OLUYIMBA 94
Tusiima Ekigambo kya Katonda
Printed Edition
	- 1. Yakuwa Kitaffe, nga twesiimye nnyo - ’Kuba nti tulina Ekigambo kyo! - Ebikirimu byonna, - ggwe wabiruŋŋamya. - Kituyigiriza; kituluŋŋamya. 
- 2. Kirina amaanyi mangi nnyo ddala. - Kitutuukira ddala ku mutima. - Kitwoleka kye tuli - ne bye twettanira. - Kiwa amagezi; kituwabula. 
- 3. Byonna bye tusoma mu Kigambo kyo - Bya muganyulo nnyo; bitukwatako. - Tuyambe bye tuyiga - tubikolereko. - Tusiima nnyo ddala Ekigambo kyo. 
(Laba ne Zab. 19:9; 119:16, 162; 2 Tim. 3:16; Yak. 5:17; 2 Peet. 1:21.)