LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 2/1 lup. 10-11
  • Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Byange mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Byange mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Similar Material
  • Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Bye Nnali Nneebuuza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ebibuuzo Bisatu Byakyusa Obulamu Bwange
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Enkolagana Yange ne Taata Eddawo
    Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 2/1 lup. 10-11
Ernest Loedi ne mukyala we Rose, nga babuulira omukyala
Ernest Loedi ne mukyala we Rose, nga babuulira omukyala

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

Bayibuli Yaddamu Ebibuuzo Byange mu Ngeri Etegeerekeka Obulungi

Byayogerwa Ernest Loedi

  • NNAZAALIBWA: 1948

  • ENSI: HUNGARY

  • EBYAFAAYO: NNALI NNOONYA EBY’OKUDDAMU MU BIBUUZO BYANGE

Ernest Loedi ng’akyali muvubuka
Ernest Loedi ng’akyali muvubuka

OBULAMU BWANGE BWE BWALI:

Nnazaalibwa mu kibuga Székesfehérvár, eky’omu Hungary ekimaze emyaka egisukka mu 1,000. Nkyajjukira engeri ekibuga ekyo gye kyali kyonooneddwamu mu ssematalo ow’okubiri.

Bwe nnali nkyali muto nnabeeranga ne bajjajjange abazaala maama. Mbaagala nnyo, naddala jjajja omukazi ayitibwa Elisabeth kubanga yannyamba okukkiririza mu Katonda. Okuva nga ndi wa myaka esatu, buli lwaggulo twaddiŋŋananga essaala bangi gye bayita essaala ya Mukama waffe. Wadde kyali kityo, nnategeera amakulu g’essaala eyo nga nnaatera okuweza emyaka 30.

Bajjajja be bandabiriranga nga nkyali muto kubanga bazadde bange baali bakola misana na kiro, basobole okufuna ssente ez’okugula ennyumba. Naye buli Lwamukaaga olw’okubiri mu mwezi, ab’omu maka ffenna twaliiranga wamu ekijjulo era nneesunganga nnyo ekiseera ekyo.

Mu 1958, bazadde bange baagula ennyumba era ne ntandika okubeera nabo. Ekyo kyansanyusa nnyo! Eky’ennaku, waayitawo emyezi mukaaga gyokka taata n’afa kookolo.

Nzijukira lumu nnagamba nti: “Katonda, nnakusabanga owonye taata kubanga mmwetaaga. Lwaki tewaddamu ssaala zange?” Nnali njagala nnyo okumanya taata gy’ali. Nneebuuzanga nti: ‘Yagenda mu ggulu? Taliddamu kuba mulamu?’ Bwe nnalabanga abaana abalina bakitaabwe, nnabakwatirwanga obuggya.

Okumala emyaka mingi, nnagendanga ku malaalo ga taata kumpi buli lunaku. Nnafukamiranga okumpi n’amalaalo ago ne nsaba nti: “Katonda, nnyamba mmanye taata gy’ali.” Ate era nnamusabanga annyambe okutegeera ekigendererwa ky’obulamu.

Bwe nnaweza emyaka 13, nnasalawo okuyiga Olugirimaani. Nnalowooza nti bwe nnandisomye ebitabo ebingi ebiri mu lulimi olwo, nnandifunye eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza. Mu 1967, nnatandika okusomera mu kibuga Jena, ekyali mu East Germany. Nnasomanga nnyo ebitabo by’abafirosoofo Abagirimaani, naddala ebyo ebikwata ku kigendererwa ky’obulamu. Wadde nga byannyumiranga okusoma, saafuna bya kuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza. Nneeyongera okusaba Katonda annyambe okufuna eby’okuddamu.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Mu 1970, nnaddayo e Hungary era eyo gye nnasisinkana Rose oluvannyuma eyafuuka mukyala wange. Mu kiseera ekyo, Hungary yali wansi w’enfuga ya nnaakalyako ani. Bwe twali twakafumbiriganwa, nze ne Rose twaddukira mu Austria. Twali twagala kugenda kubeera ne kojja wange mu kibuga Sydney eky’omu Australia.

