OLUYIMBA 139
Weerabe nga Byonna Bizziddwa Buggya
- 1. Weerabe ggwe, wamu nange, - Nga ffenna tutuuse mu nsi empya. - Lowoozaamu bwe kiriba, - Nga tuli mu ddembe lyennyini. - Ababi nga bavuddewo; - ’Mirembe gyokka gye giriwo; - Ng’olwo byonna mu nsi bizziddwa buggya. - Tunaatendereza - Yakuwa Katonda: - (CHORUS) - “Ai Yakuwa, ffe tukwebaza; - Ebintu byonn’o bizzizza buggya! - Olw’essanyu kyetuva tukuyimbira; - Ogwanidde ’ttendo lyonna n’ekitiibwa.” 
- 2. Weerabe ggwe, wamu nange; - Weesunge nnyo ddala ensi empya. - Teribaayo kintu kyonna - Kikanga oba ekitiisa. - Bye yagamba bye biriwo; - Abisse ku bantu weema ye. - Anaazuukusa ’beebase ’magombe; - Banaatwegattako - ’kumutendereza: - (CHORUS) - “Ai Yakuwa, ffe tukwebaza; - Ebintu byonn’o bizzizza buggya! - Olw’essanyu kyetuva tukuyimbira; - Ogwanidde ’ttendo lyonna n’ekitiibwa.” 
(Laba ne Zab. 37:10, 11; Is. 65:17; Yok. 5:28; 2 Peet. 3:13.)