DDALA ENSI ENEESAANAWO?
EBIBIRA
BANNASSAAYANSI bageraageranya ebibira ku mawuggwe g’omuntu. Lwaki? Okufaananako amawuggwe ebibira bisobola okusengejja empewo. Emiti gissa omukka oguyitibwa carbon dioxide ogusobola okuba ogw’obulabe gye tuli. Ate era emiti gifulumya omukka oguyitibwa oxygen gwe twetaaga ennyo mu kussa. Ebitundu 80 ku buli kikumi eby’ebimera n’ebisolo eby’oku lukalu bibeera mu bibira. Mu butuufu, awatali bibira tetusobola kubeerawo.
Ekituuse ku Bibira
Buli mwaka, emiti egiri eyo mu buwumbi n’obuwumbi gitemebwa era ng’okusingira ddala abantu bagitema basobole okufuna aw’okulimira. Okuva mu myaka gya 1940, ebibira ekitundu kimu kya kubiri bisaanyiziddwawo.
Ekibira bwe kisaanyizibwawo, ensolo n’ebimera ebibeeramu nabyo bisaanawo.
Ensi Yatondebwa nga ya Kubeerawo
Ebitundu ebimu ebyali byatemwamu ebibira, oluvannyuma lw’ekiseera bisobodde okuddamu okubaamu ebibira era ng’ebimu binene n’okusingawo. Bannassaayansi gye buvuddeko awo beewuunya okukiraba nti mu bitundu ebimu ebibira gye byatemebwa, emiti gyaddamu mangu okukula ne gikola ebibira ebiggumidde. Lowooza ku byokulabirako bino:
Bannassaayansi baakola okunoonyereza mu bitundu ebyalimu ebibira abantu ne babisaanyaawo okusobola okulimirawo, kyokka oluvannyuma ne balekera awo okulimirawo. Okunoonyereza okwo okwakolebwa mu bitundu 2,200, mu Amerika ow’Ebukiikaddyo ne mu bugwanjuba bwa Afirika, kwalaga nti mu bbanga lya myaka kkumi gyokka, ebibira bisobola okuddamu ne bikula mu bitundu mwe byali byatemebwa.
Magazini emu eyitibwa Science yawandiika ku kunoonyereza okwakolebwa era nga kulaga nti mu myaka nga 100, ebibira ebyatemebwa bisobola okuddawo ne bikula nga birimu emiti egy’enjawulo era nga n’ebiramu ebirala ebibeera mu bibira nabyo mwebiri.
Bannassaayansi mu Brazil gye buvuddeko awo baagerageeranya sipiidi ekibira ekyezzaawo kyokka kwe kikulira, n’eyo ebibira abantu bye basimba okuzzaawo kwe bikulira.
Ng’eyogera ku kunoonyereza okwo, magazini eyitibwa National Geographic yagamba nti: “Bannassaayansi abo baali basanyufu nnyo okukizuula nti tekyetaagisa na kusimba miti.” Mu myaka etaano gyokka, ebifo bye baagezesa nga tebasimbyemu miti byali bimezeemu “emiti egy’enjawulo egisangibwa mu bitundu ebyo.”
Abantu Kye Bakolawo Okugonjoola Ekizibu
Okwetooloola ensi, abantu bafubye okukuuma ebibira ebikyasigaddewo era n’okuzzaawo ebyo ebyatemebwa. Okusinziira ku Kibiina ky’Amawanga Amagatte, “ekyo kivuddemu okutemebwa kw’emiti okukendeera ebitundu ebisukka 50 ku buli kikumi” mu myaka 25 egiyise.
Kyokka wadde waliwo okufuba ng’okwo, ekyo tekimala kutaasa bibira. Lipooti eyafulumizibwa ekitongole ekiyitibwa Global Forest Watch egamba nti: “Mu myaka egiyise abantu beeyongedde okutema ebibira mu bitundu ebitali bimu eby’ensi.”
Amakampuni agatema emiti nga tegalina lukusa lwa gavumenti gakola ssente nnyingi nnyo buli mwaka, era ekyo kye kisinze okuviirako ebibira okweyongera okusaanyizibwawo.
Abakuuma ekibira batemamu emiti emikulu era ne bakola enteekateeka okusimba emiti emirala
Ebituwa Essuubi—Bayibuli ky’Egamba
“Yakuwaa Katonda n’ameza ku ttaka buli muti ogulabika obulungi era omulungi okulya.”—Olubereberye 2:9.
Katonda eyatonda ebibira yabikola nga birina obusobozi okwezzaawo abantu basobole okweyongera okubiganyulwamu. Ayagala okukuuma ebibira n’ebintu byonna ebiramu ebibirimu.
Bayibuli eraga nti Katonda tajja kuleka bantu kweyongera kwonoona nsi n’ebintu ebiramu ebigiriko. Laba ekitundu “Katonda Asuubiza nti Ensi Tejja Kusaanawo,” ku lupapula 15.
a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.—Zabbuli 83:18.