EBYAFAAYO
Yakuwa ‘Atereezezza Amakubo Gange’
LUMU ow’oluganda omuto yambuuza nti, “Kyawandiikibwa ki ky’osinga okwagala?” Mangu ddala nnamuddamu nti, “Engero 3, olunyiriri 5 ne 6, awagamba nti: ‘Weesigenga Yakuwa n’omutima gwo gwonna, era teweesigamanga ku kutegeera kwo. Mulowoozengako mu byonna by’okola, anaatereezanga amakubo go.’” Mazima ddala Yakuwa atereezezza amakubo gange. Atya?
BAZADDE BANGE BANNYAMBA OKUZUULA EKKUBO ETTUUFU
Bazadde bange baayiga amazima mu myaka gya 1920 nga tebannafumbiriganwa. Nnazaalibwa mu Bungereza mu 1939. Bwe nnali omuto nnagendanga ne bazadde bange mu nkuŋŋaana, era nnanyumirwanga nnyo Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Nkyajjukira bulungi emboozi gye nnasooka okuwa. Nnalina okuyimirira ku bookisi nsobole okutuuka akazindaalo. Nnalina emyaka mukaaga gyokka, era nnawulira ekiwuggwe nga ntunuulira abantu abakulu abaali bawuliriza.
Nga mbuulira ne bazadde bange ku luguudo
Okusobola okunnyamba okubuulira, taata wange yampandiikiranga ennyanjula ennyangu ku kaadi gye nnakozesanga mu kubuulira. Nnalina emyaka munaana we nnasookera okugenda ku nnyumba y’omuntu nga ndi nzekka. Nnasanyuka nnyo oyo gwe nnabuulira bwe yasoma kaadi yange era n’akkiriza ekitabo “Let God Be True”! kye nnamuwa. Nnadduka ne nzirayo ku luguudo okutegeeza taata wange. Okubuulira n’enkuŋŋaana byandeetera essanyu lingi era byannyamba okwagala okuweereza Yakuwa mu buweereza obw’ekiseera kyonna.
Nnayongera okutegeera amazima agali mu Bayibuli oluvannyuma lwa taata wange okukola enteekateeka nange nfunenga magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ezange ku bwange. Buli magazini gye nnafunanga nnagisomanga n’obwegendereza. Ekyo kyannyamba okweyongera okwesiga Yakuwa era ne nneewaayo gy’ali.
Nze ne taata ne maama twagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu New York mu 1950. Ku Lwokuna nga Agusito 3, omutwe gw’olunaku gwali “Olunaku lw’Abaminsani.” Ku lunaku olwo, Ow’oluganda Carey Barber, oluvannyuma eyaweereza ku Kakiiko Akafuzi, ye yawa emboozi ey’okubatizibwa. Bwe yamala okubuuza abaali bagenda okubatizibwa ebibuuzo ebibiri, nnayimirira ne nziramu nti, “Yee!” Nnalina emyaka 11 gyokka, naye nnali nkimanyi bulungi nti ekyo kye nnali nsazeewo kyali kikulu nnyo. Kyokka nnali ntya okugenda mu mazzi kubanga nnali sinnayiga kuwuga. Taata wange omuto yamperekerako era n’ankakasa nti buli kimu kyali kijja kuba bulungi. Okubatizibwa kwakolebwa mu bwangu ne kiba nti ebigere byange tebyatuuka na ku ntobo ya kidiba mwe nnabatirizibwa. Ow’oluganda omu yambatiza ate omulala n’ansitula okunzija mu kidiba. Okuva ku lunaku olwo olukulu Yakuwa azze atereeza amakubo gange.
NSALAWO OKWESIGA YAKUWA
Bwe nnamala siniya nnali njagala kutandika kuweereza nga payoniya, naye abasomesa bange bankubiriza okugenda ku yunivasite. Nnatwalirizibwa okupikiriza kwabwe ne ŋŋenda ku yunivasite. Naye mu kiseera kitono nnakiraba nti nnali sisobola kusigala nga ndi munywevu mu mazima ate mu kiseera kye kimu ne mba nga nneemalidde ku misomo. Bwe kityo nnasalawo okuva ku yunivasite. Ensonga eyo nnagitegeeza Yakuwa mu kusaba, oluvannyuma ne mpandiikira abasomesa bange ebbaluwa nga mbategeeza nti nnali ŋŋenda kuva yunivasite ku nkomerero y’omwaka ogusooka. Nneesiga Yakuwa era mangu ddala ne ntandika okuweereza nga payoniya.
Nnatandika okuweereza nga payoniya mu Jjulaayi 1957 mu kabuga k’e Wellingborough. Nnasaba ab’oluganda ku Beseri y’e London okumbuulira payoniya eyalina obumanyirivu gwe nnali nsobola okukola naye. Ow’oluganda Bert Vaisey yanjigiriza ebintu bingi nnyo. Yali mubuulizi munyiikivu era yanjigiriza okuba n’enteekateeka ennungi ey’okubuulira. Ekibiina kyaffe kyalimu bannyinaffe mukaaga abakulu mu myaka, n’ow’Oluganda Vaisey, nange. Okwetegekeranga enkuŋŋaana zonna n’okuzeenyigiramu kyansobozesa okweyongera okwesiga Yakuwa n’okwoleka okukkiriza kwange.
Oluvannyuma lw’okuva mu kkomera gye nnali nsibiddwa okumala ekiseera kitono olw’okugaana okwenyigira mu magye, nnasisinkana Barbara eyali aweereza nga payoniya ow’enjawulo. Twafumbiriganwa mu 1959, era twali beetegefu okugenda yonna gye banditusindise. Mu kusooka twagenda mu Lancashire, mu bukiikakkono bwa Bungereza. Oluvannyuma mu Jjanwali 1961, nnayitibwa okugenda mu Ssomero ly’Omulimu gw’Obwakabaka ku Beseri y’omu London, era essomero eryo lyali lya kumala omwezi gumu. Oluvannyuma lw’essomero eryo, kyanneewuunyisa nnyo bwe baŋŋamba okutandika okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina. Omulabirizi eyalina obumanyirivu eyali abeera mu kibuga Birmingham yantendeka okumala wiiki bbiri, era Barbara yakkirizibwa okujja okunneegattako. Oluvannyuma twatandika okukola omulimu gw’okukyalira ebibiina mu ssaza ly’e Lancashire n’ery’e Cheshire.
YAKUWA SAAMWESIGIRA BWEREERE
Bwe twali tugenze okuwummulako, mu Agusito 1962, twafuna ebbaluwa okuva ku ofiisi y’ettabi. Mu bbaasa mwalimu foomu z’Essomero lya Gireyaadi. Oluvannyuma lw’okusaba Yakuwa, nze ne Barbara twajjuzaamu foomu ezo era mangu ddala ne tuziweereza ku ofiisi y’ettabi. Oluvannyuma lw’emyezi etaano, twagenda mu Brooklyn, New York, mu ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 38, era emisomo gyali gigenda kumala emyezi 10.
Mu Gireyaadi twayiga bingi ebikwata ku Kigambo kya Katonda, ku kibiina, ne ku b’oluganda okwetooloola ensi yonna. Twali mu myaka gya 20, era twalina bingi bye twayigira ku bayizi bannaffe. Nnafuna enkizo okukolerako awamu buli lunaku n’ow’Oluganda Fred Rusk, eyali omu ku basomesa baffe. Ekimu ku bintu ebikulu bye yaggumizanga kwe kuwabula abalala mu butuukirivu, kwe kugamba, okukakasa nti amagezi gonna ge tuwa abalala geesigamiziddwa ku Byawandiikibwa. Mu abo abaatuwa emboozi mu ssomero eryo mwe mwali ab’oluganda abaalina obumanyirivu, gamba nga Nathan Knorr, Frederick Franz, ne Karl Klein. Ate era tulina bingi bye twayigira ku w’Oluganda A. H. Macmillan, eyali omwetoowaze ennyo. Emboozi gye yatuwa yatuyamba okukiraba nti Yakuwa yawa abantu be obulagirizi mu kiseera eky’okugezesebwa, okuva mu 1914 okutuuka ku ntandikwa ya 1919!
