LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g16 Na. 6 lup. 7
  • Obuguwa bwa Mussel

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Obuguwa bwa Mussel
  • Zuukuka!—2016
  • Similar Material
  • Ebirimu
    Zuukuka!—2016
  • Ekibala Ekya Bbulu Ekiyitibwa Pollia
    Zuukuka!—2017
  • Agayanja
    Zuukuka!—2023
Zuukuka!—2016
g16 Na. 6 lup. 7
mussel

KYAJJAWO KYOKKA?

Obuguwa bwa Mussel

OKUFAANANAKO ebiramu eby’omu nnyanja ebiyitibwa barnacle, ebiramu eby’omu nnyanja ebiyitibwa mussel byekwata ku njazi, ebiti, ne wansi ku mmeeri. Kyokka obutafaananako barnacle, ezeerippa ku kintu, ebiramu ebiyitibwa mussel byekwata ku kintu nga bikozesa obuguwa. Obuguwa obwo buyamba mussel okwanguyirwa okufuna eby’okulya n’okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala. Kyokka obuguwa obwo bulabika ng’obunafu. Kati olwo obuguwa obwo busobola butya okunyweza mussel n’etetwalibwa mayengo ga nnyanja?

Lowooza ku kino: Obuguwa bwa mussel bugumu oludda olumu ate oludda olulala bugonvu era bunaanuuka. Bannassaayansi bakizudde nti okuba nti ebitundu 80 ku buli kikumi eby’obuguwa bwa mussel bigumu ate ng’ebitundu 20 ku buli kikumi bigonda kiyamba obuguwa obwo okuba obunywevu ennyo. Eyo ye nsonga lwaki obuguwa obwo busobola okunyweza mussel n’etetwalibwa mayengo ga nnyanja.

Profesa Guy Genin yagamba nti: “Okuba nti mussel zisobola okunywerera ku kintu ne zitatwalibwa mayengo ga nnyanja kiva ku kuba nti obuguwa bwazo ekitundu ekimu kigonvu ate ng’ekirala kikaluba.” Bannassaayansi bagamba nti singa bakoppa engeri obuguwa bwa mussel gye bwakulamu kisobola okubayamba mu kukwasa ebintu ku bizimbe oba ku maato, era kisobola okubayamba mu kuyunga amagumba, ne mu kuziba ebiwundu. Profesa Herbert Waite, ow’omu yunivasite y’e California mu Santa Barbara, Amerika yagamba nti: “Obutonde bwewuunyisa era tulina bingi bye tusobola okubuyigirako.”

Olowooza otya? Ebiramu eby’omu nnyanja ebiyitibwa mussel byajjawo byokka oba byatondebwa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share