Enteekateeka y’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka Yeeyongera mu Maaso
1 Mu 1983, mu Nkuŋŋaana ennene eza District ezaali mu Amerika ezaalina omutwe “Obumu obw’Obwakabaka,” kyalangirirwa nti waaliwo ssente ezaali zigenda okuteekebwawo okusobola okuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka mu Amerika ne Canada. Mu kiseera ekyo twali tetumanyi mikisa egyali gigenda okuva mu nteekateeka eyo. Twatandika okulaba okutuukirizibwa kw’ebigambo ebiri mu Zabbuli 92:4: “Kubanga ggwe, Mukama, onsanyusizza n’omulimu gwo: naajagulizanga emirimu gy’emikono gyo.”
2 Tuli basanyufu nnyo olw’ebyo ebikolebwa okuyitira mu nteekateeka eyo. Omulimu gw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka gugenda bukwakku leero. Mu ngeri emu oba endala, ffenna tulina enkizo ey’okwenyigira mu mulimu ogwo. Ekyo tukikola nga tuwaayo ensimbi ka zibeere ntono oba nnyingi okusobola okuyamba mu kuzimba ebifo ebirala eby’okusinzibwamu okwetooloola ensi yonna. Ab’oluganda bangi bawaayo ebyuma byabwe okukozesebwa, ssaako obudde bwabwe, amaanyi gaabwe n’obumanyirivu bwabwe. Okutuukirizibwa kw’enteekateeka eyo, kwesigamye ku bulagirizi, obuwagizi n’emikisa gya Yakuwa.—Zab. 127:1.
3 Amatabi ga sosayate mangi gagoberedde enkola eyatandikibwawo mu bibiina by’omu Amerika. Mu nsi nnyingi, wabeerawo akasanduuko mu Bizimbe by’Obwakabaka ababuulizi mwe bateeka ensimbi ez’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Mu Amerika, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Maaki 1997 kaalanga enkyukakyuka eyali egenda okukolebwa mu nteekateeka eno. Kaagamba: “Okuviira ddala ensawo y’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka bwe yatandikibwawo mu 1983, ab’oluganda bagiwagidde nnyo, ne kisobozesa ebibiina bingi okuwolebwa ensimbi ez’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ebibiina ebisoba mu 2,700 mu nsi eno bimaze okuganyulwa mu nteekateeka eno. Awatali ekyo, ebibiina bingi tebyandisobodde kuzimba oba kuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Kaakati waliwo obwetaavu obw’amangu okuwola ezimu ku nsimbi ezo ebibiina ebiri mu nsi enjavu. Sosayate wamu n’ebibiina ebiganyulwa mu kuwaayo kwammwe, bisiima nnyo obuwagizi bwammwe.”
4 Ekirango ekyo kyakubiriza ab’oluganda okwenyigira mu nteekateeka y’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka. Ensawo y’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka yagaziyizibwa okusobola okukola ku bwetaavu bw’ab’oluganda mu nsi yonna. Mu Amerika, ekitundu ekirala ekyafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 1997 kyagamba: “Wakyaliwo obwetaavu bw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka mu nsi yonna. Mu mwaka gw’obuweereza oguyise gwokka, ebibiina 3,288 ebippya byatandikibwawo. Bingi ku bibiina bino biri mu Afirika, Asiya, mu nsi z’Amerika ow’amassekkati n’amaserengeta, ne mu Bulaaya ow’omu Buvanjuba.”
5 Biki ebivudde mu nteekateeka eyo okuva mu kiseera ekyo? Akatabo 2001 Yearbook kaagamba: “Okuyitira mu nteekateeka eno, Ebizimbe by’Obwakabaka 453 bimaze okuzimbibwa mu nsi 30, n’ebirala 727 bizimbibwa. Okukolera buli nsi pulaani z’Ebizimbe by’Obwakabaka ebisobola okuzimbibwa n’ebintu ebiva mu kitundu ekyo, kye kisinze okuteekebwako essira. Mu Kenya bakozesa mayinja, mu Togo matofaali, ate mu Cameroon bakozesa bbulooka za musenyu oluvannyuma ne bazikubako pulasita. Mu ngeri eyo, ab’oluganda ab’omu kitundu basobola okufuna amangu obumanyirivu obwetaagisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa mu programu y’ensi yaabwe.”
6 Obujulizi obulaga nti Yakuwa awadde enteekateeka eno omukisa, busangibwa ku ssemazinga wa Afirika. Ng’otunuulira ebimu ku bifaananyi by’Ebizimbe by’Obwakabaka ebimaze okuzimbibwa, lowooza ku ngeri ebizimbe ebyo gye bireetedde omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa okukulaakulana! Ekyo kyeyoleka mu ngeri ssatu—obumu obw’ekibiina kyaffe eky’ensi yonna, engeri abantu b’omu kitundu gye bakwatiddwako, n’okweyongera kw’omuwendo gw’abantu abajja mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Wadde olupapula luno olw’omunda lulaga Ebizimbe by’Obwakabaka ebizimbiddwa mu Afirika, Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka mu myezi egijja bujja kulaga engeri enteekateeka y’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka gye yeeyongera mu maaso mu bitundu by’ensi ebirala.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 3]
CENTRAL AFRICAN REPUBLIC
Bimbo, Bangui
Begoua, Banguia
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Ukonga, Tanzania
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Accra, Ghana
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Salala, Liberia
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Allada Benin—Ekizimbe ky’Obwakabaka ekikadde
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Allada, Benin—Ekizimbe ky’Obwakabaka ekippya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]
Karoi, Zimbabwe
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Kpeme, Togo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Sokodé, Togo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 5]
Fidjrosse, Benin
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Lyenga, Zambia—Ekizimbe ky’Obwakabaka ekikadde
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Lyenga, Zambia—Ekizimbe ky’Obwakabaka ekippya
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Kinshasa, Congo
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]
Musambira, Rwanda