TUSINDIKIBWA MU NSI ENDALA
Bwe twali tunaatera okumaliriza emisomo, ow’Oluganda Knorr y’aŋŋamba nze ne Barbara nti twali tugenda kuweerereza mu Burundi mu Afirika. Mangu ddala twagenda mu tterekero ly’ebitabo ery’oku Beseri ne tukebera mu Yearbook okulaba omuwendo gw’ababuulizi abaali mu Burundi mu kiseera ekyo. Kyokka kyatwewuunyisa nnyo okulaba nti tewaaliwo wonna we baali balagira muwendo gwa babuulizi abaali mu Burundi! Twali tugenda mu nsi eyali tebuulirwangamu, eyali ku ssemazinga gwe twali tutalina kinene kye tumanyiiko. Ekyo kyatweraliikiriza nnyo! Naye okusaba Yakuwa kyatuyamba okukkakkana.
Mu kitundu gye twasindikibwa buli kintu kyali kya njawulo nnyo ku ebyo bye twali tumanyidde; embeera y’obudde, obuwangwa, n’olulimi. Twalina okuyiga Olufalansa. Ate era twalina okunoonya aw’okubeera. Oluvannyuma lw’ennaku bbiri nga tumaze okutuuka mu Burundi, ow’oluganda omu gwe twali naye mu ssomero lya Gireyaadi, Harry Arnott, yatukyalira bwe yali addayo mu Zambia gye yali asindikiddwa okuweereza. Yatuyamba okufuna ennyumba, era eyo ye yali ennyumba y’abaminsani eyasooka. Kyokka waayita ekiseera kitono, ab’obuyinza abaali batalina kye bamanyi ku Bajulirwa ba Yakuwa ne batandika okutuyigganya. Bwe twali twakatandika okunyumirwa obuweereza bwaffe, ab’obuyinza baatutegeeza nti twali tetujja kukkirizibwa kweyongera kubeera mu Burundi nga tetulina mpapula zitukkiriza kukolerayo. Kya nnaku nti twalina okuvaayo tugende mu nsi endala, era ng’ensi eyo ye Uganda.
Okwesiga Yakuwa kwatuyamba okuggwaamu okutya kwe twalina nga tutuuse mu Uganda nga tetulina viza. Ow’oluganda omu enzaalwa y’e Canada eyali aweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingawo mu Uganda yannyonnyola omukungu eyali akola ku nsonga z’abantu abayingira mu ggwanga ebikwata ku mbeera yaffe. Omukungu oyo yatuwaayo emyezi okusigala mu Uganda nga bwe tukola ku mpapula ezitukkiriza okubeeramu. Ekyo kyatulaga nti Yakuwa yali atuyamba.
Uganda yali ya njawulo nnyo ku Burundi. Omulimu gw’okubuulira gwali gwatandika dda, naye mu nsi eyo yonna mwalimu ababuulizi 28 bokka. Bwe twali tubuulira twasanga abantu bangi nnyo abaali bamanyi Olungereza. Kyokka mu kiseera kitono twakiraba nti okusobola okuyamba abantu abaali baagala okumanya ebisingawo okukulaakulana, twalina okuyigayo waakiri olulimi lumu ku ezo ezoogerwa mu nsi eyo. Okubuulira twakutandikira mu Kampala omwali mwogerwa ennyo Oluganda; n’olwekyo twasalawo okuyiga olulimi olwo. Kyatutwalira emyaka egiwerako okuyiga obulungi Oluganda, naye kyatusobozesa okukola obulungi omulimu gw’okubuulira. Twatandika okutegeera obulungi ebyetaago by’abayizi baffe eby’omwoyo, era nabo baatandika okutubuulira engeri ebyo bye baali bayiga gye byali bibakwatako.
