ESSOMO 7
Ebituufu era Ebyesigika
Lukka 1:3
MU BUFUNZE: Wa obukakafu obwesigika okusobola okuyamba abakuwuliriza okutegeera ensonga gy’oyogerako.
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Noonyereza okuva mu nsonda ezeesigika. By’oyogera byesigamye ku Bayibuli, era gisomeemu butereevu bwe kiba kisoboka. Bw’okozesa bannassaayansi kye baazuula, ekyafulumira mu mawulire, ekyokulabirako, oba obukakafu obulala, kakasa nti ky’okozesezza kituufu.
By’onoonyerezza bikozese bulungi. Nnyonnyola ebyawandiikibwa mu ngeri ekwatagana n’ekiba ky’ogerwako mu nnyiriri eziriraanyeewo, mu ngeri ekwatagana n’obubaka obuli mu Bayibuli, era n’ebitabo ebikubibwa “omuddu omwesigwa.” (Mat. 24:45) Bw’okozesa by’ozudde mu kitabo ekitaakubibwa muddu mwesigwa, bikozese mu ngeri ekwatagana n’ekigendererwa ky’omuwandiisi.
Yamba abakuwuliriza okufumiitiriza. Ng’omaze okusoma ekyawandiikibwa oba okuwa ekyokulabirako, buuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi kiyambe abakuwuliriza bo bennyini okulaba ekituufu.