LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 4/15 lup. 29-32
  • Yakuwa Ayagala Oleme Kutuukibwako Kabi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Ayagala Oleme Kutuukibwako Kabi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okwewala Obubenje Wansi w’Amateeka ga Musa
  • Okwewala Obubenje nga Tuzimba
  • Obukulu bw’Okwagala
  • Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka —Mulimu Mukulu Nnyo mu Buweereza Obutukuvu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 4/15 lup. 29-32

Yakuwa Ayagala Oleme Kutuukibwako Kabi

EKINTU ekisingirayo ddala okuba eky’akabi mu byafaayo bwe kiribalukawo, Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna ajja kukakasa nti abo bonna abasiimibwa mu maaso ge ‘balokolebwa.’ (Yo. 2:32) Naye ekituufu kiri nti Yakuwa bulijjo ayagala okukuuma abantu be obutatuukibwako kabi. Okuva bwe kiri nti ‘ye nsibuko y’obulamu,’ abantu bonna abatwala nga ba muwendo, era abasaana okukuumibwa.​—Zab. 36:9, NW.

Abaweereza ba Katonda ab’edda nabo baalina endowooza ng’eyiye ku bulamu. Okusinziira ku Olubereberye 33:18, Yakobo n’ab’omu maka ge baasobola okumalako olugendo olwali olw’akabi ne batuuka mirembe. Wadde nga Yakobo yeesigama ku Yakuwa okubakuuma, naye alina kye yakolawo okukuuma abantu bonna be yali nabo. (Lub. 32:7, 8; 33:14, 15) N’olwekyo, okukolera ku misingi gya Baibuli kijja kukuyamba okwewala okutuukibwako akabi awamu n’abalala. Kati ka tulabe engeri kino gye kiyinza okuyambamu abo abazimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima, era n’abo abadduukirira ababa bagwiriddwaako obutyabaga.

Okwewala Obubenje Wansi w’Amateeka ga Musa

Amateeka ga Musa gaali geetaagisa abantu ba Katonda okwegendereza obutatuukibwako kabi. Ng’ekyokulabirako, Omuisiraeri bwe yabanga azimba ennyumba yalinanga okuteekako omuziziko. Olw’okuba abantu baateranga okubeera waggulu ku mayumba gaabwe, emiziziko gyabayambanga obutavaayo kugwa. (1 Sam. 9:26; Mat. 24:17) Singa akabenje kaagwangawo olw’okulagajjalira etteeka lino, Yakuwa yavunaananga nnannyini nnyumba.​—Ma. 22:8.

N’abo abaalundanga ebisolo baalinanga okukakasa nti tebituusa bulabe ku balala. Singa ente ennume yatomeranga omuntu n’emutta, nnannyiniyo yalinanga okugitta ereme kutuusa bulabe ku bantu balala. Olw’okuba yali tasobola kugirya wadde okugiguza abalala, okutta ensolo eyo kyamufiirizanga nnyo. Ate kiri kitya singa ente ennume yatomeranga omuntu n’etemutta kyokka nnannyiniyo n’atafaayo kugisiba? Watya singa ente eyo yaddamu okutomera omuntu omulala n’emutta? Ente eyo yalinanga okuttibwa wamu ne nnannyiniyo. Etteeka eryo lyaleeteranga omuntu yenna eyalina omuze ogw’obutafaayo ku bisolo bye okwegendereza.​—Kuv. 21:28, 29.

Amateeka ago era gaaleeteranga abantu okwegendereza nga bakozesa ebintu byabwe. Abaisiraeri bangi baakozesanga embazzi okwasa enku. Naye singa embazzi eyo yavanga ku muyini gwayo n’etema omuntu n’emutta, oyo eyabanga ayasa enku yalinanga okuddukira mu kibuga eky’okuddukiramu. Teyalinanga kuvaayo okutuusa nga kabona asinga obukulu afudde. Ekyo kyali kitegeeza nti oyo eyattanga omuntu mu butanwa teyasobolanga kubeera wamu na ba mu maka ge okumala emyaka. Ekyo kyayigirizanga Abaisiraeri nti obulamu Yakuwa abutwala nga butukuvu. Omuntu eyatunuuliranga obulamu nga Katonda bw’abutunuulira yafubanga okukuumira ebintu bye yakozesanga mu mbeera ennungi era yabikozesanga n’obwegendereza.​—Kubal. 35:25; Ma. 19:4-6.

Okusinziira ku mateeka ago, Yakuwa yakiraga bulungi nti yali ayagala abantu be okwegendereza obutaleeta bubenje mu maka gaabwe n’ebweru waago. Abo bonna abattanga oba abaaviirangako obubenje, ka babe nga baakikolanga mu butanwa, yabavunaananga. Endowooza ya Yakuwa ku nsonga eno tekyukanga. (Mal. 3:6) Ne leero ayagala abantu beewale obubenje era baleme na ku butuusa ku balala. Kino kikulu nnyo naddala nga tuzimba ebizimbe ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima.

