LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp21 Na. 3 lup. 4-5
  • Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Byesigamye ku Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Byesigamye ku Ki?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Subheadings
  • Similar Material
  • BANGI BYE BAKKIRIZA
  • BIKI EBIVUDDEMU?
  • Buli Omu Ayagala Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Okweyisa Obulungi Kye Kisobozesa Omuntu Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Obuyigirize Obwa Waggulu ne Ssente Binaakuyamba Okuba n’Ebiseera eby’Omu Maaso Ebirungi?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
wp21 Na. 3 lup. 4-5
Ebifaananyi: 1. Omulaguzi ng’akozesa kaadi okulagula. 2. Kampasi ya feng shui ne pulaani y’ennyumba. 3. Omuntu ng’atadde emmere, ebimuli, n’eby’akaloosa ku kifaananyi ky’omuntu we eyafa.

Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Byesigamye ku Ki?

Abantu bangi balowooza nti ebiseera byabwe eby’omu maaso byesigamye ku maanyi agatali ga bulijjo. Nga basinziira ku nzikiriza eyo, bakola ebintu bye balowooza nti binaabayamba okuba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi.

BANGI BYE BAKKIRIZA

OKULAGUZISA EMMUNYEENYE: Abantu abamu balowooza nti engeri gye balibeeramu mu biseera eby’omu maaso esinziira ku ngeri emmunyeenye gye zaali zeepanzeemu ku ggulu ku lunaku lwe baazaalibwa. Beebuuza ku balaguzisa emmunyeenye okumanya ebinaabatuukako mu biseera eby’omu maaso basobole okubaako kye bakolawo okwewala ebizibu, oba okufuna emikisa.

OKUNAABA EMIDDO EGIMU: Abantu abamu banaaba emiddo egimu, gamba ng’olweza, nga balowooza nti ekyo kijja kubasobozesa okufuna emikisa n’obutafuna bizibu.

OKUSINZA ABANTU ABAAFA: Abalala balowooza nti bwe bakola ebintu ebisanyusa abantu baabwe abaafa, oba bakatonda baabwe, basobola okubawa obukuumi n’emikisa. Van,a abeera mu Vietnam agamba nti: “Nnali ndowooza nti bwe nkolera abantu bange abaafa ebintu ebirungi, nze n’abaana bange twandibadde mu bulamu obulungi, era ebiseera byaffe eby’omu maaso byandibadde birungi.”

OKUBBULUKUKIRA MU BULAMU OBULALA: Abamu bakkiriza nti omuntu bw’afa abbulukukira mu kintu ekirala oba mu muntu omulala, era nti ekyo kibaawo emirundi n’emirundi. Bakkiriza nti ebintu ebirungi oba ebibi ebibatuukako kati bisinziira ku ebyo bye baakola mu bulamu bwabwe obw’emabega.

Wadde nga bangi bagamba nti tebakkiririza mu bintu ng’ebyo, beenyigira mu by’obulaguzi ebirala, gamba ng’okukebera mu bibatu. Balowooza nti ebintu ng’ebyo biyinza okubayamba okumanya ebiseera byabwe eby’omu maaso bwe binaaba.

BIKI EBIVUDDEMU?

Ddala abantu abakkiririza mu bintu ng’ebyo era ababikola ebiseera byabwe eby’omu maaso biba birungi?

Lowooza ku Hào, abeera mu Vietnam. Yalaguzisanga emmunyeenye, era yagendanga mu balaguzi okwebuuza ku bantu be abaafa ebintu bisobole okumugendera obulungi. Naye yafuna kye yali ayagala? Agamba nti: “Bizineesi yange yagwa, nnafuna amabanja mangi, amaka gange gaatabanguka, era nnennyamira nnyo.”

Qiuming, abeera mu Taiwan, naye yali akkiririza mu kulaguzisa emmunyeenye, okubbulukukira mu bulamu obulala, ng’asinza abantu be abaafa, era ng’akkiriza nti ebintu byonna ebitutuukako byateekebwateekebwa dda. Oluvannyuma lw’okwekenneenya enzikiriza ezo, yagamba nti: “Nnakiraba nti enzikiriza ezo zikontana era zibuzaabuza. Nnakizuula nti ebintu abalaguzisa emmunyeenye bye bateebereza tebitera kuba bituufu. Ate bwe kituuka ku nzikiriza egamba nti omuntu bw’afa abbulukukira mu bulamu obulala, nneebuuza nti, bwe kiba nti tojjukira ebyo ebyaliwo mu bulamu bwo obw’emabega, osobola otya okukyusaamu osobole okuba omuntu omulungi mu bulamu obuddako?”

“Nnakiraba nti enzikiriza ezo zikontana era zibuzaabuza.”​—QIUMING, TAIWAN

Nga Hào ne Qiuming n’abalala bangi bwe baakitegeera, amaanyi agatalabika, emmunyeenye, abantu abaafa, oba okubbulukukira mu bulamu obulala, si bye bisinziirwako okumanya engeri ebiseera byaffe eby’omu maaso gye binaabaamu. Kati olwo ekyo kitegeeza nti tetulina kye tuyinza kukolawo ku bikwata ku biseera byaffe eby’omu maaso?

EKYO KY’OSALAWO KIKULU

Wadde ng’ebintu bingi ebitutuukako tetubirinaako buyinza, ebibaddewo biraga nti ebyo bye tusalawo bisobola okukwata ku biseera byaffe eby’omu maaso. Ng’ekyokulabirako, lwaki tunaaba mu ngalo era ne twambala masiki nga waliwo ekirwadde ekisaasaana amangu, gamba nga COVID-19? Kubanga bwe tukola bwe tutyo tusobola okutaasa obulamu bwaffe. Awatali kubuusabuusa, ebyo bye tusalawo bikulu nnyo.

Kyo kituufu nti tulina okusalawo obulungi bwe tuba nga twagala okuba obulungi. Emyaka nga 2,000 egiyise, omuweereza wa Katonda omu yagamba nti: “Ekyo omuntu ky’asiga era ky’alikungula.”b

Bangi balowooza nti okusobola okuba obulungi mu biseera eby’omu maaso, beetaaga okufuna obuyigirize obwa waggulu n’eby’obugagga. Abamu bwe bafunye ebintu ebyo, biki ebivuddemu?

a Amannya agamu gakyusiddwa mu kitundu kino n‘ebitundu ebiddako.

b Ebigambo ebyo bisangibwa mu Bayibuli mu Abaggalatiya 6:7. Ebigambo ebyo bikwatagana n’olugero olumu olw’omu Asiya olugamba nti: “Bw’osimba wootameroni, okungula wootameroni; bw’osimba ebijanjaalo, okungula bijanjaalo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share