Okkiriza Yakuwa Okubaako by’Akubuuza?
BAIBULI erimu ebibuuzo bingi ebisobola okutuuka ku mutima gw’omuntu. Mu butuufu, Yakuwa Katonda kennyini oluusi akozesa ebibuuzo ng’alina by’ayagala okuyigiriza abantu. Ng’ekyokulabirako, Yakuwa yakozesa ebibuuzo ebiwerako bwe yali alabula Kayini okuleka ekkubo lye ebbi. (Lub. 4:6, 7) Oluusi ekibuuzo Yakuwa kye yabuuzanga kyaleeteranga omuntu okubaako ky’akolawo. Bwe yawulira nga Yakuwa abuuza nti: “N[n]aatuma ani, era anaatugenderera ani?” nnabbi Isaaya yayanukula nti: “Nze nzuuno: ntuma nze.”—Is. 6:8.
Yesu, Omuyigiriza Omukulu, naye yakozesanga ebibuuzo. Mu bitabo by’Enjiri mulimu ebibuuzo ebissuka mu 280 Yesu bye yabuuza. Wadde ng’oluusi yakozesanga ebibuuzo okusirisa abalabe be, emirundi egisinga ekigendererwa kye kyali kya kutuuka ku mitima gy’abo ababanga bamuwuliriza, kibayambe okufumiitiriza ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo. (Mat. 22:41-46; Yok. 14:9, 10) Mu ngeri y’emu, omutume Pawulo, eyawandiika ebitabo 14 ebiri mu Byawandiikibwa eby’Oluyonaani, yakozesa ebibuuzo mu ngeri esendasenda. (Bar. 10:13-15) Ng’ekyokulabirako, mu bbaluwa gye yawandiikira Abaruumi mulimu ebibuuzo bingi. Ebibuuzo Pawulo bye yabuuza bireetera abo abasoma ebbaluwa ze okumanya n’okusiima ‘obugagga bwa Katonda, amagezi ge, n’okumanya kwe eby’obuziba.’—Bar. 11:33.
Wadde ng’ebibuuzo ebimu byetaagisa omuntu okubaako ky’addamu, ebirala bimuyamba okufumiitiriza. Enjiri ziraga nti Yesu yakozesanga nnyo ebibuuzo okuyamba abantu okufumiitiriza. Lumu, Yesu yalabula abayigirizwa be ng’abagamba nti: “Mutunule, mwekuume ekizimbulukusa ky’Abafalisaayo n’ekya Kerode,” kwe kugamba, obunnanfuusi n’enjigiriza zaabwe ez’obulimba. (Mak. 8:15; Mat. 16:12) Abayigirizwa ba Yesu baalemererwa okutegeera kye yali ategeeza era ne batandika okukaayana olw’okuba baali beerabidde okuleeta emigaati. Weetegereze engeri Yesu gye yakozesaamu ebibuuzo mu mbeera eno. “[Y]abagamba nti: ‘Lwaki mukaayana olw’obutaleeta migaati? Temunnamanya era temunnafuna makulu? Emitima gyammwe gikyazibuwalirwa okutegeera? “Wadde nga mulina amaaso, temulaba? Era wadde nga mulina amatu, temuwulira?” . . . Era temunnafuna makulu?’” Ebibuuzo bino Yesu bye yabuuza byaleetera abayigirizwa be okufumiitiriza, ekyo ne kibayamba okutegeera amakulu g’ebyo bye yayogera.—Mak. 8:16-21.
‘Ka Mbeeko Bye Nkubuuza’
Yakuwa Katonda yakozesa ebibuuzo okusobola okutereeza endowooza y’omuweereza we Yobu. Ng’akozesa ebibuuzo ebiwerako, Yakuwa yayamba Yobu okukiraba nti yali wa wansi nnyo bw’ageraageranyizibwa ku Mutonzi we. (Yob., sul. 38-41) Yakuwa yali asuubira Yobu okuddamu ebibuuzo ebyo? Kirabika si bwe kiri. Ebibuuzo gamba nga “Wali oli ludda wa bwe nnassaawo emisingi gy’ensi?” byali bigendereddwa kuyamba Yobu okufumiitiriza. Yakuwa bwe yali tannaba na kumalayo bibuuzo bye yali amubuuza, Yobu eby’okwogera byali bimuweddeko. Yobu yagamba nti: “N[n]akuddamu ntya? Nteeka omukono gwange ku kamwa kange.” (Yob. 38:4; 40:4) Yobu yategeera bulungi ensonga ezo, ekyo ne kimuyamba okuba omuwombeefu. Yakuwa teyakoma ku kuyamba Yobu kuba muwombeefu kyokka, naye era yamuyamba okutereeza endowooza ye. Mu ngeri ki?
