LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lff essomo 34
  • Tuyinza Tutya Okukiraga nti Twagala Yakuwa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tuyinza Tutya Okukiraga nti Twagala Yakuwa?
  • Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YIGA EBISINGAWO
  • MU BUFUNZE
  • LABA EBISINGAWO
  • Yakuwa Akulaga Okwagala Okutajjulukuka
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2021
  • Oyinza Otya Okufuuka Mukwano gwa Katonda?
    Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
  • Yakuwa Ayagala Tube n’Okwagala Okutajjulukuka?
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Okwagala kwa Katonda kwa Mirembe na Mirembe
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
See More
Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
lff essomo 34
Essomo 34. Omusajja ali mu kibuga atunudde waggulu era ng’afumiitiriza.

ESSOMO 34

Tuyinza Tutya Okukiraga nti Twagala Yakuwa?

Printed Edition
Printed Edition
Printed Edition

Owulira nga weeyongedde okwagala Katonda okuva lwe watandika okuyiga Bayibuli? Wandyagadde okweyongera okunyweza omukwano ogwo gw’olina ne Katonda? Bwe kiba kityo, kijjukire nti gy’okoma okwagala Yakuwa, naye gy’akoma okukwagala n’okukufaako. Oyinza otya okukiraga nti omwagala?

1. Tukiraga tutya nti twagala Yakuwa?

Tukiraga nti twagala Yakuwa nga tumugondera. (Soma 1 Yokaana 5:3.) Takaka muntu yenna kumugondera, wabula awa buli omu akakisa okusalawo obanga anaamugondera oba nedda. Lwaki? Yakuwa ayagala tube “bawulize okuva mu mutima.” (Abaruumi 6:17) Ekyo kitegeeza nti ayagala tumugondere olw’okuba tumwagala, so si lwa buwaze. Ekitundu 3 ne 4 mu kitabo kino bitegekeddwa okukuyamba okukiraga nti oyagala Yakuwa, ng’ofuba okukola by’ayagala era nga weewala okukola by’atayagala.

2. Lwaki oluusi tekiba kyangu okukiraga nti twagala Yakuwa?

“Omutuukirivu aba n’ebizibu bingi.” (Zabbuli 34:19) Ffenna tetutuukiridde. Ate era tuyinza okuba nga twolekagana n’ebizibu by’eby’enfuna, obutali bwenkanya, n’ebizibu ebirala. Bwe tuba mu mbeera enzibu, oluusi kiyinza obutatubeerera kyangu kukola ebyo Yakuwa by’ayagala. Ekyo kiri kityo kubanga okukola ekikyamu kye kiyinza okutubeerera ekyangu mu kaseera ako. Naye bw’ofuba okukola Yakuwa by’ayagala ne mu mbeera enzibu, oba okiraga nti omwagala okusinga ekintu ekirala kyonna. Era oba okiraga nti oli mwesigwa gy’ali. Bw’oba omwesigwa gy’ali naye aba mwesigwa gy’oli. Tayinza kukwabulira.​—Soma Zabbuli 4:3.

YIGA EBISINGAWO

Laba ensonga lwaki kikulu nnyo okugondera Yakuwa, era n’ekiyinza okukuyamba okusigala ng’oli mwesigwa gy’ali.

3. Ensonga ekukwatako

Okusinziira ku kitabo kya Yobu, Sitaani alina ekintu eky’obulimba kye yayogera ku Yobu, ne ku bantu bonna abaagala okukola Yakuwa by’ayagala. Soma Yobu 1:1, 6–2:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Okusinziira ku Sitaani, lwaki Yobu yali agondera Yakuwa?​—Laba Yobu 1:9-11.

  • Kiki Sitaani ky’ayogera ku bantu bonna, nga naawe mw’oli?​—Laba Yobu 2:4.

Soma Yobu 27:5b, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo kino:

  • Yobu yakiraga atya nti yali ayagala nnyo Yakuwa?

Sitaani asoomooza Yakuwa. Abuusabuusa obugolokofu bwa Yobu ajjudde amabwa ku mubiri gwe, era abuusabuusa n’obwesigwa bwa mwannyinaffe aweereza Yakuwa leero.

Yobu yakiraga nti ayagala nnyo Yakuwa bwe yasigala nga mwesigwa gy’ali

Ekiraga nti twagala Yakuwa, kwe kusigala nga tuli beesigwa gy’ali

4. Sanyusa omutima gwa Yakuwa

Soma Engero 27:11, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Yakuwa awulira atya bwe weeyisa mu ngeri ey’amagezi era n’omugondera? Lwaki ogamba bw’otyo?

5. Osobola okuba omwesigwa eri Yakuwa

Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okubuulira abalala ebimukwatako. Olw’okuba tuli beesigwa gy’ali, ekyo tukikola ne bwe kitaba kyangu. Laba VIDIYO, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino wammanga.

VIDIYO: Lwanirira Okukkiriza Kwo ng’Oziyizibwa (5:09)

  • Oluusi kikuzibuwalira okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa?

  • Mu vidiyo, kiki ekyayamba Grayson okuggwaamu okutya?

Kiba kyangu okuba abeesigwa eri Yakuwa bwe tuba nga twagala by’ayagala era nga tukyawa by’akyawa. Soma Zabbuli 97:10, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Okusinziira ku by’oyize, ebimu ku bintu Yakuwa by’ayagala bye biruwa? Ebimu ku bintu by’akyawa bye biruwa?

  • Oyinza otya okuyiga okwagala ebintu ebirungi era n’okukyawa ebibi?

6. Bwe tugondera Yakuwa ffe tuganyulwa

Tuganyulwa nnyo bwe tugondera Yakuwa. Soma Isaaya 48:17, 18, oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ku bibuuzo bino:

  • Olowooza tuyinza okwesiga Yakuwa nti bulijjo abeera amanyi ekisinga okutuganyula? Lwaki ogamba bw’otyo?

  • Okusoma Bayibuli n’okuyiga ebikwata ku Yakuwa Katonda ow’amazima, kikuganyudde kitya?

ABAMU BAGAMBA NTI: “Ebyo bye nkola tebirina ngeri yonna gye bikwata ku Katonda.”

  • Kyawandiikibwa ki ky’oyinza okukozesa okulaga nti Yakuwa akwatibwako olw’ebyo bye tukola?

MU BUFUNZE

Osobola okukiraga nti oyagala Yakuwa ng’omugondera era ng’osigala ng’oli mwesigwa gy’ali ne mu mbeera enzibu.

Okwejjukanya

  • Biki by’oyigidde ku Yobu?

  • Oyinza otya okukiraga nti oyagala Yakuwa?

  • Kiki ekinaakuyamba okusigala ng’oli mwesigwa eri Yakuwa?

Eky’okukolako

LABA EBISINGAWO

Laba engeri gy’oyinza okuba omwesigwa eri Yakuwa n’eri ekibiina kye.

“Eri Omwesigwa Oba Mwesigwa” (16:49)

Manya ebintu ebirala eby’obulimba Sitaani by’ayogera ku bantu.

“Yobu Akuuma Obugolokofu Bwe” (The Bible​—What Is Its Message? ekitundu 6)

Laba engeri n’abaana abato gye bayinza okukiragamu nti baagala Yakuwa.

Sanyusa Yakuwa (8:16)

Omuvubuka apikirizibwa bavubuka banne okukola ebintu ebibi, ayinza atya okusigala nga mwesigwa eri Katonda?

Ziyiza Okupikirizibwa! (3:59)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share