Ebirimu
Maayi 15, 2013
© 2013 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. All rights reserved.
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
JJULAAYI 1-7, 2013
Tuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwo ng’Omubuulizi w’Enjiri
OLUPAPULA 3 • ENNYIMBA: 103, 102
JJULAAYI 8-14, 2013
‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?
OLUPAPULA 8 • ENNYIMBA: 108, 93
JJULAAYI 15-21, 2013
Empuliziganya Ennungi Esobola Okunyweza Obufumbo
OLUPAPULA 14 • ENNYIMBA: 36, 87
JJULAAYI 22-28, 2013
Abazadde n’Abaana—Mube n’Empuliziganya Ennungi
OLUPAPULA 19 • ENNYIMBA: 88, 3
JJULAAYI 29, 2013–AGUSITO 4, 2013
Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
OLUPAPULA 26 • ENNYIMBA: 14, 134
EBITUNDU EBY’OKUSOMA
▪ Tuukiriza Obuvunaanyizibwa Bwo ng’Omubuulizi w’Enjiri
Omubuulizi w’enjiri y’ani? Ekitundu kino kiddamu ekibuuzo ekyo era kiraga ensonga lwaki abantu beetaaga okuwulira amawulire amalungi. Kiraga n’engeri gye tuyinza okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwaffe ng’ababuulizi b’enjiri.
▪ ‘Onyiikirira Ebikolwa Ebirungi’?
Kitundu kino kiraga engeri bbiri ‘okunyiikirira ebikolwa ebirungi’ gye kiyinza okuleetera abalala okwagala okuyiga ebikwata ku Katonda. (Tit. 2:14) Engeri esooka kwe kubuulira n’obunyiikivu. Engeri ey’okubiri kwe kweyisa obulungi.
▪ Empuliziganya Ennungi Esobola Okunyweza Obufumbo
▪ Abazadde n’Abaana—Mube n’Empuliziganya Ennungi
Empuliziganya ennungi eyamba obufumbo okubaamu essanyu era eyamba amaka okunywera. Ekitundu ekisooka kiraga engeri omwami n’omukyala ze beetaaga okuba nazo okusobola okuba n’empuliziganya ennungi. Ekitundu eky’okubiri kiraga ekyo abazadde n’abaana kye bayinza okukola okusobola okuba n’empuliziganya ennungi.
▪ Kuuma Obusika Bwo ng’Osalawo mu Ngeri ey’Amagezi
Busika ki Abakristaayo bwe bajja okufuna? Bwe kituuka ku busika bwaffe, ebyo bye tusoma ku Esawu bituyigiriza ki? Kiki ekinaatuyamba okusalawo obulungi tusobole okukuuma obusika bwaffe? Ekitundu kino kijja kutuyamba okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.
EBIRALA EBIRI MU KATABO KANO
24 Ensonga Lwaki Obulamu Bwaffe Bulina Ekigendererwa
KU DDIBA: Bannyinnaffe nga bakozesa ebitabo ebiri mu Gujarati okubuulira omusajja atunda edduuka mu London
LONDON, BUNGEREZA