OLUYIMBA 125
“Balina Essanyu Abo Abasaasira Abalala!”
Printed Edition
	- 1. Katonda waffe wa kisa; - ’Kisa kye kingi nnyo ddala. - Abakola eby’ekisa - Abafaako; abaagala. - Aboonoonyi bwe beenenya - ’Ssaala zaabwe ziwulirwa. - Asaasira abanafu; - Amanyi nti tuli nfuufu. 
- 2. Bwe tumenya ’mateeka ge, - Tusaba atusonyiwe. - Naye nga tetunnasaba, - Tulina okujjukira - Nti tulina okuba nga - Twasonyiye abalala. - Bwe tuba tukoze tutyo, - Emirembe tuba nagyo. 
- 3. Bwe tubaako bye tugaba, - ’Kisa kye tuba tulaga. - Tetwefuuyira kkondeere - Lw’ebyo bye tuba tugabye. - Byonna Yakuwa ’biraba; - Y’ajja okutusasula. - Ba ssanyu nnyo ab’ekisa; - Basiimibwa nnyo Katonda. 
(Laba ne Mat. 6:2-4, 12-14.)