ESSOMO 3
Okukozesa Ebibuuzo
Matayo 16:13-16
MU BUFUNZE: Buuza ebibuuzo ebinaasikiriza abakuwuliriza, ebinaabaagazisa okwongera okuwuliriza, ebinaabayamba okugoberera by’oyogera, era ebinaakuyamba okuggumiza ensonga enkulu.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Baleetere okwagala okweyongera okukuwuliriza. Buuza ebibuuzo ebireetera omuntu okulowooza ku ky’okuddamu oba okwagala okumanya eky’okuddamu.
Bayambe okugoberera ensonga. Buuza ebibuuzo ebinaayamba abakuwuliriza okugoberera ng’onnyonnyola ensonga gy’obayigiriza basobole okugitegeera obulungi.
Ggumiza ensonga enkulu. Buuza ekibuuzo ekinaakuyamba okwanjula ensonga enkulu. Ng’omaze okwogera ku nsonga enkulu oba ng’ofundikira emboozi yo, buuza ebibuuzo ebinaayamba abakuwuliriza okujjukira bye bayize.