Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka—Mulimu Mukulu Nnyo mu Buweereza Obutukuvu
1. Omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka gutuuse wa, era bwetaavu ki obukyaliwo?
1 Okuva programu y’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka lwe yatandika mu Ssebutemba 1999, ebizimbe 555 bye bizimbiddwa, ate 56 ne biddaabirizibwa mu Burundi, Kenya, Tanzania, ne Uganda. Tusiima nnyo omulimu omunene ogukolebwa ab’oluganda abazimba Ebizimbe eby’Obwakabaka awamu n’abalala ababayambako. Wadde ng’omulimu ogukoleddwa munene ddala, wakyaliwo bingi ebyetaagisa okukola. Tuyinza tutya ffenna okuwagira omulimu guno omukulu ennyo ogw’obuweereza obutukuvu eri Yakuwa?—Kub. 7:15.
2. Tuyinza tutya okuwagira omulimu ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka?
2 Weeweeyo Okukola nga Nnakyewa: Bw’oba ng’oli mubuulizi omubatize, tukukubiriza okwewaayo okolere wamu n’abo abazimba Ebizimbe eby’Obwakabaka. (Zab. 110:3) Abo bonna abeewaayo nga bannakyewa balina okuba abanyiikivu era nga basobola okukolagana obulungi n’abalala. (Zab. 133:1) Wadde nga tomanyi kuzimba, waliwo bingi by’osobola okukola mu mulimu guno. Oyinza n’okutendekebwa n’osobola okuyamba mu ngeri esingawo mu biseera eby’omu maaso.
3. Ngeri ki endala ze tuyinza okuwagiramu enteekateeka eno ey’okuzimba Ebizimbe eby’Obwakabaka?
3 Bw’oba nga tosobola kukola nga nnakyewa, osobola okuwagira abo abenyigidde mu mulimu guno ng’obazzaamu amaanyi. Oyinza n’okuyambako mu kibiina ng’otuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga bagenze okukola nga bannakyewa. Abakadde bwe bakola enteekateeka nga bukyali kibasobozesa okulabirira ekibiina obulungi ng’abamu bagenze okuzimba Ekizimbe ky’Obwakabaka. Awatali kubuusabuusa, Yakuwa asanyuka bwe tukolera awamu okuwagira omulimu gw’Obwakabaka.—Beb. 13:16.
4. Tuyinza tutya okusiima abo abeenyigidde mu kuzimba Ebizimbe eby’Obwakabaka?
4 Basiime: Kyetaagisa ebiseera bingi n’okukola n’amaanyi okusobola okuzimba ebizimbe eby’okusinzizaamu. N’olwekyo, abo ababa bayitiddwa okuyambako mu mulimu gw’okuzimba, emirundi egimu bamala ekiseera nga tebali mu bibiina byabwe. Kiba kirungi okusiima n’okuzzaamu amaanyi bannakyewa abo abeefiirizza okusobola okukola ‘omulimu ogwo.’—Bik. 6:3; Bar. 14:19.
5. Abo abeewaayo okukola nga bannakyewa bayinza batya okulaga nti balina enteekateeka ennungi?
5 Beera n’Enteekateeka Ennungi: Okubuulira ku Bwakabaka bwa Katonda gwe mulimu ogusinga obukulu mu kusinza kwaffe. (Mak. 13:10) N’olw’ensonga eyo, abo abazimba Ebizimbe eby’Obwakabaka bafuba okuteekateeka emirimu mu ngeri eneesobozesa bannakyewa obutava mu bibiina byabwe nga tekyetaagisa. Mu ngeri y’emu, abo abakola nga bannakyewa bafuba okuba n’enteekateeka ennungi ebasobozesa okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Ate era bafaayo okulaba nti obuvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina butuukirizibwa wadde nga tebaliiwo.
6. Kiki ekivaamu bonna abali mu kibiina bwe bakolaganira awamu okuwagira okusinza okw’amazima?
6 Omutume Pawulo yagamba nti ab’oluganda mu kibiina bakolera wamu kisobozese ekibiina ‘okweyongera okukula olw’okwezimba mu kwagalana.’ (Bef. 4:16) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’eri okusinza okw’amazima bituleetera okukolera awamu tusobole okuwagira omulimu gw’okubuulira era n’ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka.