Katonda Ye Yekka Asobola Okuwonyawo Ensi
“LUULU ERI MU NNYANJA ENZIRUGAVU.” Bw’atyo Edgar Mitchell bwe yayogera ku ndabika y’ensi bwe yagirengerera mu bwengula ng’ali mu kizungirizi.
Katonda yakola ensi n’obwegendereza bwa maanyi ng’agiteekateeka esobole okubeerako abantu. Engeri gye yagitondamu yaleetera bamalayika okuleekaana “olw’essanyu.” (Yobu 38:7) Bwe tuyiga ebintu ebiwuniikiriza ebikwata ku nsi eno, naffe kituleetera okukola kye kimu. Waliwo ebintu bingi nnyo mu nsi ebikolagana mu ngeri ennuŋŋamu ne bigisobozesa okubeerako obulamu. Ng’ekyokulabirako, ebimera ebya kiragala byekolera emmere nga byeyambisa omusana, omukka oguli mu mpewo oguyitibwa carbon dioxide, n’amazzi. Mu kukola ekyo, ebimera ebyo bifulumya omukka oguyitibwa oxygen, ogw’omugaso ennyo eri obulamu bwaffe.
Baibuli eraga nti obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ensi Katonda yabukwasa bantu. (Olubereberye 1:28; 2:15) Kyokka, okusobola okukuuma obulungi obutonde bw’ensi, abantu kyali kibeetagisa okuba n’endowooza ennuŋŋamu. Kyali kibeetaagisa okuba ng’ensi mwe babeera bagyagala nnyo, era nga baagala okugirabirira. Naye olw’okuba abantu baatondebwa nga ba ddembe okukola nga bwe baagala, baali basobola okusalawo okukozesa ensi mu ngeri embi ne bagyonoona. Kya nnaku nti kino kyennyini kye baakola. Ebivudde mu kwoleka obulagajjavu n’omululu bibadde bya kabi nnyo.
Ka tumenyeyo ebimu ku byo: (1) Okutema ebibira kireetedde omukka oguyitibwa carbon dioxide oguli mu mpewo okweyongera obungi, era nga kino kirabika kye kiviirako embeera z’obudde oluusi okuba ez’akabi ennyo. (2) Okufuuyira ekisusse eddagala eritta obuwuka kiviiriddeko ebiwuka bingi eby’omugaso okufa, omuli n’ebyo ebitambuza empumbu esobozesa ebimera okubala. (3) Okuvuba ekisusse n’okuyiwa obukyafu mu nnyanja ne mu migga kireetedde omuwendo gw’eby’ennyanja okukendeera ennyo. (4) Olw’okuba obugagga bw’ensi bukozeseddwa mu ngeri ya mululu, tebujja kusobola kuyimirizaawo bantu mu biseera eby’omu maaso, era okubikozesa mu ngeri eyo kyongedde ku kubuguma kw’ensi. Abalwanirizi b’obutonde bw’ensi abamu bagamba nti omuzira okugenda nga gukendeera ku nsozi ne mu bitundu by’ensi ebinnyogovu ennyo kiragira ddala nti ensi yeeyongedde okubuguma.
Obutyabaga obuva ku butonde okweyongera obungi kireetedde abamu okugamba nti kati ensi nayo eri mu kwerwanako, ebonereze abantu abajoonoona. Katonda yatuwa ensi tugibeereko awatali kugisasulira. (Olubereberye 1:26-29) Kyokka, embeera ensi gy’erimu eraga nti abantu bangi tebafaayo kugirabirira. Bali mu kwekolera byabwe na kwenoonyeza bye baagala. Mu butuufu, engeri gye bagikozesezzaamu si ya buvunaanyizibwa n’akamu—‘bagyonoonye’ bwonoonyi nga bwe kyalagulwa mu Okubikkulirwa 11:18.
Obunnabbi bwa Baibuli bulaga nti ekiseera kituuse Yakuwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, era eyatonda buli kimu ekisobozesa obulamu okubaawo ku nsi, “agobe” mu nsi abo bonna abagyonoona. (Zeffaniya 1:14; Okubikkulirwa 19:11-15) Kino agenda kukikola mu bwangu okusinga bwe tulowooza, ng’abantu tebannayonoona nsi kisukkiridde.a (Matayo 24:44) Yee, Katonda ye yekka asobola okuwonyawo ensi.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo ku biseera bye tulimu, laba akatabo Beera Bulindaala! akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa