ESSOMO 44
Okukozesa Obulungi Ebibuuzo
OLW’OKUBA ebibuuzo byetaagisa omuntu okubaako ky’addamu oba kye yeddamu mu mutima gwe, bimuyamba okussaayo omwoyo ku biba byogerwa. Ebibuuzo bisobola okukuyamba okutandika okunyumya n’omuntu. Ng’omwogezi era omuyigiriza, oyinza okukozesa ebibuuzo okuleetera omuntu okwesunga ky’ogenda okwogerako, okumuyamba okufumiitiriza ku ky’oyogerako, oba okuggumiza by’oyogera. Bw’okozesa obulungi ebibuuzo, oyamba abalala okufumiitiriza ku ekyo ekiba kyogerwako mu kifo ky’okuwuliriza obuwuliriza. Osaanidde okuba n’ekiruubirirwa, era obuuze ebibuuzo mu ngeri eneekusobozesa okukituukiriza.
Okukubiriza Abalala Okubaako kye Boogera. Bw’oba oli mu buweereza bw’ennimiro, fuba okulaba nti okubiriza abantu okuwa endowooza zaabwe.
Abajulirwa bangi batandika okukubaganya ebirowoozo n’abantu nga bababuuza, “Wali weebuuzizzaako . . . ?” Bwe babuuza ekibuuzo ekiri mu birowoozo by’abantu, awatali kubuusabuusa banyumirwa nnyo obuweereza bw’ennimiro. Ne bwe kiba nti ekyo ky’obuuzizza kippya eri omuntu, kiyinza okumwagazisa okumanya ebisingawo. Oyinza okutandika emboozi ng’obuuza ebibuuzo nga, “Olowooza otya . . . ?,” “Owulira otya . . . ?,” oba “Okikkiriza nti . . . ?”
Omubuulizi w’enjiri Firipo bwe yasisinkana omukungu Omwesiyopiya eyali asoma obunnabbi bwa Isaaya, yabuuza omukungu oyo nti: “Obitegedde by’osoma?” (Bik. 8:30) Ekibuuzo kino kyasobozesa Firipo okunnyonnyola omukungu oyo amazima agakwata ku Yesu Kristo. Nga bakozesa ebibuuzo ebifaananako bwe bityo, Abajulirwa ab’omu kiseera kyaffe bazudde abantu abaagalira ddala okutegeera amazima g’omu Baibuli.
Abantu bangi bwe baweebwa akakisa okuwa endowooza zaabwe, baba beetegefu okuwuliriza ebyo naawe by’oyogera. Bw’omala okubuuza ekibuuzo, wuliriza bulungi. Laga ekisa mu kifo ky’okunoonya ensobi mu ebyo omuntu by’aba azzeemu. Musiime mu bwesimbu. Omuwandiisi omu bwe ‘yaddamu mu ngeri ey’amagezi,’ Yesu yamusiima ng’agamba nti: “Toli wala [w’]obwakabaka bwa Katonda.” (Mak. 12:34) Ne bw’oba nga tokkiriziganya na muntu oyo, mwebaze olw’okuwa endowooza ye. By’aba ayogedde biyinza okukuyamba okumanya engeri ey’okumubuuliramu amazima g’omu Baibuli.
Okwanjula Ensonga Enkulu. Bw’oba oyogera eri abantu abawerako oba n’omuntu omu, buuza ebibuuzo ebikuyamba okuggyayo ensonga enkulu. Kakasa nti ebibuuzo by’obuuza bikwata ku nsonga ezisikiriza abakuwuliriza. Oyinza n’okubuuza ebibuuzo ebireetera omuntu okwagala okumanya ebisingawo. Singa osiriikiriramu ng’omaze okubuuza ekibuuzo, abakuwuliriza bajja kwesunga by’oba ogenda okuddako okwogera.
Waliwo omulundi nnabbi Mikka lwe yakozesa ebibuuzo ebiwerako. Oluvannyuma lw’okubuuza ekyo Katonda kye yeetaagisa abamusinza, nnabbi oyo yabuuza ebibuuzo ebirala bina, nga buli kimu kyetaagisa okuddibwamu. Ebibuuzo ebyo byonna biteekateeka abasomi okutegeera obulungi eky’okuddamu Mikka kye yawa ng’afundikira. (Mi. 6:6-8) Oyinza okukola bw’otyo ng’oyigiriza? Kigezeeko.
