Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Mu Nekkemiya 8:10 (NW), Abayudaaya baagambibwa ‘okulya ebintu eby’amasavu,’ ng’ate mu Eby’Abaleevi 3:17 baalagirwa: “Obutalyanga ku masavu.” Ennyiriri ezo zikontana?
Ekigambo ky’Olwebbulaniya ekyavvuunulwa “ebintu eby’amasavu” mu Nekkemiya 8:10 (NW) kya njawulo ku ekyo ekyavvuunulwa ‘amasavu’ mu Eby’Abaleevi 3:17. Ekigambo cheʹlev, ekyavvuunulwa ‘amasavu’ mu Eby’Abaleevi 3:17, kitegeeza masavu ga nsolo oba ga bantu. (Leev. 3:3; Balam. 3:22) Ennyiriri eziriraanye olunyiriri 17 ziraga nti Abaisiraeri tebaalina kulya masavu agaabanga ku byenda, ku nsigo, oba mu kiwato ky’ensolo ezaabanga ziweereddwayo nga ssaddaaka kubanga “amasavu gonna ga Mukama.” (Leev. 3:14-16) N’olwekyo, amasavu g’ensolo ezaweebwangayo nga ssaddaaka eri Yakuwa tegaalina kuliibwa.
Ku luuyi olulala, mash·man·nimʹ kye kigambo ekyavvuunulwa “ebintu eby’amasavu” mu Nekkemiya 8:10 (NW), era awo wokka we kikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Kiva mu kigambo sha·menʹ, ekitegeeza “okusavuwala oba okugejja.” Ebigambo ebirala ebirina amakulu agafaananako ag’ekigambo ekyo bitegeeza okugaggawala oba okuba obulungi. (Geraageranya Isaaya 25:6.) Ekimu ku bigambo ebitera okuva mu kigambo ekyo kye kigambo sheʹmen, ekitera okuvvuunulwa “amafuta” oba ‘amafuta ga zeyituuni.’ (Leev. 24:2) Mu Nekkemiya 8:10 (NW), ekigambo mash·man·nimʹ kirabika kitegeeza mmere eyasiikibwanga n’amafuta amangi era nga kirabika kwabangako n’ennyama ensava, naye ng’amasavu gonna gaggyiddwako.
Wadde ng’Abaisiraeri baali tebakkirizibwa kulya masavu ga nsolo, baali ba ddembe okulya emmere esiikiddwa obulungi. Ebintu ebimu nga keeke ebyakolebwanga mu ŋŋaano byafumbibwanga n’afuta agava mu bimera, naddala ag’emizeyituuni, so si na masavu ga nsolo. (Leev. 2:7) Bwe kityo, Insight on the Scriptures egamba nti “ebintu eby’amasavu” ebyogerwako awo “bye bintu ebirungi, nga si bikapa oba bikalu, wabula ebiwooma, omuli n’ebyo ebifumbiddwa n’amafuta agava mu bimera.”
Abakristaayo bakimanyi bulungi nti mu Mateeka ga Musa mwe mwali eryo erigaana abantu okulya amasavu. Tebali wansi wa Mateeka ago, nga mw’otwalidde n’ago agakwata ku ssaddaaka z’ensolo.—Bar. 3:20; 7:4, 6; 10:4; Bak. 2:16, 17.