Tuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwo ng’Omubuulizi w’Enjiri
“Kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri, tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.”—2 TIM. 4:5.
1. Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa Katonda ye Mubuulizi w’Enjiri eyasooka era asingayo obulungi?
OMUBUULIZI w’enjiri ye muntu abuulira abalala amawulire amalungi. Yakuwa Katonda ye Mubuulizi w’Enjiri eyasooka era asingayo obulungi. Amangu ddala nga bazadde baffe abaasooka baakajeema, Yakuwa yalangirira amawulire amalungi nti omusota, Sitaani Omulyolyomi, gujja kuzikirizibwa. (Lub. 3:15) Okumala emyaka mingi, Yakuwa yagenda aluŋŋamya abasajja abeesigwa okuwandiika ebikwata ku ngeri erinnya lye gye lijja okutukuzibwamu, ku ngeri gy’ajja okumalawo ebizibu ebyaleetebwa Sitaani, ne ku ngeri abantu gye basobola okufunamu obulamu obutaggwaawo Adamu ne Kaawa bwe baali babafiirizza.
2. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti bamalayika babuulizi ba njiri? (b) Yesu yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi mu kubuulira enjiri?
2 Bamalayika nabo babuulizi ba njiri. Babuulira amawulire amalungi era batuyamba nga tubuulira amawulire amalungi. (Luk. 1:19; 2:10; Bik. 8:26, 27, 35; Kub. 14:6) Malayika omukulu Mikayiri naye mubuulizi wa njiri. Bwe yali ku nsi, yali ayitibwa Yesu, era omulimu gwe yakulembezanga mu bulamu bwe kwali kubuulira njiri. Ekyokulabirako Yesu kye yateekawo kiraga nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi naffe gwe tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe.—Luk. 4:16-21.
3. (a) Mawulire ki amalungi ge tubuulira? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwetegereza?
3 Yesu yalagira abayigirizwa be okubuulira enjiri. (Mat. 28:19, 20; Bik. 1:8) Omutume Pawulo yagamba mukozi munne Timoseewo nti: “Kola omulimu gw’omubuulizi w’enjiri, tuukiriza mu bujjuvu obuweereza bwo.” (2 Tim. 4:5) Mawulire ki amalungi ge tubuulira? Tubuulira abantu nti Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa, atwagala nnyo. (Yok. 3:16; 1 Peet. 5:7) Engeri emu Yakuwa gy’alaga nti atwagala kwe kuba nti ataddewo Obwakabaka bwe. N’olwekyo, tubuulira abalala nti abo bonna abakkiriza okufugibwa Obwakabaka bwa Katonda, ne bamugondera, era ne bakola eby’obutuukirivu basobola okufuuka mikwano gye. (Zab. 15:1, 2) Yakuwa ajja kuggyawo okubonaabona kwonna era tetujja kujjukira bulumi bwonna bwe tuyitamu leero. Ng’ago mawulire malungi nnyo! (Is. 65:17) Okuva bwe kiri nti tuli babuulizi ba njiri, twetaaga okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino ebibiri: Lwaki abantu beetaaga okuwulira amawulire amalungi? Era tuyinza tutya okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe ng’ababuulizi b’enjiri?
LWAKI ABANTU BEETAAGA OKUWULIRA AMAWULIRE AMALUNGI?
Ebibuuzo ebirungi biyamba abantu okulowooza ku nsonga lwaki bakkiririza mu ebyo bye bakkiririzaamu
4. Bintu ki eby’obulimba abantu bye boogera ku Katonda?
4 Kuba akafaananyi nga waliwo omuntu akugamba nti kitaawo yakwabulira awamu n’ab’omu maka gammwe. Akugamba nti kitaawo yali takwagala, yakukwekanga ebintu ebirungi, era nti yali mukambwe nnyo. Ate era omuntu oyo akugamba nti kitaawo yafa dda era nti teweetaaga na kutawaana kumunoonya. Mu butuufu, abantu abamu boogera ebintu ng’ebyo ku Katonda. Bagamba nti tetusobola kumanya Katonda era nti Katonda mukambwe nnyo. Ng’ekyokulabirako, abakulembeze b’amadiini abamu bayigiriza nti Katonda ajja kubonereza abantu ababi ng’abookya mu muliro emirembe n’emirembe. Abalala bagamba nti Katonda y’aleeta obutyabaga. Wadde ng’obutyabaga obwo butta abantu abalungi n’ababi, bagamba nti Katonda y’aba abuleese okubonereza abantu.
Ebibuuzo ebirungi biyamba abantu okukkiriza amazima
5, 6. Enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa n’enjigiriza endala ez’obulimba zikutte zitya ku bantu?
5 Waliwo n’abo abagamba nti Katonda taliiyo. Ku nsonga eyo, lowooza ku njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Bangi ku abo abakkiririza mu njigiriza eyo bagamba nti teriiyo Mutonzi era nti ebintu byajjawo byokka. Abalala bagamba nti abantu baava mu nsolo era nti eyo ye nsonga lwaki ebiseera ebimu abantu beeyisa ng’ensolo. Bagamba nti obutali bwenkanya tebusobola kuggwaawo olw’okuba balowooza nti kya mu butonde abantu ab’amaanyi okunyigiriza abanafu. N’olwekyo, abantu abakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa tebalina ssuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.
6 Tewali kubuusabuusa nti enjigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa n’enjigiriza endala enkyamu bye bimu ku bintu ebiviiriddeko abantu okubonaabona mu nnaku zino ez’oluvannyuma. (Bar. 1:28-31; 2 Tim. 3:1-5) Enjigiriza ezo si mawulire malungi. Mu kifo ky’ekyo, ng’omutume Pawulo bwe yagamba, zireetedde abantu okuba ‘mu kizikiza mu magezi gaabwe, n’okweyawula ku bulamu obuva eri Katonda.’ (Bef. 4:17-19) Okugatta ku ekyo, enjigiriza ezo zireetedde abantu obutafaayo ku Katonda n’obutaagala mawulire amalungi agava gy’ali.—Soma Abeefeso 2:11-13.
Ebibuuzo ebirungi biyamba abantu okutegeera obulungi ekyo Bayibuli ky’eyigiriza
7, 8. Engeri yokka abantu gye basobola okumanyamu amawulire amalungi y’eruwa?
7 Abantu okusobola okutabagana ne Katonda, beetaaga okusooka okukakasa nti Katonda gy’ali era nti okuba n’enkolagana ennungi naye kibaganyula. Tusobola okubayamba okumanya ebikwata ku Katonda nga tubakubiriza okufumiitiriza ku butonde. Abantu bwe bafumiitiriza ku butonde, kibayamba okukiraba nti Katonda alina amagezi mangi n’amaanyi mangi nnyo. (Bar. 1:19, 20) Okusobola okuyamba abantu okufumiitiriza ku bintu eby’ekitalo Katonda bye yatonda, tusobola okukozesa brocuwa Was Life Created? ne The Origin of Life—Five Questions Worth Asking. Kyokka, okutunuulira obutunuulizi ebitonde tekisobola kuyamba bantu kufuna bya kuddamu mu bibuuzo nga bino: Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kye kiruwa? Ddala Katonda afaayo ku bantu kinnoomu?
8 Engeri yokka abantu gye basobola okumanyamu amawulire amalungi agakwata ku Katonda n’ekigendererwa kye kwe kusoma Bayibuli. Tulina enkizo ya maanyi okuyamba abantu okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bye beebuuza. Kyokka, okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu be tubuulira, twetaaga okubannyonnyola mu ngeri ematiza. (2 Tim. 3:14) Ekyo okusobola okukikola obulungi, twetaaga okukoppa ekyokulabirako kya Yesu. Lwaki Yesu yasobolanga okunnyonnyola abantu mu ngeri ematiza? Ekimu ku bintu ebyamuyamba kwe kuba nti yakozesanga bulungi ebibuuzo. Tuyinza tutya okumukoppa?