Okunnyonnyola Obulungi Ensonga. Ebibuuzo biyinza okukozesebwa okuyamba abalala okutegeera obulungi ensonga eba ennyonnyolwa. Ekyo Yakuwa kye yakola bwe yali alangirira obubaka obw’amaanyi eri Isiraeri, nga bwe kiragibwa mu Malaki 1:2-10. Okusooka yabagamba: “Nnabaagala.” Olw’okuba tebaasiima kwagala okwo, yababuuza: “Esawu teyali muganda wa Yakobo?” Oluvannyuma, Yakuwa yakyoleka nti ekyatuuka ku bantu b’omu Edomu bwali bukakafu obulaga nti yali tabasiima olw’ebikolwa byabwe ebibi. Oluvannyuma lw’ekyo, yakozesa ebyokulabirako n’ebibuuzo okukiraga obulungi nti Abaisiraeri baalemererwa okusiima okwagala kwe yabalaga. Ebibuuzo ebimu bye yabuuza oyinza n’okulowooza nti bakabona abatali beesigwa be baali babibuuza. Ebibuuzo ebirala Yakuwa yabibuuza bakabona. Ebigambo bye yayogera bituuka ku mutima, bireetera omuntu okussaayo omwoyo, bimatiza era obubaka obubirimu tebusobola kwerabirwa.
Aboogezi abamu bakozesa ebibuuzo mu ngeri eyo. Wadde abakuwuliriza baba tebasuubirwa kubaako kye baddamu, bakwatibwako ne baba ng’abenyigidde mu mboozi.
Bwe tuba tuyigiriza abantu Baibuli, tuwa omuyizi omukisa okubaako ky’ayogera. Mu butuufu, kiba kirungi nnyo singa omuyizi akuddamu ng’akozesa ebigambo bye so si okusoma obusomi eby’okuddamu ebiri mu kitabo kye. Mu ddoboozi ery’ekisa, kozesa ebibuuzo ebirala ebinaakuyamba okumunnyonnyola obulungi ensonga. Bwe kituuka ku nsonga enkulu, mukubirize okukozesa Baibuli ng’addamu. Oyinza n’okumubuuza: “Kino kikwatagana kitya n’ensonga eyo gye tuva okuyiga? Lwaki ensonga eyo nkulu? Ekwata etya ku bulamu bwaffe?” Enkola ng’eyo eba nnungi nnyo okusinga okuwa endowooza yo oba okunnyonnyola obunnyonnyozi omuntu ekigenda ewala. Enkola eno, era eyamba omuyizi okusinza Katonda ng’akozesa ‘amagezi.’—Bar. 12:1.
Singa omuyizi tategeera nsonga emu, beera mugumiikiriza. Ayinza okuba ng’agezaako okugerageranya by’omugambye n’ebyo by’abadde amanyi okumala emyaka mingi. Kiyinza okuba ekirungi okwogera ku nsonga eyo mu ngeri endala. Kyokka, emirundi egimu kyetaagisa okunnyonnyola mu ngeri ennyangu. Kozesa nnyo Ebyawandiikibwa n’ebyokulabirako. Era kozesa n’ebibuuzo ebyangu ebireetera omuntu okulowooza ku ebyo by’oba omutegeeza.
Okusobola Okutuuka ku Mutima. Abantu bwe baba baddamu ebibuuzo, tebatera kwoleka nneewulira yaabwe. Bayinza okukuddamu mu ngeri gye balowooza nti eneekusanyusa. Kyetaagisa okukozesa amagezi n’okumanya ekiri mu mitima gyabwe. (Nge. 20:5) Nga Yesu bwe yakola, oyinza okubuuza: “Okikkiriza ekyo?”—Yok. 11:26.
