Abaakosebwa Omuyaga e Myanmar Baaweebwa Obuyambi
NGA Maayi 2, 2008, omuyaga Nargis gwakuba eggwanga lya Myanmar era ogwo gwe gwali omutwe omukulu mu mawulire mu nsi yonna. Kigambibwa nti abantu abaafa awamu n’abataamanyibwako mayitire baakunukkiriza 140,000, omuyaga ogwo bwe gwakuba ekitundu Omugga Irrawaddy we guggukira ku nnyanja.
Wadde nga mu kitundu ekyo mulimu Abajulirwa ba Yakuwa bangi, tewali n’omu yatuukako kabi. Kino okusinga kyava ku kuba nti baddukira mu Bizimbe by’Obwakabaka ebyazimbibwa nga bigumu bulungi. Ku kyalo ekimu, Abajulirwa 20 n’abantu abalala 80 baalinnya waggulu ku kasolya k’Ekizimbe ky’Obwakabaka ne babeera eyo okumala essaawa mwenda, okusobola okuwona amazzi agaali galinnye ffuuti 15. Ku bonna tewali yatuukako kabi. Kya nnaku nti abantu abalala 300 baafa ku kyalo ekyo. Ku byalo bingi, Ebizimbe by’Obwakabaka byokka bye byawonawo.
Ennaku bbiri ng’omuyaga gumaze okukuba ekitundu ekyo, ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa mu Yangon yasindika ekibinja ky’ab’oluganda okutwala obuyambi mu kibiina ky’e Bothingone ekiri mu kitundu ekyo. Ab’oluganda abo baayita mu bitundu bingi ebyali byonooneddwa ennyo, baalina okwewala abanyazi, era baayita ku mirambo mingi egyali givunda. Baatwala emmere, amazzi n’emisubbaawa, era be baasookera ddala okutuusa obuyambi ku kitundu ekyo. Nga bamaze okuwa Abajulirwa b’omu kitundu ekyo obuyambi, baabawa emboozi ezeesigamiziddwa ku Baibuli okubabudaabuda era babalekera Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola, olw’okuba ebyabwe awamu n’ebintu byabwe byonna byali bifiiridde mu muyaga.
Engeri Abajulirwa ba Yakuwa gye baatwalamu akatyabaga ako yali yeewuunyisa. Omujulirwa ow’omu kibiina ekimu eky’omu kitundu ky’e Irrawaddy ekyakubwa omuyaga yagamba nti: “Tufiiriddwa buli kimu. Amayumba gaffe gonna gasaanyeewo era ebirime byaffe byonna tewasigadde. N’amazzi ge tunywa gonna goonoonese olw’amataba. Naye Abajulirwa ba Yakuwa si beeraliikirivu nnyo ng’abantu abalala. Obwesige bwabwe babutadde mu Yakuwa n’ekibiina kye. Tujja kukola nga bwe tunaalagirwa, ka kibe kusigala ku kyalo kino oba kugenda walala wonna.”
Oluvannyuma lw’okufiirwa ebintu byabwe byonna, Abajulirwa 30 baatambula okumala essaawa kkumi nga bwe bayimba ennyimba z’Obwakabaka, okugenda mu kifo we baali babategekedde okusula, okufunira emmere, n’engoye. Kyokka nga tebannatuukayo, baakimanyako nti waaliwo olukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa olw’Ekitundu mu kibuga ekimu ekyali okumpi. Baasalawo okusookera mu lukuŋŋaana olwo bazzibweemu amaanyi mu by’omwoyo, babuuze ne ku Bakristaayo bannaabwe.
Mu kitundu ekyakubwa omuyaga, amayumba 35 ag’Abajulirwa gaasaanawo, 125 gaayonooneka, n’Ebizimbe by’Obwakabaka 8 ne byonoonekako katono. Eky’essanyu kiri nti ebizimbe by’ofiisi y’ettabi tebyayonooneka nnyo.
Olw’okuba omuyaga gwasuula emiti mingi, amakubo gonna agagenda ku ofiisi y’ettabi gaaziba. Mu ssaawa ntono ng’omuyaga guweddeyo, abantu abaweereza ku ofiisi y’ettabi abasukka mu 30 be beetaba mu kaweefube w’okutema emiti okugiggya mu makubo. Engeri gye baali bakolamu yeewuunyisa nnyo abantu abaabalaba. Mu kiseera kitono, Abajulirwa abakyala baali baleetedde ab’oluganda abo awamu n’abalala abaaliwo eby’okunywa n’eby’okulya, ekintu ekyewuunyisa ennyo abalabi. Oluvannyuma lw’okulaba bino byonna munnamawulire omu yabuuza nti, “Bano baani abakola mu ngeri eyeewuunyisa bw’eti?” Bwe baamutegeeza yaddamu nti, “Kale singa abantu bonna baalina omwoyo ogw’okukolera awamu ng’Abajulirwa ba Yakuwa!”