Bwe twatuuka mu Austria nnafuna omulimu. Lumu, mukozi munnange yaŋŋamba nti Bayibuli erimu eby’okuddamu mu bibuuzo byonna bye nnali nneebuuza era yampa ebitabo ebiwerako ebinnyonnyola Bayibuli. Nnabisomerawo, era olw’okuba nnali njagala okumanya ebisingawo, nnawandiikira Abajulirwa ba Yakuwa abaakuba ebitabo ebyo ne mbasaba bampeereze ebitabo ebirala.

Ku lunaku lwe twaweza omwaka gumu mu bufumbo, waliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyatukyalira. Yali aleese ebitabo bye nnasaba era yaŋŋamba nti asobola okunjigiriza Bayibuli. Nnakkiriza era yansomesanga emirundi ebiri buli wiiki. Olw’okuba nnali njagala nnyo okuyiga, twamalanga essaawa nnya nga tusoma!

Ebyo Abajulirwa ba Yakuwa bye banjigiriza mu Bayibuli byansanyusa nnyo. Bwe bandaga erinnya lya Katonda, Yakuwa, mu Bayibuli yange ey’Oluhangale, kyanneewuunyisa nnyo. Mu myaka 27 gye nnali mmaze nga ŋŋenda mu kkereziya, nnali siwulirangako nga boogera ku linnya lya Katonda wadde omulundi ogumu bwe guti. Bayibuli yaddamu ebibuuzo byange mu ngeri etegeerekeka obulungi. Ng’ekyokulabirako, nnayiga nti abafu tebaliiko kye bamanyi, era nti bali ng’abeebase. (Omubuulizi 9:5, 10; Yokaana 11:11-15) Ate era nnayiga ebikwata ku nsi empya omutaliba “kufa nate.” (Okubikkulirwa 21:3, 4) Nsuubira okuddamu okulaba taata kubanga mu nsi empya, ‘wajja kubaayo okuzuukira.’​—Ebikolwa 24:15.

Oluvannyuma mukyala wange Rose naye yatandika okuyiga Bayibuli. Twayiga mangu, era ekitabo kye twali tukozesa okuyiga Bayibuli twakimalako mu myezi ebiri gyokka! Twagendanga mu nkuŋŋaana zonna ezaabanga mu Kizimbe ky’Obwakabaka eky’Abajulirwa ba Yakuwa. Twasanyuka nnyo olw’okwagala okungi Abajulirwa ba Yakuwa kwe baatulaga, engeri gye baatuyambamu, n’obumu bwe balina.​—Yokaana 13:34, 35.

Mu 1976, nze ne mukyala wange twakkirizibwa okuyingira mu Australia. Twanoonya Abajulirwa ba Yakuwa era ne tubazuula. Baatwaniriza bulungi era mu 1978, nze ne mukyala wange twabatizibwa ne tufuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Ernest Loedi nga bw’afaanana leero
Ernest Loedi nga bw’afaanana leero

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Nnafuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali mmaze ebbanga ddene nga nneebuuza. Olw’okuba nnina enkolagana ennungi ne Katonda, mmutwala nga kitange asingayo obulungi. (Yakobo 4:8) Ate era nnina essubi nti mu nsi empya, nja kuddamu okulaba kitange eyafa.​—Yokaana 5:28, 29.

Mu 1989, nze ne mukyala wange twasalawo okuddayo e Hungary tusobole okubuulirako ab’eŋŋanda zaffe, mikwano gyaffe, n’abantu abalala ku ebyo bye twali tuyize mu Bayibuli. Tusobodde okuyamba abantu bangi nnyo okuyiga Bayibuli. Abantu abasukka mu 70 nga mw’otwalidde ne maama, baafuuka Abajulirwa ba Yakuwa.

Nnamala emyaka 17 nga nsaba Katonda annyambe okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye nnali nneebuuza. Kati wayiseewo emyaka emirala 39 bukya nfuna eby’okuddamu mu bibuuzo byange, era nneebaza Kitange ow’omu ggulu olw’okuddamu essaala ze nnasabanga nga nkyali muto.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share