Bangi ku bayigirizwa ba Yesu bwe baanyiiga olw’ebyo bye yali ayogedde era ne bamwabulira, Yesu yabuuza abatume be ekibuuzo kino ekyabaleetera okwoleka endowooza yaabwe: “Nammwe mwagala okugenda? Peetero yayoleka enneewulira yaabwe, ng’agamba: “Mukama waffe, tunaagenda eri ani? Olina ebigambo eby’obulamu obutaggwaawo. Naffe tukkirizza ne tutegeera nga ggwe oli Mutukuvu wa Katonda.” (Yok. 6:67-69) Omulundi omulala, Yesu yabuuza abayigirizwa be: ‘Omwana w’omuntu abantu bamuyita batya?’ Oluvannyuma lw’okubuuza ekibuuzo ekyo, yababuuza na kino ekyabaleetera okwoleka ekyabali ku mutima: ‘Naye mmwe mumpita mutya?’ Mu kuddamu, Peetero yagamba: “Ggwe Kristo, Omwana wa Katonda omulamu.”—Mat. 16:13-16.
Bw’oba oyigiriza omuntu Baibuli, oyinza okukisanga nga kya muganyulo okukozesa enkola eyo y’emu ku nsonga ezimu. Oyinza okumubuuza: “Bayizi banno (oba bakozi banno) batunuulira batya ensonga eno?” Ate era oyinza okumubuuza: “Ggwe owulira otya ku nsonga eyo?” Bw’otegeera enneewulira z’omuntu, ojja kusobola okumuyamba mu ngeri esingayo obulungi.
Okuggumiza. Era ebibuuzo biyinza okukozesebwa okuggumiza ensonga. Bw’atyo omutume Pawulo bwe yakola, nga bwe kiragibwa mu Abaruumi 8:31, 32: “Katonda bw’abeera ku lwaffe, omulabe waffe ani? Ataagana Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe fenna, era talitugabira bintu byonna wamu naye?” Weetegereze nti mu kyawandiikibwa ekyo, ekibuuzo kiyamba mu kunnyonnyola ensonga eba eyaakamala okwogerwako.
Ng’amaze okuwandiika ebikwata ku musango Yakuwa gwe yali asalidde kabaka wa Babulooni, nnabbi Isaaya yalaga nti yali akakasiza ddala ebyo bye yawandiika ng’agamba: “Mukama ow’eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n’omukono gwe gugoloddwa era ani aliguzzaayo?” (Is. 14:27) Ebibuuzo ng’ebyo biraga nti ensonga eyogerwako nkakafu ddala. Biba tebisuubirwa kuddibwamu.
Okwanika Endowooza Enkyamu. Ebibuuzo ebirungi era bisobola okwanika endowooza enkyamu. Nga tannawonya musajja omu, Yesu yabuuza Omufalisaayo n’abayigiriza b’amateeka: “Kirungi okuwonyeza ku ssabbiiti, nantiki si weewaawo?” Ng’amaze okumuwonya, yabuuza ekibuuzo ekirala: “Ani ku mmwe alina endogoyi ye oba [e]nte ye ng’egudde mu luzzi atagiggyamu mangu ago ku ssabbiiti?” (Luk. 14:1-6) Yali tabasuubira kuddamu, era tebaamuddamu. Ebibuuzo ebyo byayanika endowooza yaabwe enkyamu.
Emirundi egimu, n’Abakristaayo ab’amazima bayinza okuba n’endowooza enkyamu. Abakristaayo abamu abaali mu Kkolinso mu kyasa ekyasooka, baatwalanga baganda baabwe mu kkooti okusobola okugonjoola ensonga bo bennyini ze baali basobola okwegonjoolera. Omutume Pawulo yakwata atya ensonga ezo? Yababuuza ebibuuzo ebiwerako ng’ayagala okutereeza endowooza yaabwe.—1 Kol. 6:1-8.
Bw’ofuba, oyinza okuyiga okukozesa obulungi ebibuuzo. Kyokka, jjukira okuwa abalala ekitiibwa, naddala ng’oyogera n’abantu abakulu, abantu b’otamanyi bulungi, oba abo abali mu bifo eby’obuyinza. Kozesa ebibuuzo okusobola okubuulira obubaka obuli mu Baibuli mu ngeri esikiriza.