Wadde nga Yobu yali ‘musajja eyatuukirira,’ oluusi ebigambo bye byalaga nti yalina endowooza enkyamu. Ekyo Eriku yakiraba era yanenya Yobu ‘olw’okweyita omutuukirivu okusinga Katonda.’ (Yob. 1:8; 32:2; 33:8-12) Bwe kityo, ebibuuzo Yakuwa bye yabuuza era byayamba Yobu okulaba ebintu mu ngeri entuufu. Ng’ayogera ne Yobu okuyitira mu mbuyaga, Katonda yagamba nti: “Ani ono aleeta [e]kizikiza mu kuteesa n’ebigambo ebitaliimu kumanya? Kale nno weesibe ekimyu ng’omusajja; kubanga n[n]aakubuuza, naawe onziremu.” (Yob. 38:1-3) Ng’akozesa ebibuuzo, Yakuwa yakiraga nti alina amagezi n’amaanyi ebitenkanika ng’ebikolwa bye eby’ekitalo bwe biraga. Ekyo kyayamba Yobu okwongera okwesiga Yakuwa n’engeri gy’akwatamu ensonga. Nga Yobu yafuna enkizo ey’ekitalo—okubuuzibwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna kennyini!
Engeri gye Tuyinza Okuleka Yakuwa Okubaako by’Atubuuza
Ate kiri kitya ku ffe? Naffe tusobola okuganyulwa mu bibuuzo ebiri mu Baibuli? Yee! Singa tufumiitiriza ku bibuuzo ebyo, kisobola okutuganyula mu by’omwoyo. Ebibuuzo ebituuka ku mutima ebiri mu Kigambo kya Katonda bye bimu ku bintu ebikifuula eky’amaanyi. Mu butuufu, “ekigambo kya Katonda . . . kya maanyi . . . era kisobola okutegeera ebirowoozo n’ebiruubirirwa by’omutima.” (Beb. 4:12) Kyokka okusobola okukiganyulwamu mu bujjuvu, tulina okukitwala nti ebibuuzo ebikirimu Yakuwa abibuuza ffe kennyini. (Bar. 15:4) Ka tulabeyo ebyokulabirako.
“Omulamuzi w’ensi zonna talikola bya butuukirivu?” (Lub. 18:25) Ibulayimu yabuuza Yakuwa ekibuuzo kino Katonda bwe yali anaatera okuzikiriza ebibuga Sodomu ne Ggomola. Ibulayimu yakiraba nti Yakuwa yali tasobola kukola bya butali bwenkanya—okuzikiriza abatuukirivu awamu n’ababi. Ekibuuzo ekyo Ibulayimu kye yabuuza kyalaga nti yali mukakafu nti ebintu byonna Yakuwa by’akola bya butuukirivu.
Leero, abamu bayinza okutandika okuteebereza ku ngeri Yakuwa gy’ajja okusalamu emisango mu biseera eby’omu maaso, gamba ng’ani anaawonawo ku Kalumagedoni oba anaazuukizibwa. Mu kifo ky’okumalira ebiseera ku bintu ng’ebyo, tusaanidde bulijjo okujjukira ekibuuzo ekyo Ibulayimu kye yabuuza. Okufaananako Ibulayimu, okukimanya nti Yakuwa ye Kitaffe ow’okwagala, omwenkanya era omusaasizi, kijja kutuyamba obutamalira biseera byaffe na maanyi gaffe mu kweraliikirira ekiteetaagisa, mu kubuusabuusa, oba mu kuwakana ebitaliimu.
“Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira ayinza okwongerako katono ku buwanvu bw’ekiseera ky’obulamu bwe?” (Mat. 6:27) Bwe yali ayogera eri ekibiina ky’abantu omwali n’abayigirizwa be, Yesu yabuuza ekibuuzo kino okubayamba okulaba ensonga lwaki baalina okwesiga Yakuwa okubalabirira. Mu nnaku zino ez’oluvannyuma waliwo ebitweraliikiriza bingi, kyokka okumalira ebirowoozo byaffe ku bintu ng’ebyo tekisobola kulongoosa oba kwongera ku buwanvu bwa bulamu bwaffe.
Singa ebintu ebitutuukako oba ebituuka ku baagalwa baffe bituleetera okweraliikirira, okujjukira ekibuuzo ekyo Yesu kye yabuuza kisobola okutuyamba okusigala nga tulina endowooza ennuŋŋamu. Kino kisobola okutuyamba okulekera awo okweraliikirira n’obutalowooza nnyo ku bintu ng’ebyo, ekiyinza okutuleetera okuggwamu amaanyi. Nga Yesu bwe yagamba, Kitaffe ow’omu ggulu, oyo aliisa ebinyonyi eby’omu bbanga era ayambaza amalanga g’oku ttale, amanyi bulungi bye twetaaga.—Mat. 6:26-34.
