BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Katonda yalina kigendererwa ki ng’atonda ensi?
Katonda yatonda ensi ng’ayagala abantu bagibeereko nga basanyufu
Ensi eriko buli kimu ebitonde ebiramu kye byetaaga. Eriko amazzi agamala, agabeesaawo ebintu ebiramu. Ensi yeetooloolera ku sipiidi yennyini entuufu, era nga kino kisobozesa ennyanja obutakwata muzira olw’obunnyogovu, oba obutakalira olw’ebbugumu. Ebbanga liziyiza amaanyi g’enjuba ne gatatta biramu ebiri ku nsi. Ebimera n’ebisolo buli kimu kyetaaga kinnaakyo okusobola okubaawo, era ekyo kyewuunyisa nnyo. Ebyo byonna bireetedde abantu bangi okukakasa nti ddala Katonda yalina ekigendererwa bwe yali atonda ensi.—Soma Isaaya 45:18.
Naye oyinza okwebuuza, ‘Okubonaabona n’obutali bwenkanya ebiriwo kyali kigendererwa kya Katonda?’—Soma Ekyamateeka 32:4, 5.
Ekigendererwa kya Katonda eri ensi kinaatuukirira?
Katonda yatonda ensi ng’ayagala abantu bagibeereko nga basanyufu, nga baagalana, era nga bakola by’ayagala. Eyo ye nsonga lwaki abantu basingira wala ebisolo. Abantu basobola okuyiga ebikwata ku Mutonzi waabwe era basobola okukoppa engeri ze gamba ng’okwagala n’obwenkanya.—Soma Omubuulizi 12:13; Mikka 6:8.
Omutonzi waffe asobola okutuukiriza ebigendererwa bye byonna. N’olwekyo tusobola okuba abakakafu nti ajja kumalawo okubonaabona n’obutali bwenkanya era alongoose ensi eno, abantu bagibeereko nga basanyufu.—Soma Zabbuli 37:11, 29; Isaaya 55:11.