OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Osobola Okuwaayo Ebiseera Byo n’Amaanyi Go?
Nga Isaaya bwe yayogera, ekitundu eky’oku nsi eky’ekibiina kya Yakuwa kikulaakulanira ku sipiidi ya waggulu. (Is 54:2) Ekyo kireetawo obwetaavu bw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka ebipya, ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene, ne ofiisi z’amatabi. Oluvannyuma lw’okubizimba, biba byetaaga okulabirirwa obulungi era ebimu biba byetaaga okudaabirizibwa. Tuyinza tutya okuwaayo ebiseera byaffe n’amaanyi gaffe okusobola okuwagira emirimu egyo?
- Tusobola okwenyigira mu kulongoosa Ekizimbe kyaffe eky’Obwakabaka 
- Bwe wabaawo okutendekebwa okukwata ku ngeri y’okulabiriramu Ebizimbe by’Obwakabaka, tusobola okwewaayo ne tutendekebwa 
- Tusobola okujjuzaamu foomu eyitibwa Local Design/Construction Volunteer Application (DC-50), okuyambako ebiseera ebimu mu kuzimba n’okudaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka ebiri mu kitundu kyaffe 
- Tusobola okujjuzaamu foomu eyitibwa Application for Volunteer Program (A-19), okuyambako wiiki emu oba n’okusingawo ku mirimu egikolebwa ku Beseri oba ku kizimbe ekirala ekikozesebwa ettabi lyaffe 
MULABE EKITUNDU EKYAGGIBWA MU VIDIYO, PROJEKITI EMPYA EY’OKUZIMBA ERI MU NTEEKATEEKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
- Okukozesa vidiyo mu kusinza kwaffe kweyongedde kutya okuviira ddala mu 2014? 
- Okusobola okufuna vidiyo ze twetaaga, projekiti ki etegekeddwa, egenda kutandika ddi, era eneetwala bbanga ki? 
- Bannakyewa bayinza batya okuyamba ku projekiti eno? 
- Bwe tuba twagala okuyambako mu kuzimba okujja okubaawo e Ramapo, lwaki tusaanidde okujjuzaamu foomu eyitibwa DC-50 ne tuyambako ku mirimu egikolebwa ekitongole ky’okuzimba ekiri mu kitundu kyaffe? 
- Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa awadde enteekateeka eno omukisa? 
- Tuyinza tutya okuwagira projekiti eyo wadde nga tetuusobole kugenda kuzimba?