Okwewala Obubenje nga Tuzimba

Tugitwala nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu gw’okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka, Ebizimbe by’Ekuŋŋaana Ennene, ne ofiisi z’amatabi. Era bwe tutyo bwe tutwala n’omulimu gw’okuyamba abo ababa bagwiriddwaako obutyabaga. Bulijjo twagala okukola obulungi emirimu gyaffe, nga mw’otwalidde n’obulimu obulabika ng’obutonotono, olw’okuba bwe tutakola tutyo tuyinza okuteeka obulamu bwaffe wamu n’obw’abalala mu kabi. (Mub. 10:9) Mu butuufu, bwe tubeera abeegendereza nga tukola emirimu gyaffe, tusobola okwewala obubenje bungi.

Baibuli egamba nti: “Abalenzi ekitiibwa kyabwe maanyi gaabwe: n’abakadde omutwe oguliko envi bwe bulungi bwabwe.” (Nge. 20:29) Amaanyi g’ekivubuka geetaagisa okusobola okukola emirimu egy’amaanyi. Naye n’abakozi abakaddiye​—olw’obumanyirivu bwe baba nabwo mu mulimu gw’okuzimba​—ba mugaso nnyo mu mirimu emitonotono egyetaagisa obukugu. Mu biseera by’emabega n’abo abakaddiye baakolanga emirimu egy’amaanyi nga bakyali bavubuka. Bw’oba ng’oli nnakyewa mupya, weetegereze engeri abo abalina obumanyirivu gye bakolamu emirimu gyabwe era ogoberere obulagirizi bwe bakuwa. Bw’oba ng’oyagala okuyiga obulungi omulimu gw’okuzimba, ab’oluganda abalina obumanyirivu bajja kukuyamba okuyiga ebintu bingi, nga muno gwe muli engeri y’okukozesaamu ebintu ebiyinza okuba eby’akabi n’engeri y’okusitulamu ebintu ebizito. Ekyo kijja kukuyamba okufuuka omukozi ow’omugaso, omwegendereza, era omusanyufu.

Abazimbi balina okuba abeegendereza ennyo nga bali ku mulimu. Ebintu bitera okukyukakyuka. Awantu awabadde ettaka eggumu leero, enkeera osangawo kinnya. Bakozi bano bayinza okuba nga baggyewo eddala w’obadde olisuubira oba ng’omukebe gwa langi bagutadde w’obadde tosuubira. Ebirowoozo byo bw’oba obitadde ku kintu kirala, oyinza okwesanga ng’ofunye akabenje. Amateeka agakwata ku by’okuzimba geetaagisa abazimbi okwambala ebintu ebibayamba okwewala okufuna obubenje nga bali ku mulimu. Ebintu gamba nga galubindi, ekikofiira ekigumu, n’engatto ezituukana n’omulimu gw’okola bisobola okukuyamba okwewala obubenje bungi ng’ozimba. Naye ebintu ebyo okusobola okukukuuma, olina okubyambala n’okubikuumira mu mbeera ennungi.

Wadde ng’ebintu bingi birabika ng’ebyangu okukozesa, kikwetaagisa okutendekebwa okusobola okubikozesa obulungi. Bw’oba nga tolina bumanyirivu mu kukozesa ekintu ekimu, tegeeza ow’oluganda atwala obuvunaanyizibwa. Ajja kukola enteekateeka osobole okutendekebwa. Kikulu nnyo okumanya obusobozi bwaffe we bukoma. Kino kyetaagisa nnyo okusobola okwewala okufuna obubenje era n’obutabutuusa ku balala nga muzimba.​—Nge. 11:2.

Abantu bangi batera okugwa ne bafuna ebisago nga bazimba. Nga tonnaba kulinnya ddaala, kakasa nti liri mu mbeera nnungi. Bw’oba ng’okola waggulu ku kasolya, kiba kirungi okwesiba ekisipi ekiyinza okukuyamba obutagwa. Bw’oba oyagala okumanya ky’olina okukola ng’ozimba waggulu, buuza oyo akwasiddwa obuvunaanyizibwa okulabirira omulimu gw’okuzimba.a

