LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 2/15 lup. 8-9
  • Baabuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Baabuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Similar Material
  • “Beera Muvumu . . . Okole Omulimu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • “Beera Muvumu era Beera wa Maanyi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Mpa Obuvumu
    Muyimbire Yakuwa n’Essanyu
  • Beera Muvumu​—Yakuwa Ali Naawe!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 2/15 lup. 8-9

Baabuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu!

Obuvumu butuyamba nga tuyigganyizibwa. Nga bwe kiragibwa mu bitabo byaffe, gamba nga “Bearing Thorough Witness” About God’s Kingdom ne Jehovah’s Witnesses—Proclaimers of God’s Kingdom, Abakristaayo ab’amazima bulijjo babadde booleka obuvumu. Okufaananako bakkiriza bannaffe abaaliwo mu kyasa ekyasooka, naffe tusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu gutuyambe okwogera ekigambo kye n’obuvumu.​—Bik. 4:23-31.

Ng’ayogera ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira mu biseera bya ssematalo eyasooka, ow’oluganda omu yagamba nti: “Abaweereza ba Katonda baayoleka obunyiikivu nga bagaba ekitabo ekiyitibwa The Finished Mystery. Abantu bangi bakkiriza okusoma ekitabo ekyo. Mu 1918, tulakiti eyitibwa Amawulire g’Obwakabaka Na. 1 yafulumizibwa. Oluvannyuma, tulakiti eyitibwa Amawulire g’Obwakabaka Na. 2 nayo yafulumizibwa, era yannyonnyola ensonga lwaki ab’obuyinza baali tebaagala kitabo ekiyitibwa The Finished Mystery. Waayita akaseera katono, tulakiti eyitibwa Amawulire g’Obwakabaka Na. 3 nayo n’efulumizibwa. Abakristaayo abaafukibwako amafuta baagaba tulakiti ezo buli wamu. Kyali kyetaagisa obuvumu n’okukkiriza okusobola okugaba tulakiti ezo.”

Leero, ababuulizi b’Obwakabaka basooka kutendekebwa nga tebannatandika kubuulira, naye si bwe kityo bwe kyali mu biseera by’edda. Ng’ayogera ku ekyo ekyaliwo ku mulundi gwe yasooka okugenda okubuulira mu 1922, ow’oluganda omu enzaalwa ya Poland abeera mu Amerika yagamba nti: “Nnagenda ku ddwaliro ne nkonkona ku ofiisi y’omusawo. Nnali simanyi bwe bagaba bitabo ate nga n’Olungereza nnali sirumanyi bulungi. Nnansi yaggulawo oluggi. Sisobola kwerabira ekyo ekyaliwo. Nnatya nnyo! Bwe nnali nsumulula ensawo yange, ebitabo byange byonna byayiika ku bigere bya nnansi. Sijjukira bye nnayogera, naye kye nzijukira kiri nti nnamulekera akatabo. Oluvannyuma lw’okwogera ne nnansi oyo, nnafuna obuvumu era nnawulira nga Yakuwa ali nange. Nnasobola okugaba obutabo bungi ku lunaku olwo.”

Mwannyinaffe omu yagamba nti, “Awo nga mu mwaka gwa 1933, ab’oluganda bangi baabuuliranga amawulire g’Obwakabaka nga bakozesa emmotoka okwabanga emizindaalo.” Lumu, mwannyinaffe oyo yagenda n’ow’oluganda omu awamu ne mukyala we okubuulira mu nsozi za California mu Amerika. Yagamba nti, “Ow’oluganda yavuga emmotoka okwali emizindaalo n’agenda waggulu mu nsozi, nze ne mukyala we ne tusigala wansi mu kibuga. Ow’oluganda bwe yateekako akatambi okwali obubaka bwa Bayibuli, amaloboozi gaawulikika ng’agaali gava mu ggulu. Abantu abaali mu kibuga baagezaako okunoonya wa amaloboozi gye gaali gava naye nga buteerere. Akatambi bwe kaggwaako, twatandika okubuulira abantu abaali mu kibuga ekyo. Nnabuulirako n’ab’oluganda abalala babiri abaali bakozesa emmotoka okwali emizindaalo. Abantu abasinga obungi baali tebaagala kuwulira bubaka bwaffe. Kyokka, baali tebalina kya kukikolera kubanga amaloboozi agaavanga ku mmotoka okwabanga emizindaalo gaali gatuuka butereevu mu mayumba gaabwe. Kyeyoleka lwatu nti Yakuwa amanyi engeri entuufu ey’okutuusa amawulire amalungi ku bantu mu kiseera ekituufu. Engeri eyo ey’okubuulira yali yeetaagisa okwoleka obuvumu, naye yatuukiriza ekigendererwa kyayo, era erinnya lya Yakuwa lyagulumizibwa.”