EŊŊENDO EZ’ENJAWULO
Nga tuli ku lumu ku ŋŋendo zaffe mu Uganda
Twafuna essanyu lingi okuyamba abantu okuyiga amazima. Ate essanyu eryo lyeyongera bwe twaweebwa enkizo ey’okukyala mu bitundu ebitali bimu okwetooloola Uganda. Ofiisi y’ettabi ly’e Kenya yatugamba okutambula mu bitundu ebitali bimu mu Uganda okuzuula ebifo mwe baali basobola okusindika bapayoniya ab’enjawulo. Emirundi mingi abantu be twasanganga baatusembezanga n’essanyu wadde nga baali tebawulirangako Bajulirwa ba Yakuwa. Baatwanirizanga bulungi, era oluusi nga batufumbira n’emmere.
Waliwo olugendo olw’enjawulo lwe nnatambula. Nnalinnya eggaali y’omukka okuva e Kampala eyamala ennaku bbiri mu kkubo okutuuka e Mombasa mu Kenya. Oluvannyuma nnalinnya emmeeri okugenda ku bizinga by’e Seychelles, ebisangibwa mu guyanja Indian Ocean. Okuva mu 1965 okutuuka mu 1972, Barbara yanneegattangako nga ŋŋenda ku bizinga by’e Seychelles. Mu kusooka waaliyo ababuulizi babiri bokka, oluvannyuma waatandikibwayo ekibinja, era oluvannyuma ekibiina ne kitandikibwayo. Ate oluusi nnakyaliranga ab’oluganda mu Eritrea, Esiyopiya, ne Sudan.
Embeera y’eby’obufuzi mu Uganda yakyuka mangu nnyo oluvannyuma lw’amagye okuwamba gavumenti. Emyaka egyaddako gyali gya ntiisa nnyo, era nnalaba amagezi agali mu kugondera ekiragiro kya Yesu ‘eky’okuwa Kayisaali ebya Kayisaali.’ (Mak. 12:17) Ekiseera kyatuuka ne balagira abagwira bonna okugenda okwewandiisa ku poliisi eyabanga ebali okumpi. Mangu ddala twagondera ekiragiro ekyo. Nga wayise ennaku ntono, bwe twali tuvuga emmotoka mu Kampala, abapoliisi baatuyimiriza, nze n’omuminsani omulala. Emitima gyatandika okutukuba! Baatugamba nti twali bakessi, era ne batutwala ku kitebe kya poliisi ekikulu gye twabannyonnyolera nti twali baminsani era nti twali bantu ba mirembe. Wadde nga twabagamba nti twali twamala dda okwewandiisa, baagaana okuwuliriza. Abapoliisi abaali babagalidde emmundu baatutwala ku poliisi eyali okumpi ne we twali tubeera. Twafuna obuweerero bwa maanyi owa poliisi gwe twasangawo bwe yatutunuulira ng’akyatujjukira n’abagamba nti twali twamala dda okwewandiisa era n’alagira batute!
Mu nnaku ezo emirundi mingi twabanga ku bunkenke naddala bwe twayimirizibwanga abajaasi abaabanga batamidde. Naye ku buli mulundi twasabanga, era twafunanga emirembe ku mutima nga tuyita ku bajaasi abo. Eky’ennaku, mu 1973 abaminsani bonna baalagirwa okuva mu Uganda.
