omusajja omu yagamba nti, ‘Tugira tulindako katono.’” Wadde ng’abalala baali beekunya, Joshua yaleekaana n’agamba nti: “Tulina okudduka mu kizimbe kino kati!” Abamu ku bakozi banne bwe baamulaba ng’adduka nabo baamugoberera. Joshua yagenda abagamba nti: “Munno bw’agwa muyimuse mweyongera okudduka. Ffenna tujja kuwonawo!”

  • Omuliro bwe gukwata. Weekululire wansi, ogende w’oyinza okufulumira amangu. Omukka gulemesa omuntu okulaba obulungi, era abantu abasinga okufiira mu muliro bafa kiziyiro kya mukka. Todda mu kutaasa bintu. Obudakiika obutono bw’omala nga weekunya buyinza okukuviirako okufiirwa obulamu bwo.

  • Musisi bw’aba ayita. Weekweke wansi w’entebe oba emmeeza eŋŋumu oba mu nsonda y’ennyumba. Emirundi mingi musisi bw’amala okuyita wabaawo musisi omulala addamu n’ayita. N’olwekyo musisi bw’amala okuyita fuluma ekizimbe era ove awali ebizimbe amangu ddala nga bwe kisoboka. Oluusi abadduukirize balwawo okutuuka, n’olwekyo bw’oba osobola baako abantu b’otaasa.

  • Sunami. Singa amazzi g’ennyanja geesika ne geeyongerayo ebuziba, ddukira mu kifo ekigulumivu. Amayengo amangi era amanene gaba ganaatera okujja.

  • Omuyaga. Dduka mu bwangu ogende mu kifo w’osobola okwewogoma.

  • Amataba. Va mu bizimbe ebyanjaddemu amazzi. Weewale okutambulira oba okuvugira emmotoka mu mazzi aganjadde. Amazzi ng’ago gasobola okubaamu kazambi n’ebintu ebisobola okukutuusaako obulabe, era gasobola okukweka ebinnya ne waya z’amasannyalaze eziba zigudde.

  • Obadde okimanyi? Ffuuti bbiri ez’amazzi zisobola okukuluggusa emmotoka. Abantu abasinga okufiira mu mataba bafa nga bagezaako okuyisa emmotoka zaabwe mu mazzi aganjadde.

  • Ab’obuyinza bwe balagira abantu okuva mu kitundu, kiveemu mangu! Tegeeza mikwano gyo w’oli baleme kussa bulamu bwabwe mu kabi nga bakunoonya.

    Ab’omu maka nga bawuliriza leediyo

    Ab’obuyinza bwe balagira abantu okuva mu kitundu, kiveemu mu bwangu!

  • Obadde okimanyi? Okuweereza abalala mmesegi emirundi mingi kisinga okubakubira essimu.

  • Ab’obuyinza bwe balagira abantu okusigala mu mayumba gaabwe oba okuyingira munda mu nnyumba, kikole. Singa empewo ebaamu omukka ogw’obutwa oba singa wabaawo akabenje k’amaanyi ga nukiriya sigala munda, ggala amaddirisa n’enzigi, era ziba buli kituli ekiyingiza empewo. Akatyabaga k’amaanyi ga nukiriya bwe kagwawo kka mu kifo ekisingayo okuba ekya wansi mu kizimbe oleme kukosebwa nnyo maanyi ago. Wuliriza amawulire ku ttivi oba ku leediyo. Sigala munda okutuusa ng’ab’obuyinza bategeezezza abantu nti obuzibu buweddewo.

OLUVANNYUMA LW’OKUGWAWO​—WEEKUUME

Okusobola okwekuuma endwadde n’ebintu eby’omutawaana, oyinza okukola ebintu bino wammanga:

  • Bwe kiba kisoboka, beera mu mikwano gyo, mu kifo ky’okubeera mu nkambi.

  • Ekifo ky’obeeramu kikuume nga kiyonjo.

  • Yambala ebintu ebikuuma omubiri gwo bw’oba oyoolawo ebintu ebyonooneddwa. Bwe kiba kisoboka yambala giraavu, engatto eŋŋumu, enkoofiira eŋŋumu, n’akaziyiza enfuufu okuyingira mu nnyindo. Weegendereze waya z’amasannyalaze n’omuliro ogutannazikira.

  • Kola kyonna ekisoboka okunywerera ku nteekateeka yo eya buli lunaku. Kirungi abaana bo okukiraba nti teweeraliikirira era nti olina essuubi. Bakubirize okweyongera okusoma ebitabo byabwe, zannyako nabo, era mube n’okusinza kw’amaka. Tomalira birowoozo ku mawulire agakwata ku katyabaga akabakosezza, era ennaku yo togimalira ku ba mu maka go. Kkiriza abalala bakuyambe era yamba abalala.

