LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp18 Na. 2 lup. 10-11
  • Ebisuubizo Ebijja Okutuukirira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebisuubizo Ebijja Okutuukirira
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “KIRITUUKIRIRIZA DDALA EKYO KYE NKITUMA OKUKOLA”
  • Mikwano gya Katonda Bajja kubeera mu Lusuku Lwe
    Osobola Okubeera Mukwano gwa Katonda!
  • Essuubi
    Zuukuka!—2018
  • Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
    Obulamu mu Nsi Empya Ey’Emirembe
  • ‘Emirembe Gijja Kuba Mingi Nnyo’ ng’Obwakabaka bwa Katonda Bufuga
    Zuukuka!—2019
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
wp18 Na. 2 lup. 10-11
Omusajja atunuulidde ensozi

Ebisuubizo Ebijja Okutuukirira

Amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka bwa Katonda gabuulirwa mu nsi yonna nga Yesu bwe yagamba. (Matayo 24:14) Ekitabo kya Danyeri kiraga nti Obwakabaka obwo gavumenti ya ddala Katonda gy’agenda okussaawo. Essuula ey’okubiri ey’ekitabo ekyo eraga obufuzi bw’ensi kirimaanyi obuzze bubaawo okuviira ddala ku Babulooni ey’edda, okutuuka leero. Bwe luba lwogera ku binaabaawo mu maaso, olunyiriri 44 lugamba nti:

“Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna. Bulibetenta era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bwo bwokka bwe bulibeerawo emirembe n’emirembe.”

Obunnabbi bwa Bayibuli obwo n’obulala, bulaga nti Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo gavumenti z’abantu, era buleete emirembe n’obutebenkevu mu nsi yonna. Obulamu buliba butya nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda? Ka tulabe ebimu ku bisuubizo bya Katonda ebinaatera okutuukirira.

  • Beekutte mu ngalo

    TEWAJJA KUBAAWO NTALO

    Zabbuli 46:9: “[Katonda] amalawo entalo mu nsi yonna. Amenya emitego gy’obusaale era amenyaamenya amafumu; ayokya amagaali ag’olutalo.”

    Teeberezaamu engeri obulamu gye bwandibaddemu singa ssente zonna n’amagezi ebiteekebwa mu kukola eby’okulwanyisa, bikozesebwa mu bintu ebigasa abantu mu kifo ky’ebyo ebibatta! Ekisuubizo ekyo kijja kutuukirira ng’ensi efugibwa Obwakabaka bwa Katonda.

  • Alinnyalinnya akasozi

    ENDWADDE TEZIRIBAAWO

    Isaaya 33:24: “Tewaliba muntu mu nsi eyo aligamba nti: ‘Ndi mulwadde.’”

    Teeberezaamu ensi etaliimu muntu yenna alwala ndwadde z’omutima, kookolo, omusujja, n’endwadde endala. Mu kiseera ekyo amalwaliro n’eddagala biriba tebikyetaagisa kubanga abantu baliba balamu bulungi.

  • Ensigo

    WAJJA KUBAAWO EMMERE EMALA

    Zabbuli 72:16: “Wanaabangawo emmere ey’empeke nnyingi mu nsi; eneeyitiriranga obungi ku ntikko z’ensozi.”

    Ensi ejja kubaza emmere emala, era nga buli muntu asobola okugifuna. Tewajja kubaawo njala n’okukonziba.

  • Omusajja, omukazi, n’omwana

    TEWAJJA KUBAAWO BULUMI, KUKAABA, WADDE OKUFA

    Okubikkulirwa 21:4: “[Katonda] alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi. Ebintu eby’olubereberye biriba biweddewo.”

    Abantu bajja kuba balamu emirembe gyonna era nga batuukiridde! Ebyo bye bintu Yakuwa Katonda waffe atwagala ennyo by’atusuubizza.

“KIRITUUKIRIRIZA DDALA EKYO KYE NKITUMA OKUKOLA”

Okkiriza nti ebisuubizo ebyo bisobola okutuukirira? Wadde ng’abantu bangi bakkiriza nti ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Bayibuli birungi, bangi kibazibuwalira okukkiriza nti basobola okuba abalamu emirembe gyonna. Ekyo tekyewuunyisa, kubanga tewali muntu yali abaddeko mu bulamu ng’obwo asobola kutubuulira bwe bufaanana.

Abantu bamaze ebbanga ddene nnyo nga bali mu bulamu obw’okubonaabona, era bangi batuuse n’okulowooza nti bwe tutyo bwe twatondebwa. Naye ekyo si kye kyali ekigendererwa ky’Omutonzi waffe.

Okusobola okutukakasa nti ebyo by’atusuubiza bijja kutuukirira, Katonda ayogera bw’ati ku kigambo ekiba kivudde mu kamwa ke: “Tekiridda gye ndi nga kyereere, naye kirikola buli kye njagala, era kirituukiririza ddala ekyo kye nkituma okukola.”​—Isaaya 55:11.

Bayibuli egamba nti Yakuwa ye Katonda “atayinza kulimba.” (Tito 1:2) Olw’okuba Katonda atusuubizza ebintu ebyo byonna, kiba kikulu okwebuuza nti: Ddala omuntu asobola okuba omulamu emirembe gyonna ku nsi? Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu bisuubizo bya Katonda? Weeyongere okusoma akatabo kano omanye eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share