Nga nkuba Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka ku ttabi ly’e Abidjan, mu Côte d’Ivoire
Twasindikibwa okuweereza mu nsi endala eyitibwa Côte d’Ivoire, esangibwa mu bugwanjuba bwa Afirika. Eyo yali nkyukakyuka ya maanyi gye tuli: twalina okuyiga obuwangwa obulala, okuddamu okwogera Olufalansa ekiseera kyonna, n’okubeera awamu n’abaminsani abaali bava mu nsi ez’enjawulo! Ne ku luno twalaba omukono gwa Yakuwa, abantu ab’emitima emirungi bwe bakkiriza amawulire amalungi. Ffembi twakiraba nti okwesiga Yakuwa kyatereeza amakubo gaffe.
Oluvannyuma Barbara yazuulwamu kkookolo. Wadde nga twagenda mu Bulaaya enfunda eziwera Barbara okusobola okujjanjabibwa, mu 1983 twakiraba nti twali tetukyasobola kweyongera kuweerereza mu Afirika, era ekyo kyatunakuwaza nnyo!
WAJJAWO ENKYUKAKYUKA MU BULAMU BWANGE
Kookolo wa Barbara yeeyongera nga tuweerereza ku Beseri y’omu London, era oluvannyuma Barbara yafa. Ab’oluganda ku Beseri bannyamba nnyo. Okusingira ddala ow’oluganda omu ne mukyala we bannyamba okumanyiira embeera eyo n’okweyongera okwesiga Yakuwa. Oluvannyuma nnasisinkana Omubeseri omu ayitibwa Ann eyali aweereza ng’aviira bweru. Yali yaweerezaako nga payoniya ow’enjawulo okumala ekiseera, era yali ayagala nnyo Yakuwa. Nze ne Ann twafumbiriganwa mu 1989 era okuva olwo tubadde tuweerereza ku Beseri y’omu London.
Nga ndi ne Ann mu maaso ga Beseri empya ey’omu Bungereza
Okuva mu 1995 okutuuka mu 2018, nnafuna enkizo ey’okuweereza ng’omulabirizi aba akiikiridde ekitebe ekikulu (edda eyayitibwanga omulabirizi wa zooni). Nnakyalira ensi nga 60, era nnalaba engeri Yakuwa gy’awaamu abaweereza be emikisa mu mbeera ez’enjawulo.
Mu 2017 nnafuna enkizo okukyalako mu Afirika. Nnasanyuka nnyo okutwalako Ann mu Burundi omulundi gwe ogusooka, era ffembi twewuunya nnyo okukulaakulana okwaliyo! Ku luguudo lwennyini lwe nnabuulirako nnyumba ku nnyumba mu 1964, kuliko Beseri erabirira ababuulizi abasukka mu 15,500.
Mu 2018 nnasanyuka nnyo bwe bampa olukalala lw’ensi ze nnali ŋŋenda okukyalira. Mu nsi ezo mwe mwali ne Côte d’Ivoire. Bwe twatuuka mu Abidjan, ekibuga ekikulu, nnawulira ng’eyali akomyewo eka. Bwe nnatunuulira olukalala lw’amasimu g’ab’oluganda abaweereza ku Beseri, Nnakiraba nti ow’oluganda eyali aliraanye ekisenge ky’abagenyi mwe twali tusula yali ayitibwa Sossou. Nnalowooza nti ye Sossou eyali aweereza ng’omulabirizi w’ekibuga mu kiseera we nnaweerereza mu Abidjan. Naye nnali mukyamu. Ono yali mutabani wooli Sossou gwe nnali mmanyi.
Yakuwa atuukirizza kye yasuubiza. Mu bizibu ebingi bye mpiseemu, nkirabye nti bwe twesiga Yakuwa, ddala atereeza amakubo gaffe. Ndi mumalirivu okweyongera okutambulira mu kkubo eritakoma, erijja okweyongera okutangaala mu nsi empya nga tufunye obulamu obutaggwaawo.—Nge. 4:18.