Ebikwata ku Nuuwa ne ku Mataba Byaliwo, So Si Lugero Bugero
WEEGOMBA okubeera mu nsi ennungi—ensi omuli abantu abali obumu? omutali ntalo, bumenyi bwa mateeka, wadde okunyigirizibwa? Bwe kiba kityo, waliwo ebyafaayo ebiyinza okukuzzaamu amaanyi. By’ebyo ebikwata ku Nuuwa, omusajja omulungi eyazimba eryato ye n’ab’omu maka ge mwe baawonera amataba bwe gaazikiriza abantu ababi mu nsi yonna.
Bino bye bimu ku byafaayo ebikyasinze okumanyibwa ennyo. Ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa bisangibwa mu kitabo kya Baibuli eky’Olubereberye, essuula 6 okutuuka 9, era byogerwako mu Kuraani ne mu nfumo nnyingi okwetooloola ensi. Ddala Amataba gaaliyo, oba lugero bugero olwagunjibwawo okukubiriza abantu okukola ekituufu? Bannaddiini ne bannasayansi babadde beebuuza ekibuuzo ekyo okumala ebikumi by’emyaka. Kyokka yo Baibuli, Ekigambo kya Katonda, eraga bulungi nti ddala Amataba gaaliyo era nti si lugero bugero. Lowooza ku bino:
Ekitabo ky’Olubereberye kitubuulira omwaka gwennyini, omwezi, n’olunaku Amataba lwe gaatandika, era kitubuulira ekiseera n’ekifo eryato we lyasibira, ne ddi amazzi lwe gaakalira. Kitubuulira ne kalonda akwata ku lyato—engeri gye lyazimbibwamu, obunene bwalyo, n’ebintu ebyakozesebwa mu kulizimba. Ku luuyi olulala, enfumo zo tezitera kuwa kalonda akwata ku kintu.
Ennyiriri z’obuzaale bbiri eziri mu Baibuli ziraga nti Nuuwa yali muntu wa ddala. (1 Ebyomumirembe 1:4; Lukka 3:36) Ezera ne Lukka abaawandiika ennyiriri z’obuzaale zino baali banoonyereza balungi. Lukka yalondoola olunyiriri lw’obuzaale bwa Yesu Kristo okutuukira ddala ku Nuuwa.
Nnabbi Isaaya ne nnabbi Ezeekyeri n’abatume Abakristaayo Pawulo ne Peetero nabo baayogera ku Nuuwa oba ku Mataba.—Isaaya 54:9; Ezeekyeri 14:14, 20; Abaebbulaniya 11:7; 1 Peetero 3:19, 20; 2 Peetero 2:5.
Yesu Kristo yayogera ku Mataba n’agamba nti: “Nga bwe byali mu nnaku za Nuuwa, bwe bityo bwe biriba ne mu nnaku z’Omwana w’omuntu. Baali nga balya, nga banywa, nga bawasa, nga bawayira, okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato, amataba ne gajja, ne gabazikiriza bonna.” (Lukka 17:26, 27) Singa Amataba tegaaliyo, Yesu bye yayogera ku “nnaku z’Omwana w’omuntu” tebyandibadde na makulu.
Omutume Peetero yalagula nti wandibaddewo “abasekerezi” abatandifuddeyo ku ekyo Baibuli ky’egamba. Yawandiika nti: ‘Baabuusa amaaso kino nti ensi ey’omu kiseera kya Nuuwa yazikirira amazzi bwe gaagisanyaawo.’ Naffe “kino” twandikibuusizza amaaso? N’akatono! Peetero yayongera n’agamba nti: “Eggulu n’ensi ebiriwo kati biterekeddwa omuliro era bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda.”—2 Peetero 3:3-7, NW.
Katonda agenda kuddamu okuzikiriza ababi, naye ne ku mulundi guno wajja kubaawo abawonawo. Singa tukoppa ekyokulabirako kya Nuuwa, tuyinza okuba mu abo abatuukirivu abanaawonyezebwawo okuyingira mu nsi ennungi.