OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okukozesa Obulungi Ebibuuzo
LWAKI KIKULU?: Bwe kiba nti “ebirowoozo by’omu mutima gw’omuntu biringa amazzi ag’ebuziba,” ebibuuzo biringa akalobo ak’okukozesa okusena amazzi ago. (Nge 20:5) Ebibuuzo biyamba omuntu gwe tubuulira okubaako by’ayogera. Bwe tukozesa obulungi ebibuuzo, tusobola okumanyira ddala omuntu ky’alowooza. Yesu yakozesanga bulungi ebibuuzo. Tuyinza tutya okumukoppa?
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Buuza ebibuuzo ebiyamba omuntu okuwa endowooza ye. Yesu yabuuza abayigirizwa be ebibuuzo ebiwerako okusobola okumanya endowooza yaabwe. (Mat 16:13-16; be lup. 238 ¶3-5) Bibuuzo ki by’osobola okubuuza omuntu n’omanya endowooza ye?
Buuza ebibuuzo ebiyamba omuntu okumanya eky’okuddamu ekituufu. Okusobola okutereeza endowooza ya Peetero, Yesu yamubuuza ebibuuzo n’amuwa ne by’ayinza okuddamu, ne kimuyamba okumanya ekituufu. (Mat 17:24-26) Bibuuzo bya ngeri ki by’osobola okubuuza omuntu okumuyamba okumanya ekituufu?
Mwebaze. Omuwandiisi bwe yaddamu “mu ngeri ey’amagezi,” Yesu yamwebaza. (Mak 12:34) Oyinza otya okwebaza omuntu ng’azzeemu ekibuuzo ky’omubuuzizza?
MULABE EKITUNDU EKISOOKA EKYA VIDIYO ERINA OMUTWE, KOLA OMULIMU YESU GWE YAKOLA—YIGIRIZA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Lwaki omubuulizi oyo tayigirizza bulungi, wadde nga by’ayogedde bituufu?
Lwaki tetusaanidde kukoma ku kunnyonnyola bunnyonnyozi?
MULABE EKITUNDU EKY’OKUBIRI EKYA VIDIYO EYO, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Ow’oluganda oyo akozesezza atya bulungi ebibuuzo?
Biki ebirala bye tusobola okumuyigirako?
Abantu bayinza kukwatibwako batya bwe tubayigiriza obulungi? (Luk 24:32)