Ng’omuwendo gw’abawereza ba Yakuwa gugenda gweyongera mu nsi yonna, n’obwetaavu bw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima nabwo bugenda bweyongera. Abo abalabirira omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebirala ebiringa ebyo bavunaanyizibwa okukuuma endiga za Yakuwa ez’omuwendo ezikolera wansi w’obulagirizi bwabwe. (Is. 32:1, 2) Bw’oba oweereddwa enkizo okuwa ab’oluganda obulagirizi nga bazimba, teweerabira bukulu bwa kwegendereza bubenje. Kakasa nti ekifo we muzimbira kiyonjo era tekiriimu bintu biyinza kuleeta bubenje. Bwe wabaawo omuntu yenna eyeetaaga okujjukiza okwegendereza obubenje, kikole mu ngeri ey’ekisa. Tokkiriza baana bato oba abo abatalina bumanyirivu kugenda mu bifo ebiyinza okuba eby’akabi. Gezaako okumanya awayinza okuva akabenje nga bukyali, era teekateeka abazimbi okukola mu ngeri eneebayamba obutafuna bubenje. Kijjukire nti ekigendererwa kyaffe kwe kumaliriza omulimu nga tewali atuusiddwaako kabi.

Obukulu bw’Okwagala

Kyangu eri abo abakola omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka n’ebizimbe ebirala ebikozesebwa mu kusinza okw’amazima okufuna obubenje. N’olwekyo, abo abeenyigira mu mirimu ng’egyo balina okuba abeegendereza ennyo. Okukolera ku misingi gya Baibuli, okugoberera obulagirizi obuweebwa abazimbi, n’okukozesa amagezi, kijja kukuyamba obutatuukibwako bubenje era n’obutabutuusa ku banno.

Kiki ekitukubiriza okuba abeegendereza nga tukola omulimu gw’okuzimba? Kwagala. Yee, okwagala Yakuwa kutukubiriza okutunuulira obulamu nga Yakuwa bw’abutunuulira. Era okwagala bantu bannaffe kitukubiriza okwewala okukola ekintu kyonna ekiyinza okubatuusaako akabi. (Mat. 22:37-39) N’olwekyo, ka tukole kyonna ekisoboka okuyamba abo abakola omulimu gw’okuzimba obutatuukibwako kabi.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba akasanduuko “Engeri y’Okukozesaamu Obulungi Eddaala” ku lupapula 30.

[Akasanduuko/​Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Engeri y’Okukozesaamu Obulungi Eddaala

Mu mwaka ogwayita mu Amerika, abakozi abasukka mu 160,000 baafuna ebisago era n’abalala nga 150 baafa olw’okuva ku madaala ne bagwa. Bw’oba okozeseza eddaala, obulagirizi buno busobola okukuyamba okwewala okugwa.

◇ Tokozesa ddaala linyegenya buli wamu era togezaako na kuliddaabiriza. Lipangulule.

◇ Buli ddaala lirina obuzito bwe lisobola okuwanirira. Kakasa nti obuzito bwo awamu n’ebyo by’okozesa tebusukka obwo eddaala ly’okozesa lye busobola okuwanirira.

◇ Simba eddaala awantu awatereevu era awagumu obulungi. Tolisimba ku bintu ebitali binywevu gamba ng’ebibaawobaawo oba ebipippa.

◇ Tunula w’ossa ekigere ng’olinnya oba ng’okka eddaala.

◇ Toyimirira era totuula ku buntu obubiri obusembayo waggulu ku ddaala.

◇ Bw’oba ogenda okukozesa eddaala, kakasa nti lisukka w’ogenda okuliviirako ng’olinnye waakiri mita emu. Okusobola okukakasa nti eddaala ly’ogenda okulinnyako teriseerera, komerera obuti oba emisumaali ku ttaka w’olisimbye. Ekyo bwe kiba tekisoboka, funayo omuntu alikwatirire ng’okola. Siba eddaala waggulu gye likoma lireme kuseerera kugwa.

◇ Tokozesa buntu bw’amadaala kuwanirira lubaawo kw’ogenda kukolera.

◇ Tokunukiriza kulinnya oba kukwata wotatuuka ng’oli ku ddaala, kubanga kino kiyinza okuleetera eddala okugwa. Kakasa nti eddaala liba kumpi n’ekifo w’oyagala okukola kikuyambe okwewala okukunukiriza.

◇ Bw’oba okolera ku ddaala eriri mu mulyango, teeka ku luggi akapande akalabula abantu era lusibe. Bw’oba tosobola kusiba luggi olwo, teekawo omuntu alabule abaagala okuyitawo.

◇ Temugezzaako kukolera babiri ku ddaala limu okuggyako nga lyakolebwa kukolerwako bantu babiri.b

[Obugambo obuli wansi]

b Ebisingawo ebikwata ku ngeri y’okukozesaamu amadaala, laba Awake! eya Agusito 8, 1999, olupapula 22-24.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Amateeka ga Musa gaali geetaagisa abantu okuteeka omuziziko ku mayumba gaabwe

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share