Katonda y’Ani?
EKIBUUZO ekyo ggwe wandikizzeemu otya? Abantu abamu bawulira nga Katonda bamumanyi bulungi, era nti balina omukwano naye. Ate abalala Katonda bamutwala nga bwe banditutte omuntu gwe balinako oluganda olutonotono. Bakkiriza nti gy’ali naye tebalina kya maanyi kye bamumanyiiko. Bw’oba ng’okkiririza mu Katonda, wandizzeemu otya ebibuuzo bino wammanga?
1. Katonda muntu wa ddala?
2. Katonda alina erinnya?
3. Yesu ye Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna?
4. Katonda anfaako?
5. Katonda akkiriza okusinza okw’engeri zonna?
Singa ebibuuzo ebyo obibuuza abantu, oyinza okusanga nga buli omu abizzeemu mu ngeri ya njawulo. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti waliwo endowooza nnyingi enkyamu ezikwata ku Katonda.
Ensonga Lwaki by’Oddamu Bikulu
Bwe yali ayogera n’omukazi akkiririza mu Katonda gwe yasanga ku luzzi, Yesu Kristo yalaga nti kikulu nnyo okumanya amazima agakwata ku Katonda. Omukazi oyo Omusamaliya yakkiriza nti Yesu yali nnabbi. Naye waaliwo ekintu kye yali tategeera bulungi. Eddiini ya Yesu yali ya njawulo ku yiye. Omukyala oyo bwe yayogera ku nsonga eyo Yesu yamugamba nti: “Mmwe musinza kye mutamanyi.” (Yokaana 4:19-22) Bw’atyo Yesu yakiraga nti abantu abamu abagamba nti bakkiririza mu Katonda tebamutegeera bulungi.
Olwo Yesu yali ategeeza nti tewali muntu asobola kutegeera Katonda? Nedda. Yesu yayongera n’agamba omukazi ono nti: ‘Abasinza ab’amazima bajja kusinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abali ng’abo okubeera ab’okumusinzanga.’ (Yokaana 4:23) Oli omu ku abo abasinza Katonda “mu mwoyo n’amazima”?
Kikulu nnyo okuba n’obukakafu nti ky’oddamu mu kibuuzo ekyo kituufu. Lwaki? Kubanga Yesu yalaga nti kyetaagisa okufuna okutegeera okutuufu bwe yagamba nti: “Buno bwe bulamu obutaggwaawo, okutegeera ggwe Katonda omu ow’amazima, n’oyo gwe watuma, Yesu Kristo.” (Yokaana 17:3) Yee, essuubi lyo ery’okuba omulamu mu biseera eby’omu maaso lyesigamye ku kumanya amazima agakwata ku Katonda!
Naye ddala kisoboka okumanya amazima agakwata Katonda? Yee, kisoboka! Kisoboka kitya? Yesu yeeyogerako bw’ati: “Nze kkubo, n’amazima n’obulamu: tewali ajja eri Kitange, wabula ng’ayita mu nze.” (Yokaana 14:6) Era yagamba nti: “Tewali muntu amanyi Omwana bw’ali, wabula Kitaffe; newakubadde Kitaffe bw’ali, wabula Omwana, n’oyo Omwana gw’ayagala okumubikkulira.”—Lukka 10:22.
N’olwekyo, okusobola okumanya Katonda, omuntu alina okumanya enjigiriza za Yesu Kristo, Omwana wa Katonda. Bw’atyo Yesu yasuubiza nti: “Bwe munywerera mu kigambo kyange, nga muli bayigirizwa bange ddala; era mulitegeera amazima, n’amazima galibafuula ba ddembe.”—Yokaana 8:31, 32.
Yesu yandizzeemu atya ebibuuzo ebitaano ebyabuuziddwa waggulu?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Ddala Katonda gw’osinza omumanyi bulungi?