OLUYIMBA 76
Owulira Essanyu Lingi
- 1. Owulir’e ssanyu - ng’okoze ky’osobola - Okubuulira ’bantu - aba buli ngeri. - Ky’obeera okoze - kiba kirungi ddala. - Awo Katonda naye - n’akola ogugwe. - (CHORUS) - Tufuna essanyu lingi - mu kuweereza Katonda. - Tujja kumutendereza - emirembe gyonna. 
- 2. Owulir’e ssanyu - by’oyogedde bwe biba - Bituuse ku mutima - gw’oyo gw’obuulira. - Abamu bagaana - okutuwuliriza. - Naye ffe tweyongera - kubuulira bonna. - (CHORUS) - Tufuna essanyu lingi - mu kuweereza Katonda. - Tujja kumutendereza - emirembe gyonna. 
- 3. Owulir’e ssanyu - buli lw’ojjukira nti - Bwe tuba tubuulira - Katonda ’tuyamba. - Bwe tuba tunoonya - abo abagwanira - Twoleka obuvumu; - tuba banyiikivu. - (CHORUS) - Tufuna essanyu lingi - mu kuweereza Katonda. - Tujja kumutendereza - emirembe gyonna. 
(Laba ne Bik. 13:48; 1 Bas. 2:4; 1 Tim. 1:11.)