ABABUULIZI B’ENJIRI ABALUNGI BAKOZESA BULUNGI EBIBUUZO
9. Bwe tuba ab’okuyamba abantu mu by’omwoyo, kiki kye tulina okukola?
9 Lwaki tusaanidde okukozesa ebibuuzo nga tubuulira, nga Yesu bwe yakola? Lowooza ku kyokulabirako kino: Watya singa omusawo akugamba nti weetaaga okulongoosebwa. Oyinza okukkiriza ekyo ky’aba akugambye. Naye watya singa akugamba okukulongoosa nga tasoose na kukubuuza kibuuzo kyonna? Oyinza obutakkiriza ekyo ky’aba akugambye. Omusawo ne bw’aba mukugu atya, aba yeetaaga okusooka okubaako ebibuuzo by’abuuza omulwadde era n’amuwuliriza bulungi asobole okumuyamba. Mu ngeri y’emu, bwe tuba ab’okuyamba abantu okukkiriza amawulire amalungi ag’Obwakabaka, twetaaga okuyiga okukozesa obulungi ebibuuzo nga tubuulira. Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuyamba okutegeera embeera yaabwe ey’eby’omwoyo tusobole okubayamba.
Okusobola okutuuka ku mitima gy’abantu be tubuulira, twetaaga okubannyonnyola mu ngeri ematiza
10, 11. Bwe tukozesa obulungi ebibuuzo nga Yesu bwe yakola, biki ebiyinza okuvaamu?
10 Yesu yali akimanyi nti ebibuuzo bisobola okuyamba oyo ayigiriza okutegeera obulungi oyo gw’ayigiriza era nti biyamba omuyizi okufumiitiriza n’okuwa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, Yesu bwe yali ayagala okuyigiriza abayigirizwa be okuba abeetoowaze, yasooka n’ababuuza ekibuuzo ekyabaleetera okulowooza. (Mak. 9:33) Lumu Yesu bwe yali aliko ensonga gy’ayagala Peetero ategeere, yamubuuza ekibuuzo era n’amuwa eby’okuddamu kw’ayinza okulonda. (Mat. 17:24-26) Ku mulundi omulala, Yesu bwe yali ayagala okumanya ekyo abayigirizwa be kye baali balowooza, yababuuza ebibuuzo ebitali bimu ebyabaleetera okwogera ekyo kye baali balowooza. (Soma Matayo 16:13-17.) Yesu teyabuuliranga bubuulizi bantu ekyo kye basaanidde okukola. Mu kifo ky’ekyo, yafubanga okutuuka ku mitima gyabwe ng’akozesa ebibuuzo. Ekyo kyabayambanga okukolera ku ebyo bye yabayigirizanga.
11 Bwe tukozesa obulungi ebibuuzo nga Yesu bwe yakola, tujja kusobola okumanya engeri y’okuyambamu abantu, engeri y’okukwatamu abo abataagala kutuwuliriza, n’engeri y’okuyambamu abantu abawombeefu okuganyulwa mu ebyo bye bayiga. Kati tugenda kulaba ebyokulabirako bisatu ebiraga engeri gye tuyinza okukozesaamu obulungi ebibuuzo.
12-14. Oyinza otya okuyamba omwana wo obutatya kubuulira mawulire malungi? Waayo ekyokulabirako.
12 Ekyokulabirako 1: Omuzadde, kiki kye wandikoze singa omwana wo akugamba nti atya okubuulira bayizi banne nti ebintu byatondebwa butondebwa? Oyinza otya okumuyamba obutatya kubuulira mawulire malungi? Mu kifo ky’okumunenya oba okumubuulira obubuulizi eky’okukola, okufaananako Yesu, kiba kirungi okumubuuza ebibuuzo ebimuyamba okwogera ky’alowooza. Ekyo oyinza kukikola otya?