Abajulirwa ba Yakuwa baateekawo mangu obukiiko bubiri okukwanaganya omulimu gw’okutuusa obuyambi ku b’oluganda mu bitundu ebitali bimu. Abajulirwa bikumi na bikumi beenyigira mu mulimu ogwo nga bakola nga bannakyewa. Mu nnaku ntono, Abajulirwa abaali bafiiriddwa amayumba gaabwe baali bazimbiddwa amalala. Abantu b’omu kitundu ekimu baawuniikirira nnyo okulaba ng’Abajulirwa bazze okuzzaawo ennyumba ya munnaabwe. Omu ku baliraanwa be yagamba nti: “Mazima laba ab’ekkanisa y’omukazi ono Omujulirwa bazzizzaawo ennyumba ye. Kyokka tewali n’omu ku b’enzikiriza yange ey’Ababuda azze kunnyamba. Kale singa nnafuuka Omujulirwa wa Yakuwa omukazi oyo lwe yajja okumbuulira!”
Mu kibuga Thanlyn, abazimbi beewuunya nnyo bwe baagenda okuddaabiriza ennyumba ya Bajulirwa bannaabwe eyali nga kumpi eweddewo, kyokka bo ne babagamba nti: “Tewali nnyo mutawaana. Ennyumba yaffe teyayonoonese nnyo era tukyasobola okugisulamu—temufaayo! Waliwo Abajulirwa abalala abatakyalina we basula. Waakiri mugende muyambe abo!”
Mu kitundu ekimu mu kibuga Yangon, abatuuze baagezaako okuddukira mu masinzizo beewogome eyo omuyaga. Kyokka, kyababuukako okusanga nga gonna masibe era nga tewali muntu w’ayinza kuyita kuyingira. Kino kyabanyiiza nnyo ne batuuka n’okwagala okumenya enzigi bayingire. Ku luuyi olulala, Abajulirwa ba Yakuwa baabudamya abantu bangi mu Bizimbe by’Obwakabaka ng’omuyaga gukunta. Ng’ekyokulabirako, mu kibuga Dala, Omujulirwa omu ne mukyala we baabudamya baliraanwa baabwe 20 mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bwagenda okukya, ng’abantu abo enjala ebali bubi, ate nga tebalina gye badda olw’okuba ennyumba zaabwe zaali zisaanyeewo. Omujulirwa oyo yafuna w’agula omuceere, n’aliisa abantu abo bonna.
Mu maka agamu mu Yangon, mwalimu Abajulirwa ba Yakuwa n’abalala ab’enzikiriza ez’enjawulo. Oluvannyuma lw’omuyaga, bonna wamu bajja mu lukuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Lwaki? Omu ku bo yagamba nti: “Ab’omu kkanisa yaffe baasuubiza okutuyamba ng’omuyaga guyise, naye tebaalabikako. Abajulirwa ba Yakuwa be bokka abajja. Mwatuwa emmere n’amazzi era muli ba njawulo nnyo ku madiini amalala!” Ab’omu maka ago abataali Bajulirwa baanyumirwa nnyo bye bayiga mu kitundu kya Omunaala gw’Omukuumi ekyalina omutwe, “Yakuwa Atuwuliriza Bwe Tumukaabirira,” era beenyigira mu kukikubaganyako ebirowoozo.
Omukyala omu eyali asoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa yajja mu nkuŋŋaana z’ekibiina nga wayise wiiki emu bukya omuyaga guyita. Mu lukuŋŋaana olwo, ebbaluwa eyali evudde ku ofiisi y’ettabi yasomebwa, ng’ettottola ebyali bikoleddwa okuyamba ab’oluganda, ssaako n’okwogera ku ngeri abamu gye baali bawonyeemu omuyaga ogwo. Ng’ebbaluwa ekyasomebwa, omukyala oyo yatandika okukaaba. Yakwatibwako nnyo era yasanyuka okuwulira nti Abajulirwa bonna baali bazuuliddwa gye bali era nga tebaliiko mutawaana. Oluvannyuma yaweebwa obuyambi, n’azimbirwa n’eweema okumpi n’awaali ennyumba ye. Yagamba nti Abajulirwa ba Yakuwa baamulabirira bulungi nnyo.
Yesu yagamba nti: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yokaana 13:35) Omuyigiriza Yakobo naye yagamba nti okukkiriza okwa nnamaddala kulina okugenderako ebikolwa ebirungi. (Yakobo 2:14-17) Yee, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba okukolera ku bigambo ebyo nga bayamba abo abali mu bwetaavu.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 11]
Baibuli egamba nti okukkiriza okwa nnamaddala kulina okugenderako ebikolwa ebirungi