    Ab’omu maka nga bakyagenda mu maaso n’enteekateeka yaabwe ey’eby’omwoyo oluvannyuma lw’akatyabaga okugwawo

    Oluvannyuma lw’akatyabaga kola kyonna ekisoboka okunywerera ku nteekateeka yo

  • Kikkirize nti akatyabaga bwe kagwawo wabaawo okufiirwa. Gavumenti n’ebitongole ebidduukirira abo abagwiiriddwako akatyabaga essira birissa ku kuwonyaawo bantu, so si kuzzaawo buli kimu kye baba bafiiriddwa. Okusobola okuba abalamu twetaaga amazzi amayonjo, emmere, engoye, n’aw’okusula.—1 Timoseewo 6:7, 8.

  • Kimanye nti enneewulira zo zijja kukosebwa era funa obuyambi. Kino kitera okubaawo nga wayise ekiseera kitono ng’akatyabaga kaguddewo. Oyinza okweraliikirira, okwennyamira, okunyiiganyiiga, obutalowooza bulungi, obutakola bulungi mirimu, oba obutafuna tulo. Yogerako ne mikwano gyo abakufaako.

Wadde nga Joshua yawona okufiira mu muliro, bangi ku bakozi banne baagufiiramu. Abakadde mu kibiina awamu n’abasawo b’obwongo baamuyamba nnyo. Joshua agamba nti: “Bankakasa nti kyali kya bulijjo okuwulira ennaku gye nnalina era nti ekiseera kyandituuse n’eggwaawo. Oluvannyuma lw’emyezi mukaaga, nnatandika okutereera. Naye waliwo ebizibu ebimu bye nkyagumidde n’okutuusa kati.”

Akatyabaga bwe kagwawo, tuwulira bubi nnyo. Abamu batuuka n’okunenya Katonda olw’ekyo ekiba kiguddewo. Okufaananako Joshua, abamu batandika okwesalira omusango. Joshua agamba nti: “Oluusi mpulira nga nnandikoze ekisingawo okuyamba abantu abawerako okuwonawo. Naye kinzizaamu amaanyi okukimanya nti mu kiseera ekitali kya wala Katonda ajja kumalawo ebizibu byonna ebiriwo mu nsi. Nga bwe nnindirira ekiseera ekyo, nneebaza Katonda olw’obulamu bwe nnina era nkola kyonna ekisoboka okubukuuma.”​—Okubikkulirwa 21:4, 5.a

a Okumanya ebisingawo ku ebyo Katonda by’asuubizza okukola mu biseera eby’omu maaso n’ensonga lwaki akyaleseewo okubonaabona, laba akatabo Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli? Osobola okukawanula ku www.pr418.com/lg.

OLINA BYE WEETAAGA?

Abadduukirize

Ebitongole ebikola ku butyabaga bikubiriza abantu okuba n’ebintu bye basobola okukozesa nga waguddewo akatyabaga. Kya lwatu nti ebintu ebyetaagisa bisinziira ku wa w’oli n’embeera yo. Osobola okwebuuza ku bitongole ng’ebyo okumanya biki ebyetaagisa mu kitundu kyo.

Okutwaliza awamu buli muntu akubirizibwa okubeerawo ne litta nga 11 ez’amazzi n’emmere eteyonooneka mangu era eteetaaga kufumba, gy’asobola okuliirako ennaku ssatu.

Abantu abamu babeera n’ensawo erimu ebintu bino wammanga:b

  • Bulangiti, olugoye olulala, n’engatto eŋŋumu

  • Ttooki, leediyo (ey’amanda oba etakozesa manda), n’amanda amalala

  • Akasanduuko akabaamu ebikozesebwa mu bujjanjabi obusookerwako ne firimbi gy’osobola okufuuwa nga weetaaga obuyambi

  • Essowaani n’ekikopo, akasumulula emikebe, akuuma akaliko magalo makansi n’ebiringa ebyo, n’ebibiriiti ebitayingiramu mazzi

  • Obubikka ennyindo, seroteepu, n’ettundubaali

  • Obusenya, sabbuuni, ttawulo, n’ebikookooma ebizungu

  • Ebintu ebikozesebwa okulabirira abaana, abazeeyi, n’abateesobola

  • Omukebe gw’eddagala ogutasobola kuyitamu mazzi, akapapula okuli obulagirizi ku nkozesa y’eddagala n’ebbaluwa z’omusawo, oba ebiwandiiko ebirala eby’omuwendo

  • Amasimu ga poliisi n’ag’ab’eŋŋanda zo, n’olukalala lw’ebifo we muyinza okusisinkanira, ne mmaapu y’ekitundu kye mulimu

  • Kaadi za bbanka ne ssente enkalu

  • Ebisumuluzo by’ennyumba n’eby’emmotoka ebirala

  • Olupapula, ekkalaamu, ebitabo, n’ebintu abaana bye bayinza okuzannyisa

  • Bayibuli

b Tekiri nti buli kimenyeddwa wano kikola mu mbeera yo oba mu nsi mw’obeera. Kiyinza n’okukwetaagisa okuba n’ebintu ebirala ebitamenyeddwa wano.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share