“Omuntu ayinza okuwambaatira omuliro mu kifuba kye, ebyambalo bye ne bitaggya?” (Nge. 6:27) Essuula omukaaga ezisooka mu kitabo ky’Engero ziraga engeri taata omu gy’abuuliriramu mutabani we. Ekibuuzo ekiragiddwa waggulu kiraga ebizibu ebiva mu bwenzi. (Nge. 6:29) Singa tukizuula nti tutandise okuzanyirira n’abo be tutafaananya kikula oba nga tutandise okulowooza ku ky’okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, tusaanidde okujjukira ekibuuzo ekyo. Ate era ekibuuzo ekyo kisobola okutuyamba ne mu mbeera endala nga tutandise okukwata ekkubo ekyamu. Ng’ekibuuzo ekyo kiggumiza bulungi omusingi gwa Baibuli guno: ‘Ky’osiga ky’okungula’!—Bag. 6:7.
“Ggwe ani asalira omuweereza w’omulala omusango?” (Bar. 14:4) Mu bbaluwa ye eri Abaruumi, Pawulo yayogera ku bizibu ebyaliwo mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka. Abakristaayo abamu, okuva bwe kiri nti baali baava mu mbeera ez’enjawulo, baavumiriranga bakkiriza bannaabwe olw’okusalawo n’okweyisa mu ngeri eyawukana ku yaabwe. Ekibuuzo Pawulo kye yabuuza kyabayamba okukijjukira nti baalina okukolagana obulungi ne bannaabwe n’okuleka okusala omusango mu mikono gya Yakuwa.
Mu ngeri y’emu, leero abantu ba Yakuwa bava mu mbeera ezitali zimu. Kyokka, Yakuwa atuyambye okubeera obumu. Tufuba okukuuma obumu obwo? Singa tukizuula nti twanguwa okunyiiga nga baganda baffe basazeewo mu ngeri eyawukana ku yaffe, kyandibadde kya magezi okwebuuza ekibuuzo kya Pawulo ekyo waggulu!
Ebibuuzo Bituyamba Okusemberera Yakuwa
Ebyokulabirako ebyo waggulu biraga engeri ebibuuzo ebiri mu Kigambo kya Katonda gye bisobola okuyamba omuntu okwekebera. Bwe twekenneenya ekyaviirako ebibuuzo ebyo okubuuzibwa kiyinza okutuyamba okulaba engeri gye bitukwatako mu bulamu bwaffe. Era bwe tuneeyongera okusoma Baibuli, tujja kuzuula ebibuuzo ebirala bingi eby’omuganyulo.—Laba akasanduuko ku lupapula 14.
Bwe tufumiitiriza ku bibuuzo ebiri mu Kigambo kya Katonda kituyamba okutuukanya obulamu bwaffe n’amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu. Oluvannyuma lwa Yakuwa okumubuuza ebibuuzo, Yobu yagamba nti: “N[n]ali nkuwuliddeko n’okuwulira kw’okutu; naye kaakano eriiso lyange likulaba.” (Yob. 42:5) Yee, Yobu yatandika okulaba Yakuwa nga muntu wa ddala gy’ali, ng’alinga amulaba n’amaaso ge. Omuyigirizwa Yakobo naye yagamba nti: “Musemberere Katonda naye anaabasemberera.” (Yak. 4:8) N’olwekyo, ka tuleke buli kimu ekiri mu Kigambo kya Katonda, nga mw’otwalidde n’ebibuuzo, okutuyamba okukula mu by’omwoyo n’okweyongera ‘okulaba’ Yakuwa ng’omuntu owa ddala!
[Akasanduuko akali ku lupapula 14]
Okwebuuza ebibuuzo nga bino kiyinza kitya okukuyamba okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira?
▪ “ Mukama asanyukira ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka okwenkana nga bw’asanyukira okugondera eddoboozi lya Mukama”—1 Sam. 15:22.
▪ “ Eyabumba eriiso, taliraba?”—Zab. 94:9.
▪ “ Olaba omuntu ow’amagezi mu kulowooza kwe ye?”—Nge. 26:12.
▪ “ Ggwe okoze bulungi okusunguwala?”—Yon. 4:4.
▪ “ Kigasa ki omuntu okulya ensi yonna naye n’afiirwa obulamu bwe?”—Mat. 16:26.
▪ “ Ani anaatwawukanya ku kwagala kwa Kristo?”—Bar. 8:35.
▪ “ Kiki ky’olina ky’otaaweebwa?”—1 Kol. 4:7.
▪ “ Ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?”—2 Kol. 6:14.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Ebibuuzo Yakuwa bye yabuuza Yobu byamuyigiriza ki?