OLUYIMBA 98
Ebyawandiikibwa—Byaluŋŋamizibwa Katonda
Printed Edition
	- 1. Ekigambo kya Katonda - Kituw’e kitangaala. - Bwe tuba tukigondedde - Kitufuula ab’eddembe. 
- 2. Katonda ye yakituwa, - Tumanye by’atwetaaza. - Kiteerez’e bintu byonna - Era kitukangavvula. 
- 3. ’Byawandiikibwa biraga - Nti Katonda ’twagala. - Bwe tufub’o kubisoma - Tuba tetujja kuwaba. 
(Laba ne Zab. 119:105; Nge. 4:13.)