Mu myaka gya 1930 ne 1940, ab’oluganda bangi baakozesanga gramufomu nga babuulira. Mwannyinaffe omu yagamba nti: “Muganda waffe omuto yali abuulira nnyumba ku nnyumba ng’akozesa gramufomu. Bwe yatuuka ku nnyumba emu n’abateerako gramufomu, ssemaka yakwatibwa obusungu n’asamba gramufomu n’egwa eri. Ekirungi kiri nti gramufomu eyo teyayonooneka. Waaliwo abasajja basatu abaali mu mmotoka nga balya emmere abaalaba ekyaliwo. Baayita muganda waffe oyo ne bamusaba abateereko gramufomu. Baasiima obubaka bwa Bayibuli era ne bakkiriza okutwala ebitabo byaffe. Ekyo kyazzaamu nnyo muganda waffe oyo amaanyi.” Kyali kyetaagisa obuvumu okusobola okugumira embeera ng’ezo.

Mwannyinaffe oyo yagattako nti: “Nzijukira ekiseera bwe twali nga twakatandika okugaba magazini ku nguudo mu 1940. Ng’omwaka ogwo tegunnatuuka, twatambulanga tukutte ebipande okwabanga obubaka bwe twayagalanga okutegeeza abantu. Ab’oluganda ne bannyinaffe baatambuliranga mu nnyiriri nga bakutte ebipande okwabanga emitwe egigamba nti, ‘Eddiini Kyambika era Zinyuunyunta’ ne ‘Weereza Katonda ne Kristo Kabaka.’ Ate era, twagabiranga abantu tulakiti ku bwereere. Kyali kyetaagisa obuvumu okusobola okukozesa engeri ezo ez’okubuulira, naye zaayamba nnyo mu kumanyisa erinnya lya Yakuwa eri abantu.”

Mwannyinaffe omulala yagamba nti, “Tekyabanga kyangu kugaba magazini ku nguudo z’omu bubuga obutono, nnaddala mu kiseera Abajulirwa ba Yakuwa bwe baali nga bayigganyizibwa nnyo. . . . Kyali kyetaagisa obuvumu okusobola okuyimirira ku nguudo okugaba magazini n’okwogerera waggulu ebigambo bye twabanga tugambiddwa okwogera. Wadde kyali kityo, tetwateranga kwosa kugenda kugaba magazini buli Lwamukaaga. Oluusi abantu bakkirizanga obubaka bwaffe. Naye ebiseera ebimu abantu abakambwe baatulumbanga era emirundi mingi twalinanga okudduka okwewala okutuusibwako obulabe.”

Wadde ng’Abajulirwa ba Yakuwa baali bayigganyizibwa nnyo mu biseera bya Ssematalo II, beeyongera okubuulira n’obuvumu. Ng’ekyokulabirako, mu kaweefube eyamala ennaku 43, okuva nga Ddesemba 1, 1940 okutuuka nga Jjanwali 12, 1941, ababuulizi nga 50,000 mu Amerika baagaba obutabo obusukka mu bukadde musanvu.

Ab’oluganda bangi abamaze emyaka emingi nga bali mu kibiina kya Yakuwa bajjukira embeera ezitali zimu ze baayitamu ezaali zibeetaagisa okwoleka obuvumu. Era bajjukira n’ebigambo bye baateranga okwogera okusobola okwoleka obuvumu bwabwe. Baagambanga nti: ‘Ka tubuulire n’obunyiikivu okutuukira ddala ku nkomerero.’ Tetumanyi ngeri omulimu gwaffe ogw’okubuulira gye gunaakolebwamu mu kiseera ekisigaddeyo enkomerero eryoke etuuke. Naye kye tumanyi kiri nti Yakuwa ajja kutuyamba okwongera okwoleka okukkiriza n’obuvumu nga tubuulira ekigambo kye.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 9]

Abakristaayo bulijjo kibadde kibeetaagisa okwoleka obuvumu nga bakola omulimu gw’okubuulira

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share