LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 4/1 lup. 8-9
  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Similar Material
  • “Nnalabika ng’Alina Buli Kimu Kye Nnali Nneetaaga”
    Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
  • Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Nnali Mukambwe era Wa Ffujjo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Baibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 4/1 lup. 8-9

BAYIBULI EKYUSA OBULAMU BW’ABANTU

“Nnalina empisa embi”

Byayogerwa Esa Leinonen

  • NNAZAALIBWA: 1960

  • ENSI: FINLAND

  • EBYAFAAYO: NNALI MUKUBI WA BIDONGO

OBULAMU BWANGE OBW’EMABEGA:

Nnakulira mu kitundu ekya bamufunampola ku mwalo ogw’omu kibuga Turku. Taata yali nnantameggwa mu muzannyo gw’ebikonde, era nze ne muganda wange omuto naffe twali bakubi ba bikonde. Abaana bwe bansoomoozanga ku ssomero, saalwangawo kulwana. Bwe nnatuuka mu myaka egy’obuvubuka, nneegatta ku kibinja ky’abavubuka abayaaye ekyandeetera okwenyigira mu bikolwa eby’obukambwe. Ate era, nnatandika okukuba ebidongo, n’okuluubirira okufuuka omuyimbi omwatiikirivu.

Nnagula ebidongo ne ntandikawo bbandi, era mu bbandi eyo nze nnali nkulembera abalala mu kuyimba. Bwe nnabanga nnyimba nnabuukirabuukiranga ku siteegi. Bbandi yaffe yayatiikirira nnyo olw’engeri gye twayimbangamu. Twatandika okuyimbira mu bifo eby’amaanyi. Ennyimba zaffe ezimu twazikwata ku butambi, era lwe twasembayo okukwata ku katambi lwatunda nnyo. Mu myaka gya 1980, twagenda mu Amerika tusobole okutumbula bbandi yaffe. Twayimbirako mu bibuga New York ne Los Angeles, era nga tetunnaddayo mu Finland twakola emikwano n’abamu ku bantu abatutumufu abatumbula eby’okuyimba.

Wadde nga nnanyumirwanga nnyo okuyimba, nnali mpulira ng’obulamu bwange si bwa makulu. Nnali nneetamiddwa omwoyo gw’okuvuganya n’empisa embi abayimbi abamu ze baalina. Ate era engeri gye nneeyisangamu teyali nnungi n’akamu, era nga ntya nti Katonda ajja kunjokya mu muliro ogutazikira. Nnagezaako okusoma ebitabo by’eddiini ebitali bimu, era nnasabanga nnyo Katonda annyambe wadde nga nnali ndowooza nti siyinza kumusanyusa.

ENGERI BAYIBULI GYE YAKYUSAAMU OBULAMU BWANGE:

Nnatandika okukola mu kitongole ekikola ku by’okuweereza amabaluwa, nsobole okweyimirizaawo. Lumu, nnakizuula nti omu ku bakozi bannange Mujulirwa wa Yakuwa. Nnamubuuza ebibuuzo bingi. Nnakwatibwako nnyo olw’engeri gye yabiddamu ng’akozesa Bayibuli, era ne nzikiriza anjigirize Bayibuli. Nga wayiseewo wiiki ntono, bbandi yaffe yayitibwa mu Amerika eweebwe kontulakiti ensava ey’okukwata ennyimba ku butambi n’okuzifulumya. Nnalaba nga kye twayagalizanga embazzi, kibuyaga yali asudde.

Nnagamba Omujulirwa wa Yakuwa eyali enjigiriza Bayibuli nti nnali njagala okufulumyayo olutambi olulala lumu lwokka, ndyoke ntandike okukolera ku ebyo bye nnali njiga mu Bayibuli. Teyampa ndowooza ye, naye yansaba nsome Matayo 6:24. Olunyiriri olwo lugamba nti: “Tewali n’omu ayinza kubeera muddu wa baami babiri.” Nnakwatibwako nnyo bwe nnategeera amakulu g’ebigambo bya Yesu ebyo. Oluvannyuma lw’ennaku ntono, nnagamba oyo eyali anjigiriza Bayibuli nti nnali nsazeewo okuva mu bbandi nsobole okufuuka omugoberezi wa Yesu. Ekyo kyamwewuunyisa nnyo!

Bayibuli yali ng’endabirwamu eyannyamba okwekebera. (Yakobo 1:22-25) Nnakiraba nti nnalina empisa embi; nnalina amalala, era nnali njagala nnyo okuba ow’ettutumu. Nnakozesanga olulimi olubi, nnalwananga, nnanywanga ssigala, era nnali lujuuju. Bwe nnamanya nti engeri gye nnali nneeyisaamu ekontana n’emisingi gya Bayibuli, nnawulira bubi. Wadde kyali kityo, nnali mwetegefu okukola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa.​—Abeefeso 4:22-24.

“Kitaffe ow’omu ggulu musaasizi, era asonyiyira ddala abo bonna ababa beenenyezza”

Mu kusooka, omuntu wange ow’omunda yannumirizanga nnyo olw’ebintu ebibi bye nnakolanga. Naye Omujulirwa wa Yakuwa eyanjigirizanga Bayibuli yannyamba nnyo. Yandaga ekyo Bayibuli ky’egamba mu Isaaya 1:18 awagamba nti: “Ebibi byammwe ne bwe biba ng’olugoye olumyufu, binaaba byeru ng’omuzira.” Ekyawandiikibwa ekyo n’ebirala ebiri mu Bayibuli, byankakasa nti Kitaffe ow’omu ggulu musaasizi, era asonyiyira ddala abo bonna ababa beenenyezza.

Bwe nnamanya nti Yakuwa Katonda wa ddala, nnamwagala nnyo era ne nsalawo okumuweereza. (Zabbuli 40:8) Nnabatizibwa mu 1992 ku lukuŋŋaana lw’Abajulirwa ba Yakuwa olw’ensi yonna olwali mu kibuga St. Petersburg, eky’omu Russia.

ENGERI GYE ŊŊANYUDDWAMU:

Nfunye emikwano emirungi mingi mu baweereza ba Yakuwa. Tutera okukuŋŋaanirako awamu ne tunyumirwa ekirabo eky’okuyimba Katonda kye yatuwa, nga tuyimba ennyimba ezituzimba. (Yakobo 1:17) Ate era, nnafuna ekirabo eky’omuwendo ennyo, nga ye mukyala wange omwagalwa ayitibwa Kristina. Olw’okuba buli kimu tukikolera wamu, tusobodde okuyita mu bizibu bingi era tuli basanyufu nnyo.

Singa saafuuka Mujulirwa wa Yakuwa, oboolyawo nnandibadde sikyali mulamu kubanga nnafunanga ebizibu buli kiseera. Naye kati nnina obulamu obw’amakulu, era ndaba nga buli kimu kintambulira bulungi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share