LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 8/1 lup. 6
  • Katonda asobola okukubudaabuda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Katonda asobola okukubudaabuda
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Engeri Katonda gy’Atubudaabudamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Okubudaabuda Okwa Nnamaddala Kuyinza Kusangibwa Wa?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • “Okubudaabuda Bonna Abanakuwadde”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lwaki Ekirabo Ekyo kya Muwendo Nnyo?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 8/1 lup. 6

EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA KATONDA AKUFAAKO?

Katonda Asobola Okukubudaabuda

“Katonda abudaabuda abo abaweddemu amaanyi, yatubudaabuda.”​—2 ABAKKOLINSO 7:6.

Omukyala ng’asoma Bayibuli ye

‘Omwana wa Katonda yanjagala ne yeewaayo ku lwange.’​—ABAGGALATIYA 2:20

ENSONGA LWAKI ABAMU BAKIBUUSABUUSA: Abantu abamu ne bwe bafuna ebizibu eby’amaanyi, baba bawulira nga tekyetaagisa kusaba Katonda abayambe. Omukyala omu ayitibwa Raquel yagamba nti: “Bwe ndowooza ku bantu abangi ennyo abasaba Katonda olw’ebizibu eby’amaanyi bye balina, nze mba ndaba ng’ebyange bitono nnyo era nga tekinneetaagisa kusaba Katonda.”

BAYIBULI KY’EYIGIRIZA: Katonda yakola dda enteekateeka ey’okuyamba abantu n’okubabudaabuda. Buli muntu ali ku nsi yasikira ekibi era ng’ekibi ekyo kitulemesa okukola mu bujjuvu Katonda by’ayagala. Wadde kiri kityo, Katonda “yatwagala n’atuma Omwana we [Yesu Kristo] okuba ssaddaaka ey’ebibi byaffe etutabaganya ne Katonda.” (1 Yokaana 4:10) Okuyitira mu ssaddaaka ya Yesu, Katonda atusonyiwa ebibi byaffe, tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo, era n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya.a Naye ssaddaaka eyo Katonda yagiwa buwi bantu bonna, oba eraga nti atufaako kinnoomu?

Lowooza ku mutume Pawulo. Yakwatibwako nnyo olwa ssaddaaka ya Yesu n’atuuka n’okugamba nti: “Obulamu bwe nnina mbulina lwa kukkiriza Omwana wa Katonda eyanjagala ne yeewaayo ku lwange.” (Abaggalatiya 2:20) Wadde nga Yesu we yafiira Pawulo yali tannafuuka Mukristaayo, ssaddaaka ya Yesu Pawulo yagitwala ng’ekirabo Katonda kye yali amuwadde.

Naawe oli omu ku abo Katonda be yawa ekirabo ekya ssaddaaka ya Yesu Kristo, era ekyo kiraga nti oli wa muwendo nnyo gy’ali. Kisobola okukuwa “okubudaabuda okw’olubeerera n’essuubi eddungi” ne weeyongera okukola ‘buli kikolwa ekirungi na buli kigambo ekirungi.’​—2 Abassessaloniika 2:16, 17.

Kyokka, kati wayiseewo emyaka nga 2000 bukya Yesu awaayo obulamu bwe nga ssaddaaka. Bukakafu ki obulaga nti leero Katonda akutwala nti oli wa muwendo nnyo gy’ali?

a Okumanya ebisingawo ebikwata ku ssaddaaka ya Yesu, laba essuula 5 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa abajulirwa ba Yakuwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share