13 Oluvannyuma lw’okusoma n’omwana wo ebikwata ku nsonga eyo mu brocuwa The Origin of Life—Five Questions Worth Asking, oyinza okumubuuza biki by’alabyemu by’ayinza okukozesa. Mukubirize okulowooza ku nsonga endala ezimuleetera okukkiririza mu Mutonzi n’ensonga lwaki ayagala okukola Katonda by’ayagala. (Bar. 12:2) Yamba omwana wo okukimanya nti ensonga ze ziyinza okwawukana ku zizo.
14 Kubiriza omwana wo okukozesa enkola y’emu ng’ayogera ne muyizi munne. Ayinza okubaako ebintu ebikwata ku butonde by’amutegeeza era n’amusaba okuwa endowooza ye. Ng’ekyokulabirako, ayinza okusaba muyizi munne okusoma ebyo ebiri mu kasanduuko akali ku lupapula 21 mu brocuwa Origin of Life. Oluvannyuma ayinza okumubuuza, “Okiraba nti DNA esobola okutereka obubaka bungi okusinga kompyuta ez’omulembe eziriwo mu kiseera kino?” Tewali kubuusabuusa nti muyizi munne ajja kukkiriziganya naye. Oluvannyuma ayinza okumugamba nti, “Bwe kiba nga bwe kityo bwe kiri, tekyandibadde kya magezi okukkiriza nti nga bwe waliwo eyakola kompyuta, era waliwo n’eyakola DNA?” Okusobola okuyamba omwana wo obutatya kubuulira balala bikwata ku nzikiriza ye, muyinza okwegezangamu naye ku ngeri gy’ayinza okubuuliramu abalala. Singa oyigiriza omwana wo okukozesa obulungi ebibuuzo, kijja kumuyamba okufuuka omubuulizi w’enjiri omulungi.
15. Oyinza otya okukozesa obulungi ebibuuzo okuyamba omuntu atakkiriza nti Katonda gy’ali?
15 Ekyokulabirako 2: Bwe tuba tubuulira, tuyinza okusanga omuntu ababuusabuusa obanga ddala Katonda gy’ali oba oyo atakkiriza nti Katonda gy’ali. Mu kifo ky’okumuviira obuviizi, tuyinza okumubuuza ebbanga ly’amaze ng’alina endowooza eyo n’ensonga lwaki alina endowooza eyo. Oluvannyuma lw’okuwulira ebyo by’addamu n’okumwebaza olw’okuwa endowooza ye, tuyinza okumubuuza obanga yandyagadde okusoma akatabo akalaga nti ebintu byatondebwa butondebwa. Omuntu oyo bw’aba nga ddala ayagala okumanya amazima, ajja kukkiriza akatabo ako. Tuyinza okumuwa brocuwa Was Life Created? oba The Origin of Life—Five Questions Worth Asking. Bwe tukozesa obulungi ebibuuzo tuyinza okuyamba abantu okukkiriza amawulire amalungi.
16. Lwaki tetusaanidde kuba bamativu n’ebyo omuyizi wa Bayibuli by’addamu ng’asoma bisome mu katabo?
16 Ekyokulabirako 3: Bwe tuba tuyigiriza omuntu Bayibuli, kiki ekiyinza okubaawo singa tuba bamativu n’ebyo by’aba azzeemu ng’asoma bisome mu katabo? Ekyo kiyinza okumulemesa okukulaakulana mu by’omwoyo. Lwaki? Kubanga omuntu addamu obuzzi ebibuuzo nga tafumiitirizza ku ebyo by’addamu abeera ng’ekimera ekitalina mirandira. Era singa wajjawo okuyigganyizibwa, ayinza obutasobola kukugumira. (Mat. 13:20, 21) Okusobola okwewala ekyo okubaawo, twetaaga okukozesa ebibuuzo ebiyinza okutuyamba okutegeera ekyo omuyizi wa Bayibuli ky’alowooza ku ebyo by’ayiga. Gezaako okutegeera obanga akkiriza ebyo by’ayiga. Era mubuuze ensonga lwaki abikkiriza oba lwaki tabikkiriza. Oluvannyuma kubaganya naye ebirowoozo ku Byawandiikibwa asobole okutegeera ekyo kyennyini Bayibuli ky’eyigiriza. (Beb. 5:14) Bwe tukozesa obulungi ebibuuzo nga tuyigiriza abantu Bayibuli, kisobola okubayamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi ne basobola okusigala nga banywevu ne bwe baba bayigganyizibwa oba nga waliwo abagezaako okubabuzaabuza. (Bak. 2:6-8) Kiki ekirala kye tuyinza okukola okusobola okuba ababuulizi abalungi?
ABABUULIZI B’ENJIRI ABALUNGI BAYAMBAGANA
17, 18. Bw’oba n’omubuulizi omulala nga mubuulira, oyinza otya okukiraga nti okolera wamu naye?
17 Yesu bwe yali asindika abayigirizwa be okugenda okubuulira yabasindika babiri babiri. (Mak. 6:7; Luk. 10:1) Omutume Pawulo aliko abantu be yayita ‘bakozi banne’ olw’okuba baali ‘bafubye okukolera awamu naye ku lw’amawulire amalungi.’ (Baf. 4:3) Mu 1953, ekibiina kya Yakuwa ky’assaawo enteekateeka ey’enjawulo ng’ababuulizi batendeka babuulizi bannaabwe mu mulimu gw’okubuulira.
18 Bw’oba n’omubuulizi omulala nga mubuulira, oyinza otya okukiraga nti okolera wamu naye? (Soma 1 Abakkolinso 3:6-9.) Bw’aba asomera omuntu ebyawandiikibwa bikula Bayibuli yo naawe ogoberere. Muwulirize ng’ayogera era wuliriza n’omuntu gw’aba ayogera naye. Ekyo kijja kukuyamba okugoberera obulungi bye boogera era ojja kusobola okuyamba mubuulizi munno bwe kiba kyetaagisizza. (Mub. 4:12) Naye weewale okusala mubuulizi munno ekirimi bw’abaako ekintu ky’annyonnyola era weewala n’okusala ekirimi omuntu gw’aba abuulira. Bw’oyingira mu mboozi we kiteetaagisiza, oyinza okumalamu mubuulizi munno amaanyi era oyinza okutabulatabula omuntu gw’aba abuulira. Wadde ng’oluusi kiyinza okukwetaagisa okubaako ky’oyogera, bw’oba oyogera gezaako okuyita mu bufunze. Oluvannyuma leka mubuulizi munno agende mu maaso.
19. Kiki ffenna kye tulina okujjukira, era lwaki?
19 Bw’oba ne mubuulizi munno nga mutambula okuva ku nju emu okudda ku ndala, muyinza mutya okuyambagana? Kiba kirungi okukozesa ebiseera ebyo okwogera ku ngeri gye muyinza okulongoosa mu nnyanjula zammwe. Mufube okwogera ku bintu ebirungi ku bantu abali mu kitundu mwe mubuulira. Ate era mwewale okwogera obubi ku bakkiriza bannammwe. (Nge. 18:24) Tulina okukijjukira nti tuli bibya eby’ebbumba. Yakuwa atulaze ekisa eky’ensusso n’atuwa enkizo ey’okubuulira amawulire amalungi. (Soma 2 Abakkolinso 4:1, 7.) N’olwekyo, ka ffenna tukirage nti tusiima enkizo eyo nga tufuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe ng’ababuulizi b’enjiri.